23-0430 Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso

Obubaka: 65-1205 Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso

BranhamTabernacle.org

Zaabu Omulongoofu Akubiddwa Abaagalwa,

Nga nneeyanzege nnyo okubeera nga nneegasse na buli omu kummwe, nga tuyingira mu Mwoyo era nga tuwuliriza Katonda ng’ayogera naffe, kamwa ku kutu. Tewali na yadde ekkomo ku ebyo by’atubikkulira. Emitima gyaffe gijjudde essanyu. Emyoyo gyaffe gibugaana essanyu. Omuntu ayinza atya okutegeera ebyo bye tuwulira?

Wuliriza buwuliriza Mukama yennyini by’atugamba, nti: “Ggwe Ekkanisa yange eya nnamaddala, Omugole Wange. Eri Nze, ogeraageranyizibwa ku zaabu OMULONGOOFU. Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu bwange. Ebikula byo by’ebikula byange eby’ekitiibwa. Endagamuntu yo yennyini esangibwa mu Nze. Kye NDI, ky’ekiri  mu kulabikira mu ggwe. KYE NINA, ggwe ky’oli mu kwolesa.

Eri NZE, temuli nsobi yonna mu ggwe, oli wa kitiibwa munda ne kungulu. Okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, ggwe mulimu gwange…era emirimu gyange gyonna gituukiridde.

Tojja kubeerayo mu kusalirwa omusango, kubanga ekibi tekiyinza kukubalirwako. Era nga n’ensi tennatondebwa, ekigendererwa kyange kyali kya kugabana na MWE Obulamu Bwange Obutaggwaawo.

Omuntu ayinza atya okukwata Ebigambo bino? Ebirowoozo byaffe biyinza bitya okutegeera ebigenda mu maaso? Kiki ekiri mu kubikkulirwa? Kirowoozeeko, tetwetaaga kukaaba mu mutima gwaffe ne tugamba nti, “Oo, ekyo kyandiba nga kyaliwo mu mulembe ogwasooka abatume we baasooka okusindikibwa.” TEWALI kitwetaagisa kutunula mabega, kubanga Ye, atakyuka wadde mu bukulu bwe oba mu makubo ge, ali mu masekkati gaffe KATI, ng’ayogera naffe era ng’atugamba nti aba bumu jjo, leero n’emirembe gyonna. Kino kye kiseera EKISINGA OBUKULU mu byafaayo by’ensi ky’oyinza okubeeramu.

Tukubibwa era ne tulongoosebwa, nga tujjudde okubonaabona Kristo kwe yaleka emabega. Tubalibwa ng’endiga ez’okuttibwa. Tuttibwa olunaku lwonna. Tubonaabona nnyo, naye mu byonna, tetwesasuza, era tetuleetera balala kubonaabona. Eri ye, tuli zaabu omulongoofu akubiddwa, tetuvunnamye, tetumenyese, tetuzikirizibbwa, wabula tufuuliddwa ekintu ekijjudde obulungi n’essanyu emirembe gyonna olw’ebigezo n’okugezesebwa kw’obulamu buno.

Kati alabula abalala bonna nti, “Muddeeyo ku kwagala kwammwe okwasooka”. Nga balina okwegendereza ennyo engeri gyekiri nti tosobola kukyusa KIGAMBO KIMU, wadde akatonnyeze oba akasittale.Ako ke kaali akakodyo ka Sitaani akasooka mu Lusuku Adeni. Kigambo kimu kyokka ky’ekigattibwako, olwo ne kifuuka mulabe w’Ekigambo.

Mu mulembe guno ogusembayo atulabula nti wajja kubaawo bannabbi ab’obulimba bangi abalirabika, nga bagamba abantu nti bwe batabakkiriza ne bye boogera , mujja kubula.

Waliwo ENGERI EMU YOKKA okukakasa nti TEWALI kyongeddwako, tewali kitooleddwako, tewali kikyusiddwa… nga tuwuliriza EDDOBOOZI LYA KATONDA erirongoofu…NYIGA ZANNYA.

