22-0508 Kristo ky’Ekyama Kya Katonda Ekibikuliddwa

Obubaka: 63-0728 Kristo Kyekyaama Kya Katonda Ekibikkuliddwa

BranhamTabernacle.org

Apo y’Omutima Gwe Abaagalwa,

Nnina ekitiibwa ekisingayo mu nsi. Katonda Anzikiriza okuMwanjula Ye Mwene gyemuli, bw’atyo Asobole okwogera butereevu gyemuli ng’Ayita mu kibya kyeYalonda ng’ensi tennatondebwa okwogera n’okubikkula Ekigambo Kye kyonna gyemuli.

Ssi musajja wa Katonda bubeezi, Ye Katonda Mwene, Empagi y’Omuliro, Omwoyo Omutukuvu nga Ayogera butereevu gyoli, kamwa ku kutu, era tulina ekitiibwa n’omukisa okuyita nnabbi We omulonde, OMUSUMBA WAFFE.

Tetukyewuunyanako oba nga gwetuli okuwulira muntu, birowoozo bye, kufumiitiriza kwe, oba kuvvuunula kwe okw’Ekigambo. Ye Katonda Mwene nga Ayogera gyetuli BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.

Mmanyi nti abantu ekyo kibalakira bulakizi, naye ffe tukinywa nekitukka. Kubanga ky’ekintu kyokka ekiwonya ennyonta yaffe ne kikkusa emmeeme yaffe. By’Ebigambo by’Obulamu Obutaggwaawo. Eri ffe, ly’Eddoboozi lya Katonda. Bw’Obubaka bw’Ekiseera. N’olwekyo, Ky’Ekigambo, Eddoboozi, Entambi, EKITALI EKYO TEWALI KIRALA!

Tugattiddwa wamu wansi w’omutwe gumu nga Isiraeri ow’edda. Katonda Omu, ng’Akakasiddwa n’Empagi y’Omuliro, era nga Yeebikkula okuyita mu nnabbi We okuba nga Ye Kigambo. Katonda y’Omu, Empagi y’Omuliro y’Emu, engeri y’emu ne leero. Katonda tAlikyusa butonde bwE. Enteekateeka Ye terikyuka kuva kw’eyo gyeYatandika nayo, kubanga tAggwawo n’enteekateeka zE n’ebirowoozo byE byonna bituukirivu.

Y’esonga lwaki tuli wansi w’okusuubira okw’amaanyi okuwulira ky’Agenda okutubikkulira ku Sande. Yagamba nti akikoonyeko ku buli ludda lwakyo, munda mwakyo n’ebweru, era n’akiraga nga akozesa ebyawandiikibwa n’engeri gyekizze kibaawo mu byafaayo, okutuusa nga tumanyi nti Obubaka Buno ge Mazima Ag’enkomeredde. Temuli nsobi.

Naye Sande, Omwoyo Omutukuvu Agenda kukwata Obubaka Abuteeke webuli kaakano. Ajja kuKizimba kuviira ddala gyeKyatandikira, era AKizimbire ddala okutuusa mu kiseera kyetulimu kati.
Katunywemu kko katono kw’ekyo Katonda ky’Agenda okutugamba n’okutubikkulira nga Ayita mu musumba waffe ku Sande:

Mmwe apo y’omutima gwange, abazaaliddwa Omwoyo n’Ekigambo ky’Amazima eri Mukama. Nsaba busabi era nneegayirira Mukama okubawa omukisa era Abakuume nga mulukiddwa wamu amaanyi g’okwagala kwa Kristo.

Katonda Yankozesa okubaterekera Emmere; enva endiirwa ezirabika obulamu, ennungi, wano mu kuŋŋaaniro lino. Era leero, mugenda kufuna oluwombo lwonna olw’olutambi. Lugenda kubabikkulira Yesu Kristo mu ssaawa gyetuli okubeeraamu kati. Obubaka buno bulibabeezawo era bubawe amaanyi. Bulibawa amaanyi ag’omwoyo olw’omulimu ogubali mu maaso.

