22-0717 Waliwo Omusajja Wano Asobola Okussaako Ekitangaala

Obubaka: 63-1229M Waliwo Omusajja Wano Asobola Okuteekako Ekitangaala

BranhamTabernacle.org

Ekifaananyi Kya Yesu Kristo Abaagalwa,

Nga akalenzi akatono akaatunula mu ndabirwamu ne katategeera nti keetunuulidde, kati tutunudde mu Ndabirwamu ya Katonda, Ekigambo kye, era nga tukizuula nti, TAATA, OYO YENZE, nze kifaananyi ky’Ekigambo kyo. Nze Kigambo Kyo nga kyayolesebbwa. Ndi mukkiriza, Nze Mugole Wo!

Buli Bubaka bwe tuwulira busitula Okukkiriza kwaffe okutuuka ku ddaala eppya. Yatugamba nti tulina okuja mu kimu ku bibinja ebisatu: Abakkiriza, abeefuula abakkiriza oba abatakkiriza. Nga bwe tutunudde mu ndabirwamu Ye twaleekaana nti, “Ndaba, awatali lufu lwa kubuusabuusa, tuli Bakkiriza. Kubanga Omukkiriza yekka y’ajja okukkiriza buli nnukuta na buli katonnyeze; TAATA, OYO NZE.”

Tewali kiyinza kutumatiza n’okutuwa Obulamu wabula Ekigambo kya Katonda ekyogere ku lutambi. Y’engeri yokka Obulamu gye buyinza okujja, okuyita mu Kigambo kye ekyogere, Eddoboozi lya Katonda kulw’olunaku lwaffe.

Weetegeke, waliwo ebirala ebigenda okujja ku Ssande eno, Omwezi Gw’omusanvu nga 17, 2022. Wano waliwo omusajja asobola okussaako Ekitangaala, era bw’Anaakikola, ffenna tugenda kuba n’okulumizibwa emimiro lwa kuleekaana n’okukuba enduulu za Amiina, Aleluuya , Erinnya Lya Mukama Lyebazibwe, Ekitiibwa Kibe Eri Katonda, kubanga Katonda yennyini Ajja kuba ayogera naffe butereevu era abikkule ebisingawo ku Kigambo kye.

Nga enjuba y’emu yennyini, eyaka leero, egenda kuba eyengeza empeke olw’amakungula mu Mwezi Gw’omusanvu. Laba kye ntegeeza? Naye ekitangaala kya leero tekijja kukola kalungi konna emabega eyo mu Mwezi Gw’omusanvu. Eba ekaluba okusingako. Eŋŋaano eba yeeyongedde okukula; eba nneetegefu okuKitwala. Amiina. Mazima ddala bwe kiri.

Amakungula gengedde! Tweyongedde okukula era tuli beetegefu nnyo okukitwala. Yesu alina emmeeza ennyanjuluze, abatukuvu ba Katonda webaliisibwa Emmere eyengedde ey’olunaku. Ekitangaala ky’Enjiri nga kiraga obutuufu era nga kikakasa nti ali wano leero naffe. Abatukuvu balya Emmere ey’omwoyo eyaterekebwa, nga beetegekera Okukwakkulibwa.

Omusumba waffe, Omwoyo Omutukuvu ng’Ayogera okuyita mu nnabbi we eyakakasibwa, bw’anyiga swiiki eyo n’assaako ekitangaala ky’Okubikkulirwa, Ajja kutubuulira ky’Ali kyennyini mu kiseera kyaffe. Ajja kuleekaanira waggulu Atulabule nti, .
Kansuubire nti toli mu tulo.

Nuuwa ye yali Omusana mu kiseera kye. Musa ye yali Omusana gw’essaawa ye, kati nkutumidde nnabbi ow’amaanyi mu kiseera kyo era njolesa Ekigambo kyange kye nasuubiza nga mpita mu ye. Ye Kigambo kya Katonda nga kyolesebbwa mu kiseera kyo. Ye Musana gwa leero.

Bwe nnali wano ku nsi mu mubiri omulundi oguwedde, nakwata emigaati gya sayiri etaano nnakabala ne ntandika okugimenyamu. Okuva mu egyo gyennyini, nakola emigaati ne giliisa enkumi ttaano.

Olwo ne nfuna ebyennyanja, era okuva mu byennyanja ebyo, ne nkola ebyennyanja ebirala n’ebyennyanja ebirala, ne biliisa enkumi ttaano.

Naye mu kiseera kyo, nnali sirina kintu kyonna. Nnayogera bwogezi ne ŋŋamba nti, “Yogera kijja kubaawo,” era nekibaawo, nga tewali kintu kyonna mwekivudde. Ssaalina kaamuje; tewaaliwo n’akamu. Namala gagamba nti, “Leka wabeewo,” era ne wabaawo. Ekigambo kyange tekisobya, era Kiteekwa okutuukirira.

Okufaananako abaana ba Isirayiri, bwe baali mu lugendo lwabwe, buli lunaku baali balya emmaanu empya. Baali batambulira mu Kitangaala ky’Empagi ey’Omuliro. Empagi eyo ey’Omuliro yali Yesu Kristo.

Leero ali naffe omulundi omulala, Empagi y’Omuliro y’emu, ng’akola ebintu bye bimu bye yakola bwe yali wano ku nsi ng’Atuukiriza Ekigambo kye.

Tukuyita okutwegattako ku Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga omusumba waffe, Omwoyo Omutukuvu, Empagi y’Omuliro, Assaako ekitangaala kye eky’Okubikkulirwa, nga bwe tuwulira: 63-1229M “Waliwo Omusajja Wano Asobola Okussaako Ekitangaala”.

Owol. Joseph Branham

Olubereberye 1:3, Essuula 2
Zabbuli 22
Yoweeri 2:28
Isaaya 7:14, 9:6, 28:10, 42:1-7
Omut Matayo 4:12-17, Essuula 24 ne 28
Omut Makko Essuula 16
Okubikkulirwa Essuula 3