Category Archives: Uncategorized

23-0924 Ekimyanso Ekimyufu Eky’Ekitaala Eky’Akabonero Ak’Okujja Kwe

Obubaka: 63-0623E Ekimyanso Ekimyufu Eky’Ekitaala Eky’Akabonero Ak’Okujja Kwe

BranhamTabernacle.org

Omugole Atalina Kutya Omwagalwa,

OKULABULA!! OKULABULA!! Ekimyanso ekimyufu eky’ekitaala kiri mu kumyansa. Okujjawo kwa kateni ebisse omuzannyo ogugenda okuba ku siteegi kutuuse. Tulina okuteeka buli kimu ku bbali, BULI KIMU, era tubeere beetegefu. Tuli ku nkomerero. Ekiseera kye tubadde tulindiridde okuva ku lubereberye kituuse. Obunnabbi kati butuukirira.

Katonda yatwala omubaka-mpungu we ow’amaanyi waggulu mu ggulu okutunula emyaka nkaaga mu maaso ga 1963 okutuuka leero, September 2023, okulaba byonna ebiriba bigenda mu maaso mu kiseera kyaffe… Embeera ensi gy’eribeeramu, obugwenyufu bw’omukazi, ekkanisa mu embeera yaayo, obugu bw’eddalu mu bantu; babi, bazibe b’amaaso, abali obwereere, omwenzi omukulu mu matabi gonna aga gavumenti, obuli bw’enguzi mu by’obufuzi, era atulabudde ku byali bigenda okubaawo.

Kati tukiraba nga kyeyolekera mu maaso gaffe ddala nga bwe yatugamba nti bwe kinaaba. Ffe abaalabye ebintu bino byonna nga bituukirira. Buli kimu weekiri mu kifo kyakyo. Efuuse ntamu ennene ejjudde kazambi.

Ensi yonna eri mu mbeera ya katengo. Bakimanyi nti tewakyali ssuubi. Buli lunaku byeyongera kusajjuka. Okutya kumaamidde ku bwenyi bw’Ensi. Ebyenfuna biweddewo, ettemu awatali nsonga, abakazi baagala kubeera basajja, abasajja baagala kubeera mukazi. Ekintu kyonna na buli kimu kikkirizibwa. Kiki ekiyinza okubaawo mu kiseera kyonna? Bakimanyi nti kiringa olusozi oluvulula; lugenda kuwnadula omuliro akatikitiki konna. Okiraba ku maaso gaabwe, mu bikolwa byabwe, TEWALI SUUBI, KUTYA.

N’ageeyita amakanisa g’Abakristaayo gaanirizza abantu abasala eddiiro ne besssaako ebitundu by’ekyama ebitali bya butonde bwabwe ne babawa obusumba, n’obukulembeze bw’abantu obw’omwoyo. Kifuuse kibi nnyo okusukka ku Sodomu ne Ggomola. Sitaani n’obwakabaka bwe bali mu kwegatta era bafuuse bumu. Atuukirizza ekiruubirirwa kye.

NAYE EKITIIBWA ERI KATONDA, wakati mu kavuyo kano konna n’okutya, Kitaffe Atukuumye FFE, ekibinja ky’abantu kye yalonda, Omugole we swiitimutima, butebenkevu mu mikono gye era tulina okwegatta okw’Omwoyo naye nga bwe kitabangawo. Kino kye kiseera ekisinga obukulu mu bulamu bwaffe. Kya kitalo nnyo. Kya kitiibwa. Tekinnyonnyoleka maanyi ga butonde. Kisukka ebigambo bye tusobola okulaga.

Omubiri gwaffe guli mu kufuuka Kigambo, n’Ekigambo kiri mu kufuuka omubiri; nga kyoleseddwa, nga kikakasiddwa. Ekyo kyennyini Baibuli kye yagamba nti kiribeerawo mu lunaku luno, kigenda mu maaso, buli lunaku.

Ebintu bigenda mu maaso era bigenda mu maaso mangu nnyo okutuusa nga tetusobola na kwekuumira ku bwangu bwebituukirirako. Tusemberedde nnyo okujja kwa Mukama waffe Yesu; okwegatta naye, Ekigambo gye kifuukira Ekigambo.

Nga ebintu bino byonna bigenda mu maaso okutwetooloola wonna, TETUBEERANGAKO BASANYUFU, abamativu ekisingako oba abafunye ekibamala obulungi ekisingako. Emitima gyaffe n’emyoyo gyaffe gibugaana essanyu eritoogerekeka era gijjudde ekitiibwa. Kintu ekirimu ebintu eby’emirundi ebiri ebitakkirizikika nti bisobola okutuukawo mu kaseera keekamu (paradox).

Tuddako awo netuba mu mirembe gyaffe nga bwe kitabangawo, nga tumanyi nti okuviira ddala ku lubereberye, twategekebwa okuba mutabani ne muwala wa Katonda.

