26-0712 Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo

Obubaka: 60-1204M Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo

BranhamTabernacle.org

Ekibiina Eky’Obunnabbi Abaagalwa,

Nga twagala nnyo ekigambo, OKUBIKKULIRWA! Obukulu bw’Okubikkulirwa KWONNA okw’amazima okuweebwa Omwoyo Omutukuvu eri omukkiriza ow’amazima tebuyinza kuggumizibwa kussukkawo. Okubikkulirwa kwa makulu nnyo eri Omugole n’okusinga obulamu; kubanga ku LWAZI LUNO, OKUBIKKULIRWA, ndizimba Ekkanisa yange, era olw’ekisa n’okusaasira kwa Katonda, ffe Ekkanisa ye erina Okubikkulirwa kwe okw’amazima.

Ekitabo ky’Okubikkulirwa tekigendereddwa kubeera kya buli muntu. Teri asobola kuKitegeera. Kitabo kya bunnabbi ekyawandiikibwa kulw’ekibiina ky’abantu abamu ab’obunnabbi, era nga kiyinza kutegeerwa bo bokka: FFE, Omugole wa Yesu Kristo.

Kye Kitabo kyokka Kristo kye Yeewandiikira Mwennyini mu bitabo by’omu Baibuli yonna, wabula Yakiweereza era n’Akimanyisa nga Akozesa malayika wE gwe Yatuma eri omuddu wE Yokaana. Abayigirizwa baali tebamanya mazima gano agawandiikiddwa. Gaali tegababikkulirwangako ke batuukira awo. Ne Yesu yali tasobola kubabuulira ku kifo kyE mu Go; kubanga Kitaffe yali tannakiMubikkulira.

Naye kati, oluvannyuma lw’okufa kwE n’okuzuukira kwE, era mu kigero ky’ekiseera kino kyennyini, Asobola okusoosootola Okubikkulirwa kuno okwa Ye Mwene eri Yokaana, ekitiibwa kye n’okubeerawo kwe mu kkanisa kye bitegeeza era kye bikola.

Naye ne kaakano, oluvannyuma lw’emyaka enkumi bbiri, ensi efumiitirizzanga, abasomi b’ebya Katonda beekkaanyizzanga era ne bawaddenga endowooza zaabwe ensengejje, wabula tewali alina nzivuunula ntuufu na Kubikkulirwa kutuufu okw’ebyama bino ebyawandiikibwa mu Kitabo ky’Okubikkulirwa n’okutuusa leero, okutuusa ku kiseera kino, Katonda lwe Yasindika malayika oyo yennyini ku nsi okuKitubikkulira FFE, Omugole wE gwe Yeeroboza.

Okugezaako okutegeera obunene bwakyo nti Katonda Yannonda nze, era Yakulonda ggwe; okubeera n’Okubikkulirwa okw’amazima okw’Ekigambo kyE kisukkiridde okunnyonnyolwa kw’omuntu. Wadde nga waliwo bangi abagamba nti bagoberera Obubaka era nga bagamba nti bakkiriza nti Katonda Yatuma nnabbi, tebalina Kubikkulirwa kujjuvu mu kumanya ekiva mu butafuula Ddoboozi lye eddoboozi erisinga obukulu lye BATEEKEDDWA OKUWULIRA. Okubeera n’Okubikkulirwa kuno okw’Eddoboozi lyE mu lunaku luno ddala ye Luulu eri ey’omuwendo omunene.

Katonda alonze ffe nga ab’okubikkula OKUBIKKULIRWA okwo OKW’AMAZIMA eri bo. N’olwekyo, ffe KKANISA Ye EYA NNAMADDALA, eggye lye li Mutawangulwa Sitaani ly’atabeerera wa maanyi mu maaso gaalyo, era ebigendererwa bye we biyingibwa mu ngeri emalamu amaanyi. Nga tulina Okubikkulirwa kwE okw’amazima mu bulamu bwaffe, emiryango gy’emagombe tegirina ngeri gye gituyinza, wabula tuligiyinza. TEWALI KINTU kiyinza kutwesimba mu maaso.

