Obubaka: 63-0717 Omusibe
Abasibe abaagalwa,
Obulamu bw’obeera kati bujja kwoleka obulamu bwe wandibaddemu singa wali mu nnaku za Nuuwa, oba Musa, kubanga oliko omwoyo gwe gumu. Omwoyo gwe gumu oguli mu ggwe kati gwali mu bantu mu kiseera ekyo.
Singa wali mu biseera bya Nuuwa, wandyekubidde ku ludda lwa ani mu nnaku ezo? Wandilinnye eryato nga Nuuwa nga okkiririza nti y’oyo Katonda gwe Yalonda okuzimba eryato n’okukulembera abantu, oba wandigambye nti, “Nange nsobola okuzimba eryato. Ndi mugoba wa lyato era omuzimbi w’amaato omulungi ennyo”?
Ate singa wali obeera mu biseera bya Musa? Wandisigadde ne Musa n’okkiriza nti y’oyo Katonda gwe yalonda okukulembera abantu, oba wandigenze ne Dasani ne Koola bwe baagamba nti “Naffe tuli batukuvu, tulina kyetugamba. Katonda naffe yatulonda.”?
Buli omu ku ffe alina okusalawo, leero, wakati w’okufa n’obulamu.
Sifaayo ludda ki lw’ogamba nti lw’ogwako. By’okola, buli lunaku, bikakasa ky’oli. Tunyiga Zannya BULI LUNAKU.
Oli mu Kigambo buli lunaku? Osaba, ng’onoonya Okwagala kwa Mukama okutuukiridde mu buli ky’okola? Onyiga zannya n’owulira Eddoboozi lya Katonda erikakasiddwa buli lunaku? Okkiririza nti kyetaago nnantaggyibwa-ku-lukalala Okunyiga Zannya? Okkiririza nti Eddoboozi eryo ku ntambi lye ddoboozi lya Katonda ery’olwaleero?
Eri ffe, eky’okuddamu kiri nti WEEWAAWO. Tutegeeza ensi nti tuli Basibe eri Kigambo kya Katonda, Obubaka bwe, Eddoboozi lya Katonda erikakasiddwa eri olunaku lwaffe. Weewaawo, tukkiririza n’omutima gwaffe gwonna mu Kunyiga Zannya. Weewaawo, tukkiriza nti omubaka w’omulembe gw’ekkanisa ey’omusanvu yayitibwa okukulembera Omugole. Weewaawo, Eddoboozi eryo ku ntambi lye ddoboozi erisinga obukulu okuwulira.
Okwagala kwa Katonda, Eddoboozi lye, Obubaka buno, bwa maanyi nnyo, Okubikkulirwa nga kuno gye tuli, kwe tutasobola kulekulira. Tufuuse Omusibeeri Kwo.
Tutunze ebirala byonna ne twekaliza. Si nsonga omuntu omulala yenna ayogera ki, tuteekeedwa wansi w’obufuzi bwa bwo era butuwadde eby’okukola. Waliwo ekintu ekibuliko ne kiba nga tetusobola kuBuvaako. Lye ssanyu ly’obulamu bwaffe. Tetusobola kubeerawo nga tetuBulina.
Tuli basanyufu nnyo, twebaza nnyo, twenyumiriza nnyo mu kubeera Omusibe ku lwa Mukama n’Obubaka bwe; kubanga be bamu. Businga bulamu gye tuli. Buli lunaku kyeyongera okweyoleka era n’okulabikira ddala nga kituufu nti tuli Mugole we. Tuli mu Kwagala Kwe okutuukiridde. Tusobola okwogera Ekigambo, kubanga tuli Kigambo ekifuuse omubiri.
Tetulina kakwate na kintu kyonna okuggyako Kristo n’Obubaka bwe obw’ekiseera; ne kitaffe, maama waffe, muganda waffe, mwannyinaffe, omwami waffe, mukyala waffe, omuntu yenna. Tulina akakwate ne Kristo yekka, era Ye yekka. Tuyungibwa era tusibiddwa ekikoligo ku Bubaka buno, Eddoboozi lino, kubanga lye Kkubo Katonda lye yatuwa olw’olunaku luno, ERA TEWALI KKUBO DDALA.
Tetukyali basibe eri omuntu waffe ow’okwefaako ffekka, eri okwegomba kwaffe. Twewaddeyo ddala era tusibiddwa ekikoligo gy’ali. Si nsonga ensi yonna erowooza ki, ensi yonna ky’ekola, tusibiddwa ebisiba eby’’okwagala ku Ye ne ku Ddoboozi lye.
Tweyanzeege nnyo okubeera Abasibe. Mbuulira Kitaffe eky’okukola buli katikitiki ka buli ddakiika ya buli lunaku. Leka Eddoboozi Lyo litulagirire mu buli kye tukola, kye twogera, n’engeri gye tweyisaamu. Tetwagala kumanya kintu kirala okuggyako Ggwe.
Jjangu ossibwe wansi w’obufuzi bw’Eddoboozi lya Katonda n’Ekigambo Kye bikuwe n’ebyokukola wamu naffe Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira engeri y’okufuukamu: Omusibe 63-0717.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma
Filemoni 1:1 Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu ne Timoseewo ow’oluganda, eri Firemooni omwagalwa era mukozi munnaffe;
Akatalekeka mu bbaluwa: Ow’oluganda Branham, twagala nnyo engeri gy’oyatulamu erinnya Firemooni, TTUUKIRIVU eri Omugole. Bw’eti bw’efundikira Ebbaluwa y’Empungu Zikuŋŋaanira Awamu okuva ku Branham Tabanako.