FFE Mugole wa Kristo omwegendereza, eyanaazibwa mu Musaayi gwa Kristo. Omwana wa Katonda ow’omuwendo, omwegendereza, atalina kibi ng’ayimiridde n’Omugole-Kigambo atatabikiddwamu birala omulongoofu gwe Yanaaza n’Amazzi g’Omusaayi Gwe Yennyini. Twateekebwateekebwa mu kifuba kya Kitaffe ng’ebiseera tebinnatandika; nga tuli nga Ye was….EKITIIBWA!! HALELUUYA!

Tetuli ekyo kyokka, naye mu bbanga ttono nnyo tuli ba kugenda ku Mbaga y’obugole mu bbanga, nga twambadde empeta y’abaateekerwateekerwa. Yatumanya FFE…ekyo kiworoozeeko okumala akabanga, YATUMANYA nga ensi tennatondebwawo, kale bw’Atyo n’Atukwangirawo empeta AWO n’ateeka ERINNYA LYAFFE KU KITABO KYE EKY’OBULAMU EKY’OMWANA GW’ENDIGA, si kusonyiyibwa busonyiyibwa kyokka, wabula OKUGGYIBWAKO OMUSANGO.

Waliwo engeri emu yokka ey’okuba na bino byonna, olina okujja nga oyita mu Kkubo lya Katonda lyokka lye Yateekawo. Ekigambo nnakabala, NYIGA ZANNYA.

Tweyanzeege nnyo nti tulina Okubikkulirwa kuno. Kutegeerekeka bulungi nnyo gye tuli. Omubiri n’omusaayi tebyaku tubikkulira, wabula Kitaffe ali mu Ggulu era tewali bigambo mu bigambo byaffe byetukozesa ebisobola okuMulaga engeri gye tumwagala olw’ekyo….EKISA EKYEWUUNYISA.

Tewali kiringa okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera naawe kamwa ku kutu. Essanyu erijjula emmeeme zaffe nga amataba. Mpaawo kwewuunya, mpaawo kuteebereza, TEBIRIIWO, wadde okusuubira, TUKIMANYI, KIRI BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Tosobola kuba na bukakafu kikumi ku kikumi obwo mu kifo ekirala kyonna okuggyako ku lutambi.

Nnandyagadde okubaaniriza okujja okutwegattako nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga litubuulira byonna ebikwata ku lunaku lwe tulimu, nga bw’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi-mpungu we ow’amaanyi n’Atuleetera Obubaka: Ekimyanso Ekimyufu Eky’Ekitaala Eky’Akabonero Ak’Okujja Kwe 63-0623E.

Tugenda kukuŋŋaana okuva mu nsi yonna ku Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda). Bw’oba tosobola kutwegattako, yonna gy’oli, kyonna ky’okola, Nyiga Zannya owulire Ebigambo by’Obulamu Obutaggwaawo.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Omut. Matayo 5:28 / 22:20 / Essuula ey’amakumi abiri mu ennya

2 Timoseewo Essuula ey’okuna

Yuda 1:7

Olubereberye Essuula ey’omukaaga

23-0917 Okuyimirira mu Muwaatwa

Obubaka: ###

BranhamTabernacle.org

Abalonde Abaagalwa,

Mukama waffe Yesu Atwagala nnyo, okutuusa nti kyaMusanyusa okutusindikira nnabbi mu kiseera kyaffe. Oyo gweYalinamu obwesige kikumi ku kikumi. Oyo gwe yali asobola okujja n’abeeramu, bw’Atyo asobole okwebikkula ng’Ayita mu mubiri ogwo ogw’omuntu ow’okunsi okuyitayo Omugole We.

Nabbi we yatwagala nnyo okutuusa nga yakola ekisuubizo, gye tuli, ne eri Katonda, nti Obubaka bwonna obupya bwa kujja nga buva mu weema eno entono. Yali wa kubukwatanga ku lutambi, abutereke, bw’atyo Omugole wa Katonda asobole okuba n’Emmere ey’Omwoyo ey’okulyanga ku lujjuliro, ne bw’aliba nga takyaliwo.

Katonda yayagala nnyo nnabbi malayika, Yayamba nnabbi we okukuuma ekigambo kye gye tuli.

Katonda nga Amaze okwogera ng’Ayita mu malayika we ow’amaanyi era n’Abikkula mu bujjuvu n’okuvvuunula n’avvuunula Baibuli yonna gyetuli, olwo Yasabuukulula entikko y’Olwazi luli oluli mu kikula kya piramidi, olwali teruwandiikiddwako wadde, n’Alubikkulira malayika we, bw’atyo asobole okutuwa ebyama bye byonna ebikusike, ffe Omugole we.

Katonda yatuuka n’okuwa Ow’oluganda Roberson okwolesebwa, gye yalaba Empagi y’Omuliro ng’esitula nnabbi we n’emutwala e Bugwanjuba, olwo n’emukomyawo n’amuteeka waggulu ku Emmeeza awo ngai akyusiddwa.

