23-0423 Okwolesebwa okw’e Patumo

Obubaka: 60-1204E Okwolesebwa okw’e Patumo

BranhamTabernacle.org

Abaagalwa B’Ekigambo Kya Katonda Abaagalwa,

Nga kirungi nnyo okusobola okwogera eri buli omu ku mmwe nga mbayita Abaagalwa b’Ekigambo kya Katonda. Tewali kintu kyonna kiyinza kutwala kifo kyakyo. Okubeera n’omukisa okuwuliriza Mukama waffe buli lunaku olw’obulamu bwaffe, ng’ayogera naffe ng’ayita mu mimwa gy’omuntu, nga Atubuulira ky’ali era ne kye TULI. Tewali kifo, tewali ddoboozi, tewali kkanisa, era tewali musajja asobola kukubuulira bintu bino ng’EDDOBOZI LYA KATONDA.

Yatugamba nti okuluŋŋamizibwa kw’Ekigambo kuli ku ntambi. Kye tulina okukola kyokka kwe kunyiga Zannya Omwoyo Omutukuvu n’Ajjula ekisenge. Omubaka waffe yali asaka obulamu, n’ekitangaala, okuva mu by’obugagga eby’omu kibya ekyo ekinene ebirala byonna mwebisaka. Olutambi lwe olusika amafuta yali alunnyise omwo munda.

Obulamu bwe bubumbujja omuliro n’Omwoyo Omutukuvu. Olutambi lwe olusika amafuta (obulamu bwe) bunnyikiddwa mu Kristo. Okuyita mu lutambi olwo asika obulamu bwa Kristo bwennyini, era nga akozesa obwo, afulumya ekitangaala gye tuli, Omugole.

Awo n’Atugamba nti olutambi lw’omubaka We ow’amaanyi si lwelulimu lwokka, wabula ffenna tusaka ku nsibuko y’emu. Ffenna tunnyikiddwa mu kibya kyekimu. Tufudde mu mibiri gyaffe era obulamu bwaffe bukwekeddwa ne Kristo mu Katonda, nga busibiddwako akabonero Omwoyo Omutukuvu.

Tewali muntu ayinza kutusiguukulula mu ngalo ze. Obulamu bwaffe tebusobola kukwatibwako. Obulamu obulabika butwakiramu omuliro era bumulisiza mu ffe ekitangaala, nga buwa ekitangaala n’okwolesebwa kw’Omwoyo Omutukuvu. Obulamu bwaffe obw’omunda, obutalabika bukwekeddwa mu Katonda era buliisibwa Ekigambo kya Mukama . Tulina Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu lunaku lwaffe.

Engeri Ekigambo gye kiriisa emmeeme yaffe. Tewali kintu kyonna kikifaanana. Engeri gy’ataddewo ekkubo Omugole, okuva mu nsi yonna, gy’ayinza okukuŋŋaana okuwulira Eddoboozi lya Katonda mu kiseera kye kimu. Abavumirira oba ababuusabuusa ne bwe boogera ki, Katonda akoze ekkubo era kawoowo akawoomu gy’ali. Yaakamala okutugamba nti Ajja kutugatta ffenna wamu ku nkomerero y’olunaku olw’okusatu. Ekitiibwa!!

Ffenna tujje wamu ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga kituleetera Okubikkulirwa kw’Ekigambo nga bwe tuwulira: Okwolesebwa okw’e Patumo 60-1204E .

Okusooka, tulina OKUYINGIRA MU MWOYO nga bwe tugenda okuwulira;

Eddoboozi eryafulumya Ekigambo kye mu Lusuku Adeni ne ku lusozi Sinaayi, eddoboozi eryo era nga ly’eryawulirwa mu kitiibwa ekisukkiridde eky’Olusozi olw’Okukyusibwa, lyali lizzeemu okuwulikika, era ku mulundi guno eri amakanisa omusanvu n’okubikkulirwa kwa Yesu Kristo okujjuvu era okw’enkomeredde.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga weetegekera okuwulira Obubaka.

Jjukira okusoma n’okuwulira ekitabo ky’Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa.

Isaaya 28:8-12
Danyeri 7:8-14

Zekkaliya 4:1-6

Malaki 4:1-2, 4:5

Omut. Matayo 11:28-29, 17:1-2

Omut. Yokaana 5:22

Abebbulaniya 4 :3-4, 4:7-10, 4:12

Okubikkulirwa 1:9-20, 19:11-15