Category Archives: Uncategorized

24-0114 Oyo Ali Mu Ggwe

Obubaka: 63-1110E Oyo Ali Mu Ggwe

BranhamTabernacle.org

Abakkiriza Ab’Okukkiriza Okutuukiridde Abaagalwa,

Buli lunaku emitima gyaffe gikuba nnyo n’okusuubira okungi. Tulindiridde essaawa eyo okutuuka ey’Okujja kwe mangu ddala. Okutya kwonna kuweddewo. Tewakyali kwebuuza nti, “Tuli Mugole We”? Kisudde ennanga mu mitima gyaffe nga bwe kitabangawo, FFE MUGOLE WE.

Tukwatiddwa mu mbeera ey’omu Ggulu, nga tuwuliriza obuweereza bwa Yesu Kristo, eyayambala omubiri omulundi ogw’okubiri mu Kkanisa Ye. Obubaka buno bukakasiddwa bulungi nnyo Ekigambo kya Katonda, okutuusa nga tayinza kuba muntu, alina kuba Katonda ng’Ayogera kamwa ku kutu eri Omugole we.

Tukkiriza nti si muntu y’ayogera naffe ku ntambi zino, Katonda.

Kye ngezaako okwogera, “Togezanga n’ofiirwa obwesige bwo.” Toleka Sitaani kukubuulira bubi ku nze; ‘kubanga, waliwo bungi. Naye ggwe kuuma obwesige obwo; ‘kubanga, bw’otokikola, tekijja kubaawo. Totunuulira nze, ng’omuntu; Ndi muntu, nzijudde ensobi. Naye tunuulira bye njogera ku Ye. Ye Ye. Ye Oyo.

Olina okuba n’obwesige n’okukkiririza mu YE by’AYOGERA, EKITALI EKYO TEBIJJA KUBEERAWO. Tetutunuulira nnabbi wa Katonda ng’omuntu, nga bangi bwe balowooza nti bwetukola. Tuli emabega w’olutimbe lw’omubiri gw’omuntu, era kyokka kye tulaba n’okuwulira ye Katonda ng’ayogera ng’ayita mu mimwa gy’omuntu, ERA NE TUBA N’OBWESIGE NE TUKKIRIZA BULI KIGAMBO.

Okwo kwe kubikkulirwa kwa Yesu Kristo okwa leero. Okukkiriza nti Katonda, so si musajja, Y’ayogerera ku ntambi ezo. Ekyo bw’okisubwa munnange, obubaka bw’ekiseera oba obusubiddwa era tosobola kubeera Mugole.

Sitaani assa okutaputa kwe ku ekyo, era ebitundu 99% ajuliza Obubaka nga bwe yakola Kaawa, naye yalagirwa okusigala n’Ekigambo; Adamu kye yamugamba Katonda kye yayogera, so si omuntu omulala yenna kye yagamba nti kyekyali kitegeeza. Yalina okusigala n’Eddoboozi lya Katonda.

Luno lwe lunaku olusinga obukulu ensi lwe yali elabyeko. Obulamu bwa Yesu Kristo, obwabeeranga era ne bweyolesezanga mu bulamu bwa nnabbi We, kati bubeera mu mubiri mu FFE, Omugole We.

Tukola ekyo kyennyini kye Yatulagira okukola: okusigala n’Ekigambo nga tusigala n’Eddoboozi lya Katonda ku ntambi. Bwe buweereza n‘enteekateeka  ya Katonda ey’olutambi eya leero.

Bwoba okkiririza ddala nti William Marrion Branham yali mubaka wa Katonda ow’omusanvu omulonde, Katonda gwe yalonda okwogera n’okubikkula ebyama byonna ebikwekebbwa mu Kigambo, Eddoboozi lya Katonda eri omulembe guno, omusajja eyalina okukkiriza nga omuntu omulala yenna kw’ataalina, oyo malayika wa Mukama gwe yagamba nti “bw’oleetera abantu okukukkiriza GGWE, tewali kigenda kuyimirira mu maaso g’essaala zo ”, olwo Ssande eno lujja kuba lunaku lwa bbaluwa mmyufu nga olulala bwelutafaanananga.

TEWALI KINTU ekiyinza okutuggyako Okubikkulirwa kw’Obubaka Buno, MPAWO NA KIMU. TETUYINZA na kukibuusabuusa. Bw’aba yakyogera, tukikkiriza. Tuyinza obutabitegeera byonna, naye tubikkiriza ewatali kuddirizibwamu.

Yesu yennyini yatugamba nti: “Ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi.” Ekyo leka kinnyikire mu mitima gyaffe. Omwoyo we abeera mu ffe. Ekyo tusobola okukitegeera? Kati, nga bw’osoma ebbaluwa eno, Omwoyo Omutukuvu, Katonda yennyini, Empagi y’omuliro, abeera era atuula mu ffe? Tumanya tutya nti ekyo kituufu? KATONDA BW’ATYO BWEYAYOGERA!!

Sitaani buli kiseera atugamba nti tuli ba kiremwwa abatageraageranyizika. Era mutuufu, bwe tuli. Atujjukiza, tetuli we twetaaga kubeera mu Kigambo. Era nate, ekyo kituufu. Tukola ebintu nga tumanyi ebibisingako obulungi byetwandikozeemu. Tusonyiwe Mukama, mutuufu.

Naye era nga tulina ensobi zaffe zonna, obunafu bwaffe bwonna, okulemererwa kwaffe kwonna, tekikyusa nsonga, FFE MUGOLE. TUKKIRIZA BULI KIGAMBO!

Tetwetunuulidde ffekka oba ekintu kyonna kye tusobola okukola, tuvuya buvuya. Tumanyi bumanya nti Yatulonda n’Atuwa Okubikkulirwa kw’Ekigambo kye era tewali kiyinza kutuggyako Kubikkulirwa okwo. Kuwangiddwa mu mutima ne mu mwoyo gwaffe.

Yatugamba nti tulina okuba n’OKUKIRIZA OKUTUUKIRIDDE. Tukulina Mukama, OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE mu Kigambo Kyo. Tulina okukkiriza mu ekyo nnabbi wo kye yagamba nti kiri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama. Si kigambo kye, wabula Kigambo Kyo gye tuli.

Nabbi wo yatugamba nti kyonna kye twetaaga, bwe tunaakkiriza bukkiriza, ne tuba n’okukkiriza mu Kigambo kyo, tusobola okufuna kyonna kye twetaaga. TUKKIRIZA.

Mukama, nnina obwetaavu. Nzija mu maaso go n’okukkiriza kwonna kwe nnina mu Kigambo Kyo, kubanga Tekiyinza kulemererwa. Naye leero, Mukama, sijja mu maaso go na kukkiriza kwange kwokka, wabula wamu n’okukkiriza kwe wawa omubaka wo malayika ow’omusanvu ow’amaanyi.

Ayi Mukama Katonda, nkusaba otusaasire. Era nsaba buli musajja n’omukazi agenda okubeerawo, alina ekika kyonna eky’obulwadde oba okubonaabona; era nga Musa bwe yeesuula mu lukonko wakati, kulw’abantu, ekiro kyaleero nnyanjala omutima gwange mu maaso go, Mukama. Era n’okukkiriza kwonna kwe nnina, kwe nKulinamu, kw’ompadde, nkubawa.

