Obubaka: 60-1206 Omulembe Gw’Ekkanisa Ey’OMu Sumuna
- 24-1027 Omulembe Gw’Ekkanisa Ey’OMu Sumuna
- 23-0507 Omulembe Gw’Ekkanisa Ey’OMu Sumuna
- 20-1115 Omulembe Gw’Ekkanisa Ey’OMu Sumuna
- 19-0127 Omulembe Gw’Ekkanisa Ey’OMu Sumuna
- 16-0316 Omulembe Gw’Ekkanisa Ey’OMu Sumuna
Omugole Ajjudde Omwoyo Omwagalwa,
Waliwo ekibinja ky’abantu kimu kyokka; ekibinja ky’abantu eky’enjawulo ennyo, abasobola okuwulira Omwoyo ky’Agamba mu mulembe guno ogusembayo. Kye kibiina eky’enjawulo ekifunye Okubikkulirwa kw’omulembe guno. Ekibinja ekyo kya Katonda. Ekibinja ekitasobola kuwulira, si kya Katonda.
Ekibinja ekisobola, era ekiwulira Omwoyo ky’Agamba, kifuna Okubikkulirwa okw’amazima. Ye ffe tulina Omwoyo wa Katonda. Ye ffe abaazaalibwa Katonda ne babatizibwa n’Omwoyo Omutukuvu. Ye ffe Mugole we Ajjudde Omwoyo afunye Okubikkulirwa okw’omulembe gwaffe.
Kitegeeza ki gye tuli okunyiga Zannya? OKUBIKKULIRWA! Kwe kuwulira, okusembeza n’okusigala n’Ekkubo lya Katonda Ly’Ataddewo kulw’olwaleero. Eddoboozi lya Katonda lyenyini nga lyogera kamwa ku kutu eri Omugole we. Ye Mwoyo Omutukuvu nga Ayogera eri emitima gyaffe n’emmeeme zaffe.
Tukimanyi Katonda akozesa abasajja abaafukibwako amafuta n’Omwoyo we okwogera, wabula tewali kifo kirala w’osobola kuwulira Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama okuggyako okuyita mu Kunyiga Zannya n’okuwulira EDDOBOOZI lya malayika we ow’omusanvu, William Marrion Branham. Lino lye ddoboozi lyokka eryakakasibwa Omwoyo Omutukuvu yennyini obutalekaawo kabuuza. Ye lye Ddoboozi lya Katonda, nnabbi wa Katonda, omusumba wa Katonda, gye tuli, era eri ensi.
Bw’ayogera, tugamba nti AMIINA eri buli Kigambo; kubanga ye Katonda yennyini nga Ayogera naffe. Ekigambo kye kye Kigambo kyokka ekiteetaaga kuvvuunulwa. Ye Katonda nga Akozesa eddoboozi lye okwogera n’Omugole We.
Ye Katonda yennyini nga Atugamba nti, “Abaana bange abato, si mmwe mwaNnonda,wabula Nze eyabalonda. Nga tewannabaawo yadde akatundu k’enfuufu y’emmunyeenye; nga sinnamanyibwa gyemuli nga Katonda wammwe, nnabamanya. Mwali mu Birowoozo byange, nga gyemuli balamu mu Birowoozo byange ebitaggwawo. Muli Mugole Wange ow’Ensigo y’Ekigambo Ekyogere akiragira ddala.
Newankubadde nga mwali mu Birowoozo byange ebitaggwawo, saabateeka mu kikula ekirabikako okutuusa mu ntuuko Yange eyateekateekebwa era eyalagirwa. Kubanga nnali mmanyi nti MMWE mujja kuba kibiina kyange eky’enjawulo ekigenda okusigala n’Ekigambo kyange. Ebirala byonna biremereddwa, naye nnali mmanyi nti temujja kulemererwa.
Nkimanyi nti muyigganyizibwa era musekererwa kubanga musigadde ne nnabbi Wange, naye mmwe Muzabbibu Gwange Ogw’amazima ogutavudde ku kigambo kyaNge, wabula ogusigadde nga gwa mazima era nga mwesigwa eri nnabbi Wange ayogera Ebigambo byange.
