23-1105 Afaayo. Ofaayo?

Obubaka: 63-0721 Afaayo. Ofaayo?

BranhamTabernacle.org

Abaana b’Enjiri Abaagalwa,

Ffe abantu bannamukisa abasingayo mu baali batambulidde ku nsi. Tuyinza n’okutandika okukubamu akafaananyi nti omubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu eyalondebwa ng’atugamba ebigambo bino:

Mbaagala. Oh, mbaagala nga mmwe baana bange bennyini, era muli baana bange mu Njiri. Nze mbazadde eri Kristo, okuyita mu Njiri.

Katonda atufaako nnyo ne kiba nti yatuweereza nnabbi we eyakakasibwa ng’alina akabonero k’Empagi y’Omuliro okututegeeza nti teyali muntu buntu nga atambula naffe, wabula yali Katonda waggulu we awo wennyini. Ye y’Ali mu kukulemberamu olugendo.

Olw’okuba atufaako, ng’omusango omunene tegunnajja, Ategese ekkubo ffe tusobole okuba ab’eddembe okuva mu misango gyonna egijja. Engeri eyo ey’okutoloka w’eri kulwa ffe ffekka, Abalonde. Ye ffe tukkirizza akaweke kano ak’Obulamu. Ye ffe twategekebwa okukalaba. Ye ffe tulina Okubikkulirwa kw’obuweereza buno obw’ekitalo obw’olutambi .

Yafiirira obuweereza buno . Yafa Omwoyo Omutukuvu asobole okubeera wano mu lunaku luno okulaga ebintu bino. Yakufaako. Yafaayo okulaba nga Amuleeta wano. Yafaayo okukyogera ekyo. Yafaayo kubanga Yakwagala. Yafaayo ekimala okulaba nga Akikola, okusindika Omwoyo Omutukuvu eri buno, okukola obuweereza buno leero.

Bw’oba nga wategekerwa Obulamu Obutaggwaawo, ojja kubuwuliriza era ojja kubusanyukira. Kwe kubudaabudibwa kwo. Kye Kintu ky’obadde oyaayaanira obulamu bwo bwonna. Ye Luulu eyo ey’omuwendo omungi. Twerekereza buli kimu olw’Obubaka buno, Eddoboozi lino. Ye Mukama waffe Yesu Kristo nga Ayogera naffe.
    

Tewali yeetaaga kubeerawo kutuwembejja ng’omuwere, TULI BAKKIRIZA, tewali kiyinza KuKituggyako. Tetufaayo ku muntu omulala yenna ky’ayogera, tukkiriza buli Kigambo.

Atufaako nnyo; bwe tuba twetaaga okuwonyezebwa, tukkiriza bukkiriza Kigambo kye okuva mu buziba bw’omutima gwaffe. Awo ne kitaba kikulu omuwi w’amagezi yenna, omubudaabuda yenna, omusawo yenna, eddwaaliro lyonna, ekizuuliddwa kyonna kye kiba kigamba, tukkiriza bukkiriza Kigambo kye. Tukimanyi bumanya! Tekyetaagisa kwogera kintu kirala kyonna ku kyo; tukimanyi.

Yatufaako nnyo ne kiba nti yasiima nnabbi we okuterekera Omugole we Emmere. Yatuuka n’okulagira buli musumba, omuweereza, na buli kibinja ky’abantu okwetoloola ensi yonna okugoberera ebiragiro bye n’okuzannya entambi zino mu MAKUŊŊAANIRO gaabwe oba mu bibiina byabwe.

Singa bantu mmwe munaakola bukozi ekyo enkya ya leero, olwo lugenda kusabirwa, nammwe abantu abaliwulira olutambi luno , mu nsi yonna, era oluvannyuma lw’olutambi luno okuzannyibwa, era omuweereza oba omuntu aluzannya mu kuŋŋaaniro erimu, .mu biibiina ebweru eyo mu bibira oba wonna wemunaabeera, oyo ali (oba abali) mu kuluzannya , ojja kusooka okole okwatula kwo butangaavu ddala, n’oluvannyuma ojje nga tolina kintu kyonna mu mutima gwo n’akatono, wabula okukkiriza, era osabirwe, liiryo awo, Eddagala eryo lijja kubakolako.
    

