Obubaka: 60-1207 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo
- 24-1103 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo
- 23-0514 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo
- 20-1122 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo
- 19-0203 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo
- 16-0320 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo
Omugole Omuwala Omulongoofu Omwagalwa,
Obadde onyumirwa Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu? Katonda ali mu kuwa Omugole We okudda obuggya nga bwe kitabangawo. Ali mu kutuwa Okubikkulirwa okusingawo, Okukkiriza okusingawo, n’okukakasibwa okusingawo nga tumanyi kye tuli, ne kyetuli mu kukola nga tusigala n’Ekigambo, Ekkubo Lye lye Yatuwa olwaleero.
Kaakati Atugamba nti: “Okutandika n’olukuŋŋaana lw’oku Ssande okweyongerayo mu maaso, mwambale endowooza yammwe ey’omwoyo. Leka Omwoyo Omutukuvu aKinnyikize munda era mumanye ekifo kya buli kimu mu mwoyo n’engeri ey’okukikozesaamu mu bye ŋŋenda okukola. Kye Kigambo kyange ekiweereddwa Omwoyo obulamu ekyayogerwa nnabbi wange owa Malaki 4”.
Ka tusome era tukwate ebimu ku Bigambo bye era tukozese endowooza yaffe ey’omwoyo ku byo.
Katonda Yateekawo omukulembeze we ajjudde Omwoyo eri ekibinja kye ekijjudde Omwoyo; Malayika we; era n’Amuteekako akabonero k’erinnya, naye tasaanidde kulibikkula. Alina okulyekuumira ye kennyini, laba. “Tewali muntu amanyi wabula ye kennyini.”
Kale Katonda yawa Omugole We omukulembeze ajjudde Omwoyo olw’ekibinja kye ekijjudde Omwoyo. OMUKULEMBEZE, SSI ABAKULEMBEZE olw’ekibinja kye ekijjudde Omwoyo.
Agenda okujja mu nsi mangu, malayika ono omukulu ow’Ekitangaala agenda okujja gyetuli, oyo alitukulembera okutufulumya, Omwoyo Omutukuvu ow’ekitalo, nga Ajja mu maanyi, era alitukulembera Atutwale eri Mukama waffe Yesu Kristo.
Malayika omukulu ow’Ekitangaala. Malayika omukulu ow’Ekitangaala eri omulembe guno ogusembayo y’ani? William Marrion Branham. Tali mu kwogera ku Mwoyo Mutukuvu. Amazze okujja ate agamba nti alijja.
OYO ALITUKULEMBERA OKUTUFULUMYA. Mazima tumanyi era tukkiriza nti Omwoyo Omutukuvu y’Atukulembera, naye mu bulambulukufu ateeka malayika we mu kifo kye n’Omwoyo Omutukuvu wamu n’Agamba nti Ye (Omwoyo We Omutukuvu) ajja kuba atukulembera (okuyita mu / nga akozesa) malayika We omukulu ow’Ekitangaala.
Agenda mu maaso n’okubasibira wamu ng’Agamba nti:
Oboolyawo tajja kukimanya,
Tali mu kugamba nti Omwoyo Omutukuvu tajja kumanya ky’Ali, wabula ategeeza malayika We omubaka We ow’oku nsi gwe yalonda OKUTUKULEMBERA OKUTUFULUMYA.
Wabula ajja kuba atuuse wano ezimu ku nnaku zino. Alimanyi… Katonda alimumanyisa. Talyetaaga na kwemanyisa, Katonda ajja kumumanyisa. Katonda ajja kukakasa Owuwe .
Nate, tali mu kugamba nti Omwoyo Mutukuvu ajja kuba atuuse wano EZIMU KU NNAKU ZINO , wabula malayika we omukulu ow’Ekitangaala ow’okukulembera Omugole We. Talyetaaga na kwemanyisa , Katonda ajja kumanyisa omukulembeze we omukulu eri Omugole We Ye Mwene ng’Ayita mu OKUBIKKULIRWA.
Kati oli mu kuteegera ekifo kyakyo n’engeri ey’okukikozesaamu mu mwoyo? Olaba malayika w’Ekitangaala y’ani Katonda gwe Yalonda okukulembera Omugole We? Kirina we kigamba wano nti akati mu mbiro zino kaweereddwa eri abakulembeze abalala?