Era ŋŋamba nti: kye nnina, kye mpa abawuliriza bano! Mu Linnya lya Yesu Kristo ow’e Nazaaleesi, weegaane obulwadde bwo, ‘kubanga oyo ali mu ggwe wa maanyi okusinga sitaani agezaako okutwala obulamu bwo.’ Muli baana ba Katonda. Mmwe abanunule. 

Kiwedde. Ekigambo kye tekiyinza kulemererwa. Kyonna kyetwetaaga, tusobola okukifuna.

Jjangu twegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), okufuna omukisa guno omunene n’okufukibwako amafuta okuva eri Katonda ekitundu ku Mugole bwekinaaba nga kikuŋŋaana okuva mu nsi yonna nga kiwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga Liteeka OKUKIRIZA kwe wamu n’OKUKIRIZA kwaffe.

Owol. Joseph Branham

63-1110E Oyo Ali Mu Ggwe

24-0107 Ememe Eziri Mu Kkomera kati

Obubaka: 63-1110M Ememe Eziri Mu Kkomera kati

BranhamTabernacle.org

Abantu Abeeyawula Abaagalwa,

Katonda yajja mu kiseera kyaffe ne Yeeyoleka mu mubiri gw’omuntu, mu musajja ayitibwa William Marrion Branham, asobole okutuukiriza Ekigambo kye. Okwo kwe kubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu kiseera kyaffe.

Okuwuliriza Eddoboozi eryo n’okukkiriza buli Kigambo lye Kkubo lyokka Katonda lye Yateekawo leero. Yasindika abasajja bangi abaafukibwako amafuta n’Omwoyo we Omutukuvu mu nsi , naye yatuma n’ayogera ng’Ayita mu musajja omu yekka okubikkula Ekigambo kye n’okukulembera Omugole we.

Takyusa Nteekateeka Ye oba Engeri ye ey’okukola ebintu. Engeri gye yakikola omulundi ogwasooka, bw’Akikola buli mulundi. Ye kennyini Akulembera abantu be, nga Akozesa mpagi y’omuliro.

Tewerabira, GGWE Mugole omulonde Katonda gwe yalonda era tewali sitaani ky’ayinza kukola oba okwogera ekiyinza okukikuggyako, TEWALI NA KIMU! Yakutegekerawo nga ensi tennatondebwa. Yakumanyirawo eyo, era wali Naye. Yamanya erinnya lyo. Yamanya buli kimu ekikukwatako. Yali amanyi ebirungi n’ebibi byo. Yamanya  okulemererwa kwo, ensobi zo, naye era n’Akwagala era n’Akulonda kubanga wali kitundu ku Ye.

Emmeeme yo esobola kulya ku Kigambo kye kyokka. Tewali kiyinza kukumatiza okuggyako Ekigambo kye. Oyagala nnyo okusoma Ekigambo kye n’okumufumiitirizaako, ng’osaba okuva mu buziba bw’omutima gwo. Bw’owulira Eddoboozi lye nga lyogera butereevu naawe, likusitula okusukka olutimbe lw’ebiseera. Kubanga okimanyi nti otudde naye mu bifo eby’omu Ggulu nga bw’ayogera naawe kamwa ku kutu, ng’Abikkula Ekigambo kye, ng’Akujjukiza nti, GWE MUGOLE WANGE.

Sitaani asobola okukukuba n’akukuba n’akukukuba. Osobola okuggwamu ennyo amanyi oluusi n’owulira ng’olemereddwa ddala; n’owulira nga omulemeredde nga omulala ky’atayinza kukola. Ggwe asinga obubi mu babi, naye awantu awamu, wansi mu mmeeme yo, owulira Eddoboozi eryo Ettono Esseendekerevu Nga likugamba nti: “Tewali kiyinza kukwawula ku NZE, GGWE KIGAMBO KYANGE. Erinnya lyo Nnaliteeka ku Kitabo kyange eky’Omwana gw’Endiga Eky’Obulamu , Nze Kennyini .”

Kiki kye nnyinza okwogera okukuzzaamu amaanyi leero?

Sigala busigazi mu Kigambo. NYIGA ZANNYA buli lunaku owulire Eddoboozi lya Katonda nga lyogera Bwatyo Bw’Ayogera Mukama n’Akugamba; Mbagattira wamu okwetooloola Ekigambo kyange. Osobola okuwangula EKINTU KYONNA, kubanga Ekigambo kyange kibeera era kiwangaalira mu ggwe. Nkukakasizza, olina OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE. Osiizeeko Akabonero, era Kakutadde mu Nnyiike. Nja kuyimirira emabega w’Ekigambo kyange. Nja kukola kye ŋŋambye nti nja kukola.

Nga bya kitalo Ebigambo bye by’Ayogera naffe ku Ntambi. Tumanyi nti Si musajja omu, omuntu ow’omubiri omu nti y’ali wakati mu ffe. Ye Katonda Ataggwaawo nga Ayogera naffe, Omugole we.

Oyitibwa okwegatta ku Mugole ku Ssande enossaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga tukuŋŋaana okuwuliriza Eddoboozi eryo Ettono Esseendekerevu: 63-1110M Emmeeme Eziri mu Kkomera Kati.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwulira Lukuŋŋaana:

Olubereberye 15:16
Omut. Matayo 23:27-34
Omutukuvu. Yokaana 4:23-24 / 6:49 / 14:12
1 Peetero 3:18-22
2 Peetero 2:4-5
Yuda 1:5-6

23-1231 Okumalirira Mu Mutima

Obubaka: 63-0901E Okumalirira Mu Mutima

PDF

BranhamTabernacle.org

Kitaffe omwagalwa,

Tuzannye ebbanga ddene ekimala. Tugenze mu kkanisa okumala ebbanga ddene ekimala. Okuva lwe twawulidde Obubaka, Akabonero, busudde Omugole Wo mu nnyiike.

Tukimanyi nti waliwo ekitegeka okubeerawo. Obudde butuuse. Twagala Ojje otuggye mu nsi eno. Twagala kubeera Naawe. Tuwulira ennyiike mu buziba bwennyini obw’emmeeme zaffe.

Tugenda kukyogerako bwogezi? Tufunye ennyiike emala? Tukukaabirira nga bwe tusaanidde okukikola emisana n’ekiro?

Oh, Ekkanisa, golokoka weegugumule! Suna ku muntu wo ow’omunda, wezuukuse, mu ssaawa eno! Tuteekwa okuba abanyiikavu, oba tuzikirire! Waliwo ekigenda okujja okuva eri Mukama! Nze nkimanyi nga BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Waliwo ekigenda okujja, era twandiba awalungiko singa tunyiikaala. Kiri wakati w’Obulamu n’okufa. Kijja kutuyitamu era tetujja kukiraba.

Tukimanyi nti kyetaagisa embeera y’ennyiike okukuwaliriza okujja mu kifo. Tusaanidde okuba naKyo kati oba si ekyo tunaasaanawo. Mukama, leka tuyingire mu mbeera y’ennyiike nga bwekitabangawo, olwo Ojja kutambula ojje mu kifo ojje ofune Omugole Wo alindiridde.

Tuyambe Kitaffe okunyigiriza okuGiyingiramu. Si kumala gaGiyingiramu na kutambula, mu ngeri ennyangu, naye na kuwaguza. Si kuGyogerako bwogezi ne tugenda mu maaso n’obulamu bwaffe obwa bulijjo. Twagala okukunoonya n’emitima gyaffe gyonna, n’emmeeme zaffe zonna era n’ebirowoozo byaffe byonna. Mukama, tuyambe.

