23-0507 Omulembe Gw’Ekkanisa Ey’OMu Sumuna

Obubaka: 60-1206 Omulembe Gw’Ekkanisa Ey’OMu Sumuna

BranhamTabernacle.org

Abakkiriza Abannamaddala Abaagalwa,

Tuli nga abaana ba Isirayiri abaava e Misiri ne bayimirira mu okumala akabanga katono nga tebannatuuka mu nsi ensuubize. Ffenna tutambudde wamu. Ffenna tulabye ebyamagero bya Katonda bye bimu; bonna baalya emmaanu y’emu n’amazzi okuva mu Lwazi olwakubibwa. Ffenna tugambye nti tugoberera Empagi y’Omuliro. Naye BABIRI BOKKA be baatuuka mu Nsi Ensuubize mu kiseera ekyo. Lwaki? BABIRI BOKKA BE BAALI ABAKKIRIZA ABEESIGWA OBA ABANNAMADDALA. Njawulo ki eyaliwo wakati w’ekiseera ekyo ne kati? Abakkiriza abannamaddala baasigala n’Ekigambo.

Waliwo ekibinja kimu kyokka eky’enjawulo ennyo eky’abantu abasobola okuwulira Omwoyo by’ayogera. Ekibinja ekimu eky’enjawulo ekifuna Okubikkulirwa okw’amazima. Ekibinja ekyo kya Katonda. Bawulira Omwoyo by’ayogera era babifunye.

Yeffe kibinja ekyo eky’enjawulo abalina Omwoyo wa Katonda. Ffe abazaalibwa Katonda. Yeffe abaabatizibwa okuyingira mu mubiri gwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’Omwoyo gwe.

Obukakafu obwannamaddala kwe KUWULIRA Omwoyo by’ayogera. Omwoyo ayogera. Omwoyo ayigiriza. Ekyo ky’ekyo kyennyini Yesu kye yagamba nti ky’Alikola ng’Azze. Yokaana 14:26, “Oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.”

Yesu yatusuubiza nti Ajja kuba abeera mu buli omu ku ffe. Yali wa kutukulembera, Atuluŋŋamye era Atulagirire ffe nga bassekinnoomu. Naye emyaka 72 egiyise leero, Katonda yayogera ng’ayita mu malayika we ow’amaanyi n’alangirira eri ensi nti, “Nze Ddoboozi lya Katonda gyemuli”. Yagamba buli kitonde ekiramu nti “Nze Omwoyo Omutukuvu nnina EDDOBOOZI lye ŋŋenda okukozesa okwogera nammwe n’okubikkula ebyama byange byonna”. Yali tafunangako mukisa Ddoboozi lye kukwatibwa ku lutambi ffe okusobola okuwulira Eddoboozi lye nga Lyogera naffe kamwa ku kutu.

Ng’owulira Eddoboozi lye ku ntambi tekijja kukwetaagisa kwewuunya, kusuubira, oba wadde okusaba nti by’owulira ge mazima. Omuntu ky’alina okukola KYOKKA kwe kunyiga Zannya, olwo n’asobola okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lirangirira gy’ali nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama”.

Weetaaga okuwonyezebwa: Nyiga Zannya. Weetaaga okufumbirwa: Nyiga Zannya. Weetaaga okuziikibwa: Nyiga Zannya. Olina ekibuuzo ku mutima gwo: Nyiga Zannya. Olina ky’oyitamu era weetaaga okuluŋŋamizibwa okw’amagezi: Nyiga Zannya. Olina okusalawo okukulu kw’olina okukola: Nyiga Zannya. Tomanyi kyakukola mu bulamu bwo: Nyiga Zannya owulirize Eddoboozi lya Katonda, Omwoyo Omutukuvu, nga Ayogera naawe kamwa ku kutu.

Omwoyo Omutukuvu ye nnabbi w’olunaku. Yagamba ensi nti, lino lye ddoboozi lye ntegese okubeera Eddoboozi lyange gye muli. Nja kujjuza abalala n’Omwoyo wange Omutukuvu, era mbatumye okubayambako, naye nnina Eddoboozi limu lyokka lye nnangirira okuba EDDOBOOZI LYANGE. N’okuba nneekubisizza naye ekifaananyi kyange okukakasa ensi nti, MuMuwulire.

Bambi temuntegeera bubi. Weewawo, waliwo abasajja ba Katonda abaafukibwako amafuta abajjudde Omwoyo Omutukuvu be yayita okuyamba abaana be. Nsaba mbeere nga ndi omu ku bo. Nabo basobola okukuwa amagezi, okukubudaabuda, n’okukulungamya mu lugendo lw’obulamu. Katonda abataddewo olw’ekigendererwa. Naye okubuulirirwa, okubudaabudibwa n’okuluŋŋamizibwa okusinga OBUKULU kw’osobola okufuna lye Eddoboozi lya Katonda okwogera naawe ng’onyiga Zannya. Ekintu kyonna kye nkugamba, oba omusajja omulala yenna, kiteekwa kusooka kuva mu Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.

