22-0612 Okumalirira Mu Mutima

Obubaka: 63-0901E Okumalirira Mu Mutima

PDF

BranhamTabernacle.org

Abantu ba Katonda abasibiddwa Omusaayi, Abasibiddwa Akabonero, Ab’Endagaano abaagalwa.

Jjukira bujjukizi, tetuli Kaawa, tetuli omu ku bano ababuusabuusa abali mu kwekkiriranya ne Setaani. Tulina okukkiriza nnantaseeseetulwa mu Kigambo kino! Tunywerera ku buli Kigambo kya Katonda kye yawandiika n’ayogera ku ntambi. Kituwadde OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE.

Tetutunuulira kukkiriza kumu okunene kwe tulina okuba nakwo mu ffe. Tetugezaako kuba balungi kimala; tetulibeerako balungi kimala, bulijjo tuliremererwa. Ekyo si kye yatugamba nti tubeere n’okukkiriza mu ekyo. Yagamba nti mubeere n’okukkiriza era mukkirize BULI KIGAMBO kye yayogera okuba Bw’ati bw’Ayogera Mukama. TUKOLA TUTYO era Kituwadde OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE MU KIGAMBO KYE.

Ka tuwulirize Omwoyo Omutukuvu by’abadde ategeeza era ng’abuulira Kitaffe ebitukwatako.

“Ngondedde ebiragiro byo. Nanoonya era nfunye obubinja bw’abantu obutonotono obusaasaanidde mu nsi yonna. Nasindika ba ssentambi abamu mu nnyumba yaabwe ne bazannya entambi ezimu. Bwe baawulira entambi, ne bakkiriza buli Kigambo. Kati ennyumba yaabwe bagifudde ekkanisa okufuna Obubaka. Abo z’Empungu Zo ezaayawulibwa edda nga zikuŋŋaana okuwulira Ekigambo kyo.

Nabagamba nti bonna abanajja wansi w’Akabonero, Obubaka bw’Ekiseera, banaalokolebwa. Nabagamba nti bajja kufuuka Omu naawe n’Ekigambo kyo. Bwe kaba nga kabakozeemu omulimu, olwo Akabonero ako bakasiige ne ku baana baabwe. Bakasiige ne ku baagalwa baabwe babaleete wansi w’Akabonero ako nabo banaalokolebwa.

Nabagamba, abo abaali bawuliriza olutambi, nti: Nze mbawozaako ku lwa Katonda. Baakikkiriza bwe nakyogera, n’emitima gyabwe gyonna n’emyoyo gyabwe gyonna.
Bantu bange, abo be njagala ennyo, abali mu kuwuliriza entambi.

Nabagamba bekkaanye ekinajja oluvannyuma lw’Obubonero Omusanvu: okwegatta awamu kw’abantu, obubonero obw’obumu, ekimyanso ekimyufu nga kyaka mu nnaku ez’enkomerero, nga zibikkiddwako mu kintu kino ekimu, Akabonero.”

Oh, Ekkanisa, situka weeyeenye! Suna ku muntu wo ow’omunda, weegugumule, mu ssaawa eno! Tuteekwa okubyangatana, oba tuzikirire! Waliwo ekijja nga kiva eri Mukama! Nze nkimanyi nti kiri BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA. Waliwo ekigenda okujja, era kyanditubeerera ekirungi singa tutanula okubyangatana. Kiri wakati w’Obulamu n’okufa. Kijja kutuyitamu era tetujja kukiraba.

Tukimanyi nti waliwo ekitegeka okubeerawo. Okujja kwa Mukama kujja kuba kugenda kwa mangu, okw’ekyama. Tuli mu kubyangatana. Ebiseera bituuse. Tutegedde Akabonero ak’olunaku lwaffe era kasiigiddwaako.

Tugenda kulya obubonero bw’Embaga y’Okuyitako ku Ssande eno, obwatwalibwa mu mbeera ey’amangu, mu biseera eby’okubyangatana. Tukuŋŋaana okwetoloola ensi yonna, ku Kigambo kye.

Jjangu obeere ekitundu ku mukolo guno omunene ku Ssande eno ku ssaawa 10 (kkumi) ez’akawungeezi mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa ttaano ez’ekiro e Uganda), nga bwe tukuŋŋaana okuwulira Ekigambo: 63-0901E – Obubyangatano.

Ow’oluganda. Joseph Branham

Okuva 11:12
Yeremiya 29:10-14
Omut. Lukka 16:16
Omut. Yokaana 14:23
Abaggalatiya 5:6
Omut. Yakobo 5:16