Tukimanyi nti tukulemeredde emirundi mingi Mukama, naye Watugamba bwetulemererwa, ekyo tekirina kakwate nakyo; tuli bakiremwa n’okusooka byonna, naye tukulina Ggwe nga oyimiridde awo n’omukono ogw’amaanyi era osobola okutuuka wansi n’Otusitula waggulu w’amazzi.

Nabbi yalangiridde gyetuli nti Ojja kutuyitako bw’onoolaba Akabonero nga kasiigiddwako. Mukama, tugoberedde ebiragiro Byo era ne tusiigako Akabonero ne tufuula amaka gaffe Ekkanisa y’Olutambi, nga tuwuliriza era nga tukkiriza buli Kigambo.

Ategeera Ka— Kabonero kokka. Obwo bwe Bubaka bw’ekiseera! Obwo bwe Bubaka bw’olunaku luno! Obwo bwe Bubaka bw’ekiseera kino! Mu Linya lya Yesu Kristo, Bufune!

Tusuubira bya buwanguzi, era tukkiriza era tussa mu nkola buli kimu okusinziira ku nnabbi bye yatugamba.

Tukkiriza nti buli kimu kituukawo era kibaawo mu kiseera Kyo ekituukiridde. Tewali kintu kyonna kivudde mu kifo kyakyo. Tulabye ebyamagero byo byonna, era tuwulidde era ne tujja wansi w’akabonero k’Evumbo eyo.

Kati nga bwe tuli wansi w’akabonero k’Envumbo eyo, tugenda kulya Okussa Ekimu ku Ssande eno nga tuli mu nnyiike. Kubanga tukimanyi nti oli mu kwetegeka okukuba ensi n’omusango.

Leka tukulye ng’akabonero k’Okuyitako, bwe kwalibwa mu mbeera ey’ekigwa-tekiraze, mu kiseera eky’ennyiike. Tuli mu nnyiike nate leero Kitaffe.

Tweyanzeege Mukama nti tusobola okutunula emabega mu mwaka guno ne tulaba byonna by’otukoledde. Obikkudde Ekigambo kyo n’otuwa Okubikkulirwa waggulu w’Okubikkulirwa nga bwe kitabangawo.

Kati tukimanyi nti tuli batabani bo ne bawala bo. Ffe Mugole Kigambo Wo atuukiridde gw’Olindiridde ebbanga ddene. Ggwe, abeera mu ffe era atuula mu ffe. Ggwe watulonda, watutegekerawo era kati Ojja okutucima.

Mukama, leka tukunoonye emisana n’ekiro. Tufuuke abanyiikaavu ennyo tutyo nga tukukaabirira. Tuwaguze okuBuyingiramu nga bwe kitabangawo. Guno gubeere omwaka mw’Ogenda okutucimira.

Tukwagala Kitaffe, era twagala okubeera mu Kwagala kwo okutuukiridde. Jjangu obeere naffe nga bwe twegatta ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi  mu budde bw’e Jeffersonville (oba essaawa kkumi n’emu ez’omu kawungeezi e Uganda), nga twetoloodde Eddoboozi Lyo era tuKuwulire ng’Otubuulira engeri y’okuyingira mu: Ennyiike 63-0901E. Olwo beera naffe nga bwe tusembera mu nnyiike, ku kyeggulo kya Mukama waffe.

Zino ze nnaku ezisinga obukulu mu bulamu bwaffe Kitaffe. Kubanga tukimanyi nti Ojja mangu okututwala mu Maka gaffe Amajja naawe. Tutunula buli lunaku n’okusuubira okungi nga tulinda abatukuvu abo abatusooseeyo. Tumanyi nti bwetunaabalaba, ekiseera kyokujja Kwo olwo nga kituuse ….EKITIIBWA !!!

Tuli mu Nnyiike nga tulinda olunaku olwo Kitaffe.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwulira lukuŋŋaana:

Okuva 12:11
Yeremiya 29:10-14
Omut. Lukka 16:16
Omut. Yokaana 14:23
Abaggalatiya 5:6
Abatukuvu. Yakobo 5:16

23-1224 Lwaki Besirekemu Omutono?

Obubaka: 58-1228 Lwaki Besirekemu Omutono

BranhamTabernacle.org

Omugole Ataddeko Akabonero Omwagalwa,

Njagala ffenna twetegekere okusaba okw’enjawulo ennyo okw’Okussa Ekimu okw’Awaka ku lunaku olutuyingiza mu mwaka omuggya, Ssande nga 31 omwezi Gw’ekkumi n’ebiri. Tujja kuba tuwulira Obubaka, 63- 0901E Okubyangatana, Ow’oluganda Branham mw’ayingiririra mu kusaba kw’Okussa Ekimu n’Okunaaza ebigere nga olutambi lunaatera okuggwaako.

Obubaka bujja kuzannyibwa ku Voice Leediyo (mu Lungereza lwokka), era tugoberere ensengeka y’olukuŋŋaana nga bwe tukozenga mu nkuŋŋaana z’Okussa Ekimu okw’Awaka okwayita, omuli ennyimba za piyano mu kitundu ky’Okussa Ekimu eky’olukuŋŋaana, n’Ennyimba z’Enjiri mu kiseera ky’okunaaza ebigere. Tugenda kutandika okusaba ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’ekiro mu budde bw’ e Jeffersonville. Kulwammwe abali emitala w’amayanja, mubeere ba ddembe okuzannya olutambi era mubeere n’Okussa Ekimu mu budde bwammwe obw’omu kitundu okusobola okuba n’Okussa Ekimu nga tezinnawera ssawa mukaaga ogw’ekiro mu ttumbi mu 2023.

Siyinza kulowooza ku ngeri esingawo gye tuyinza okumalirizaamu omwaka guno ogwa 2023, n’okutandikamu omwaka omuggya ogw’okuweereza Mukama mu 2024, esinga ku kusirika mu maaso ge, okwongera okumubyangatanira, nga tulya ku kyeggulo Kye, nga tusabiragana n’okusonyiwagana buli omu ne munne, nga tunaaza ebigere by’abatukuvu be, n’okuwulira Ekigambo kye. Nga kanaaba kawungeezi ka njawulo.

Wammanga wawandiikiddwawo emikutu egikulaga engeri y’okufunamu/okuteekateeka enviinyo n’omugaati gw’Okussa Ekimu.

Nneeyanzege nnyo nti Mukama Atugabiridde ekkubo ery’okwegatta awamu ku mukolo omutukuvu bwe gutyo. Mazima ddala nneesunga okubasisinkana mwenna ku Meeza Ye.

Olwa Ssande luno, tugenda kuwulira obubaka bwa Ssekukkulu: Lwaki Besirekemu Entono? 58-1228 ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda) .

