23-0514 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo

Obubaka: 60-1207 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo

BranhamTabernacle.org

Abaana Ba Nabbi Abaagalwa,

Yeffe Kigambo ekyeyoleseddwa, nga tuweebwa amaanyi Omwoyo, nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda, nga bw’atulangirira nti, TULI MUGOLE WE.

Kitaffe awadde Ekkanisa Ye ebirabo by’Omwoyo MWENDA, n’obuweereza obw’emirundi ETAANO, naye Yesu yagamba nti: Mu BULI mulembe nja kwetegeeza eri omuntu OMU YEKKA. Omubaka OMU yekka mu buli mulembe y’ajja okufunanga bye nnina okwogera eri omulembe ogwo. Oyo OMUBAKA OMU ye mubaka eri Ekkanisa eya nnamaddala.

Ayogera ku lwa Katonda olw’okubikkulirwa . Olwo Obubaka ne bulyoka busaasaanyizibwa eri abantu bonna, naye bufunibwa kibinja ky’abantu kimu kyokka ekirina ebisaanyizo mu ngeri emu. Buli muntu ssekinnoomu mu kibinja ekyo y’oyo alina obusobozi okuwulira Omwoyo by’ayogera ng’ayita mu mubaka . Abo abawulira tebafuna kubikkulirwa kwabwe okw’ekyama, era tewali kibinja na kimu kifuna kubikkulirwa kwabwe okw’omuggundu, NAYE BULI MUNTU AWULIRA ERA AFUNA EKYO OMUBAKA KYEYAFUNA EDDA OKUVA ERI KATONDA.

Nga tulina okubeera abeegendereza ennyo tutyo okuwulira Eddoboozi LIMU, kubanga Omwoyo talinaayo ddala lyonna wabula Eddoboozi limu lyokka eryo nga lye Eddoboozi lya Katonda.

Waliwo EDDOBOZI LYA KATONDA LIMU era teryetaagisa kukakasibwa nga biri OMWENDA, wadde okusengejjebwa nga buli obw’emirundu ETAANO; WABULA EDDOBOOZI LIMU LYOKKA EDDONGOOFU ERY’EKIGAMBO!!

Tusobola okuwuliriza abaweereza abalala? Weewawo, naye eky’ekyenkizo kwe kwogera ekyo KYOKKA ekyayogerwa nnabbi. Abalala basobola, era basaanye, okubuulirira, okuyigiriza n’okubuulira; naye Katonda atukoledde ekkubo leero mu ngeri ETEEFAANANYIZIBWAKO NA LUNAKU OLULALA LWONNA. Tusobola okuwulira kyennyini Katonda ky’Ayogera eri Ekkanisa.

Yatugamba nti tulina okwegendereza ennyo. YATUGAMBA, SSI NZE, nti bongerako wano, oba ne batoolako wali, era mu bbanga ttono obubaka buba tebukyali bulongoofu. Nga owuliriza entambi, Kigambo ku kigambo, aba Bwatyo Bw’Ayogera Mukama.

Obukakafu bw’Omwoyo okuba nga Ali munda mu muntu kwe kukkiriza mu mutima nti nnabbi wa Katonda alina Obubaka bweyawa olw’omulembe guno, n’olangirira nti ge Mazima era n’OBUGOBERERA nga bweyasengeka ekkanisa.

Y’ensonga lwaki TUGOBERERA, ne tugamba nti, omusumba waffe ye mubaka malayika ow’omusanvu era twagala kuwulira ebyo byokka by’ategeeseeyo okwogera gyetuli. Eri ffe, Ye Maanu Enkusike.

Okubikkulirwa kwafukibwa ku mubaka malayika waffe. Ebbaluwa eyawandiikibwamu Okubikkulirwa kw’Ekigambo kulw’omulembe gwaffe yajja eriko linnya LYE. Alina Okubikkulirwa okunene-ko okwa kiki Kristo ky’ali; okuyitibwa okwa waggulu-ko, okusinga abalala bonna. Bwe kiba nti tetusobola kutambulira mu bulamu bwa waggulu kusinga ku musumba waffe, olwo kye tuba twetaaga ye William Marrion Branham okubeera omusumba waffe.

Tukimanyi nti abalala tebajja kulaba bye tulaba, newankubadde okukkiriza ebintu bye tukkiriza, naye basigala baganda baffe era bannyinaffe, era tujja kumala Obutaggwawo wamu nabo. Naye tulina okusigala nga tuli beesigwa eri ekyo kyetukkiriza nti ly’ekkubo Katonda ly’atulaze okumusinzaamu n’okumugoberera.

Kyangu nnyo abalala okugamba nti tuyitiriza nnyo omubaka, naye mu butuufu, tuli mu kunokola bunokozi kyeyagamba. Okwogerezaganya kw’ekyo olina kugenda wa Mukama. Kubanga Ddoboozi lya Katonda lye liri mu kwogera ebintu bino.

