23-1126 Ekiseera Ky’Okwegatta n’Akabonero Kaakyo

Obubaka: 63-0818 Ekiseera Ky’Okwegatta n’Akabonero Kaakyo

PDF

BranhamTabernacle.org

Ennyama y’Ennyama Ye, Ekigambo ky’Ekigambo Kye, Obulamu bw’Obulamu Bwe, Omwoyo gw’Omwoyo Gwe  Abaagalwa,

Baganda bange ne bannyinange ab’omuwendo,musome busomi  sitatimenti eyo emu mugiddiŋŋane enfunda n’enfunda. Soma Katonda Yennyini kye Yaakakuyita. Omuntu yenna yandiwandiise atya mu bigambo by’abantu byokka ekyo kye kitegeeza gye tuli. Tekitegeezeka. Singa tusobola okukitegeera mu bujjuvu n’okukissa mu nkola, n’emitima gyaffe gyonna, ebirowoozo n’emmeeme zaffe, mazima nzikiriza nti Okukwakkulibwa kwandibadde kulina okubaawo.

Kya kutya ki ekiriwo? Kyeraliikiriza ki ekiriwo? Sitaani atulwanyisa, atutulugunya, atusindikira endwadde, alumba ebirowoozo byaffe na buli kika kya birowoozo ebibi, naye tewali kiyinza kutukolako bulabe. Waliwo ekintu kyonna ekiyinza okukosa Yesu? MPAAWO, olwo nno era tewali kiyinza kutukola bulabe. Yaakamala okugamba nti: FFE Mubiri Gwe, Kigambo kye, Bulamu Bwe, Mwoyo Gwe.

Nga tulina essanyu n’okumatizibwa mu mutima gwaffe bwe tufumiitiriza ku by’Abadde Atugamba. Okubikkulirwa Katonda kw’Abadde Atubikkulira, muzingo gwo’lutambi, ku muzingo gw’olutambi, ku muzingo gw’olutambi. Omwoyo Omutukuvu avululira munda mu ffe ng’Oluzzi olunene olw’ensulo.

Twategekebwa okuKiraba n’okuKiwulira. Tetujja era tetusobola kugwa oba okubuzaabuzibwa . Tuli mu lugendo lwaffe okusisinkana Omutwe gwaffe, Omununuzi waffe, Omwami waffe, Kabaka waffe, Mukama waffe, Omwagalwa waffe, Omulokozi waffe, mu Kifo eky’okusisinkaniramu ekyateekebwawo!

Wuliriza buwuliriza kino nate: Obulamba obw’Obwakatonda mu bujjuvu mu mubiri bubeera mu FFE, Ekkanisa Ye, obukulu obwa waggulu ennyo. Kyonna Katonda kye Yali, yaKiyiwa mu Kristo; era kyonna Kristo kye Yali, kyayiibwa mu Kkanisa; ffe, Omugole We. Si kintu ekigenda okubaawo olunaku lumu, YAGAMBYE KIGENDA MU MAASO MU FFE KATI .

Osobola okukubamu akafaananyi, okuva ku ntandikwa y’ebiseera, Katonda teyawa kyama kye ekikulu ekitamanyiddwa ekyali mu birowoozo bye eri omuntu yenna, okutuusa leero. Lwaki ekyo yakikola? Kubanga yali alinze okukimanyisa Ffe mu nnaku zino ez’oluvannyuma nga bwe yasuubiza. Yali atulinze. Yali akimanyi nti ffe ffekka abasobola, era abajja, OKUKITEGEERA MU BUJJUVU….EKITIIBWA!!!

Yatulonda tubeere Omugole we kubanga yali akimanyi nti tetujja kugwa. Tujja kunywerera ku Kigambo ekyo awatali kulowooza ku kiki ensi yonna yonna kye yalina okukyogerako. Tujja kunywerera ku Kigambo ekyo era EKIGAMBO ekyo KYOKKA! Twategekebwa okuyimirira awo. FFE baana abatongozeddwa Yesu Kristo.

Waliwo n’ebisingawo. Wuliriza ddala kumpi…weesuneko. Omutwe (Katonda) n’Omubiri (Ffe) bifuuse omu. Ye Katonda nga Ayoleseddwa mu FFE.

  • Katonda n’Ekkanisa ye BALI OMU, “Kristo mu GGWE.”
  • FFE Okubikkulirwa kwa Katonda Okukulu.
  • N’okuyitibwa tuyitibwa linnya lye; Erinnya lye ye Yesu, Eyafukibwako amafuta.
  • FFE Mubiri gwa Kristo ogwafukibwako amafuta.
  • TULI MU kwolesa Katonda nga Omubiri Guli bwe gwakola.