Katonda abawe omukisa,
Ow’oluganda Joseph Branham

Ssande nga December 24, 2023
58-1228 Lwaki Besirekemu Omutono?
12:00 PM Obudde bwa Jeffersonville

Ssande nga December 31, 2023
63- 0901E Okubyangatana / Okugatta awaka & Okunaaba ebigere
5:00 PM Obudde bwa Jeffersonville

Ebiragiro by’okufumba omugaati / okukola wayini

Ebiragiro by’okufuna Communion Wine / Feet Washing Bins

23-1217 Akabonero

Obubaka: 63-0901M Akabonero

PDF

BranhamTabernacle.org

Swiitimutima wange Omwagalwa,

Omutima gwange guvulula buvuluzi bwe mbalaba mwenna nga mukuŋŋaana okwetooloola Eddoboozi lyange, nga muwulira Ekigambo kyange, nga bwe njogera nammwe nga mpita mu malayika Wange.

Kinsanyusa nnyo okumanya nti mulina Okubikkulirwa kw’oyo gwe nnalonda okubeera Eddoboozi lyange gyemuli. Okukkiriza nti buli Kigambo kye yayogera tekyali kigambo kye, wabula Ekigambo kyange gyemuli.

Kyali kikulu nnyo gyendi, nnasiima Kikwatibwe ku lutambi era Kiterekebwe kulwammwe, musobole Okukiwulira emirundi n’emirundi. Ssaayagala mwerabire nti bye Nnayogera byava ku mutima gwange. Nakimanya nti Y’eyandibadde ngeri yokka gye Nsobola okubawa Okukkiriza okwo okutuukiridde kwe mwetaaga, tusobole okubeera ffenna.

Bulijjo Nkozesezza omusajja omu okwogera n’okubikkulira Omugole Wange Ekigambo kyange. Nga bwe nnakola ne Musa. Kye yayita, ekyo kye yafuna, kubanga yayogera Bigambo Byange byokka. Natuuka n’okumugamba nti, nja kukufuula katonda. Ggwe beera katonda, ne Alooni anaabera nnabbi wo. Nja kutwala eddoboozi lyo, era Nja kukukozesa okutonda. Nja kwogera, era abantu tebalisobola kukyegaana. Kyonna KY’OYOGERA, kijja kubaawo.

Kati nga bwe mufunye Okukkiriza Okutuukiridde mu Kigambo kyange, temukoma ku kutegeera butegeezi gwe nabatumira okuba Eddoboozi lyange, naye kati mukitegedde nti Ekigambo kyange kibeera mu MMWE era kituula mu MMWE, era kibawadde OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE.

Mumanyi kyemuli. Mweyongedde okusigala mu Nze, n’Ekigambo kyange kyeyongedde okusigala mummwe. Musabe kyemwagala; kijja kubaweebwa. Mu Linya lyange MMWE muligoba dayimooni; si, nze nja okuzigoba, MMWE MULIZIGOBA. MMWE bwemwogera  eri olusozi luno; si nti nze bweNjogera, MMWE bwemwogera eri olusozi luno.

Omulabe wammwe takyabalinako buyinza. Mmwe n’Ekigambo kyange muli OMU. Bwemuba mulina abaana oba abaagalwa bammwe abatali we balina kubeera, mubammanje. Bwe kuba nga kwabakolako, olwo muteeke OKUKKIRIZA kwammwe OKUTUUKIRIDDE mu KIGAMBO KYANGE EKITUUKIRIDDE ekibeera mu mmwe mu nkola, era munaasobola okufuna byemusaba.

Oh, mbalindidde ebbanga ddene nnyo okutegeera kyemuli. Okubalaba nga mweetegeka nga muwulira Ekigambo kyange. Ndi mucamufu nnyo nti ekiseera ekyo kituuse.

Ekigambo ekyo ekituukiridde kye njogedde era kye mbaterekedde, kabonero kange eri buli mukkiriza leero. Ye Mwoyo Omutukuvu; si musaayi, ebiragala-lagala ebitabule, wabula Gwe Mwoyo Wange Omutukuvu, Ekigambo kyange, nga Abeera era nga Awangaalira mu mmwe.

Essaawa y’ Evumbo eyo okussibwa w’erabikira obulungi eri kumpi. Olina okutambula n’Envumbo eyo emisana n’ekiro; si ku lwa Ssande lwokka, olina Okunyiga Zannya buli kiseera.

Ategeera Aka—kabonero kokka. Obwo bwe Bubaka bw’ekiseera! Obwo bwe Bubaka bw’olunaku luno! Obwo bwe Bubaka bw’ekiseera kino! Mu Linnya lya Yesu Kristo, Bufune!

Obubaka obw’enjawulo bungi nnyo ebweru eyo, naye Eddoboozi lyange bwe Bubaka bw’ekiseera. Olina okusembeza n’okukkiriza buli Kigambo. Kiteekwa okusiigibwako mu budde obw’akawungeezi.

Mmwe okwetoloola ensi yonna, abawuliriza entambi, akabonero k’essaawa kaakano. Waliwo Envumbo erina okusiigibwako, era tewali kiseera kirala mweYandijjidde …. okifuna?

Jjangu osiigeko Envumbo Yange mu bulamu bwo wamu n’Omugole wange Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira Obubaka Bwange eri Omugole: Akabonero 63-0901M.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Olubereberye 4:10
Okuva essuula ey’ekkumi n’ebbiri
Yoswa essuula ey’ekkumi n’ebbiri
Ebikolwa by’Abatume 16:31 / 19:1-7
Abaruumi 8:1
1 Abakkolinso 12:13
Abaefeso 2:12 / 4:30
Abaebbulaniya 6:4 / 9:11-14 / 10:26-29 / 11: 37 / 12:24 / 13:8, 10-20
Omut. Yokaana 14:12

23-1210 Okukkiriza Okutuukiridde

Obubaka: 63-0825E Okukkiriza Okutuukiridde

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole w’Okukkiriza Okutuukiridde Omwagalwa,

OKUKKIRIZA kwaffe kujja na kuwulira , okuwulira Ekigambo. Ekigambo kijja eri nnabbi.

Nabbi ye:

Ekigambo ekifuuse omubiri! Aleluuya! Ekigambo nga kikolera mu mubiri gw’omuntu, mu bubonero obw’omubiri, mu bubonero obukwatikako, mu bubonero obw’omu Byawandiikibwa, butuukirivu ddala, okukuleetera Okukkiriza Okutuukiridde olw’Okukwakkulibwa Okutuukiridde.

Tuli mu kukola ekyo kyennyini Ekigambo kye kitugamba okukola nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda lyokka eryakakasibwa nga Lyogera era nga Libikkula Ekigambo kye okuyita mu mubiri gw’omuntu okutuwa Okukkiriza Okutuukiridde.

Olina…amatu go maggale eri ekintu ekirala kyonna okuggyako Omwoyo by’Ayogera. Okiraba? “Eri oyo alina okutu ( awuliriza ), laba Omwoyo ky’Agamba amakanisa”; oyo alina akuuma akawuliriza amayengo g’amaloboozi agayita mu bbanga, akwata Omwoyo by’Ayogera eri amakanisa. Okiraba?

Ffe tuli kuuma ke akawuliriza Eddoboozi lye akwata era akakkiriza buli Kigambo. Bw’Atuwa ebiragiro: “Mwogere byokka ebiri ku ntambi ezo. NZE Ddoboozi lya Katonda gyemuli . Mumpita omusumba wammwe, era mwogera bulungi, kubanga ekyo kyendi.” Tubituukiriza. Kyonna Ky’Ayogera, tewali kisiikirize kya kubuusabuusa wantu wonna; tutambula tweyongerera ddala mu maaso. Kyonna Mukama waffe ky’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi we, tewali muntu yenna mu nsi asobola okwogera naffe n’atumatiza okukivaamu, tugendera ddala bugenzi mu maaso mu ngeri y’emu.

