21-1219 Akabonero

Obubaka: 63-0901M Akabonero

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole w’akabonero abaagalwa,
Tewabangawo kiseera nga kino emabega mu byafaayo by’ensi. Ensi yonna yabadde erina okuwaako obujulizi, planeti ttaano (planeti, kyetutera okuyita emmunyeenye, kigambo kya ssayansi ekitegeeza agasi agalala aganene agoomubwengula), planeti ttaano wezazze awamu mungeri y’olunyiriri. Ekintu ekimu kyabadde kigenda mumaaso Omwezi Gwekkumineebiri nga kkuminabbiri 2021 mu bwengula, ekintu ekimu bwekyabadde nga kigenda mumaaso kunsi. Omugole yabadde y’egasse awamu okuva wonna munsi Katonda nga bw’Ayogera okuyita mu nnabbi We. Era Omugole We yabadde n’okussa ekimu n’okunaaza ebigere awamu mu maka gaabwe.

Nga mbeera yabudde, n’okubeerawo kwa Mukama, ebyabadde mumaka gaffe! Abalenzi b’entambi abamu besozze amaka gaffe era netufuula amaka gaffe ekkanisa kulwa Mukama. Twatadde akabonero ku maka gaffe ne kub’amaka gaffe. Omwoyo Omutukuvu yajjuzza ennyumba yaffe, emitima gyaffe, n’emmeeme zaffe n’okubeerawo Kwe. Kyabadde nga bw’onogamba nti twabadde baana ba Isiraeli nga twetegekera olugendo lw’okuva.

Ekigambo kyabadde Kyogera gyetuli okuyita mu malayika We era kyasiigiddwa kumaka gaffe. Okufa kwabadde kutwetoolodde wonna, naye twabadde tukimanyi nti tuli mirembe, era nti ajja kutuyitako. Twabadde twetegeka okuva wano nga tudda munsi yaffe ensuubize.

Tetuwulirangako mbeera yakumpi nyo naye nga bwetwabadde ekiro ekyo. Twabadde tukimanyi nti waliwo ekigenda mumaaso. Twakitegedde nti Atutegeka olw’okujja Kwe. Naye kyabadde kirina kubeera budde buno, lunaku luno, mwezi guno, mwaka guno. Buli kimu kyatuukiridde bulungi, era mukifo kyennyini. Kyabadde n’amakulu, kyatuseewo ng’akabonero eri ensi. Buli kituukawo mu mwoyo kaba kabonero okuva eri Katonda. Beera mwegendereza, weetegereze ekyo, olaba? Wekkaanye, buli kituukawo mu mwoyo, buli kimu ekibaawo kabonero. Tetuli wano nga kigwa kitalaze. Obubonero buno tebubaawo bubeezi nga kigwa kitalaze. Kabobero, kabonero okwetegeka amangu. Nuuwa yali kabonero eri omulembe gwe. Eliya yali kabonero eri ogugwe, Yokaana yali kabonero eri ogugwe, olaba? Buli kimu, Obubaka bw’Ekiseera kabonero. Kyekkaanye, tunuulira kyekiri okukola, olaba? Kabonero. Buli kimu kirina amakulu.

Musa bweyatandika obuweereza bwe mu Isiraeri, Isiraeri amangu nnyo yakuŋŋaana okuva wonna mu Misiri nebagenda mu Goseni. Baali baddayo mu kifo gyebasibuka kubanga baamanya nti waaliwo ekyali kitegeka okubeerawo. Nga kyakulabirako ekituukiridde ddala ekyaleero! Omugole ng’Akuŋŋaanira ku Kigambo ekitatabikiddwamu birala, ekirongoofu eky’essaawa. Kuganga naffe nga bali bwebaali, tumanyi nti waliwo ekibindabinda okubeerawo.

Bava mu buvanjuba ne mu bugwanjuba, bava munsi ez’ewala, okuba n’ekijjulo wamu ne Kabaka, okulya ng’abagenyi Be, ku mmere Ye eyaterekebwa ku mmeeza Ye.

Yatuma nnabbi We malayika n’obubaka okuyitayo n’okukulembera Omugole We eri ensi ensuubize. Yeeraga mu ffe ng’alina Empagi y’Omuliro. Olwo, n’atuma akabonero Ke, Omugole We abeere wansi waako, Kubanga Ye ategeera kabonero ako kokka. Akabonero kaaleero keekaliwa? Ategeera kabonero kokka, ako bwe Bubaka Bw’Ekiseera. Ako bwe Bubaka bw’olunaku luno. Ako bwe Bubaka bw’ekiseera kino, Mu linnya lya Yesu Kristo, kafune.

