23-0521 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira

Obubaka: 60-1208 Omulembe Gw’Ekkania Ey’Omusuwatira

BranhamTabernacle.org

Emmunyeenye Mu Ngule Ye Abaagalwa,

Musanyuke Omugole. Tuli mu kufuuka Omu naYe. Buli lunaku, atuwa Okubikkulirwa okusingawo ku Ye ne ku Ffe. Tugenda tweyongera okutegeera Amaanyi ago Agawa Obulamu agali era agatuula munda mu ffe.

Tetusobola na kutandika kunnyonnyola ngeri gye tuwuliramu. Tubulidde munda mu Mwoyo We. Buli kirowoozo kyaffe aba Ye. Tewali kirala kikulu gye tuli. Tulaba Ekigambo kye nga kifuuka Ekigambo mu ffe. Kiriisa emmeeme yaffe. Tubeerawo buli lunaku okumusinza, okumutendereza, n’okumwebaza nti tusobola okuwulira Eddoboozi lye nga Lyogera gyetuli.

Nga bwe tusoma Ekitabo kyaffe eky’Emirembe gy’Ekkanisa, kumpi tetusobola na kukiwummuzaako wansi; emitima gyaffe gitulika. Buli lunaku luleeta Okubikkulirwa okusingawo. Twagala okubuuka ne tuleekaana, ne tudduka mu kisenge wonna nga tukuba enduulu nti: “Ekitiibwa, Aleluya, Mukama Yeebazibwe.” “Kino wakisomye?” “Nnakiyisaamu langi eramba emitwe gyange emikulu gyemba nsomye, naye sikisomangako, SIKIKOLANGAKO, kusima nga kuluno.” Atubikkulira Baibuli yonna okuva mu Olubereberye okutuuka mu Kubikkulirwa, era nneerabayo NAFFE FFENNA MU KIGAMBO KYE.

Tulaba Omugole oyo Omutuufu eyasigala n’Ekigambo okuyita mu mirembe gyonna era nga teyalimbibwalimbibwa bulimba bwa Sitaani obw’ekitalo. Sitaani yali ayagala okusinzibwa nga Katonda. Naye ebbanga eryo lyonna waaliwo omugole oyo OWA NNAMADDALA, ng’asigala nga mwesigwa eri Ekigambo kye. Akabinja ako akatono akalondebwa akaasigala n’omubaka We. Nga ffe, nabo tebaasobola, era tebandyekkiriranyizza. Baali bakimanyi nti waliwo ENGERI EMU YOKKA ey’okubeera abakakafu: okusigala n’Ekkubo Lye lyeyateekawo, Ekigambo kye, malayika we.

Nga abadde mulimba nnyo Sitaani, kaatandikira kubala budde. Yasala amagezi ge okuyita mu Mirembe gy’Ekkanisa egy’enjawulo okutuusa lw’atuuse ku biruubirirwa bye. Kati afuuse wa kulusegere nnyo n’OYO OMUTUUKIRIVU okutuusa nga asobola okulimba abalonde bennyini oba nga kisoboka….naye Katonda atenderezebwe, TEKISOBOKA, TETULIMBIBWA. Lwaki? TWASIGALA N’EDDOBOZI LYA KATONDA, EKIGAMBO KYE EKIFUUSE OMUBIRI.

Tewali ngeri yonna ya kukyebalamamu. Eddoboozi lya Katonda lye Kkubo lye lyeYateekawo kulw’olwaleero. Tusigadde tukola emirimu gye n’obwesigwa okutuusa ku nkomerero. Tuweereddwa obuyinza ku mawanga, era tuli bafuzi ba maanyi, ab’obusobozi, abatakyusa mulamwa gwabwe abasobola okugumira embeera yonna n’amaanyi amangi ennyo. N’omulabe waffe asinga obumalirivu ayongobedde. Engeri gyetwolesaamu obusobozi bwaffe okufuga, olw’Amaanyi ge, efaananidde ddala nga ey’Omwana We yennyini.

Oh, nga twagala nnyo okulaga mu bigambo engeri gye tuwuliramu. Olunaku lumu tujja kusobola okukitegeeza, mikwano gyange. Tujja kumala Obutaggwawo ne Mukama waffe, malayika we, era ne bannaffe.

Nga omukyala w’olususu lwa langi enkwafu e Memphis, twamanya nti ye Ye bwe twamuwulira. Lwaki? Oh, tuli OMU KU BBO.

Wandyagadde Omwoyo Omutukuvu okwogera naawe era akubuulire ky’oli? Jjangu weewulirireko ku kubeerawo kwa Mukama wamu naffe, Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira 60-1208. Kijja kukyusa obulamu bwo.

Owol. Joseph Branham