23-1224 Lwaki Besirekemu Omutono?

Obubaka: 58-1228 Lwaki Besirekemu Omutono

BranhamTabernacle.org

Omugole Ataddeko Akabonero Omwagalwa,

Njagala ffenna twetegekere okusaba okw’enjawulo ennyo okw’Okussa Ekimu okw’Awaka ku lunaku olutuyingiza mu mwaka omuggya, Ssande nga 31 omwezi Gw’ekkumi n’ebiri. Tujja kuba tuwulira Obubaka, 63- 0901E Okubyangatana, Ow’oluganda Branham mw’ayingiririra mu kusaba kw’Okussa Ekimu n’Okunaaza ebigere nga olutambi lunaatera okuggwaako.

Obubaka bujja kuzannyibwa ku Voice Leediyo (mu Lungereza lwokka), era tugoberere ensengeka y’olukuŋŋaana nga bwe tukozenga mu nkuŋŋaana z’Okussa Ekimu okw’Awaka okwayita, omuli ennyimba za piyano mu kitundu ky’Okussa Ekimu eky’olukuŋŋaana, n’Ennyimba z’Enjiri mu kiseera ky’okunaaza ebigere. Tugenda kutandika okusaba ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’ekiro mu budde bw’ e Jeffersonville. Kulwammwe abali emitala w’amayanja, mubeere ba ddembe okuzannya olutambi era mubeere n’Okussa Ekimu mu budde bwammwe obw’omu kitundu okusobola okuba n’Okussa Ekimu nga tezinnawera ssawa mukaaga ogw’ekiro mu ttumbi mu 2023.

Siyinza kulowooza ku ngeri esingawo gye tuyinza okumalirizaamu omwaka guno ogwa 2023, n’okutandikamu omwaka omuggya ogw’okuweereza Mukama mu 2024, esinga ku kusirika mu maaso ge, okwongera okumubyangatanira, nga tulya ku kyeggulo Kye, nga tusabiragana n’okusonyiwagana buli omu ne munne, nga tunaaza ebigere by’abatukuvu be, n’okuwulira Ekigambo kye. Nga kanaaba kawungeezi ka njawulo.

Wammanga wawandiikiddwawo emikutu egikulaga engeri y’okufunamu/okuteekateeka enviinyo n’omugaati gw’Okussa Ekimu.

Nneeyanzege nnyo nti Mukama Atugabiridde ekkubo ery’okwegatta awamu ku mukolo omutukuvu bwe gutyo. Mazima ddala nneesunga okubasisinkana mwenna ku Meeza Ye.

Olwa Ssande luno, tugenda kuwulira obubaka bwa Ssekukkulu: Lwaki Besirekemu Entono? 58-1228 ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda) .

Katonda abawe omukisa,
Ow’oluganda Joseph Branham

Ssande nga December 24, 2023
58-1228 Lwaki Besirekemu Omutono?
12:00 PM Obudde bwa Jeffersonville

Ssande nga December 31, 2023
63- 0901E Okubyangatana / Okugatta awaka & Okunaaba ebigere
5:00 PM Obudde bwa Jeffersonville

Ebiragiro by’okufumba omugaati / okukola wayini

Ebiragiro by’okufuna Communion Wine / Feet Washing Bins