23-1203 Nnyinza Ntya Okuwangula?

Obubaka: 63-0825M Nnyinza Ntya Okuwangula

BranhamTabernacle.org

Eddanga Ery’okumazzi Eryagalwa,

Emitima gyaffe nga gyabuusebuuseemu olw’essanyu ku Ssande bwe twawulidde Mukama waffe ng’Ayogera n’Atubuulira ebigenda mu maaso kati. Tuli mu kwegatta n’Ekigambo era nga tufuuka OMU naye. Mu bbanga ttono nnyo tujja kwegatta n’abatukuvu abaatusookayo mu lugendo okubeera OMU nabo. Olwo ffenna wamu tujja kuba tugattibwa ne Kristo nga omuntu OMU olw’Ekyeggulo ky’Embaga ey’Obugole ey’Omwana gw’Endiga.

Nga ssanyu lingi nnyo eryabugaanye emmeeme zaffe bwe Yatugambye okulowooza nti mu kaseera katono, mu kutemya kw’ekikkoowe, ensi tejja na kumanya kigenda mu maaso; naye amangu ago, tujja kulaba abaagalwa baffe mu maaso gaffe abaatusookayo mu lugendo, era tujja tugattibwa nabo nate.

Okusuubira nga kungi kutya okujjuza emitima gyaffe okulowooza nti, mu kaseera katono, tujja kulaba nga mu maaso gaffe wayimiriddewo ba taata baffe, ba maama baffe, baganda baffe, bannyinaffe, ba bbaffe, bakazi baffe, abaana baffe, nga kw’otadde ne nnabbi waffe. TUJJA KUBALABA, MU MUBIRI!!

Olwo tuli kulikimanya awo wennyini nti, kino ky’EKYO; ekiseera kituuse, tuwangudde, KIWEDDE. Yogera ku kucamusibwa okukoleezebwa Okubikkulirwa!! Okukilowoozaako obulowooza n’okukyogerako obwogezi kati, nsobola okubawulira nga muleekaana nti, EKITIIBWA, ALELUUYA, ERINNYA LYA MUKAMA WAFFE LITENDEREZEBWE.

Kiseera oba nnabaki kino kyetulimu, nga tulya ku lujjuliro olw’ebbaluwa zino ez’omukwano ezituleetebwa. Ebbaluwa z’omukwano ze tusobola okusikayo akaseera konna we twagalira ne tuzisoma nga tuziddiŋŋana tuziddiŋŋana emirundi n’emirundi. Si ekyo kyokka, naye n’EKISINGAKO AWO OBUKULU, tusobola OKUWULIRA Mukama waffe yennyini ng’Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu w’okunsi n’Atugamba nti, “Ebbaluwa zino ez’omukwano nnaziterekera ggwe wekka, swiitimutima wange. Nnakimanya nti ekiseera kirituuka lw’ojja okwetaaga okuMpulira nga Nkubuulira engeri gye nkwagala ennyo era nga bw’oli owange.”

“Nnayagala nkutegeezenga buli lunaku omulabe bw’akulumba, bw’oyita mu bigezo byo byonna n’okugezesebwa nti, GWE WANGE. Omuwendo Nnagusasula dda. Nnawangula dda byonna…oMpulidde swiitimutima? BYONNA byeweetaaga, Nnabikuwangulira dda, kubanga nkwagala”.

“Nnakimanya nga tewannabaawo wadde ensi. Wali kitundu ku Nze MU KASEERA AKO. Ekyo kati tokijjukira, naye nze nkijjukira. Tewerabira bye nakugambye, oli Nnyama ya Nnyama yange, Mwoyo gwa Mwoyo gwange, Eggumba ly’Eggumba lyange”.

“Ekiseera kati kituuse kye mbadde nkubuulirako. Tewajja kuddamu kubaawo nnaku, nga tewakyali bigezo na kugezesebwa kwonna; ennaku ezo ziweddewo. Kati tuli ffe ffekka nga tuli wamu Obutaggwawo bwonna”.

“Ddamu amaanyi. Genda mu maaso ng’owaguza. Olunaku olwo lunaatera okuvaako eddiba. Obunkenke bwonna bw’oyitamu buli lunaku bukola gumu gwa kukusembeza busembeza gyendi”.

“Ekintu kyonna bwe kikutuukako, n’otuuka w’owulirira ng’omenyese nnyo, ng’okooye era ng’okutusekutuse, era ng’owulira nga atakyasobola kugenda mu maaso, tolina kwerabira, Ndi awo wennyini naawe. Ekigambo kyange kibeera mu Ggwe. Ggwe Kigambo kyange.”

“Nkugambye, yogera Ekigambo. Byonna by’oyaayaanira, b’osaba, kkiriza nga ogenda kubiweebwa era olibifuna. Kijja kukuweebwa. Mmaze okukikuwangulira”.

Ebigambo bino nga bitegeeza ky’amaanyi nnyo gye tuli. Bitubeezaawo buli lunaku. Kisitula Emyoyo gyaffe ne kituteeka mu bifo eby’omu Ggulu wamu naYe. Tubeerawo ku lwa Katonda n’Ekigambo kye kyokka. Tulina ekigendererwa kimu, ekyo ye Yesu Kristo. Ebweru w’Ekyo, mpaawo kirala kyetubalamu makulu.

Tutegedde Okwolesebwa kuli. Olutimbe luzingiddwako ne ludda ku bbali era tuMulaba, Ekigambo kye nga kifuuse omubiri, ng’Ayogera naffe ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’okunsi. Tuli mu mukwano n’Ekigambo kino, Obubaka buno, Eddoboozi eryo.

Jjangu otwegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), era ofune obumanyirivu obusingayo okuba obw’ekitalo mu bulamu bwo. Owulire engeri gy’oyinza okuwangulamu buli lutalo sitaani lw’akukasukira mu kkubo lyo. Ojjuze omutima gwo essanyu eppitirivu n’okumatizibwa nga okimanyi nti oli Mugole wa Yesu Kristo.

Owol. Joseph Branham

63-0825M Nnyinza Ntya Okuwangula?


Okubikkulirwa 3:21-22