Omugole, ne Kristo, bali kufuuka kimu. Obuweereza bw’Omugole n’Obuweereza bwa Kristo bwebumu. Katonda kennyini assamu ekitiibwa Obubaka bwannabbi We. Asizzaamu ekitiibwa Omugole We. Ekifaananyi kya kkamera eky’ekizikiza kiri kufuuka ekyabulijjo ekyalangi. Buli kisuubizo mu Kigambo Kye kyaffe. Kiteekwa okutugondera. Tuli kufuuka Omugole ow’Ekigambo oyo atuukiridde, okuyita mu kkubo lya Katonda ly’Ataddewo kulw’olwaleero, eddoboozi Lye, Ekigambo Kye ku ntambi.

Katonda bulijjo takyusa nteekateeka Ye. Bulijjo atumye nga nnabbi okukulemberanga abantu be. Yalinanga abalala abaali abayite era abafukeko amafuta naye baali bakkirizibwa kwogera bwogezi ekyo nnabbi kyeyali ayogedde kubanga ebigambo bye byali BWATYO BWAYOGERA MUKAMA eri abantu. Oyinza otya okubeera omukakafu kikumi ku kikumi, kimu kukinnakyo nti oli kuwulira ddoboozi lya Katonda erituukiridde? Waliwo engeri emu yokka, ku lwange. NYIGA ZANNYA.

Gyebali ddala abalala abayitibwa okubuulira Ekigambo kubanga kiri mu Kigambo era tekiyinza kuwakulwako lutalo. Naye bakkirizibwa kubuulira Kigambo ekyo kyebawulidde ku ntambi, okuva mu mubaka wa Katonda. Tebakkirizibwa kubuulira, kuyigiriza, kuvvuunula, kutoolako, oba okugatta ekintu kyonna kukyo, engeri gyekiri Ekigambo kya Katonda ekituukiridde. Ekyo Ekigambo kye kigamba.

Ssi kikyamu okuwuliriza omuweereza, nga abamu bwebagamba, era mubuufu bwebumu ssi kikyamu okugenda ku kkanisa. Olina okugenda ku kkanisa. Naye Omugole ayagala okuwulira emmere y’Omugole, era bangi bakkiriza nti engeri yokka ey’okuwuliramu Ekigambo ekituukiridde eri mu KUNYIGA ZANNYA.

Katonda abawe omukisa n’obuweereza bwabwe Katonda bw’Abayitidde, kubanga ssibalinaako buzibu, mbaagala era nzikiriza nti nja kumala obutaggwawo n’Omugole We eyamanyibwa edda Yenna. Nze ndi wa buweereza bwa Ntambi, ekyo kyokka.

Bangi bagamba, oteekeddwa okubeera n’omuweereza, okusobola okubeera Omugole. Nzikirizaganya nakyo, nkikola, WILLIAM MARRION BRANHAM, kubanga ye muweereza asingayo okubeera ow’ekitalo n’obuweereza OBUSINGAYO okubeera obw’ekitalo munsi. Kubanga ssi kigambo kye, bubaka bwe, birowoozo bye, newankubadde okubeera okuvvuunula kwe. Kye Kigambo kya Katonda ekikakasibbwa kyokka eky’olunaku lwaffe. Era ye, bwebuweereza obulamu obusinga okuba obw’ekitalo obuliyo. Ekibuuzo kyange kiri nti, Osobola okuwuliriza entambi kyokka n’obeera Omugole wa Kristo, oba kinneetagisa okubeera n’ekintu ekirala ekyongeddwako?

Nze n’ennyumba yange, tuli maka gantambi, era tukkiriza nti tuli Mugole We, era kyetwetaaga kyonna lye Ddoboozi lya Katonda ku Ntambi.

Bw’oba nga oyagala okutwegattako mumakaago, mu nnyumba yo, mu mmotoka yo, oba wonna mukama waakukwatiridde, okuwulira BWATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Twegatteko Sande ku ssawa 3 ezookumakya mu budde bwe Jeffersonville (z’essaawa 10 ez’akawungeezi e Uganda), okuwulira Ekigambo kya Katonda nga kituukiriza Omugole We n’okumuleetera Obubaka Akabonero 63-0901M.

Owol Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwuliriza Obubaka tekunnatandika biri,

Olubereberye 4 : 10

Okuva essula ya 12 yonna

Yoswa essula ya 12 yonna, 16 : 31

Ebikolwa by’Abatume 19 : 1 – 7

Abaruumi 8 : 1

1 Abakkolinso 12 : 13

Abaefeso 2 : 12

Abaefeso 4 : 30

Abaebbulanyi 6 : 4 – 9

Abaebbulanyi 9 : 11 – 14

Abaebbulanyi 10 : 26 -29

Abaebbulanyi 11 : 37

Abaebbulanyi 12 : 24

Abaebbulanyi 13 : 8, 10 – 20

Omut Yokaana 14 : 12