22-0501 Katonda Tayita Muntu Eri Musango Awatali Kusooka Kumulabula

Obubaka: 63-0724 Katonda Tasalira Omuntu Musango Nga Tasoose Kumulabula

BranhamTabernacle.org

Bu seppulingi bwomumasaawa, oba obutambuza obulimi bw’essaawa, oba kyonna kyemuli abaagalwa:

Ffenna tuli Mubiri Gwa Kristo, mu kifo kyaffe, mu bumu, nga tugezaako okukola omulimu ogusinga obulungi gwetusobola okuMukolera. Mpaawo kirala kirina makulu gyetuli, wabula Ekigambo Kye, Obubaka buno.
Twagala bwagazi kuwulira nnabbi wa Katonda nga atugamba: “Waliwo ekintu ekibaliko mmwe abantu abamu. Muli bubeezi bantu banjawulo mu bulamu bwange. Waliwo n’ekintu ekirala nti kyo nkyagala okusisinkana nammwe nenjogera nammwe.”

“Ntunulamu mu buweereza bwange bwennyini obuwombeefu obutonotono; Yesu Kristo, aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna, nendaba kyekiri mu kukola; nga kiyita era nga kigatta awamu ekibiina ky’Omugole. Kiri mu kujja nnamuziga emu okuva mu nnamuziga yennyini.

Tumanyi nti ssi muntu, Kigambo kya Katonda ky’ekiri mu kuleeta awamu Omugole We. Ebintu byetuli mu kulaba nga bikolebwa ssi kirala kyonna ekya wansiko ku Katonda. Tewakyali osanga ky’ekyo, kyandiba, kirabika nga ekiyinza okuba, KATONDA!!
Tutuuse ku ssa eryo nga Ye Luulu ey’omuwendo ogwawaggulu ennyo gyetuli. Tulekulidde ekintu kyonna omuntu yenna omulala ky’atugamba ekikontana naKyo. Tetutunuulira ekyo omuntu ky’atuuseeko ku ddaala eryawagguluko oba ky’agamba, tutunuulira ekyo Katonda ky’Agambye era kyeYasuubiza nti ky’Alikola mu lunaku lwaffe, era nga tuMulaba nga AKikola.

Ekyo ky’ekyokuntikko kyaffe. Buli kimu kyetuli, buli kimu kyetwali, buli kimu kyetusuubira okuba, kyesigamizibbwa ku Bubaka buno. Butusingira obulamu.

Nga bwekitabangawo emabega mu byafaayo by’ensi, tulaba Katonda nga Awa okulabula, mwetegekere omusango. Zi bbomu nnamuzisa ziri mu kulengejjera ku minaala, buli kimu nga kitegekeddwa.

Omulundi guno, tekiri bubeezi eri kabiina katono ak’abantu , nga bwekyali mu nnaku za Nuuwa, oba ennaku za Ibulayimu; Ye Katonda nga Ali mu kulabula bantu ab’okunsi, ng’Ayogera okuyita mu nabbi We, kuno kwe kulabula kwo okusemba.

Atugamba, “Nga ssinnaganya kintu kutuukawo, ndi mu kukola okuyita okusemba, ddala nga bweNnakola Sodoma, mukiveemu. Mwetegeke. Waliwo ekigenda okubaawo.”

Ensi yeesigamye ku by’amaanyi g’ebikulu by’etuseeko ebya ssaayansi; okutabika ensigo okukola maleeto ekireese okufa kw’emirembe (omulembe gw’abantu). Abagezigezi n’abayivu beekubidde ku ludda lw’eby’amagezi g’obwongo: UN, NATO, League of Nations. Buli lunaku tulaba omusango nga gwongera okusembera n’okusembera. Nnabbi kyeyalabira ewala n’atugamba nti kirituukawo, kiri mu kutuukawo: Russia, Olutalo, Amafuta, Vatican, Abayudaaya, Bbomu za nnuukiliya.

Tewakyali kwewuunya ekigenda okubaawo. Tukitunuulira nga kigenda mumaaso buli lunaku, era nga okutya mu nsi kwa nnamaddala era nga kweyongera bweyongezi buli lunaku.

Naye ddala nga bweYakola mu nnaku za Keezeekiya, Katonda bweYayogera nga Ayita mu nnabbi We n’Alabula abantu, “Mwetegeke, kubanga emisango ginaatera okugwa.” Nnabbi We yali ategeka abantu olw’ekiseera ekyali kijja.

Nuuwa yategeka abantu olw’ekiseera kye. Kwali kuyita okw’ekisa nga omusango tegunnabaawo. Katonda yagabirira ekkubo, nnabbi okubakulembera.

Era bulijjo Atuma Ekigambo Kye ng’Akozesa nnabbi We, nga bweYakola mu biseera bya Nuuwa. Yakola ekintu ky’ekimu mu nnaku za Nuuwa. Mu nnaku za Eli- … za Musa, tukizuula nti Yakola ekintu ky’ekimu. Yabatumira nnabbi We, era beeyawula okuva ku butakkiriza. Kaakati, abo ab’ekika ekyo beebaavaayo. Abo ab’ekika ekyo beebaakikkiriza.