Tewali kisingako bukulu mu bulamu bwo, ku kuwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naawe. Weebuuze, waliwo ekintu kyonna mu nsi eno EKISINGAKO OBUKULU kye nnyinza okukola, oba ekisingako obukulu mu bulamu bwange, ku kuwuliriza EDDOBOOZI lya Katonda eryakakasibwa? Okuwuliriza Owol. Yusufu, NEDDA. Okuwuliriza omusajja omulala yenna, NEDDA. Tewali kintu KISINGA DDOBOOZI ERYO BUKULU.

Omuntu yenna bwaba alina Okubikkulirwa kwonna n’Omwoyo Omutukuvu mu bulamu bwe alina okugamba AMIINA. Tewali kisinga Kunyiga Zannya bukulu, mu nsi eno.

Nga tulina okwegendereza ennyo mu kiseera kino eky’enkomerero okusigala n’Ekigambo ekyo. Okuva mu bigambo bya Paapa, eyeeyita Omutuukiriza w’obuvunaanyizibwa bwa Katonda yennyini, okutuuka okukyusaamu akatonnyeze kamu oba akasaze kamu mw’ebyo ebiba byogeddwa. Mu Maaso ga Katonda, KYONNA OKUTWALIZA AWAMU KIBA MULABE WA KIGAMBO, MULABE WA KRISTO.

Tetwagala kubeera ng’abantu abaaliwo mu kiseera kya Samwiri.

Bwe baatuukirira Samwiri ne basaba kabaka. Samwiri yatya nnyo olw’okuba yali amanyi obulabe obukirimu omutima gwe katono gumutyemuke. Katonda yali akulembeddenga abantu be ng’ayita mu nnabbi ono eyawongebwayo mu butukuvu, eyakakasibwa mu Byawandiikibwa, era n’awulira muli nti yali agaaniddwa…

Tusiima ebyamagero, amagezi, obugabirizi n’obukuumi bwa Katonda. Tukikkiririzaamu. Tukyagala nnyo. Era n’ekirala tetwagala kubeerawo nga tetubirina. Ensonga eri emu yokka nti twagala kabaka ow’okutukulembera mu lutalo…

“…TWAGALA KABAKA ALI OMU KU FFE ATUKULEMBERE.”

Katonda n’agamba Samwiri nti, “Laba, tebakugaanye, naye bagaanye NZE okubafuga.”

Okwawukana ku ekyo, tuwulira nga Erisa bweyali nga Ayogera ne Eriya. Eriya YAMUGAMBA KAATE, (leero kigenda kwogerwa ku lutambi,) ggwe sigala wano nga nze ngenda. Erisa yali tayagala, era teyasobola kukikola, yalina OKUBIKKULIRWA kw’Ekigambo ky’olunaku lwe.

Kati, tubalaba nga bwe bagenda mu maaso n’olugendo, baatuuka ku ssomero eryo. N’agamba nti, “Ggwe sigala wano kati. Beera wano, era osenge wano obeere omusomesa omulungi ow’eby’eddiini, n’ebirala. Era osanga, olunaku lumu, oyinza okufuuka akulira ettendekero lino. Naye nze nnina okweyongerayo kko mu maaso katono.”

57 Oyinza okukubamu akafaananyi omusajja wa Katonda okumatira okubeera omukulu w’ettendekero, ng’Amaanyi ga Katonda gaali gamwetoolodde awo wennyini we yali ayimiridde? Nedda ssebo. Yagamba nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu n’omwoyo gwo bwe guli omulamu, nange sijja kukuleka.” Ekyo kinnyumira. Sigala nakyo, okumalibwamu amaanyi ne bwekwenkana wa, ne bwe kuba kuva wa maama wo, taata wo, oba wa musumba wo. Sigala naYe.

Nga Mukama bw’ali omulamu, nja kusigala n’Eddoboozi lya Katonda nga Nnyiga Zannya, kubanga Liri Bw’atyo bw’Ayogera Mukama gyendi.

Jjangu weegatte ku kisibo kyaffe, Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), nga tukuŋŋaana okuwulira Eddoboozi lye nga lyogera naffe n’okutuleetera Okubikkulirwa kwa: Omulembe Gw’Ekkanisa ya Sumuna 60-1206.

Owol. Joseph Branham

Okubikkulirwa 2:8-11