Mbadde ndowooza nti abatunoonyamu ensobi bagamba nti nabbi TAGAMBAKO kuzannya ntambi mu kkanisa? Teyakoma bukomi ku kugamba nti mu masinzizo gaabwe, wabula nemu bibira oba WONNA w’oli…ZANNYA ENTAMBI.

Bw’onoogonda n’okola ekyo kyennyini Katonda kye yayogera ng’ayita mu mubaka malayika we ow’omusanvu eyakakasibwa, olwo naawe osobola okuba n’OKUKIRIZA okusinga obunene kw’oyinza okuba nakwo.

Nze, nze…okusooka, era okutuukirira kino, abawuliriza balina okufukibwako amafuta n’okukkiriza. Ggwe—gwe, bw’oba tolina kukkiriza, olwo tewaba—tekyetaagisa yadde okujja okusabirwa, kubanga kigenda kwetaagisa okukkiriza kwo n’okukkiriza kwange wamu ; okukkiriza kwange okuMukkiriza, okukkiriza kwo okuMukkiriza.

Tetuli mu kukkiriza kintu awatali bukakafu, oba okuteebereza, oba okusuubira nti bwekiri. Entambi lye Kkubo Katonda lye Yateekawo leero. Si bigambo bya musajja ayitibwa William Marrion Branham, Bigambo bya Mukama waffe Yesu Kristo ebibikkuliddwa. Mu ngeri emala byonna, ye “Amiina!” Kye eky’enkomeredde kyaffe. Ge Mazima era si kirala wabula Amazima.

Era bw’osanga Eky’enkomeredde kya Katonda, Ekigambo kye, ekisuubizo ku kintu ekimu, olina okusooka okumanya nti Kigambo kya Katonda, nti ekintu ky’oli mu kulaba nga kikolebwa ye Katonda. Awo—tewali —tewali bya “osanga bwe kityo bwekiri, kyandiba nga, kirabika nga ekiyinza okuba.” “Ye Katonda!” Awo bw’otuuka mu kifo ekyo, olwo eyo ye Luulu ey’omuwendo omungi, olina okuva ku kintu kyonna omuntu omulala yenna ky’akugamba ekikontana na Kyo. Tolina kutunuulira muntu by’atuuseeko.

Tugenda kuba n’ekijjulo EKY’OMUKWANO MAKEKE MAWUUNO ku Ssande eno. Tugenda kukola ekyo kyennyini omubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu eyakakasibwa kye yatugamba okukola: Nyiga Zannya era ogonde.

KYONNA kye twetaaga, tujja kukifuna. Tugenda kuKifuna kubanga tugenda kuteeka okukkiriza kwaffe wamu n’OKUKKIRIZA KWE okuMukkiriza. Olwo ffenna tugenda kugamba nti:

Okuva mu kiseera kino okweyongerayo mu maaso, waliwo ekintu mu mutima gwange ekintegeeza nti ebizibu byange biwedde. Ndi—ndi bulungi, ngenda kubeera bulungi”? Okikkiriza? Yimusa emikono gyo, “Ekyo nKikkiriza!” Katonda akuwe omukisa.

Olw’okuba Katonda afaayo, nkwaniriza ojje otwegatteko; oba okukubiriza omusumba wo, omukulembeze wo, okugoberera ebiragiro bya nnabbi, owulire malayika wa Katonda ow’omusanvu ng’ayogera Ekigambo kya Katonda era ofune kyonna kye weetaaga, Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda) nga bwe tuwulira: 63-0721 Afaayo. Ofaayo?

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga olukuŋŋaana terunnatandika:

Omut. Yokaana 5:24 / 15:26 
1 Peetero 5:1-7

Abaebbulaniya 4:1-4