22-0424 Afaayo. Ofaayo?

Obubaka: 63-0721 Afaayo. Ofaayo?

BranhamTabernacle.org

Omugole ow’Okuva Omwagalwa,

Nga abaana Abaebbulaniya bwebaaku??aaaananaga ku makya mu matulutulu okufuna emmaanu eyali ebagabiriddwa okuyita mu kiro, okubabeezaawo mu lunaku olwali lujja, naffe bwetutyo tuku??aana okufuna emmaanu ey’omwoyo etuweereddwa okutubeezaawo mu lugendo lwaffe.

Omugole agattiddwa wamu mu bumu obw’ekitalo ennyo ne Katonda, okutuusa nga okwolesebwa kw’Omugole Omusajja kuli mu kwolesebwa mu Mugole Omukazi. Tunyweredde ku buli Kigambo ekyayogerwa era tufuuse Omu NAYE.

Obutali butuukirivu bw’amawanga bujjudde. Ejjudde empitambi. Kaakaano kiseera kya Kuva kywaffe tugende mu Nsi Ensuubize, mu Maka gaffe. Omugole Yeeteeseteese.

Nga bweYakola mu Kuva kwe okwasooka, mu Kuva kwe okw’okubiri, era kaakaano nga tuli mu Kuva kwe okw’okusatu, Katonda Yalonda n’atutumira nnabbi n’akabonero k’Amaanyi Agasusse Ag’obutonde ak’Empagi y’Omuliro, abantu baleme kukozesebwa nsobi, era bamanyenga nti y’Oyo gweYali alonze okukulembera Omugole We.

Ekyo nnabbi We kyeyayogera kyali Bw’atyo Bw’Ayogera Mukama. Yali Katonda, ng’Akkira mu Mpagi ey’Omuliro, ng’Akakasa er ng’Abikkula Ekigambo Kye. Empagi y’Omuliro eyo yafuka amafuta ku nnabbi We n’eyimirira nga Omujulizi ow’omuggulu okukakasa nti Oyo yeeyali alondeddwa okukulembera Omugole We okumutuusa mu Nsi Ensuubize.

Tukkiriza nti amakanisa gonna gasaanye okuba nga gassa kimu wamu wansi w’Eddoboozi Lino, era nga tegeeyawuddeyawuddeemu. Kiki ekyatwawula? Ssi langi za mibiri gyaffe. Ssi kika kya mmere gyetulya. Muntu y’avudde mu kkubo eryo eryakubibwawo ery’okubuulira okw’Enjiri, buli muntu.

Waliwo ENGERI EMU yokka okulaga ekituufu n’ekikyamu mu ngeri erabikirako ddala . Waliwo engeri emu yokka gy’oyinza okusobola okukikolamu, kiri kuyita mu butateeka nzivuunula yonna yonna ku Kigambo, wabula Kisome busomi era oKiwulirize, era okkirize buli Kigambo.

Naye yagamba nti tebali kukikola olw’obuggya, olw’obuzibe bw’amaaso obw’omwoyo. Tebaagala kulaba. Tebajja kuKiwuliriza.

Katonda ow’eggulu Aliyimirira, era eddoboozi lyange liriba ku lutambi lwa magineeti olw’ekiseera kya Katonda eyo, era lirinenya omulembe guno mu lunaku olusemba. Kubanga li-liri ku lutambi lwa magineeti, kw’olwo liriba ku lutambi Olutaggwawo.

Ye Katonda, Mwene, ng’Ayolesebbwa mu mubiri ogw’omuntu w’okunsi, ng’Ayita mu musaayi gwa Yesu Kristo, okwetukuliza Obulamu bw’Anaasobola okwelabisizaamu, era leero bakomerera Ekigambo kyekimu ekyolesebbwa.

Era olwo leka abo abali okuwuliriza nga bakozesa olutambi, ka bawuliririze kumpi. Era leka tusobole okufuna Omwoyo Omutukuvu ky’Agezaako okutubikkulira.

TUFUNYE Omwoyo Omutukuvu ky’Agezaako okutubikkulira, era ffena tugenda Munsi Ensuubize. Buli omu kuffe! Oba oli mukyala wa mumaka, oba nga oli mukozi wa mu nnyumba omutonotono, oba oba nga oli mukyala mukulu, oba musajja muto, oba omusajja omukulu, oba kyonna ky’oli, tugenda, mu buli ngeri yonna. Tewagenda kubaawo n’omu kuffe alekebwa. Buli omu kuffe agenda!!!

Teyinzika n’akatono Katonda obutakuumu Kigambo kye kyeYatuwa, bwetuba nga tukuumye ekigambo kyaffe kyetwalagaana ne Katonda. Oba nga mazima oKikkiriza, tewali kiyinza kukuleetera kuKibuusabuusa. Ebiseera, ebbanga, tewali kirala kisobola kukuleetera kuKibuusabuusa.

Afaayo nnyo gyetuli nnyo nnyini okutuusa nti Yatutumira nnabbi okutulagirira, ffe abantu Be Abalonde, ng’Ayita mu kuteekawo ekkubo ery’obuddukiro. Teyatufaako mu kutujjayo kyokka, Agabiridde buli kimu kyetwetaaga nga tuli mu lugendo lwaffe. Atuwangulidde buli mulabe. Atuwonya nga tuli balwadde. Yatereka Emmaanu enkusike ey’okutuliisanga buli lunaku; N’okuba awangudde n’okufa, ky’olina okukola kyokka kw’okubeera omwesimbu oKikkirize.

Twayawulibwa dda eri Obulamu Obutaggwaawo. TuKiwuliriza era ne tuKisanyukira. Kwe kubudabuda kwaffe. Ky’ekintu kyetuyaayaanidde obulamu bwaffe bwonna. Ye Ruulu ey’omuwendo etulesezza buli kimu. Tugyagala kubanga tumanyi nti kwe Kufaayo kwa Katonda okuwoomu gyetuli.

Oyina KYONNA kyeweetaaga, mu mwoyo, mu mubiri, oba kutambula butambuzi kumpiko naye, oba okujjuzibwa oba okujjuzibwa nate n’Omwoyo Omutukuvu? Jjangu weggatte naffe wamu ku Kigambo kya Katonda era ekkubo lye eryateekebwawo olw’olw’olwaleero era ofune kyeweetaaga, OBA NGA OFAAYO. Yasuubiza okuKituma, era Akikoze! Yakisuubiza mu Kigambo Kye, era kiikino wano! Ye Afaayo, kati olwo ggwe?

Wajja kubaawo ekintu ekimu mu mutima gwo ekinaakugamba, “emitawaana gyange giwedde. Ngenda kuba bulungi. Ngenda kujjuzibwa. Ngenda kubeera kumpiko naye. Ndi Mugole We.”

JJangu otwegatteko Sande ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bwe jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda) , nga bwetuwulira: Afaayo. Ofaayo? 63-0721.

Kigenda kuba kijjulo kyakitalo eky’Okwagala nga bw’oMuwulira ng’Akugamba nti Afaayo gy’oli, okuyita mu musana ne oba ekisiikirize, Afaayo gy’oli.

Owol. Joseph Branham

Omut. Yokaana 5:24 / 15:26

1 Peetero 5:1-7

Abaebbulanyi 4:1-4