Kankibagambe nate nga bwemmanyi nti mwagala okukiwulira: yemmwe muwendo ogwo ogwayawulibwa edda, omulonde, abo abanaakiwulira. Mmwe Mugole Omulonde Ataligwa naye Aryenywereza ku Kigambo ekyo ssi songa ensi yonna endala ky’ekyogerako. Mmwe Mugole Kigambo!

Katonda Ababikkulidde ekyama kino ekikulu, era okwo Kuzaalibwa kuggya. Kaakano abakuŋŋaanyiza awo okubikkulirwa wekukkiriziganyiza wamu butuukirivu ddala. Katonda nga Akyoleka okuyita mu Kigambo Kye nga Akozesa ebikolwa byebimu, ebintu byebimu byeYakola, nga Aleetera Ekigambo okwolesebwa mu ggwe.

Temwerabiranga, Omwoyo Omutukuvu , Yekka, Ye Mubikkuzi w’Okubikkulirwa kw’Obwakatonda okwa Kristo, era abadde Ye okuyita mu mirembe gyonna. Jjukira, emirembe gyonna! Ekigambo kya Katonda Kyajjanga eri ani? Nnabbi, yekka.

Nkizuula nti njogera eri enkumi z’abantu ku lutambi, tulina obuweereza obw’olutambi obw’ensi yonna. Era kirabika nga ffe abasobola okukolera wano olutambi olusinga ku lukoleddwa awalala emirundi kkumi. Kansuubire busuubizi nti buli musajja anaawulira olutambi luno, na buli mukazi, anaategeera.

Kati kiri gyebali oba nga baagala okuwuliriza olutambi lwonna, naye ssaagala mmwe okusubwa kino. Mmwe abantu b’olutambi; ebweru mu bibira ne wonna gyemuluwiririza, kati muwulirize.

Tulina entambi ezikwata ku kyetukkiriza. Tulina entambi ezikwata ku nneeyisa y’omukkanisa, engeri gyetweyisaamu mu kkanisa ya Katonda, engeri gyetulina okujjamu awamu wano ne tutuula mu bifo eby’omuggulu.

Nsuubira nti buli omu ku lutambi ekyo akifuna. Bw’olemwa, komawo ku lutambi luno nate. Ssimanyi bbanga lyenkanaki lyenkyabaawo nnamwe. Mujjukire, Gano ge Mazima, Aga BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Ge Mazima. By’ebyawandiikibwa.

Omutwe n’omubiri bifuuse ekintu kimu. Ye Katonda nga Ayolesebbwa mu Mmwe, Abantu Be. Y’ensonga lwaki omwami ne mukyala we baba tebakyali babiri; baba omu. Katonda n’Ekkanisa Ye Ali omu, “Kristo mu mmwe,” okubikkulirwa kwa Katonda okw’ekitalo.

Ssi ndowooza yange; Mmaanyi Ge, Kigambo Kye. Yakisuubiza; kiikino wano. Yagamba nti kiribaawo wano, era kiikino. Mmwe baana ba Katonda. Ssi mulibeera; MULI KATI!

Jjuza ekikompe kyaffe Mukama, tukiwanika Mukama, jjangu owonye okuyontowala kuno okw’emmeeme yaffe. Omugaati ogw’Eggulu, katulye kuggwe, okutuusa nga tetwetaagenga . Jjuza ekikompe kyaffe, kijjuze otuwonye.

Nga kinaabeera kiseera kya kudda buggya kyetunaabaamu wonna mu nsi nga bwetukuŋŋaana ku Sande okuwulira : Kristo ky’Ekyama Kya Katonda Ekibikuliddwa 63-0728 ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bw’e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda) .

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma:

Omut. Matayo 16:15-17
Omut. Lukka essuula 24 yonna
Omut. Yokaana 5:24 / 14:12
1 Abakkolinso essuula 2 yonna
Abaefeso essuula 1 yonna
Abakkolosaayi essuula 1 yonna
Okubikkulirwa 7:9-10