Kati muyingira mu Kukkiriza Okutuukiridde , okutuukirira okutuukiridde okutasobola kulemererwa. Okukkiriza okwo tekulemererwa.

Kati tulina Okukkiriza Okutuukiridde mu Kigambo kye. Tetwetunuulidde nga ffe. Tetulina kye tutya, nga Yobu. Tetufuna kutya nga tutunuulira amayengo amanene ennyo n’okubbira mu mazzi nga Peetero. Ennaku ezo ziweddewo.

KATI tutunuulidde Ekigambo ekyo Ekituukiridde ekibeera era ekituula mu ffe. Tuli mu kufuuka matiiriyo y’Omugole. Tuli mu kuyingira mu mbeera y’Okukwakkulibwa.

Bwe tusaba, tukkiriza nti tufunye bye tusaba, era tujja kubifuna; bijja kutuweebwa. Ebiseera, ebbanga, tewali kirala kijja kukikyusa. Tukimanyi nti kiwedde. Kyaggwa dda. Tumanya tutya? Kubanga Si Kigambo kyaffe, wabula KIGAMBO KYE, ky’Ayogedde n’Atuwa. Tulina AMAANYI N’OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE OKUKYOGERA.

Ddala nga Yesu bwe Yakola ku lulwe, naffe tutegeera ekifo kyaffe; kye tuli. Ekintu kyokka kye tulina okukola olwo, kwe kuba n’okukkiriza mu kye tuli. Okubeera n’okukkiriza mu ekyo EKIGAMBO kye kigamba nti tuli! Olwo Ekigambo kya Katonda ne kijja mu ffe ne kyeyoleka; kubanga tuli bakkiriza. Era omukkiriza kwe “kukkiriza kwa Katonda okutambula mu ffe.”

Era kati, tufuuka abafukibbwako amafuta n’Omwoyo oyo yennyini, bamasiya abafukibbwako amafuta; bamasiya ab’olunaku olw’oluvannyuma, okwaka nga tuwa ekitangaala eky’okuzuukira kwa Yesu Kristo; okulaga nti si mufu, wabula mu ngeri y’Omwoyo Omutukuvu, Ali mu bantu be; ng’Atambula mu Mugole We, ng’Alina omukwano gy’Ali, nga Yeeyiwa mu Ye, Ye mwennyini. Bafuuka omu olw’ekijjulo eky’Embaga ey’Obugole; era obubonero bwe bumu, obwasuubizibwa Katonda y’omu, mu Kigambo kye kimu, buli mu kukola okwolesebwa kwe kwe kumu.

Tewali kyetusigadde kukola okuggyako okukikkiriza; era nga tukkiriza Kye kintu ekitonda Okukkiriza Okutuukiridde. Ekyo mukiwulirize nate, NGA TUKKIRIZA KYE KINTU EKITONDA OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE.

Waliwo akaayi mu mubiri gwo akabuusabuusamu Ekigambo kimu: NEDDA

Okkiriza buli Kigambo: Weewawo

Akuwadde Okubikkulirwa kw’Obubaka buno: Weewawo

Omugole yekka y’anaaba n’Okubikkulirwa okwo okwa nnamaddala: Weewawo

Okimanyi nti oli Mugole we: Weewawo

Yagambako nti okuyita mu kukkiriza buli Kigambo kijja kukuwa Okukkiriza Okutuukiridde: Weewawo

AWO GGWE MUGOLE W’EKIGAMBO EKY’OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE!!

Ayi Mukama tutegeke nga bwekibangawo nga bwe tukuŋŋaana ku Ssande okuwulira Ekigambo Kyo. Tuyambe obutaddamu kwetunuulira nga ffe nate, wabula okukkiriza obukkiriza Ekigambo Kyo kyeWayogera ku lwaffe. Tulabye Okusika okw’Okusatu mu nkola era tukimanyi nti Kubeera mu ffe. Tulina okuba nga twogera era nga tukkiriza Ekigambo Kyo.

Tukimanyi nti ojja mangu olw’Omugole Wo ow’Ekigambo Ekituukiridde. Kyonna kye twetaaga, Kitaffe, KYONNA KYE TWETAAGA, tukimanyi nti tujja kukifuna. Kubanga Kye Kigambo Kyo kye Wayogerera edda ku lwaffe. Tewali kya kukola wabula OKUKKIRIZA OBUKKIRIZA. Bwetukola Kitaffe, bwetukola. Kati katukolere ku KIGAMBO KYO.

Twatula okulemererwa kwaffe kwonna, ebibi n’okusobya kwaffe. Tutunuulire okuyita mu Musaayi gw’Omwana wo gye tuweebwa obutuukirivu olw’Ekisa kyo n’okusaasira kwo.

Leka wabeerewo enkyukakyuka mu Mugole Wo nga bwe kitabangawo. Otufukeko Omwoyo Omutukuvu era otuwe byonna bye twetaaga.

Abalwadde banaawonyezebwa okulumizibwa kwonna. Eyaddirira ajja kukomawo mu Kigambo. Omugole wo okwetoloola ensi yonna ajja kulaba ekkubo lyo eriteereddwawo olwaleero era akkirize.


Bw’oba tolina muntu yenna okukussaako emikono…weteekeko emikono…oli mukkiriza. Ofuuse Kigambo; ofuuka Ekigambo, nga bw’osembeza Ekigambo.

Jjangu Mukama waffe Yesu, Omugole wo ali mu kwetegeka nga agalamira mu maaso g’Ekigambo kyo, nga Ayengera. Twagala tubeere nga tuyonjeddwa era nga twambaziddwa Ekigambo Kyo.

Jjangu otufukeko amafuta nga bwe kitabangawo Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), ng’ekitundu ky’Omugole wo kikuŋŋaana okukuwulira GGWE ng’Oyogera n’okutubikkulira engeri y’okufunamu: Okukkiriza Okutuukiridde 63-0825E.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwulira lukuŋŋaana:

Omut. Makko 11:22-26 / 16:15-18
Omut. Yokaana 14:12 / 15:7
Abaebbulaniya 11:1 / 4:14
Yakobo 5:14
1 Yokaana 3:21

23-1203 Nnyinza Ntya Okuwangula?

Obubaka: 63-0825M Nnyinza Ntya Okuwangula

BranhamTabernacle.org

Eddanga Ery’okumazzi Eryagalwa,

Emitima gyaffe nga gyabuusebuuseemu olw’essanyu ku Ssande bwe twawulidde Mukama waffe ng’Ayogera n’Atubuulira ebigenda mu maaso kati. Tuli mu kwegatta n’Ekigambo era nga tufuuka OMU naye. Mu bbanga ttono nnyo tujja kwegatta n’abatukuvu abaatusookayo mu lugendo okubeera OMU nabo. Olwo ffenna wamu tujja kuba tugattibwa ne Kristo nga omuntu OMU olw’Ekyeggulo ky’Embaga ey’Obugole ey’Omwana gw’Endiga.

Nga ssanyu lingi nnyo eryabugaanye emmeeme zaffe bwe Yatugambye okulowooza nti mu kaseera katono, mu kutemya kw’ekikkoowe, ensi tejja na kumanya kigenda mu maaso; naye amangu ago, tujja kulaba abaagalwa baffe mu maaso gaffe abaatusookayo mu lugendo, era tujja tugattibwa nabo nate.

