Obubaka: 60-1204M Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo
- 24-1006 Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo
- 23-0416 Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo
- 20-1025 Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo
- 19-0106 Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo
- 16-0306 Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo
Eggye lya Katonda Eritawangulwa Abaagalwa,
Ye ffe Kitaffe b’Alonze era b’Awadde OKUBIKULIRWA OKW’AMAZIMA okwa Ye Mwene; EKKANISA ye emu era yokka EY’AMAZIMA. Abo b’Alonze okukola EMIRIMU GYE EGISINGA GIRI OBUNENE. Kubanga olw’Omwoyo Gwe, tusobola okutegeera n’okuziyiza omwoyo gwa Sitaani ogw’omulabe wa Kristo. TALINA MAANYI mu maaso ga FFE, kubanga ye ffe Eggye Lye Eritawangulwa .
Sitaani akyawa okubikkulirwa kwonna, NAYE TUKWAGALA; kubanga ye ffe abaagala Ekigambo kya Katonda ekyabikkulirwa. Nga tulina Okubikkulirwa kwe okwa nnamaddala mu bulamu bwaffe, emiryango gy’emagombe tegiyinza kutuwangula; tuwangula omulabe. Buli sitaani ali wansi wa bigere byaffe. Tuli Bumu naye era tusobola okwogera Ekigambo, kubanga tuli Kigambo kye.
Mukama Akitadde ku mutima gwange okusoma n’okuwulira Emirembe Gy’Ekkanisa Omusanvu. Zigenda kubeera Sabbiiti za makulu nnyo nanteerabirwa eri buli omu ku ffe. Ajja kuba Atubikkulira Ekigambo Kye nga bwe kitabangawo, olw’amaanyi ge Agafuga.
Kaakano kye kiseera. Zino z’entuuko. Ajja kuba Atuwa obulamu, nga Atuzzaamu amaanyi, nga Atuwa Okucamuka okuleetebwa Okubikkulirwa, era Kijja kuteeka emmeeme zaffe ku muliro!!
Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Kitabo kya bunnabbi ekiyinza okutegeerwa ekibiina ky’abantu ekimu kyokka abalina okutegeera okw’obuzibako okw’obunnabbi, FFE, Omugole We. Kyetaaga Okubikkulirwa OKW’AMAZIMA okumanya nti osoma era owulira Eddoboozi lya Katonda eriva mu mubaka We malayika omulonde, nga Lituwa okulagirirwa okusukkulumye ku maanyi g’obutonde.
Kwe Kubikkulirwa kwa Yesu Kristo okwaweebwa Yokaana olw’Abakristaayo ab’emirembe gyonna. Kye kitabo kyokka mu Baibuli yonna ekyawandiikibwa Yesu yennyini, ng’Ayita mu kulabikira omuwandiisi mu buntu.
Okubikkulirwa 1:1-2, “Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu: n’abuulirira mu malayika we ng’amutuma eri omuddu we Yokaana: Eyategeeza ekigambo kya Katonda n’okutegeeza kwa Yesu Kristo, byonna bye yalaba.
Ekitabo ky’Okubikkulirwa bye birowoozo bya Katonda byennyini nga biwandiikiddwa Katonda Mwene. Naye Yatuma n’Akitegeeza omuddu we Yokaana nga Akozesa malayika We. Yokaana teyamanya makulu gaaKyo; yawandiika buwandiisi byeyalaba n’ebyo bye yawulira.
Naye leero, Katonda yasindika malayika we ow’amaanyi ku nsi okubikkula Okubikkulirwa kuno okukulu eri Omugole we, tusobole okusoma n’okuwulira ebyabaawo mu mirembe gy’ekkanisa gyonna. Tusobola okulaba ekisibo kye ekitono abaasigala nga ba mazima era nga beesigwa eri Ekigambo mu buli mulembe.
Katonda Yayogera ng’Ayita mu malayika We n’Agamba nti mu nnaku zino ez’oluvannyuma, Eddoboozi ly’omubaka We ow’omulembe gw’ekkanisa ogw’omusanvu bwe Linaatandika okuvuga, Ajja kubikkula ebyama bya Katonda nga bwe byabikkulwa Pawulo. Abo abasembeza nnabbi oyo mu linnya lye bajja kufuna omugano oguva mu buweereza bwa nnabbi oyo.
Ekitiibwa, ye ffe Mugole wa Katonda Annyiga Zannya oyo asembezza nnabbi oyo mu linnya lye, era nga tuli mu kufuna omugano ogwo. Tukkiriza nti lye Ddoboozi lya Katonda nga Lyogera era nga Likulembera Omugole we.
Oh Ekkanisa, byetugenda okusoma n’okuwulira mu wiiki zino ezijja. Eri Ye, tuli abo b’Ageraageranya ku zaabu OMULONGOOFUI. Ky’Ali, kye tuli. Ye ffe Muzabbibu Gwe Omutuufu. Tuwangudde. Tutuukirizibbwa, tusimbye amakanda, tunywezeddwa. Twalondebwa Okwagala Kwe okw’Okulondebwawo. Mpaawo kya kutya. Ye ffe kibiina ekyawulira omubaka n’Obubaka bwe ne tubutwala era ne tubuwangaalirako.
Buli wiiki tujja kuba tugamba nti, “Omutima gwaffe tegututyemuka munda yaffe nga bw’Ayogera n’okutubikkulira Ekigambo Kye mu kkubo”.
Bw’oba oyagala okuwulira okufukibwako amafuta kw’Omwoyo we Omutukuvu, ofune Okubikkulirwa kw’Ekigambo kya Katonda okusingawo, era nga oyagala okutuula mu maaso g’Omwana oyengere, era ofune Okuyimusibwa okw’amaanyi ennyo mu Kukkiriza, jangu otwegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda) , nga tutandika okusoma kwaffe okukulu: Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo 60-1204M .
Owol. Joseph Branham
Njagala okubakubiriza okuwulira, oba okusoma, buli wiiki okuva mu Kitabo ky’Emirembe gy’Ekkanisa , essuula gye tuba tuwulidde buli Ssande.