Ffe Mugole we, nga tulina olubuto lw’Omwoyo we. Ekkanisa, ng’ezaala abaana, ng’efunye olubuto olw’Omwoyo gwe ng’Eyitibwa Erinnya lye; nga erimu Obulamu bwe. Tulina eky’okuddamu kya Sitaani. Obukulu buli wano. Kristo, Mukama waffe eyazuukira, ali wano mu Maanyi ge gamu ag’okuzuukira kwe nga Bwe yali, nga Yeeyolekera mu ffe, Omugole We ow’Ekigambo Ekyogere.

Katonda kati Al i mu kugatta Omugole we wamu. Abagatta awamu okuva mu nsi yonna ng’Ayita mu Kigambo kye, ekintu kyokka ekigenda okugatta Omugole we. Omwoyo Omutukuvu Akulembera era Akuŋŋaanya Omugole we. Mu buli mulembe, nnabbi ye yali Omwoyo Omutukuvu ow’olunaku lwabwe.

Lowooza ku kino. Abantu bwe bagamba nti tuyitiriza omubaka malayika ow’omusanvu, jjukira, Katonda yennyini YAMWESIGISA EBYAMA BYE BYONNA ebyali mu birowoozo Bye nga n’ensi tewannabaawo, n’Abikwasa omubaka malayika we ow’omusanvu. Katonda yennyini yalina obwesige 100% mu musajja ono, okutuusa nga Yateeka Enteekateeka ye enkulu ey’ekiseera eky’enkomerero mu mikono gye. Amuwa…WULIRIZA, YAMUWA YE Okubikkulirwa kw’ebyama bye byonna eri omusajja oyo. Yawa omusajja oyo Okubikkulirwa kw’ebintu ebitaawandiikibwa na kuwandiikibwa. Yagamba nti kyonna kyeyayogera ku nsi kikulu nnyo, nti n’okuwulirwa kiwulirwa mu ggulu.

Tewali kubuusabuusa nti Katonda Yatuma abantu ab’ekitalo abajjula Omwoyo Omutukuvu mu nsi muno. Naye buli omu ku basajja bano, newankubadde nga ajjudde Omwoyo Omutukuvu, asobola okuba omukyamu. Katonda teyakakasaako bye boogera okuba Bw’Ati bw’Ayogera Mukama, n’Abagamba nti mukkirize buli kigambo. Waaliwo omusajja omu yekka eyalina obuyinza obwo okuva eri Katonda, omubaka malayika we ow’omusanvu.

Osobola, era osaanidde okuba n’omusumba. Naye omusumba oyo bwaba nga takugamba nti EDDOBOZI LYA KATONDA eriri ku ntambi lye DDOBOOZI ERISINGA OBUKULU OKUWULIRA, era nga tali mu KULITEEKA KU MWANJO mu maaso go nga awuliriza entambi wamu naawe, so si okukugamba obugambi nti kino nnabbi kye yayogera, olina omusumba omukyamu.

Oyo yenna akukulembera, ne bw’ogamba nti Mwoyo Mutukuvu, wandifundako naye ng’akugatta ku Bubaka buno, Eddoboozi eryo, anti lye ddoboozi  lyokka eriyinza okugamba nti, “NZE DDOBOOZI LYA KATONDA ERI GWE”.

Bw’oba nga wategekebwa okuKiraba, ojja kuKiraba. Bw’otokikola, tolikiraba; tewategekebwa kukiraba.

Tulaba amawanga nga geegatta, tulaba ensi nga yeegatta, tulaba amakanisa nga geegatta. Tulaba Omugole nga yeegatta, nga Yeegatta n’Ekigambo. Lwaki? Ekigambo ye Katonda. Era nga Ekigambo…Nga Omugole Omusajja (oyo nga ye Ekigambo), n’Omugole (oyo nga ye muwuliza w’Ekigambo), Bajja wamu mu Bumu. Beegatta ng’embaga. Laba, Beetegekera embaga, era Ba—Bafuuka Omu. Ekigambo kifuuka ggwe, naawe okifuuka Ekigambo. Yesu n’agamba nti, “Ku lunaku olwo mulikimanya. Byonna Kitaffe by’Ali, Mbiri; era byonna bye ndi, mubiri; era byonna bye muli, Mbiri. Ku lunaku olwo mulimanya nti ndi mu Kitange, Kitange mu Nze, nze mu mmwe, nammwe mu Nze.”

Nkwaniriza okujja okwegatta naffe okwetoloola Eddoboozi lya Katonda Ssande eno ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), nga bwetuwulira, Ekiseera Eky’Okwegatta N’Akabonero 63-0818 .

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwuliriza Lukuŋŋaana:

Zabbuli 86:1-11
Omut. Matayo 16:1-3