Okubikkulirwa okw’amazima era okujjuvu okw’olwaleero kwe kutegeera obukulu bw’Eddoboozi lya Katonda ery’olunaku lwaffe. Bwe kiba nti okugenda mu kkanisa, okubeera ow’ekkanisa, okwewaayo, okusaba, n’okusinza Katonda bye byonna Katonda by’Atwetaaza, olwo Katonda aba teyali mwenkanya okusingisa Kayini omusango olw’okukola ekyo kyennyini kye Yamugamba okukola.

Kino Eddoboozi eriri ku ntambi kye litegeeza gye tuli:

Okubikkulirwa kw’ekintu kyonna nga kuteekeddwa emabega wano nga kujjirako n’omukisa eri oyo aKusoma n’aKuwulira, era nga kujjirako n’ekikolimo eri abo abanaakwongerako oba okukitoolako. Ye ssemateeka mu bulambirira, oh, abusoluuti oyo. Mpaawo kiyinza kwongerwa ku Kwo. Era omuntu bw’agezaako okuKisonjolamu ekintu kyonna, oba okuKinyigamu ekintu kyonna, Katonda Yagamba nti oyo yennyini alimuggyako omugabo gwe mu Kitabo ky’Obulamu. Okiraba? Wa kuggya omugabo gwe mu Kitabo, singa aba akyongeddeko.

Nga bwe kitabangawo, Katonda ataddewo ENGERI ENTUUKIRIVU ey’obutongerako yadde okutoola ku Kigambo kye. Atuwadde omukisa okuwulira Eddoboozi lyE nga bw’Ayogera n’okutubikkulira ekigambo kyE. Mu ngeri ennyangungu tewayinza kubaawo kintu kyonna kisinga ekyo.

Kuno kwe KUBIKKULIRWA OKUTUUFU okw’olunaku luno.

Ndi musanyufu nnyo era nga ndi wansi wa kusuubira okw’amaanyi olwa byonna Mukama by’Atutegekedde nga bwe tuwuliriza, nga tusoma, era nga tuyiga n’okwetegereza Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu. Katonda Yakiwandiika, n’Atuma malayika wE okuKimanyisa eri Yokaana, olwo n’Atulinda okubeera wano ku nsi mu kaseera kano kennyini asobole okututumira malayika oyo yennyini okuKibikkula!

Tewabangawo kiseera kya kitiibwa mu byafaayo by’ensi okusinga leero. Tewabangawo kussibwamu kitiibwa kwa waggulu mu muntu okusinga okufuna omukisa okwewulirira Eddoboozi lya Katonda ku bwabwe. Tewabangawo kiseera Omugole wE lwe yali asobodde okugattibwa awamu nga akozesa Eddoboozi lyE bonna mu kiseera kye kimu.

Mubeere beetegefu, Katonda agenda kutuwa Okubikkulirwa okusingawo ku Ye n’ekyo kye tuli: Eggye lye li Mutawangulwa, Omukyala wE Omulonde gwe Yeeroboza, ow’oku mutima gw’alindiridde okuva ku ntandikwa y’ebiseera.

Ekyo tewali kiyinza kukituggyako. Kisudde ennanga mu mitima gyaffe ne mu mmeeme zaffe nga bwe kitabangawo. Kati kifuuse ekya nnamaddala ekiri mu kutuwa Okuyimusibwa okw’amaanyi ennyo mu Kukkiriza.

Tugenda kutandika olugendo lwaffe olw’amaanyi ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (y’essawa 1(emu) ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira Obubaka obusooka: 60-1204M Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo.

Nnandyagadde okukukubiriza okufuna ekitabo kyo eky’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu, okisomere mu mbeera ensirifu mu kisenge kyo era oyige nga weetegereza, ssuula ku ssuula, buli wiiki. Tugenda kuba tugattiddwa mu bumu nga tuwuliriza Eddoboozi lyE, awo ne tusoma Ekigambo kyE.

Owol. Joseph Branham