Okusuubira nga kungi kutya okujjuza emitima gyaffe okulowooza nti, mu kaseera katono, tujja kulaba nga mu maaso gaffe wayimiriddewo ba taata baffe, ba maama baffe, baganda baffe, bannyinaffe, ba bbaffe, bakazi baffe, abaana baffe, nga kw’otadde ne nnabbi waffe. TUJJA KUBALABA, MU MUBIRI!!

Olwo tuli kulikimanya awo wennyini nti, kino ky’EKYO; ekiseera kituuse, tuwangudde, KIWEDDE. Yogera ku kucamusibwa okukoleezebwa Okubikkulirwa!! Okukilowoozaako obulowooza n’okukyogerako obwogezi kati, nsobola okubawulira nga muleekaana nti, EKITIIBWA, ALELUUYA, ERINNYA LYA MUKAMA WAFFE LITENDEREZEBWE.

Kiseera oba nnabaki kino kyetulimu, nga tulya ku lujjuliro olw’ebbaluwa zino ez’omukwano ezituleetebwa. Ebbaluwa z’omukwano ze tusobola okusikayo akaseera konna we twagalira ne tuzisoma nga tuziddiŋŋana tuziddiŋŋana emirundi n’emirundi. Si ekyo kyokka, naye n’EKISINGAKO AWO OBUKULU, tusobola OKUWULIRA Mukama waffe yennyini ng’Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu w’okunsi n’Atugamba nti, “Ebbaluwa zino ez’omukwano nnaziterekera ggwe wekka, swiitimutima wange. Nnakimanya nti ekiseera kirituuka lw’ojja okwetaaga okuMpulira nga Nkubuulira engeri gye nkwagala ennyo era nga bw’oli owange.”

“Nnayagala nkutegeezenga buli lunaku omulabe bw’akulumba, bw’oyita mu bigezo byo byonna n’okugezesebwa nti, GWE WANGE. Omuwendo Nnagusasula dda. Nnawangula dda byonna…oMpulidde swiitimutima? BYONNA byeweetaaga, Nnabikuwangulira dda, kubanga nkwagala”.

“Nnakimanya nga tewannabaawo wadde ensi. Wali kitundu ku Nze MU KASEERA AKO. Ekyo kati tokijjukira, naye nze nkijjukira. Tewerabira bye nakugambye, oli Nnyama ya Nnyama yange, Mwoyo gwa Mwoyo gwange, Eggumba ly’Eggumba lyange”.

“Ekiseera kati kituuse kye mbadde nkubuulirako. Tewajja kuddamu kubaawo nnaku, nga tewakyali bigezo na kugezesebwa kwonna; ennaku ezo ziweddewo. Kati tuli ffe ffekka nga tuli wamu Obutaggwawo bwonna”.

“Ddamu amaanyi. Genda mu maaso ng’owaguza. Olunaku olwo lunaatera okuvaako eddiba. Obunkenke bwonna bw’oyitamu buli lunaku bukola gumu gwa kukusembeza busembeza gyendi”.

“Ekintu kyonna bwe kikutuukako, n’otuuka w’owulirira ng’omenyese nnyo, ng’okooye era ng’okutusekutuse, era ng’owulira nga atakyasobola kugenda mu maaso, tolina kwerabira, Ndi awo wennyini naawe. Ekigambo kyange kibeera mu Ggwe. Ggwe Kigambo kyange.”

“Nkugambye, yogera Ekigambo. Byonna by’oyaayaanira, b’osaba, kkiriza nga ogenda kubiweebwa era olibifuna. Kijja kukuweebwa. Mmaze okukikuwangulira”.

Ebigambo bino nga bitegeeza ky’amaanyi nnyo gye tuli. Bitubeezaawo buli lunaku. Kisitula Emyoyo gyaffe ne kituteeka mu bifo eby’omu Ggulu wamu naYe. Tubeerawo ku lwa Katonda n’Ekigambo kye kyokka. Tulina ekigendererwa kimu, ekyo ye Yesu Kristo. Ebweru w’Ekyo, mpaawo kirala kyetubalamu makulu.

Tutegedde Okwolesebwa kuli. Olutimbe luzingiddwako ne ludda ku bbali era tuMulaba, Ekigambo kye nga kifuuse omubiri, ng’Ayogera naffe ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’okunsi. Tuli mu mukwano n’Ekigambo kino, Obubaka buno, Eddoboozi eryo.

Jjangu otwegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), era ofune obumanyirivu obusingayo okuba obw’ekitalo mu bulamu bwo. Owulire engeri gy’oyinza okuwangulamu buli lutalo sitaani lw’akukasukira mu kkubo lyo. Ojjuze omutima gwo essanyu eppitirivu n’okumatizibwa nga okimanyi nti oli Mugole wa Yesu Kristo.

Owol. Joseph Branham

63-0825M Nnyinza Ntya Okuwangula?


Okubikkulirwa 3:21-22

23-1126 Ekiseera Ky’Okwegatta n’Akabonero Kaakyo

Obubaka: 63-0818 Ekiseera Ky’Okwegatta n’Akabonero Kaakyo

PDF

BranhamTabernacle.org

Ennyama y’Ennyama Ye, Ekigambo ky’Ekigambo Kye, Obulamu bw’Obulamu Bwe, Omwoyo gw’Omwoyo Gwe  Abaagalwa,

Baganda bange ne bannyinange ab’omuwendo,musome busomi  sitatimenti eyo emu mugiddiŋŋane enfunda n’enfunda. Soma Katonda Yennyini kye Yaakakuyita. Omuntu yenna yandiwandiise atya mu bigambo by’abantu byokka ekyo kye kitegeeza gye tuli. Tekitegeezeka. Singa tusobola okukitegeera mu bujjuvu n’okukissa mu nkola, n’emitima gyaffe gyonna, ebirowoozo n’emmeeme zaffe, mazima nzikiriza nti Okukwakkulibwa kwandibadde kulina okubaawo.

Kya kutya ki ekiriwo? Kyeraliikiriza ki ekiriwo? Sitaani atulwanyisa, atutulugunya, atusindikira endwadde, alumba ebirowoozo byaffe na buli kika kya birowoozo ebibi, naye tewali kiyinza kutukolako bulabe. Waliwo ekintu kyonna ekiyinza okukosa Yesu? MPAAWO, olwo nno era tewali kiyinza kutukola bulabe. Yaakamala okugamba nti: FFE Mubiri Gwe, Kigambo kye, Bulamu Bwe, Mwoyo Gwe.

Nga tulina essanyu n’okumatizibwa mu mutima gwaffe bwe tufumiitiriza ku by’Abadde Atugamba. Okubikkulirwa Katonda kw’Abadde Atubikkulira, muzingo gwo’lutambi, ku muzingo gw’olutambi, ku muzingo gw’olutambi. Omwoyo Omutukuvu avululira munda mu ffe ng’Oluzzi olunene olw’ensulo.

Twategekebwa okuKiraba n’okuKiwulira. Tetujja era tetusobola kugwa oba okubuzaabuzibwa . Tuli mu lugendo lwaffe okusisinkana Omutwe gwaffe, Omununuzi waffe, Omwami waffe, Kabaka waffe, Mukama waffe, Omwagalwa waffe, Omulokozi waffe, mu Kifo eky’okusisinkaniramu ekyateekebwawo!