Leka tuggulewo emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe tusome Omwoyo bye yatugamba ng’ayita mu malayika we:

Ajja mu nsi mangu, malayika omukulu oyo ow’Ekitangaala agenda okujja gyetuli, alitukulembera okutufulumya, Omwoyo Omutukuvu omukulu, alijja mu maanyi, era ajja kututwala eri Mukama waffe Yesu Kristo. Oboolyawo tajja kukimanya naye ajja kuba wano ezimu ku nnaku zino. Ajja kuma…Katonda ajja kumumanyisa. Tajja kwetaaga kwemanyisa, Katonda y’Ajja okumumanyisa. Katonda ajja kukakasa oyo owuwe. Ekyo kyeYayogera nga Yesu ali wano era tebaaMumanya, laba. Yagamba nti, “Bwe sikola mirimu gya Kitange, olwo temukkiriza; naye bwe nkola emirimu gya Kitange, era nga temuyinza kunzikiriza, kale mukkirize emirimu egyo.” Ekyo kituufu ?

Tali mu kweyita malayika omukulu ow’Ekitangaala olw’olunaku luno? Tukimanyi nti Mwoyo Mutukuvu ali mu ye y’Ali mu kukikola, naye yagamba nti: Oboolyawo tajja kukimanya, naye ajja kuba wano ezimu ku nnaku zino. Omwoyo Omutukuvu tajja kumanya ky’Ali? Tajja kwetaaga na kwemanyisa ; Katonda Ajja kumumanyisa .

Kale ali mu kugamba nti, nnabbi ow’omulembe gwaffe ye malayika omukulu ow’Ekitangaala agenda okutukulembera okutufulumya n’okututwala eri Yesu Kristo olw’Omwoyo Omutukuvu oyo Ayita mu ye. Kukwo awo Okubikkulirwa okw’omulembe gwaffe.

Ani agenda okwanjula Omugole eri Mukama? OMUSUMBA WAFFE.

Naye nnabbi ono alijja, era ng’omulanzi w’okujja kwe okwasooka bwe yaleekaana nti, “Laba Omwana gw’endiga owa Katonda, aggyawo ekibi ky’ensi,” bw’atyo awatali kubuusabuusa naye bw’ajja okuleekaana nti, “Laba Omwana gw’endiga owa Katonda, ajja mu kitiibwa.” Kino ajja kukikola , kubanga era nga Yokaana bwe yali omubaka w’amazima eri abalonde, bw’atyo n’ono bw’ali omubaka asembayo eri abalonde n’ omugole eyazaalibwa Ekigambo.

Nga bwetumanya amazima gano, era nga tulina Okubikkulirwa kwe OKUJJUVU mu lunaku luno, tufuuse Omugole we eyazaalibwa Omwoyo, ajjudde Omwoyo.

SANYUKA OMUGOLE, KINO KYETULI!

Omusajja eyazaalibwa Omwoyo, ajjudde Omwoyo mu kukkiriza bw’atwala Ekigambo ekyo mu mutima gwe n’akiteeka ku mimwa gye, nga lwaki, ekyo kyenkanankana n’Obulamba bwa Katonda nga bwogera. Buli lusozi luba lulina okuseetuka. Sitaani tayinza kuyimirira mu maaso g’omusajja oyo.

Kati enkolagana eya nnamaddala w’eri wakati w’Omugole omusajja naffe, Omugole we omukazi. Atulaze Ekigambo kye eky’obulamu, era tukifunye. Tetujja kukibuusabuusa. N’olwekyo, tewali kiyinza kutukola bulabe, wadde okufa.

SANYUKA OMUGOLE, KINO KYETULI!

Ekigambo kiri mu mugole (nga bwe kyali mu Maliyamu). Omugole alina endowooza ya Kristo kubanga amanyi Omugole omusajja ky’ayagala kikolebwe n’Ekigambo. Akola ekiragiro ky’Ekigambo mu linnya lyE kubanga “Bw’ati bw’ayogera Mukama.” Olwo Ekigambo ne kizuukizibwa Omwoyo ne kituukirira. Ng’ensigo esimbibwa n’efukirirwa, etuuka ku makungula nga ekuze bulungi, ng’etuukiriza ekigendererwa kyayo.

Tutuuse mu makungula nga tukuze bulungi era kati tukola ekigendererwa Ye kyeYatutonza.

Tusobola kukola Kwagala kwe kwokka. Tewali ayinza kutuleetera kukola kirala. Tulina “Bw’ati Bw’ayogera Mukama,” oba tusigala cce. Tukimanyi nti Katonda y’Ali mu ffe, nga Akola emirimu gino, ng’Atuukiriza Ekigambo kye YE Mwene.

Tusanyuka, kubanga nnabbi yatulaba emitala w’olutimbe lw’ebiseera nga ffenna tuyimusa amaloboozi gaffe ne tuleekaanira wamu mu ddoboozi eriwoomu nti, “Tuwummulidde ku ekyo!”

Jjangu okuŋŋaanire wamu naffe , Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), nga tuwulira Eddoboozi Lya Katonda lituleetera ekyama kya: Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo 60-1207.

Owol. Joseph Branham
    

Okubala 23:8-9
Okubikkulirwa 2:12-17, 17:1-5, 17:15