23-1231 Okumalirira Mu Mutima

Obubaka: 63-0901E Okumalirira Mu Mutima

PDF

BranhamTabernacle.org

Kitaffe omwagalwa,

Tuzannye ebbanga ddene ekimala. Tugenze mu kkanisa okumala ebbanga ddene ekimala. Okuva lwe twawulidde Obubaka, Akabonero, busudde Omugole Wo mu nnyiike.

Tukimanyi nti waliwo ekitegeka okubeerawo. Obudde butuuse. Twagala Ojje otuggye mu nsi eno. Twagala kubeera Naawe. Tuwulira ennyiike mu buziba bwennyini obw’emmeeme zaffe.

Tugenda kukyogerako bwogezi? Tufunye ennyiike emala? Tukukaabirira nga bwe tusaanidde okukikola emisana n’ekiro?

Oh, Ekkanisa, golokoka weegugumule! Suna ku muntu wo ow’omunda, wezuukuse, mu ssaawa eno! Tuteekwa okuba abanyiikavu, oba tuzikirire! Waliwo ekigenda okujja okuva eri Mukama! Nze nkimanyi nga BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Waliwo ekigenda okujja, era twandiba awalungiko singa tunyiikaala. Kiri wakati w’Obulamu n’okufa. Kijja kutuyitamu era tetujja kukiraba.

Tukimanyi nti kyetaagisa embeera y’ennyiike okukuwaliriza okujja mu kifo. Tusaanidde okuba naKyo kati oba si ekyo tunaasaanawo. Mukama, leka tuyingire mu mbeera y’ennyiike nga bwekitabangawo, olwo Ojja kutambula ojje mu kifo ojje ofune Omugole Wo alindiridde.

Tuyambe Kitaffe okunyigiriza okuGiyingiramu. Si kumala gaGiyingiramu na kutambula, mu ngeri ennyangu, naye na kuwaguza. Si kuGyogerako bwogezi ne tugenda mu maaso n’obulamu bwaffe obwa bulijjo. Twagala okukunoonya n’emitima gyaffe gyonna, n’emmeeme zaffe zonna era n’ebirowoozo byaffe byonna. Mukama, tuyambe.

Tukimanyi nti tukulemeredde emirundi mingi Mukama, naye Watugamba bwetulemererwa, ekyo tekirina kakwate nakyo; tuli bakiremwa n’okusooka byonna, naye tukulina Ggwe nga oyimiridde awo n’omukono ogw’amaanyi era osobola okutuuka wansi n’Otusitula waggulu w’amazzi.

Nabbi yalangiridde gyetuli nti Ojja kutuyitako bw’onoolaba Akabonero nga kasiigiddwako. Mukama, tugoberedde ebiragiro Byo era ne tusiigako Akabonero ne tufuula amaka gaffe Ekkanisa y’Olutambi, nga tuwuliriza era nga tukkiriza buli Kigambo.

Ategeera Ka— Kabonero kokka. Obwo bwe Bubaka bw’ekiseera! Obwo bwe Bubaka bw’olunaku luno! Obwo bwe Bubaka bw’ekiseera kino! Mu Linya lya Yesu Kristo, Bufune!

Tusuubira bya buwanguzi, era tukkiriza era tussa mu nkola buli kimu okusinziira ku nnabbi bye yatugamba.

Tukkiriza nti buli kimu kituukawo era kibaawo mu kiseera Kyo ekituukiridde. Tewali kintu kyonna kivudde mu kifo kyakyo. Tulabye ebyamagero byo byonna, era tuwulidde era ne tujja wansi w’akabonero k’Evumbo eyo.

Kati nga bwe tuli wansi w’akabonero k’Envumbo eyo, tugenda kulya Okussa Ekimu ku Ssande eno nga tuli mu nnyiike. Kubanga tukimanyi nti oli mu kwetegeka okukuba ensi n’omusango.

Leka tukulye ng’akabonero k’Okuyitako, bwe kwalibwa mu mbeera ey’ekigwa-tekiraze, mu kiseera eky’ennyiike. Tuli mu nnyiike nate leero Kitaffe.

Tweyanzeege Mukama nti tusobola okutunula emabega mu mwaka guno ne tulaba byonna by’otukoledde. Obikkudde Ekigambo kyo n’otuwa Okubikkulirwa waggulu w’Okubikkulirwa nga bwe kitabangawo.

Kati tukimanyi nti tuli batabani bo ne bawala bo. Ffe Mugole Kigambo Wo atuukiridde gw’Olindiridde ebbanga ddene. Ggwe, abeera mu ffe era atuula mu ffe. Ggwe watulonda, watutegekerawo era kati Ojja okutucima.

Mukama, leka tukunoonye emisana n’ekiro. Tufuuke abanyiikaavu ennyo tutyo nga tukukaabirira. Tuwaguze okuBuyingiramu nga bwe kitabangawo. Guno gubeere omwaka mw’Ogenda okutucimira.

Tukwagala Kitaffe, era twagala okubeera mu Kwagala kwo okutuukiridde. Jjangu obeere naffe nga bwe twegatta ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi  mu budde bw’e Jeffersonville (oba essaawa kkumi n’emu ez’omu kawungeezi e Uganda), nga twetoloodde Eddoboozi Lyo era tuKuwulire ng’Otubuulira engeri y’okuyingira mu: Ennyiike 63-0901E. Olwo beera naffe nga bwe tusembera mu nnyiike, ku kyeggulo kya Mukama waffe.

Zino ze nnaku ezisinga obukulu mu bulamu bwaffe Kitaffe. Kubanga tukimanyi nti Ojja mangu okututwala mu Maka gaffe Amajja naawe. Tutunula buli lunaku n’okusuubira okungi nga tulinda abatukuvu abo abatusooseeyo. Tumanyi nti bwetunaabalaba, ekiseera kyokujja Kwo olwo nga kituuse ….EKITIIBWA !!!

Tuli mu Nnyiike nga tulinda olunaku olwo Kitaffe.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwulira lukuŋŋaana:

Okuva 12:11
Yeremiya 29:10-14
Omut. Lukka 16:16
Omut. Yokaana 14:23
Abaggalatiya 5:6
Abatukuvu. Yakobo 5:16