23-1210 Okukkiriza Okutuukiridde

Obubaka: 63-0825E Okukkiriza Okutuukiridde

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole w’Okukkiriza Okutuukiridde Omwagalwa,

OKUKKIRIZA kwaffe kujja na kuwulira , okuwulira Ekigambo. Ekigambo kijja eri nnabbi.

Nabbi ye:

Ekigambo ekifuuse omubiri! Aleluuya! Ekigambo nga kikolera mu mubiri gw’omuntu, mu bubonero obw’omubiri, mu bubonero obukwatikako, mu bubonero obw’omu Byawandiikibwa, butuukirivu ddala, okukuleetera Okukkiriza Okutuukiridde olw’Okukwakkulibwa Okutuukiridde.

Tuli mu kukola ekyo kyennyini Ekigambo kye kitugamba okukola nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda lyokka eryakakasibwa nga Lyogera era nga Libikkula Ekigambo kye okuyita mu mubiri gw’omuntu okutuwa Okukkiriza Okutuukiridde.

Olina…amatu go maggale eri ekintu ekirala kyonna okuggyako Omwoyo by’Ayogera. Okiraba? “Eri oyo alina okutu ( awuliriza ), laba Omwoyo ky’Agamba amakanisa”; oyo alina akuuma akawuliriza amayengo g’amaloboozi agayita mu bbanga, akwata Omwoyo by’Ayogera eri amakanisa. Okiraba?

Ffe tuli kuuma ke akawuliriza Eddoboozi lye akwata era akakkiriza buli Kigambo. Bw’Atuwa ebiragiro: “Mwogere byokka ebiri ku ntambi ezo. NZE Ddoboozi lya Katonda gyemuli . Mumpita omusumba wammwe, era mwogera bulungi, kubanga ekyo kyendi.” Tubituukiriza. Kyonna Ky’Ayogera, tewali kisiikirize kya kubuusabuusa wantu wonna; tutambula tweyongerera ddala mu maaso. Kyonna Mukama waffe ky’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi we, tewali muntu yenna mu nsi asobola okwogera naffe n’atumatiza okukivaamu, tugendera ddala bugenzi mu maaso mu ngeri y’emu.

Kati muyingira mu Kukkiriza Okutuukiridde , okutuukirira okutuukiridde okutasobola kulemererwa. Okukkiriza okwo tekulemererwa.

Kati tulina Okukkiriza Okutuukiridde mu Kigambo kye. Tetwetunuulidde nga ffe. Tetulina kye tutya, nga Yobu. Tetufuna kutya nga tutunuulira amayengo amanene ennyo n’okubbira mu mazzi nga Peetero. Ennaku ezo ziweddewo.

KATI tutunuulidde Ekigambo ekyo Ekituukiridde ekibeera era ekituula mu ffe. Tuli mu kufuuka matiiriyo y’Omugole. Tuli mu kuyingira mu mbeera y’Okukwakkulibwa.

Bwe tusaba, tukkiriza nti tufunye bye tusaba, era tujja kubifuna; bijja kutuweebwa. Ebiseera, ebbanga, tewali kirala kijja kukikyusa. Tukimanyi nti kiwedde. Kyaggwa dda. Tumanya tutya? Kubanga Si Kigambo kyaffe, wabula KIGAMBO KYE, ky’Ayogedde n’Atuwa. Tulina AMAANYI N’OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE OKUKYOGERA.

Ddala nga Yesu bwe Yakola ku lulwe, naffe tutegeera ekifo kyaffe; kye tuli. Ekintu kyokka kye tulina okukola olwo, kwe kuba n’okukkiriza mu kye tuli. Okubeera n’okukkiriza mu ekyo EKIGAMBO kye kigamba nti tuli! Olwo Ekigambo kya Katonda ne kijja mu ffe ne kyeyoleka; kubanga tuli bakkiriza. Era omukkiriza kwe “kukkiriza kwa Katonda okutambula mu ffe.”

