22-0515 Ekiseera Ky’Okwegatta n’Akabonero Kaakyo

Obubaka: 63-0818 Ekiseera Ky’Okwegatta n’Akabonero Kaakyo

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole Ow’obukulu Obusingayo Omwagalwa,

Bwetwabadde nga tutudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu okuva mu nsi yonna ku Ssande, twabadde tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa lyokka nga lyogera naffe. Nga bulijjo, twabadde tusuubira nnyo okuwulira bye yabadde agenda okutugamba. Omwoyo Omutukuvu agenda kutubikkulira ki leero?

Twandiba nga tuwulidde Ebigambo bye emirundi mingi emabega, naye twamanya nti olunaku olwo lwali lugenda kuba lwa njawulo. Twabadde baakuwulira ekintu kye tutawulirangako. Twabadde baakufuna Okubikkulirwa okusinga n’okusinga bwe twali tuyinza okulowooza. Yabadde Waakuggulawo emitima gyaffe, ebirowoozo byaffe n’omwoyo gwaffe, n’abikkula ekintu ekiri KATI, mu ntuuko zaakyo, okubikkulirwa.

Olwo neKibaawo. Ebigambo ebisinga obukulu Omugole Omusajja bye yali asobola okwogera n’okubikkulira Omugole we nti, “Ggwe kutuukirira kw’obulamba bwa Katonda mu mubiri, obukulu. Byonna bye Nnali, nabiyiwa mu Kristo; byonna Kristo bye yali, nabiyiwa mu mmwe. GGWE Mugole wange ow’Ekigambo gwe nnalonda atuukiridde.”

Obutonde bwaffe bwonna bwabuuka olw’essanyu. Taata Yaakatugamba nti, tuli Mugole We. Ffe b’Ayagala. Tulina olubuto lw’Ekigambo kye, era Ekigambo kye KYOKKA. Enda yaffe luggaddwa ku kintu ekirala kyonna. Atulinze, era Atuyaayaanira…FFE!!

Era teebereza ki? Tatumanga muntu mulala kutubuulira Bigambo bino, Yajja n’Abeera mu mubiri gw’omuntu omulundi omulala, Asobole okwogera obutereevu, mumwa ku kutu, n’OKUTUGAMBA nti: “Mbaagala, Omugole wange omwagalwa.”

Twagala nnyo okuyimba, twagala nnyo okussa ekimu, twagala nnyo okukuŋŋaana n’abakkiriza, naye kye tusinga okwagala kwe kuwulira Eddoboozi lya Katonda; Bw’ati bw’ayogera Mukama, nga Ayogera naffe butereevu. Buli Bubaka bbaluwa ya mukwano ewandiikiddwa mu buntu eri FFE. Buli Kigambo kye Yali Ayagala okutubuulira Yakiteeka ku lutambi lwa magineeti tusobole okubyewulirira.

Kiki ky’Agenda okutubuulira n’okutubikkulira ku Ssande eno nga tukuŋŋaana? Ntuuko ki?

Isaaya yayogera n’agamba nti, “Embeerera eliba olubuto n’ezaala omwana ow’obulenzi”, naye waayitawo emyaka 700 ng’entuuko zaakyo tezinnatuuka. Kabaka Dawudi yagamba nti, “Bafumita emikono gyange n’ebigere byange.” Yayogera ng’alinga agamba nti mikono gye na bigere bye, naye sizeezaali entuuko ekyo okutuukirira okutuusa nga wayiseewo emyaka emirala 1000.

Katonda Yayogera ng’ayita mu nnabbi waffe mu kiseera kyaffe n’agamba nti ebintu bingi ebitasobokera ddala kutuukirira okutuusa leero. Tulaba amawanga n’ensi nga byegatta nga bwe kitabangawo. Twalowooza nti obukomunisiti kintu kya dda era nga kimaze okusaanawo, naye kati tulaba nga bulamu nnyo era kikozesebwa mu mikono gya Katonda, nga bwe yalagula era n’atugamba nti bwe kyali.

Ensi yalowooza nti olutalo olunnyogoga lwaggwa, era tewakyali kutiisibwatiisibwa lutalo lwa nukiriya. Naye leero, obulabe bw’olutalo lwa nukiriya bufuuse bwannamaddala. Buli kimu kiteekeddwa mu lunyiriri nga bwe yatugamba nti bwekiriba. Entuuko zituuse.

Ssande, Ajja kuddamu OKWOGERA BUTEREEVU NAFFE, mumwa ku kutu, era tujja kuwulira ebbaluwa endala ey’omukwano eyayogerwa era n’eterekebwa ffe okugiwulira. Kiki ky’anaatugamba era n’atubikkulira? Entuuko ziri zitya? Kiki ekigenda mu maaso?

Katonda Agatta Omugole We. Ajja wamu, okuva mu Buvanjuba n’Ebugwanjuba, okuva mu Bukiikakkono n’Obukiikaddyo. Waliwo ekiseera eky’okugattibwa awamu, era ekyo kiri mu kiseera kino. Agattibwa lwaki? Okukwakkulibwa.

Kale Obubaka Buno bukola ki nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda okuva mu nsi yonna? Bugatta Omugole n’Ekigambo. Ekigambo ye Katonda. Omugole Omusajja kye Kigambo. Omugole ye muwulizi w’Ekigambo ekyo, era tujja wamu mu Bumu. Tuli mu kwetegekera Embaga mwe tufuuka Omu n’Ekigambo.

Kyonna Kitaffe ky’Ali, kye ndi; era byonna bye ndi, mmwe bye muli; era byonna bye muli, bye ndi. Ku lunaku olwo mulimanya nga Ndi mu Kitange, Kitange Ali mu Nze, nange ndi mu mmwe, nammwe muli mu Nze.” Okiraba? Ku “lunaku olwo.” Ku lunaku ki? Olunaku luno! Tuzuula ebyama ebikulu ebikwekebbwa ebya Katonda nga bibikkulibwa. O, ekyo nga kinyumira nnyo!

Kino ky’ekiseera. Zino z’entuuko. Omugole Omukazi yeetegekedde Omugole Omusajja. Tuwuliriza nga tuwulira okukaaba okw’omu ttumbi nti “Laba, Anaawasa omugole Ajja!” Tuli ddala mu kiseera ky’enkomerero.

Jjangu otwegatteko nga bwe twegattira ku Kigambo, Ssande ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga litugamba nti ky’: Ekiseera Eky’okwegatta N’akabonero Kaakyo 63-0818.

Ow’oluganda. Yusufu Branham

Ebyawandiikibwa eby’okusoma

Zabbuli 86:1-11

Matayo Omutukuvu 16:1-3