Obubaka: 60-1204E Okwolesebwa okw’e Patumo
- 24-1013 Okwolesebwa okw’e Patumo
- 23-0423 Okwolesebwa okw’e Patumo
- 20-1101 Okwolesebwa okw’e Patumo
- 19-0113 Okwolesebwa okw’e Patumo
- 16-0312 Okwolesebwa okw’e Patumo
Omugole w’Ekigambo Ekituukiridde Omwagalwa,
Kiki ekigenda mu maaso mu Mugole okwetoloola ensi yonna? Tuli mu kuyingira mu Mwoyo, nga tusituka ne tuleekaana nti, “Ekitiibwa! Aleruuya! Mukama Atenderezebwe !” Katonda ali mu kutusitulira mu ssanyu eppitirivu era nga Abikkula Ekigambo kye eri Omugole we.
Ebintu bye tusomye ne bye tuwulidde mu bulamu bwaffe bwonna kati biri mu kwolesebwa. Okuweebwa obulamu okw’ekitalo kaakano kugenda mu maaso. Tuli mu kwakibwako Ekitangaala ky’Ekigambo nga bwe kitabangawo.
Tukiwulira mu buziba bwennyini obw’emmeeme zaffe. Waliwo eky’enjawulo, waliwo ekigenda mu maaso. Tuwulira Omwoyo Omutukuvu ng’Atufukako amafuta, ng’Ajjuza emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe n’ekigambo kye.
Tusobola okuMuwulira ng’Ayogera naffe: Nkimanyi nti omulabe abalwanyisa nga bwe kitabangawo, naye temutya mmwe abato, MULI BANGE. Mbawa okwagala kwange, obuvumu bwange n’obusobozi bwange. Mwogere bwogezi Ekigambo, era nja kukikola. Ndi nammwe bulijjo.
Mu kuyiga kwaffe okw’ekitalo okw’Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, tuli wansi w’okusuubira okw’amaanyi buli wiiki ku by’Agenda okuddako okutubikkulira. Ekigambo kye kye kiddukiro kyaffe kyokka, emirembe gyaffe n’okubudaabudibwa kwaffe. Tuwuliriza muddiriŋŋanwa ng’abasuubira okubaako kyetufuna emirundi n’emirundi n’emirundi. Buli katundu ke tusoma, twagala okukuba enduulu tuleekaane ng’Ekigambo bwekyanjuluzibwa mu maaso gaffe. Okukkiriza okw’Okukwakkulibwa kuli mu kujja ku Mugole, nga kujjuza emmeeme gyaffe
Teebereza, tewali kifo kirala mu nsi gy’osobola kugenda, wabula awo ku ntoli z’engalo zo, okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera naawe era nga Libikkula Ekigambo kye.
Engeri Katonda gye Yaggyawo olutimbe, n’Alusika n’Aluzza emabega, n’Aganya Yokaana okutunula munda alabe kiki buli mulembe gw’ekkanisa kye gwali gugenda okukola, n’aKiwandiika mu Kitabo n’aKituweereza. Olwo, okutuukirira kw’ebiro bwe kwatuuka, Katonda Yatutumira malayika we ow’amaanyi ow’omusanvu okuKyogera, n’okubikkula byonna bye Kyali Kitegeeza.
Yokaana yawandiika bye yalaba, naye nga tamanyi makulu gaabyo. Yesu n’okukimanya teyakimanya bwe yali wano ku nsi. Tewali muntu yenna mu mirembe gyonna yali amanyi, okutuusa leero, mu kiseera kino, abantu bano, FFE, Omugole We.
Engeri gye Yatubikkulira nti ettabaaza ezo omusanvu zaali zisaka obulamu n’ekitangaala okuva mu nsako z’ekibya ekikulu. Yatubuulira engeri buli emu ku zzo bwe yalina olutambi lwayo nga lunnyikiddwa munda omwo. Buli mubaka w’omulembe gw’ekkanisa yali ku muliro gw’Omwoyo Omutukuvu ng’olutambi lwe lunnyikiddwa ne lubbira mu Kristo, nga asaka obulamu bwa Kristo bwennyini n’okumulisa Ekitangaala ekyo eri ekkanisa. Era kaakano, omubaka waffe ow’olunaku olw’oluvannyuma, asingayo mu babaka bonna, yalina obulamu bwe bumu n’Ekitangaala kye kimu nga byolesebwa obulamu obwali bukwekeddwa ne Kristo mu Katonda.
Awo malayika waffe ow’amaanyi n’atugamba nti awo buli mubaka teyakiikirirwa bukiikirirwa kyokka, WABULA BULI OMU KU FFE NAYE YAKIIKIRIRWA, abakkiriza ba Katonda ab’amazima . Buli omu ku ffe naye akiikiriddwa eyo mu ngeri ey’ekifaananyi. Buli omu ku ffe asaka okuva mu nsibuko y’emu nga ababaka. Ffenna tunnyikiddwa mu kibya kyekimu. Tufudde eri ffe fennyini era obulamu BWAFFE bukwekeddwa ne, ne mu, Kristo Yesu Mukama waffe.
Engeri gy’Atuzzaamu amaanyi ng’Agamba nti tewali muntu ayinza kutukuulayo mu Mukono gwa Katonda. Obulamu bwaffe tebusobola kwerijjirwako. Obulamu bwaffe obulabika bwaka era bumulisa, nga buwa ekitangaala n’okwolesebwa kw’Omwoyo Omutukuvu. Obulamu bwaffe obw’omunda, obutalabika bukwekeddwa mu Katonda era nga buliisibwa Ekigambo kya Mukama.
Entalo nkambwe. Omulabe ataamye nga bwe kitabangawo, ng’agezaako nga bw’asobola okutumalamu amaanyi, okutukuba okutussa wansi, naye tasobola kukikola. Katonda Mwene ayogera naffe ng’Ayita mu mimwa omuntu ow’oku nsi n’Atugamba nti, FFE MUGOLE WE, GWE YALONDA, era Kiwangula sitaani BULI KISEERA.
Mukama waffe Omutuukirivu, ng’Ayogera Ekigambo kye Ekituukirivu, ng’Awa Emirembe Egituukiridde, eri Omugole We Atuukiridde.
Nga bulijjo, tuyita ensi okujja okunnyika ettabaaza zaabwe mu KIBYA EKIKULU, Obubaka buno, obwaterekebwa mu ggwanika ly’Emmere era ne bukuumibwa mu mbeera yabwo y’emu ku lw’Omugole. Tujja kuba tukuba enduulu n’okuleekaana ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera n’okubikkula ebyabaawo mu: Okwolesebwa Okw’e Patumo 60-1204E.
Owol. Joseph Branham