Wuliriza buwuliriza kino nate: Obulamba obw’Obwakatonda mu bujjuvu mu mubiri bubeera mu FFE, Ekkanisa Ye, obukulu obwa waggulu ennyo. Kyonna Katonda kye Yali, yaKiyiwa mu Kristo; era kyonna Kristo kye Yali, kyayiibwa mu Kkanisa; ffe, Omugole We. Si kintu ekigenda okubaawo olunaku lumu, YAGAMBYE KIGENDA MU MAASO MU FFE KATI .

Osobola okukubamu akafaananyi, okuva ku ntandikwa y’ebiseera, Katonda teyawa kyama kye ekikulu ekitamanyiddwa ekyali mu birowoozo bye eri omuntu yenna, okutuusa leero. Lwaki ekyo yakikola? Kubanga yali alinze okukimanyisa Ffe mu nnaku zino ez’oluvannyuma nga bwe yasuubiza. Yali atulinze. Yali akimanyi nti ffe ffekka abasobola, era abajja, OKUKITEGEERA MU BUJJUVU….EKITIIBWA!!!

Yatulonda tubeere Omugole we kubanga yali akimanyi nti tetujja kugwa. Tujja kunywerera ku Kigambo ekyo awatali kulowooza ku kiki ensi yonna yonna kye yalina okukyogerako. Tujja kunywerera ku Kigambo ekyo era EKIGAMBO ekyo KYOKKA! Twategekebwa okuyimirira awo. FFE baana abatongozeddwa Yesu Kristo.

Waliwo n’ebisingawo. Wuliriza ddala kumpi…weesuneko. Omutwe (Katonda) n’Omubiri (Ffe) bifuuse omu. Ye Katonda nga Ayoleseddwa mu FFE.

  • Katonda n’Ekkanisa ye BALI OMU, “Kristo mu GGWE.”
  • FFE Okubikkulirwa kwa Katonda Okukulu.
  • N’okuyitibwa tuyitibwa linnya lye; Erinnya lye ye Yesu, Eyafukibwako amafuta.
  • FFE Mubiri gwa Kristo ogwafukibwako amafuta.
  • TULI MU kwolesa Katonda nga Omubiri Guli bwe gwakola.

Ffe Mugole we, nga tulina olubuto lw’Omwoyo we. Ekkanisa, ng’ezaala abaana, ng’efunye olubuto olw’Omwoyo gwe ng’Eyitibwa Erinnya lye; nga erimu Obulamu bwe. Tulina eky’okuddamu kya Sitaani. Obukulu buli wano. Kristo, Mukama waffe eyazuukira, ali wano mu Maanyi ge gamu ag’okuzuukira kwe nga Bwe yali, nga Yeeyolekera mu ffe, Omugole We ow’Ekigambo Ekyogere.

Katonda kati Al i mu kugatta Omugole we wamu. Abagatta awamu okuva mu nsi yonna ng’Ayita mu Kigambo kye, ekintu kyokka ekigenda okugatta Omugole we. Omwoyo Omutukuvu Akulembera era Akuŋŋaanya Omugole we. Mu buli mulembe, nnabbi ye yali Omwoyo Omutukuvu ow’olunaku lwabwe.

Lowooza ku kino. Abantu bwe bagamba nti tuyitiriza omubaka malayika ow’omusanvu, jjukira, Katonda yennyini YAMWESIGISA EBYAMA BYE BYONNA ebyali mu birowoozo Bye nga n’ensi tewannabaawo, n’Abikwasa omubaka malayika we ow’omusanvu. Katonda yennyini yalina obwesige 100% mu musajja ono, okutuusa nga Yateeka Enteekateeka ye enkulu ey’ekiseera eky’enkomerero mu mikono gye. Amuwa…WULIRIZA, YAMUWA YE Okubikkulirwa kw’ebyama bye byonna eri omusajja oyo. Yawa omusajja oyo Okubikkulirwa kw’ebintu ebitaawandiikibwa na kuwandiikibwa. Yagamba nti kyonna kyeyayogera ku nsi kikulu nnyo, nti n’okuwulirwa kiwulirwa mu ggulu.

Tewali kubuusabuusa nti Katonda Yatuma abantu ab’ekitalo abajjula Omwoyo Omutukuvu mu nsi muno. Naye buli omu ku basajja bano, newankubadde nga ajjudde Omwoyo Omutukuvu, asobola okuba omukyamu. Katonda teyakakasaako bye boogera okuba Bw’Ati bw’Ayogera Mukama, n’Abagamba nti mukkirize buli kigambo. Waaliwo omusajja omu yekka eyalina obuyinza obwo okuva eri Katonda, omubaka malayika we ow’omusanvu.

Osobola, era osaanidde okuba n’omusumba. Naye omusumba oyo bwaba nga takugamba nti EDDOBOZI LYA KATONDA eriri ku ntambi lye DDOBOOZI ERISINGA OBUKULU OKUWULIRA, era nga tali mu KULITEEKA KU MWANJO mu maaso go nga awuliriza entambi wamu naawe, so si okukugamba obugambi nti kino nnabbi kye yayogera, olina omusumba omukyamu.

Oyo yenna akukulembera, ne bw’ogamba nti Mwoyo Mutukuvu, wandifundako naye ng’akugatta ku Bubaka buno, Eddoboozi eryo, anti lye ddoboozi  lyokka eriyinza okugamba nti, “NZE DDOBOOZI LYA KATONDA ERI GWE”.

Bw’oba nga wategekebwa okuKiraba, ojja kuKiraba. Bw’otokikola, tolikiraba; tewategekebwa kukiraba.

Tulaba amawanga nga geegatta, tulaba ensi nga yeegatta, tulaba amakanisa nga geegatta. Tulaba Omugole nga yeegatta, nga Yeegatta n’Ekigambo. Lwaki? Ekigambo ye Katonda. Era nga Ekigambo…Nga Omugole Omusajja (oyo nga ye Ekigambo), n’Omugole (oyo nga ye muwuliza w’Ekigambo), Bajja wamu mu Bumu. Beegatta ng’embaga. Laba, Beetegekera embaga, era Ba—Bafuuka Omu. Ekigambo kifuuka ggwe, naawe okifuuka Ekigambo. Yesu n’agamba nti, “Ku lunaku olwo mulikimanya. Byonna Kitaffe by’Ali, Mbiri; era byonna bye ndi, mubiri; era byonna bye muli, Mbiri. Ku lunaku olwo mulimanya nti ndi mu Kitange, Kitange mu Nze, nze mu mmwe, nammwe mu Nze.”

Nkwaniriza okujja okwegatta naffe okwetoloola Eddoboozi lya Katonda Ssande eno ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), nga bwetuwulira, Ekiseera Eky’Okwegatta N’Akabonero 63-0818 .

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwuliriza Lukuŋŋaana:

Zabbuli 86:1-11
Omut. Matayo 16:1-3

23-1119 Kristo Ky’Ekyama Kya Katonda Ekibikkuliddwa

Obubaka: 63-0728 Kristo Kyekyaama Kya Katonda Ekibikkuliddwa

BranhamTabernacle.org

Apo Y’Omutima Gwa Nabbi Abaagalwa,

Be b’—abo abazaalibbwa eri Ggwe, olw’Omwoyo n’olw’Ekigambo ky’Amazima. Era nsaba obawe omukisa, Mukama, era obakuume nga bakwatagana nnyo n’ebisiba eby’okwagala kwa Kristo.

