22-0529 Okukkiriza Okutuukiridde

Obubaka: 63-0825E Okukkiriza Okutuukiridde

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole Ow’okukkiriza Okutuukiridde Omwagalwa,

Nate, nsanga nga tekisoboka kuteeka mu bigambo Obubaka buno, ebbaluwa za Katonda ez’omukwano eza ssekinnoomu, ezaawandiikibwa n’Omusaayi Gwe, ezaayogerwa n’Eddoboozi Lye, kye kitegeeza gye tuli. Ebirala byonna tebirina kye bitegeeza. Tumwagala okuva mu buziba bw’omutima gwaffe era Kituwadde Okwagala Okutuukiridde gy’Ali. Tewali kiyinza kutusigula kuva ku Kigambo ekyo. Tewali bumativu bulala mu bulamu bwaffe okuggyako okumuwulira ng’Assa ekimu naffe ng’Ow’omukwano ne mukwano gwe.

N’okuba si ffe, Ye y’Abeera mu ffe, ng’Akoowoola Ye Yennyini. Bwe buziba nga bukoowoola obuziba. Essanyu ery’amaanyi ery’okunyiga zannya n’okuwulira Katonda ng’Akozesa eddoboozi ly’omuntu okutugamba nti, ffe balonde be. Okutugamba nti Yatwagala nga ensi tennatondebwawo; kubanga Yali Akimanyi nti tulimwagala n’ebyo byonna ebiri munda mu ffe, era tulisigala nga tuli beesigwa gy’ali n’Ekigambo kye.

Byonna bye twetaaga, Abituwadde. Tewali kibulako. Yaganya Ekigambo kye okuwandiikibwa mu ngeri y’ennukuta era n’akikuuma okumala enkumi n’enkumi z’emyaka asobole okutubuulira Okwagala kwonna okwali mu mutima gwe ku lwaffe.

Olwo okwagala kwe nekweyongera nnyo okuba okungi gye tuli nga bw’Atugamba nti: “Ndijja nate mu mubiri Njogere nammwe mumwa ku kutu waleme kubaawo butategeeragana, kutabulwatabulwa, ewatali kwetaagisa kuvvuunula. Nja kutwala obudde bwange era mbalage Okwagala Kwange, era mujja kusobola okukiwulira emirundi n’emirundi. Njagala mumanye, Kitange ali mu Nze, nze ndi mu mmwe, mmwe muli mu Nze, tuli BUMU. Omubiri gwo gwe Mubiri gwange, eggumba lyo ly’ Eggumba lyange, omwoyo gwo gwe Mwoyo gwange.

Nja kubabuulira byonna ebiri mu Mutima Gwange mu bujjuvu ennyo. Nja kukifuula kya lwatu nnyo okutuusa nti mujja kumanya awatali kubuusabuusa,nti Ebigambo bye mpandiise era bye njogedde byammwe, era tebijja kulemererwa.

Nja kukuwa Okukkiriza Okutuukiridde, era Kujja kuba Mukama w’embeera zonna. Omulabe ne bw’anaaba ayogera ki, Kujja kukifuga nga bw’olina Okukkiriza Okutuukiridde mu ekyo Ekigambo kyange kyekigamba nti ky’oli. Omulabe ne bw’aba agezaako okukugamba ki, tomuwuliriza wadde. Amatu gammwe mazibe ku kintu ekirala kyonna wabula Omwoyo wange by’Amaze okubagamba. Kisudde ennanga mu mitima gyammwe, era tewali kigenda kubaleetera kusenguka okuva mu Kyo.”

Okukkiriza okwo okutuukiridde kwe tulina mu kumanya Obubaka buno nti buli Bwati bw’Ayogera Mukama, tukozesa OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE okwo kwekumu ku buli kisuubizo kye Yatugamba nti kyali kyaffe mu Kigambo kye. Bwe tuba balwadde nga twetaaga okuwona, kiba kyaffe. Bwe tuba n’obwetaavu bw’ekintu kyonna, tusobola okukifuna, kubanga tufuuse abaafukibwako amafuta n’Omwoyo we. Ffe bamasiya be abaafukibwako amafuta ab’olunaku olw’enkomerero, nga tulaga okuzuukira kwa Yesu Kristo.

Nsonga ya mukwano Ye nga Yeeyiwamu mu ffe. Tufuuka Omu naye olw’Ekyeggulo ekyo eky’embaga ekinene. Omwoyo we Ali wano naffe era Ali mu ffe. Tulina ekintu kimu kyokka eky’okukola, era ekyo kwe kukikkiriza, okukisembeza.

Siffe Mubaka Malayika wa Katonda ow’omusanvu, wabula tuli batabani be ne bawala be. Emikono gyaffe mikono gye. Tukkiriza ebyogerwa ku lutambi nti biri Bw’atyo Bw’Ayogera Mukama. Kye Kigambo ekiramu.

Nabbi we ye musumba waffe. Nga bwetuwuliriza Ekigambo ekyakwatibwa, tukkiriza nti Aba Katonda nga Ayogera naffe butereevu. Tulina Okukkiriza Okutuukiridde nga tukkiriza ekyo.

Nga tukuŋŋaana wamu okwetoloola ensi yonna okuwuliriza Katonda ng’Ayogera naffe ng’Ayita mu nnabbi we, okukkiriza kwaffe kweyongera waggulu nga Katonda bw’Agatta Omugole We okwetooloola Ekigambo kye ekikakasibbwa.

Olw’enkya lugenda kuba lunaku lwanjawulo ku ndala zonna. Tujja kutwala Okukkiriza kwaffe Okutuukiridde kw’Atuwadde era tujja kukukozesa ku kyonna kye twetaaga, era tujja kukifuna nga Empagi y’Omuliro bw’Eyogera ng’Eyita mu mubaka We gwe Yalonda era n’Etugambe nti:

Mumanyi kye mbakoze? Mumpise, “omusumba wammwe”; era mwogera bulungi, kubanga ekyo kyendi. Bwemba nga nze, omusumba wo, Ntegeezebbwa Yesu Kristo, nti nkola omulimu Gwe, olwo mukkirize Ekigambo kyange. Nga nkola ekikolwa kino eky’okukkiriza, nga nkuteekako emikono, nvumiridde obulwadde n’okubonaabona ebikutawaanya. Mukkirize ekyo, bwe mutyo bwe munaafunanga kye musaba, ka kibeere ki, kubanga byonna biyinzika eri abo abakkiriza. Era bw’o saba, kkiriza nti ofuna ekyo kye wasabye. Era nzikiriza mu mazima nti nkifuna, era mu mutima gwange nzikiriza buli kimu eky’okuwonyezebwa kwo, nkikkiriza, nti kikoleddwa. Nkikkiriza, nkikkiriza n’ebyo byonna ebiri mu nze.

Tukkiriza n’ebyo byonna ebiri mu ffe, nti Obubaka buno ly’Eddoboozi lya Katonda, eryayogerwa, nerikwatibwa, nerikakasibwa era nerikuumibwa olw’olunaku luno. Tukkiriza nti buli kye tusaba, tujja kukifuna, kubanga Kiri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA KYAFFE.

Jjangu otwegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), okufuna kyonna kyeweetaaga nga bwe tuwuliriza nnabbi wa Katonda ng’atubuulira engeri y’okufunamu: Okukkiriza Okutuukiridde 63-0825E.

Ow’oluganda. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma:

Makko Omutukuvu 11:22-26 / 16:15-18
Yokaana Omutukuvu 14:12 / 15:7
Abebbulaniya 11:1 / 4:14
Yakobo 5:14
1 Yokaana 3:21