Tweyawudde okuva ku butakkiriza bwonna. Katonda Alina ekkubo ly’Ataddewo kulw’Omugole We leero. Yatusuubiza mu Kigambo Kye, “Nga omusango tegunnabaawo, Ndibatumira nnabbi okuku??aanya Ekisibo Kyange ekitono ekiwombeefu, era Ndibatuuza erudda, era baliba mirembe, nga balindirira omusango ogugenda okubaawo n’okuwonawo.”

Yeffe Kisibo ekyo ekitono. Yeffe Kitaffe b’Ayagala era tulindiridde n’okusuubira okw’amaanyi okujja Kwe okubinabinda okubaawo. Ensi esasika wonna okutwetooloola, naye tuwummudde era tuli mirembe.

Tumanyi nti tuli mu Kwagala Kwe okutuukiridde. Ssi nsonga wa wetuli mu nsi, Katonda Agabiridde engeri gyetusobola ffenna okugattibwa awamu okwetoolola Ekigambo Kye, ku ddoboozi Lye. Ly’ekkubo lya Katonda ly’Ataddewo.

Era nnabbi ono yabakulembera eri ekkubo lya Katonda lyeyali Ataddewo. Kaakati, eyo y’engeri Katonda gy’Akolamu ebintu. Olaba?

Jjangu owone omusangu ogubindabinda okujja wamu naffe era owulire: 63-0724 Katonda Tayita Muntu Eri Musango Awatali Kusooka Kumulabula, Sande eno ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bw’e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e uganda).

Ly’eddoboozi lya Katonda nga Lyogera nga Litugamba: Lino ly’ekkubo lya Katonda ly’Ataddewo kulw’olwaleero.

Owol. Joseph Branham

Isaaya 38:1-5
Amosi Essuula 1

1Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala kumpi n’okufa. Isaaya nabbi mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama. 2Awo Keezeekiya n’akyusiza amaaso ge ku kisenge ne yeegayirira Mukama n’ayogera nti 3Jjukira kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga. 4Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Isaaya nti 5Genda ogambe Keezeekiya nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Dawudi kitaawo, nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’etaano.

1Ebigambo bya Amosi eyali ow’oku basumba b’e Tekowa, bye yalaba ebya Isiraeri mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi kabaka wa Isiraeri ng’ekyasigaddeyo emyaka ebiri okutuuka ku kikankano ky’ensi. 2N’ayogera nti Mukama aliwuluguma ng’ayima e Sayuuni, era alireeta eddoboozi lye ng’ayima e Yerusaalemi; kale amalundiro ag’abasumba galiwnubaala, n’entikko ya Kalumeeri eriwotoka. 3Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Olw’ebyonoono bisatu ebya Ddamasiko, weewaawo, olw’ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bawudde Gireyaadi n’ebintu ebiwuula eby’ebyuma: 4naye ndiweereza omuliro mu nnyumba ya Kazayeeri, kale gulyokya amayumba ga Benukadadi. 5Era ndimenya ekisiba kya Ddamasiko, ne mmalawo oyo abeera mu kiwonvu kya Aveni, n’oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka ndimumalawo okuva ku nnyumba ya Adeni: n’abantu ab’e Busuuli baligenda mu busibe e Kiri, bw’ayogera Mukama. 6Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Olw’ebyonoono bya Gaza bisatu, weewaawo, olw’ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga batwala nga basibe eggwanga lyonna okubawaayo eri Edomu: 7naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w’e Gaza, era gulyokya amayumba gaakyo: 8era ndimalawo abali mu Asudodi, n’oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka ndimumalawo okuva ku Asukulooni: era ndikyusa omukono gwange okulwana ne Ekuloni, n’ekitundu ekifisseewo eky’Abafirisuuti balizikirira, bw’a yogera Mukama Katonda. 9Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Olw’ebyonoono bya Ttuulo bisatu, weewaawo, olw’ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bagabula eggwanga lyonna eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey’oluganda: 10 naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w’e Ttuulo, era gulyokya amayumba gaakyo. 11 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Olw’ebyonoono bya Edomu bisatu, weewaawo, olw’ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga yayigganyanga muganda we n’ekitala, n’asuula okusaasira kwonna, obusungu bwe ne butaagulataagula ennaku zonna n’aguguba n’ekiruyi kye emirembe gyonna: 12 naye ndiweereza omuliro ku Temani, era gulyokya amayumba ag’e Bozula. 13 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Olw’ebyonoono eby’abaana ba Amoni bisatu, weewaawo, olw’ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwabwe okubavaako; kubanga babaaze abakazi abali embuuto ab’e Giriyaadi, balyoke bagaziye ensalo yaabwe: 14 naye ndikuma omuliro mu bbugwe w’e Labba, era gulyokya amayumba gaakyo, nga baleekaana ku lunaku olw’olutalo, kibuyaga ng’akunta ku lunaku olw’embuyaga ez’akazimu: 15 era kabaka waabwe aligenda mu busibe, ye n’abakungu be wamu, nw’ayogera Mukama.

(Soma essuula zino nga ozijja mu Baibuli yo)