Era kati, tufuuka abafukibbwako amafuta n’Omwoyo oyo yennyini, bamasiya abafukibbwako amafuta; bamasiya ab’olunaku olw’oluvannyuma, okwaka nga tuwa ekitangaala eky’okuzuukira kwa Yesu Kristo; okulaga nti si mufu, wabula mu ngeri y’Omwoyo Omutukuvu, Ali mu bantu be; ng’Atambula mu Mugole We, ng’Alina omukwano gy’Ali, nga Yeeyiwa mu Ye, Ye mwennyini. Bafuuka omu olw’ekijjulo eky’Embaga ey’Obugole; era obubonero bwe bumu, obwasuubizibwa Katonda y’omu, mu Kigambo kye kimu, buli mu kukola okwolesebwa kwe kwe kumu.

Tewali kyetusigadde kukola okuggyako okukikkiriza; era nga tukkiriza Kye kintu ekitonda Okukkiriza Okutuukiridde. Ekyo mukiwulirize nate, NGA TUKKIRIZA KYE KINTU EKITONDA OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE.

Waliwo akaayi mu mubiri gwo akabuusabuusamu Ekigambo kimu: NEDDA

Okkiriza buli Kigambo: Weewawo

Akuwadde Okubikkulirwa kw’Obubaka buno: Weewawo

Omugole yekka y’anaaba n’Okubikkulirwa okwo okwa nnamaddala: Weewawo

Okimanyi nti oli Mugole we: Weewawo

Yagambako nti okuyita mu kukkiriza buli Kigambo kijja kukuwa Okukkiriza Okutuukiridde: Weewawo

AWO GGWE MUGOLE W’EKIGAMBO EKY’OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE!!

Ayi Mukama tutegeke nga bwekibangawo nga bwe tukuŋŋaana ku Ssande okuwulira Ekigambo Kyo. Tuyambe obutaddamu kwetunuulira nga ffe nate, wabula okukkiriza obukkiriza Ekigambo Kyo kyeWayogera ku lwaffe. Tulabye Okusika okw’Okusatu mu nkola era tukimanyi nti Kubeera mu ffe. Tulina okuba nga twogera era nga tukkiriza Ekigambo Kyo.

Tukimanyi nti ojja mangu olw’Omugole Wo ow’Ekigambo Ekituukiridde. Kyonna kye twetaaga, Kitaffe, KYONNA KYE TWETAAGA, tukimanyi nti tujja kukifuna. Kubanga Kye Kigambo Kyo kye Wayogerera edda ku lwaffe. Tewali kya kukola wabula OKUKKIRIZA OBUKKIRIZA. Bwetukola Kitaffe, bwetukola. Kati katukolere ku KIGAMBO KYO.

Twatula okulemererwa kwaffe kwonna, ebibi n’okusobya kwaffe. Tutunuulire okuyita mu Musaayi gw’Omwana wo gye tuweebwa obutuukirivu olw’Ekisa kyo n’okusaasira kwo.

Leka wabeerewo enkyukakyuka mu Mugole Wo nga bwe kitabangawo. Otufukeko Omwoyo Omutukuvu era otuwe byonna bye twetaaga.

Abalwadde banaawonyezebwa okulumizibwa kwonna. Eyaddirira ajja kukomawo mu Kigambo. Omugole wo okwetoloola ensi yonna ajja kulaba ekkubo lyo eriteereddwawo olwaleero era akkirize.


Bw’oba tolina muntu yenna okukussaako emikono…weteekeko emikono…oli mukkiriza. Ofuuse Kigambo; ofuuka Ekigambo, nga bw’osembeza Ekigambo.

Jjangu Mukama waffe Yesu, Omugole wo ali mu kwetegeka nga agalamira mu maaso g’Ekigambo kyo, nga Ayengera. Twagala tubeere nga tuyonjeddwa era nga twambaziddwa Ekigambo Kyo.

Jjangu otufukeko amafuta nga bwe kitabangawo Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), ng’ekitundu ky’Omugole wo kikuŋŋaana okukuwulira GGWE ng’Oyogera n’okutubikkulira engeri y’okufunamu: Okukkiriza Okutuukiridde 63-0825E.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwulira lukuŋŋaana:

Omut. Makko 11:22-26 / 16:15-18
Omut. Yokaana 14:12 / 15:7
Abaebbulaniya 11:1 / 4:14
Yakobo 5:14
1 Yokaana 3:21