23-0416 Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo

Obubaka: 60-1204M Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo

BranhamTabernacle.org

Omuti gw’omugole Omwagalwa,

Nga jubileewo nnyo Omuti gw’Omugole gyegulina. Emitima gyaffe n’emmeeme zaffe zitutyemuka munda yaffe nga bwe kitabangawo. Atambula era ayogera naffe, nga abikkula Ekigambo kye. Ebintu bigenda mu maaso mangu nnyo kumpi tetusobola kwekuumira ku bwangu bwebituukirirako.

Tuwulira Ekigambo kya Katonda ekituukiridde nga kyoleseddwa Omuti gwa Nabbi ogutuukiridde, nga gubuulira Ekigambo kya Nabbi ekituukiridde, nga guvaamu ekibala kya Nabbi ekituukiridde, olw’Ekigambo kya Katonda ekituukiridde.

Buli kintu ekyasaanyizibwawo era ekyaliibwa ababaka abana ab’okufa abatta Omuti guno, kati kizzeemu okuzzibwawo nate okuyita mu babaka bana ab’Obulamu. Si babaka BATAANO, si babaka ab’emirundi etaano, si kibinja; Ababaka BANA bazzeemu okuzzaawo Omuti gw’Omugole.

Okuva ku ntandikwa y’ebiseera, Katonda alindiridde olunaku luno n’ekiseera kino okutuukirira asobole okulaba ebibala bye, mu kiseera kye, olw’entuuko za nnabbi. Ffe Kibala ekyo. Zino z’entuuko. Ekiseera ky’amakungula kituuse.

Wiikendi eno eya Paasika yabadde yanjawulo ku Paasika endala zonna omuntu yenna zeyali abaddeko. Tetuliddamu kuba kyekimu. Okubeerawo kwa Mukama ng’okwo. Nabadde nnindiridde Okukwakkulibwa okubaawo akatikitiki konna.

Mu Baibuli, Dawudi yayogera Ebigambo bino: Bampummudde engalo zange n’ebigere byange. Nnyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso.

Abantu baali basomye era nga bawulidde ekitundu ekyo okumala ebikumi n’ebikumi by’emyaka, naye Yesu bwe yali awanikiddwa awo mu maaso gaabwe ku musaalaba, Omugole ateekwa okuba nga yamutunuulira n’ategeera nti, Olunaku luno, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde mu maaso gaffe gennyini.

Kye bateekwa okuba nga baawulira bwe baategeera nti baali balaba, n’amaaso gaabwe, Ekyawandiikibwa ekyo nga kituukirizibwa, era nga bali kitundu ku Kigambo ekiwandiike.

Abo ye ffe KATI. Tubeera mu nnaku Ebyawandiikibwa byonna ebisembayo mwe bituukirizibwa mu maaso gaffe; era tuli kitundu ku Byawandiikibwa ebyo.

Atambulira ddala wakati mu ffe. Kwe kuggwaako kw’olunaku olw’okusatu . Alabiseeko n’atulaga akabonero k’okuzuukira kwe. Ye y’omu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Ffe bibala ebiramu eby’Okubeerawo kwe. Ayoleseddwa era alabika gye tuli ffenna, Ekkanisa ye.

AKIKOLA ATYA?

Nabbi aggyiddwa mu nsi eno, naye Omwoyo Omutukuvu ali ku ntambi , era agenda mu mawanga n’okwetooloola ensi yonna. BWE BUWEEREZA OBUWEEREZEBWA KU MPEWO OBUTEEREEVU OBWA MUKAMA YESU KRISTO. Ali mu kugatta Omugole We yenna wamu nga Akozesa ekintu kyokka ekiyinza okukikola, era ekijja okukikola: Ekigambo kye. Eddoboozi lye. OKUNYIGA ZANNYA!

Leero, Ekyawandiikibwa Kino, Kituukiridde.

Ye Muti gw’Omugole Omusajja okuva mu Lusuku Adeni. Naye Omuti gw’Omugole Omusajja ogutaliiko Mukazi, teguyinza kubala bibala; Alina okuba n’Omuti gw’Omugole Omukazi. Oyo ye GGWE. Wazaalibwa ne matiiriyo y’omu. Ekigambo kifuuliddwa omubiri mu mmwe. Obulamu bwe bumu obuli mu Mugole Omusajja kati buli mu GGWE.

Omugole aleekaana nti: Aleluuya, Amiina, Ekitiibwa!!

Kiki ky’atutegekedde ekiddako?

Ensonga lwaki tuba n’obudde buno obw’enjawulo eri nti tusobolenga oku… Ku mutima gwange Omwoyo Omutukuvu yali antaddeko okulabula kuno okw’ okulumirizibwa, nti, “Ekkanisa mu lunaku luno erina okuba n’Obubaka buno.” Kubanga, nzikiriza nti bwe Bubaka bwa Baibuli obusinga okuba obukukunavu, kubanga bubikkula Kristo mu Kkanisa ye mu kiseera kino.

Bwe kityo, Omugole agenda kukuŋŋaana ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo 60-1204M.

Njagala okukukubiriza okuwulira, oba okusoma, buli wiiki okuva mu Kitabo ky’Emirembe gy’Ekkanisa, essuula gye tuba tuwulidde buli Ssande. Tujja kuba tuteeka Eddoboozi ly’Olungereza ku Lifeline – Voice Radio buli lunaku mu biseera eby’enjawulo, naye wulira eddembe okulisoma, okuwuliriza n’okulisoma wiiki yonna essaawa yonna.

Leka tusanyuke era tubeere basanyufu. Tossa mwoyo ku nsi eno n’ekibi n’okuggwaamu essuubi byonna ebitwetoolodde. Leka tujaguze kulwa byonna by’atukolera buli lunaku.

Mu biseera bya Musa, nkakasa abantu baakanya kubuuzanga Musa nti,

“Tuva ddi mu kifo kino? Tuva ddi wano?”

Mpulira Musa ng’akkakkanya abantu n’agamba nti:

“Katonda bw’anaaba nga mwetegefu. Naye kati, munyumirwe byonna by’abakolera MMWE”.

Mu nnyumba yo olina ebikere? NEDDA.

Olinayo enzige eziri mu kulya ebimera byo? NEDDA

Olinayo amazzi g’omusaayi g’onywa? NEDDA. Onywa amazzi amayonjo ag’ensulo. Weetulire bwetuulizi ntende onyumirwe byonna by’Akola ne by’Akubikkulira.

Eri bo, kufa, kuzikirizibwa na musango. Naye eri ggwe, ennaku zino ze nnaku ezisinga obukulu ku nsi. Mubeere n’essanyu, emirembe n’essanyu. Mutendereze butendereza Mukama waffe kyokka olw’ebyo byonna by’akola, era mwesunge ky’agenda okuzzaako.

Owol. Joseph Branham