24-0107 Ememe Eziri Mu Kkomera kati

Obubaka: 63-1110M Ememe Eziri Mu Kkomera kati

BranhamTabernacle.org

Abantu Abeeyawula Abaagalwa,

Katonda yajja mu kiseera kyaffe ne Yeeyoleka mu mubiri gw’omuntu, mu musajja ayitibwa William Marrion Branham, asobole okutuukiriza Ekigambo kye. Okwo kwe kubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu kiseera kyaffe.

Okuwuliriza Eddoboozi eryo n’okukkiriza buli Kigambo lye Kkubo lyokka Katonda lye Yateekawo leero. Yasindika abasajja bangi abaafukibwako amafuta n’Omwoyo we Omutukuvu mu nsi , naye yatuma n’ayogera ng’Ayita mu musajja omu yekka okubikkula Ekigambo kye n’okukulembera Omugole we.

Takyusa Nteekateeka Ye oba Engeri ye ey’okukola ebintu. Engeri gye yakikola omulundi ogwasooka, bw’Akikola buli mulundi. Ye kennyini Akulembera abantu be, nga Akozesa mpagi y’omuliro.

Tewerabira, GGWE Mugole omulonde Katonda gwe yalonda era tewali sitaani ky’ayinza kukola oba okwogera ekiyinza okukikuggyako, TEWALI NA KIMU! Yakutegekerawo nga ensi tennatondebwa. Yakumanyirawo eyo, era wali Naye. Yamanya erinnya lyo. Yamanya buli kimu ekikukwatako. Yali amanyi ebirungi n’ebibi byo. Yamanya  okulemererwa kwo, ensobi zo, naye era n’Akwagala era n’Akulonda kubanga wali kitundu ku Ye.

Emmeeme yo esobola kulya ku Kigambo kye kyokka. Tewali kiyinza kukumatiza okuggyako Ekigambo kye. Oyagala nnyo okusoma Ekigambo kye n’okumufumiitirizaako, ng’osaba okuva mu buziba bw’omutima gwo. Bw’owulira Eddoboozi lye nga lyogera butereevu naawe, likusitula okusukka olutimbe lw’ebiseera. Kubanga okimanyi nti otudde naye mu bifo eby’omu Ggulu nga bw’ayogera naawe kamwa ku kutu, ng’Abikkula Ekigambo kye, ng’Akujjukiza nti, GWE MUGOLE WANGE.

Sitaani asobola okukukuba n’akukuba n’akukukuba. Osobola okuggwamu ennyo amanyi oluusi n’owulira ng’olemereddwa ddala; n’owulira nga omulemeredde nga omulala ky’atayinza kukola. Ggwe asinga obubi mu babi, naye awantu awamu, wansi mu mmeeme yo, owulira Eddoboozi eryo Ettono Esseendekerevu Nga likugamba nti: “Tewali kiyinza kukwawula ku NZE, GGWE KIGAMBO KYANGE. Erinnya lyo Nnaliteeka ku Kitabo kyange eky’Omwana gw’Endiga Eky’Obulamu , Nze Kennyini .”

Kiki kye nnyinza okwogera okukuzzaamu amaanyi leero?

Sigala busigazi mu Kigambo. NYIGA ZANNYA buli lunaku owulire Eddoboozi lya Katonda nga lyogera Bwatyo Bw’Ayogera Mukama n’Akugamba; Mbagattira wamu okwetooloola Ekigambo kyange. Osobola okuwangula EKINTU KYONNA, kubanga Ekigambo kyange kibeera era kiwangaalira mu ggwe. Nkukakasizza, olina OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE. Osiizeeko Akabonero, era Kakutadde mu Nnyiike. Nja kuyimirira emabega w’Ekigambo kyange. Nja kukola kye ŋŋambye nti nja kukola.

Nga bya kitalo Ebigambo bye by’Ayogera naffe ku Ntambi. Tumanyi nti Si musajja omu, omuntu ow’omubiri omu nti y’ali wakati mu ffe. Ye Katonda Ataggwaawo nga Ayogera naffe, Omugole we.

Oyitibwa okwegatta ku Mugole ku Ssande enossaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga tukuŋŋaana okuwuliriza Eddoboozi eryo Ettono Esseendekerevu: 63-1110M Emmeeme Eziri mu Kkomera Kati.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwulira Lukuŋŋaana:

Olubereberye 15:16
Omut. Matayo 23:27-34
Omutukuvu. Yokaana 4:23-24 / 6:49 / 14:12
1 Peetero 3:18-22
2 Peetero 2:4-5
Yuda 1:5-6