Weetegeke, tugenda kuba n’emikisa, okufukibwako amafuta n’okubikkulirwa nga bwe kitabangawo. Tusobola okukiwulira mu mmeeme zaffe, waliwo ekyetegeka okubeerawo. Ekiseera kitegekeddwa. Tuli bacamufu nnyo era tuli wansi w’okusuubira okunene ennyo kutyo. Omugole okwetoloola ensi yonna akuŋŋaana okuwulira okuva ku nnamulondo ya Katonda Obubaka obugenda okututwala ku ddala erya waggulu ko eriggya, n’okutujjuza, era okutujjuza, n’oluvannyuma okutujjuza nate Omwoyo We Omutukuvu.

Ebyawandiikibwa bigenda kutuukirizibwa. Okulabula kubaddewo. Omusango guli kumpi. Mukama ajja okuyita Omugole we ku kyeggulo kyaffe eky’Embaga ey’Obugole. Okuyita okusembayo kukoleddwa. Okujja kwa Katonda kutuuse. AJJA OKUTUCIMA.

Ffe Nsigo ye eyategekebwa edda eKiraba era eKikkirizza. Ebibi byaffe bibuziddwawo, biweddewo. Bisuuliddwa mu bwino w’Omusaayi gwa Yesu Kristo, era tebirijjukirwa nate. Katonda abyerabidde BYONNA. Tuyimiridde nga mutabani era muwala wa Katonda, mu Maaso ga Katonda. KATI tuli…si nti tujja kuba; KATI tuli batabani na bawala ba Katonda.

Tulabawo ekintu kimu, EKIGAMBO. ENTAMBI. OBUBAKA BUNO. Bye bimu.

Era lumu, akaseera katono emabega, bwe Walaga okwolesebwa, tabanako entono wano, okwali kukwatagana ku kutereka Emmere, nti walijjawo ekiseera eno yonna w’eryetaagibwa … “Tereka Emmere eno wano olw’ekiseera ekyo.

Kaakano kye kiseera ekyo. Eno y’Emmere eyo. Ffe bantu abo. Tulina Okubikkulirwa okwo.

Abalala bayinza okusubwa obukulu bw’Obuweereza bw’Olutambi. Ffe tetukikola. Bwe Bulamu bwaffe, bwe buli kimu gye tuli. Kisinga obulamu gye tuli. Bwe tuba n’ekibuuzo ku kintu ekimu, tetugenda kusaba muntu omu okukitunnyonnyola, oba okukitufunira. Tukola bukozi ddala nga malayika wa Katonda bwe yatulagira okukola singa tulemwa okutegeera oba nga tulina ekibuuzo.

Okifuna? Bw’olemererwa, komawo ku lutambi luno. Simanyi bbanga ki lye nkyalina nammwe. Jjukira, gano ge Mazima, aga BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA . Ge Mazima. Bye Byawandiikibwa.

Bw’olemwa, komawo ku lutambi.

Totunyiigira, ekyo ky’ekyo YE KYEYAYOGEDDE…N’EKIRALA, gano ge MASIMA GA BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA. Teyagambye nti ekitundu ku Kyo, ekimu ku Kyo, oba omuntu bw’avvuunula Ekigambo ekyafukibwako amafuta ky’ekiriwa n’ekitaafukibwako mafuta ky’ekiriwa. ENTAMBI ZIRI BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA.

Oyinza obutakifuna, oba obutakitegeera, newankubadde okukibikkulirwa mu kaseera kano. Naye eri ffe, kino YE ky’Atugamba ng’ayita mu nnabbi we.

Omanyi engeri gy’obuuliramu mukyala wo ebintu, omanyi, akawala akatono k’ogenda okuwasa. Okaagala nnyo, okabuulira bubuulizi byama, n’okaleetera okukusemberera, n’okukwagala na buli kimu. Omanyi bwe kiri.

Ekyo Katonda, Kristo, ky’akola Ekkanisa. Okiraba? Ali mu kumuleka okumanya ebyama, ebyama byokka. Si bano abapepeya; Ntegeeza Mukyala We.

Era byonna tuli mu kubiyingiza. Oh nga Omugole musanyufu era musanyufu nnyo nga embaga ye tennatuuka. Kumpi tetusobola na kuyimirirako wamu. Tuli mu kubala ddakiika….obutikitiki. Asigala atugamba emirundi n’emirundi engeri gy’Atwagala ennyo.

Sitaani asigala atulumba nga bwe kitabangawo, naye ky’ateetegekedde, kwe kuba nga kati TUMANYI kye tuli. Tewakyali kubuusabuusa, FFE KIGAMBO EKYOGERE. Tusobola, era tukikola, twogera Ekigambo. Tulina eky’okuddamu kya Sitaani. Katonda yeekakasizza. Katonda yeekakasizza. Ffe Kigambo kye ekiramu era twogera n’obuyinza bwonna bwe Yatuwa.

Era wuuno leero, mu Kigambo kye, nga ayoleka ekintu kye kimu kye yakola eyo. Tasobola kutegeera mutwe mulala. Nedda ssebo. Tewali mulabirizi, tewali kintu kyonna. Ategeera Obukulu bumu, obwo ye Kristo, era Kristo kye Kigambo. Oh, owange! Whew! Ekyo nkyagala nnyo. Uh! Yee, ssebo.

Tuli ba Bwakabaka, era Obwakabaka obwo kye Kigambo kya Katonda ekifuuse Omwoyo n’Obulamu mu bulamu bwaffe . N’olwekyo, tuli Kigambo kye ekiramu.

Kino mazima kikyogera KYONNA bannange, BW’OBA OLINA OKUBIKKULIRWA OKUTUUFU OKUKIFUNA N’OKUKIKKIRIZA.

Weetegereze kati, nga tugattiddwa wamu wansi w’Omutwe gumu, mu ngeri y’emu, ekika kya Isiraeri eky’edda. Kati mukifuna? Nga Isiraeri ey’edda; Katonda omu, eyakakasibwa Empagi y’Omuliro, era ne yeeyoleka okuyita mu nnabbi, okuba Ekigambo . Katonda y’omu, Empagi y’Omuliro y’emu, mu ngeri y’emu; Tasobola kukyusa ngeri ye . Ekyo…kituukirivu ddala nga bwe kiyinza okuba.

Nabbi…ekyo leka kinnyikire. Katonda omu, akakasiddwa Empagi y’Omuliro, okuyita mu nnabbi, okubeera Ekigambo ky’olunaku olwo, era tasobola kukyuka.

Nsobola okugenda mu maaso n’okugenda mu maaso, era twandisobodde okusanyuka n’okussa ekimu kunokola ku lunkokola; era tujja kukikola, okuva mu nsi yonna ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 PM, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: Kristo Ky’Ekyama Kya Katonda Ekibikkuliddwa 63-0728 .

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwuliriza lukuŋŋaana:

Matayo Omutukuvu 16:15-17
Lukka Omutukuvu 24 Essuula
Yokaana Omutukuvu 5:24 / 14:12
1 Abakkolinso Essuula 2
Abaefeso Essuula 1
Abakkolosaayi Essuula 1
Okubikkulirwa 7:9-10