Waliwo abalala bangi abayigiriziddwa n’obwesigwa, wabula tebayiga bulijjo oba kyetaagisa kwenkana wa okwogera ebyo byokka bye Njogedde nga mpita mu mubaka WaNge.”
O, nga tulina kubeera beegendereza obwenkanidde awo okuwulira eddoboozi LIMU, kubanga Omwoyo alina eddoboozi limu lyokka eryo nga lye ddoboozi lya Katonda.
Oh, nga kikulu nnyo okuwulira eddoboozi lya Katonda eriyitira mu babaka be, n’oluvannyuma okwogera ebyo ebibaweereddwa okwogera eri ekkanisa.
“Ekigambo kyange bulijjo kizzenga eri nnabbi Wange, naye mu lunaku luno, Nnasiima Eddoboozi Lyange Likwatibwa ku lutambi bwewatyo WALEME KUBANGAWO NSOBI KU bye Nnayogera eri Omugole. Waliwo bbiriji emu yokka, omuggo omugolokofu gumu gwokka, era ogwo kye KIGAMBO kye Nnayogera nga mpita mu malayika waNge. Nga bwe kiri mu buli mulembe, Nabbi wange ye Kigambo eky’olunaku.”
Entambi, Eddoboozi Lye, ye bbaluwa ey’omukwano gye tuli. Nga omulabe atukuba wansi buli kiseera okuyita mu kugezesebwa kwaffe n’ebibonyoobonyo n’emitawaana gyaffe, Yatuma malayika we ow’amaanyi okutugamba nti ekyo si kirala wabula okwagala kwa Katonda okwatulonda gye tuli, ng’Atukakasa nti Yatulonda nga bwe tutajja kuseguka.
Ekigendererwa kye ekinene kiri nti nga tumaze okubonaabona okumala akaseera, Ajja kutufuula abatuukiridde, Atusimbe bunywevu era atugumye. Yatugamba nti ne Mukama waffe Yesu yatuukirizibwa lwa kubonaabona kwe. Nga mukisa nnyo gw’Atulekera. Kubanga nga Ayita mu kubonaabona kwaffe, naffe Ajja kutuyingiza mu butuukirivu.
Ali mu kuzimba empisa zaffe okuyita mu kugezesebwa n’ebibonyoobonyo byaffe. Kubanga empisa zaffe tezikolebwa awatali kubonaabona. Bwe kityo, okubonaabona kwaffe buwanguzi gye tuli, so si kirabo.
Tuyinza tutya okuMukakasa nti tuMwagala?
- Nga tukkiriza by’Ayogera.
- Nga tusigala n’Ekigambo kye.
- Nga tweyisa bulijjo n’essanyu okuyita mu kugezesebwa n’ebibonyoobonyo byaffe, ebyo Ye, mu magezi ge amangi, by’aganya okubaawo.
Engeri gy’Asitula omwoyo gwaffe nga tuwulira Ekigambo kye. Eddoboozi lye libudaabuda emmeeme yaffe. BwetuNyiga Zannya ne tuMuwulira ng’Ayogera, emigugu gyaffe gyonna gitutikkulwa. Tetusobola na kutandika kulowooza ku bya bugagga ebituterekeddwa nga tuyise mu kubonaabona kwaffe kwonna.
Oh, Omugole wa Yesu Kristo, nga nsanyuse nnyo okubeera Omu Ku Bo na buli omu ku mmwe. Essanyu nga lijjuza omutima gwange okumanya nti atuwadde Okubikkulirwa kw’Ekigambo kye. Bw’Atugamba nti kijja kuba kisembereganye nnyo kyandirimbye n’abalonde bennyini oba nga kiyinzika, Atuwadde OKUBIKKULIRWA OKUTUUFU.
Mujje, muyingire mu Mwoyo wamu naffe Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira Ekigambo ekituukiridde : 60-1206 — Omulembe gw’Ekkanisa y’e Sumuna .
Owol. Joseph Branham