Mukama yebazibwe olw’omuweereza owa nnamaddala, eyayigirizibwa n’obwesigwa, atakoma ku kubuulira obubuulizi endiga ze obukulu bw’okuwuliriza Obubaka buli lunaku mu maka gaabwe, naye nga babeera abakulembeze abatuufu, BASOOSA ERA BATEEKA KUMWANJO Obubaka Buno, Eddoboozi lino, Entambi Zino, mu maaso g’abantu mu kkanisa zaabwe.

Bwe njogera bino, bantegeera bubi ne banvunaana ogw’okwawulamu amasinzizo n’okugamba abantu obutagenda mu kkanisa. Ekyo mu njogera ennyangu si kituufu. EKIGAMBO ky’ekiri mu kuggya abantu mu makanisa gano agatali mu KUSOOSA ntambi mu masinzizo gaabwe. Abantu balumwa enjala okuwulira Ekigambo okuva eri Nabbi wa Katonda. Bawulira muli nti EKYO bwe Bubaka era Eddoboozi erisinga obukulu lye baagala okwegeka amatu. Bakiwulira muli nti okwo Kwe Kwagala kwa Katonda Okutuukiridde okuzannya entambi mu kkanisa yaabwe.

Bulijjo abantu mbagamba nti, “GENDA MU Kkanisa”. Bwe babuuza nti: “Ggwe owulira muli nti ababuulizi bakyasobola okubuulira?” Mbagamba “Yee.” Ssoogerangako wadde okulowooza nti tebalina kubuulira. Nze mbagamba bugambi ababuulizi, abasomesa, abasumba nti, “Mukole Katonda kye yabayita okukola, NAYE NSABA, muteeke Eddoboozi lya Katonda lyenyini ku lutambi KU MWANJO, SSI BUWEREEZA BWAMMWE”.

Okwo kwe KUBIKKULIRWA kwange. Balina okukola nga BWEBAWULIRA NTI BWEBAKULEMBEDDWA OKUKOLA. Nnina eddembe okubuulira n’okuyigiriza kye mpulira. Bwe baba baagala okugamba nti Ow’oluganda Branham tagambangako Kunyiga Zannya mu Kkanisa, Eddoboozi lya Katonda lyennyini lye bagamba nti bagoberera, ekyo kiri gye bali.

Omwoyo Omutukuvu ali mu kukulembera, era bulijjo abaddenga, Akulembera Omugole we. Tukkiriza nti atugamba nti, “MUNYIGE ZANNYA, MUSIGALE NE NABBI WANGE, EDDOBOOZI LYANGE, OMWOYO WANGE OMUTUKUVU.”

Kale, tujja kubaayo n’omwoleso ku kyo, kw’olwo, nga Eriya nnabbi nga kino tekinnatuuka. Era bw’oba omwana wa Katonda, ojja kusigala ne nnabbi wa Baibuli eno. Kye Kigambo. Weetegereze essaawa, entuuko.

Nnabbi wa Baibuli y’ani, Ekigambo, Omwoyo Omutukuvu!

Omwoyo Omutukuvu ye Nabbi w’essaawa eno; Ali mu kukakasa Ekigambo kye, ng’akiraga nti kituufu. Omwoyo Omutukuvu ye yali Nabbi w’omu ssaawa ya Musa . Omwoyo Omutukuvu ye yali Nabbi w’omu ssaawa ya Mikaaya. Omwoyo Omutukuvu eyawandiika Ekigambo, ajja n’akakasa Ekigambo.

Omwoyo Omutukuvu ow’essaawa eno atukulembera nga Akozesa nnabbi we, nga bw’akozenga mu buli mulembe. Katonda takyusa nteekanteeka ye.

N’olwekyo, muyitibwa okujja okutwegattako mu kye tuwulira nti y’enteekateeka ya Katonda nga tuwuliriza Omwoyo Omutukuvu ng’ayogera ng’ayita mu nnabbi we, era nga Akutukulembera nga bw’atuleetera Obubaka: Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso 60-1205 , ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda).

Owol. Joseph Branham
   

Ebikolwa By’Abatume 20:27-30

Okubikkulirwa 2:1-7