Tolibeerako mu bulamu buli mu kifo kya waggulu-ko okusinga ku musumba wo. Ggwe jjukira bujjukizi ekyo, laba.
Wadde ng’abalala bayinza obutatutegeera ne beeyisa oba okwogera eby’obunyoomi gyetuli, nga tuli basanyufu era nga tweyanzeege mazima olw’Okubikkulirwa okutwogeza nti, WILLIAM MARRION BRANHAM YE MUSUMBA WAFFE.
Kati nga bwe kiri inti buli bumu ku bubaka buno butegeezebwa bugenda eri “malayika” oyo — (omubaka ali mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi) obuvunaanyizibwa obunene ennyo awamu n’enkizo ey’ekitalo [“privilege”—omwagaanya okukola abalala kyebatakkirizibwa oba kyebatasobola – Ed] gwe mugabo gwe.
Obubaka bwategeezebwa nga bugenda eri malayika We, olwo malayika we n’abutuusa eri Omugole; si eri obuweereza bwokka, wabula eri OMUGOLE WE YENNA era Buli ku lutambi bonna basobole okubuwulira. Tebusobola kwongerwako oba okutoolebwako, era tebwetaaga KUVVUUNULA KWONNA.
Ajja mangu, era bw’Alijja Ajja kusookera gy’oli ggwe, era olisalirwa omusango okusinziira ku Njiri gye wabuulira ggwe, naffe tuliba buvunaanyizibwa bwo.” Nnagamba nti, “Ky’otegeeza nze bano bonna mbavunaanyizibwako?” N’agamba nti, “Buli omu. Wazaalibwa oli mukulembeze.”
Olunaku olukulu olw’omusango bwe lulituuka, Ajja asookera wa malayika we ow’Ekitangaala era ajja kusooka ye okusalira musango okusinziira ku njiri gye yabuulira. Ffe tuli BUVUNAANYIZIBWA BWE. Avunaanyizibwa ku buli omu ku ffe nga bwe kiri nti ye yali OMUKULEMBEZE Katonda gwe Yalonda.
Teeka kw’ekyo ekifo n’enkozesa yo ey’omu mwoyo. Tulisalirwa omusango okusinziira ku ebyo malayika wa Katonda bye yayogera. Kale, oyagala okugezesa akakisa akatwaliramu obulamu bwo obutaggwaawo nga osinziira ku muntu omu by’agamba nti OLI BYE YAYOGERA so nga osobola okubiwulira butereevu okuva eri OLI?
Omuntu yenna ayinza atya okukkiriza nti eriyo OBUWEEREZA OBUSINGA KU EKYO EKIRI KU NTAMBI. Bw’oba okkiriza ekyo, oba ng’obadde omatiziddwa ekyo okuyita mu kubaganya ebiriwoozo, kirungi oddeyo ku KIGAMBO NNAKABALA; kubanga ogenda kusalirwa omusango okusinziira ku bigambo ebiri ku ntambi. Sigala n’Ekigambo nga bwe kyayogerwa.
Naye nnabbi ono alijja, era ng’omulangirizi w’okujja okusooka bwe yaleekaana nti, “Laba Omwana gw’endiga wa Katonda, aggyawo ekibi ky’ensi,” era bw’atyo awatali kubuusabuusa ajja kuleekaana nti, “Laba Omwana gw’endiga wa Katonda, ajja mu kitiibwa.” Kino ajja kukikola, kubanga era nga Yokaana bwe yali omubaka w’amazima eri abalonde, bw’atyo n’ono bw’ali omubaka asembayo eri omugole Azaaliddwa-Ekigambo era omulonde.
Ani agenda okutwanjula eri Mukama waffe Yesu? Malayika we omukulu ow’Ekitangaala, William Marrion Branham.
Jjangu obeere Omugole Omuwala Omulongoofu wamu naffe nga tuwulira omubaka malayika we omukulu nga atuleetera Okubikkulirwa okusingawo, Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira Obubaka 60-1207 – “Omulembe Gw’Ekkanisa Y’e Perugamo” .
Owol. Joseph Branham