Awo Omwoyo Omutukuvu n’ayogera n’amugamba nti, “Ono ye muweereza wange. Era mmuyise abeere nnabbi eri omulembe, okukulembera abantu era ddala nga Musa bwe yakola. Aweereddwa obuyinza okwogera ekintu ekitaliiwo ne kibeerawo.”

Okuyitibwa kwa Musa kwali ki? Kiki kye yali alina okukola? Katonda yali alagidde Musa okukulembera abantu okutuuka mu nsi ensuubize. Wabula waasituka abasajja abaali basazeewo nti bagenda kuyingirira okutumibwa Katonda kwe yali awadde Musa, nga bagamba nti, “Ggwe weeyitiriza okole ebisukka ku by’olina okukola. Ogezaako okwefuula nti ggwe wekka mu kibiina gw’alina eky’okwogera.”

Ekikolwa kino kyanyiiza nnyo Katonda okutuusa lwe yagamba Musa nti, “Mweyawule okubavaamu. Nja kutta bussi ekibinja kyonna, era ntandikewo omulembe omupya nga nsookera ku mmwe.” Era Musa n’agwa mu Maaso ga Katonda n’agamba nti Yalina kukigezeseza ku ye.

Katonda singa Abadde wa kusanyawo bantu mu kiseera kyaffe, ani yandiyimiriddewo nga Musa ku lw’abantu? Twandimujje wa eyandiyimiridde, oba eyandisobodde okuyimirira, oyo Katonda gwe yandikkirizza nga bwe yakkiriza Musa?

Waliwo obulamu bw’omuntu omu yekka ku nsi obutegeeza ekinene nnyo eri Katonda okusobola okumuleetera okukwatiriramu ku busungu bwe, oyo ye malayika we ow’ekitalo omusanvu.

Katonda bulijjo abadde n’enteekateeka. Omugole we ajja kutegeera enteekateeka eyo era ajja kusigala nayo Kigambo ku Kigambo.

Bakimanyi nti balina okusigala n’Eddoboozi eryo Katonda lye yalonda okubakulembera okutuuka mu Nsi Ensuubize.

Katonda yayogera ng’Ayita mu nnabbi we era n’Alekawo omwagaanya munene omuntu okugenda mu makubo ery’enjawulo, era nga Nuuwa bwe yakola mu Lyato ku jjiba ne namuŋŋoona. Naye nga ejjiba eryaddangayo bulijjo mu Lyato, Omugole bulijjo ajja kuddayo ku Bubaka, Eddoboozi eryo, THE TAPES.

Nabbi w’olunaku lwaffe yali ani? Wabaddewo bannabbi ab’amaanyi emabegako Katonda be yayita n’atuma okukulembera abantu be mu mirembe gyonna: Ibulayimu, Musa, Eriya, Erisa, naye tewali n’omu ku bo yali nga nnabbi ow’amaanyi ow’omulembe gwaffe. Yayitibwa okukolera mu office eya waggulu-ko ennyo okusinga bonna. Ye yali oyo Katonda gwe yalonda okubikkulira ebyama bye byonna. Ye yali oyo Katonda gwe yalonda okwogera ekigambo ekintu ekitabaddewo ne kibaawo. Ye yalondebwa okubikkula Okusika okw’okusatu. Ye yali oyo Katonda gwe yalonda okukulembera Omugole we.

Nga tuli bantu ba mukisa, Omugole Katonda gwe yalonda. Tuyinza tutya okuggwamu amaanyi? Tuyinza tutya okuba abanakuwavu? Sitaani agezaako okutumalamu amaanyi, naye tulina obuwanguzi, tuyingiziddwa munda n’envumbo n’essibwako, nga tutebenkedde mu Lyato. Enzigi ziggaddwa. Tewali kiyinza kutukola bulabe. Ffe Adamu we eyazzibwawo.

Ajja okutucima, Omugole we omulonde. Waliwo abamu ku ffe abatajja kulega ku kufa, wabula tulikyusibwa mangu ago, nga kutemya kikowe. EKITIIBWA!!

Nga buli omu ku mmwe, nange nsanyuse nnyo, nga buli lunaku, Ekigambo kye, Okubikkulirwa kwange kwe yampa, bwe kweyongera obunene. Ndi wansi w’okusuubirwa okunene. Bwaba tajja leero, mpozzi enkya, naye nkimanyi nti ajja mangu nnyo era ajja KUCIMA NZE NAAWE.

Jjangu twegatteko ku Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda, nga tuwulira Emmere ebadde eterekeddwa mu kifo ekimu ekitono nga bwe tutunuulira era nga tuwulira: Okuyimirira mu Muwaatwa 63-0623M. Tujja kutandikira Obubaka ku katundu nnamba 27.

Owol. Joseph Branham

Okubala 16:3-4

23-0910 Akabonero Ak’omusanvu

Obubaka: 60-0324E Akabonero Ak’omusanvu

BranhamTabernacle.org

Omwagalwa Omugole Lutambi,

Ng’olunaku lwewunyisa lwetulimu! Ng’ essawa yakitalo jetulimu!.  Ebyama, ebintu ebikusikidwa ebyo byona nga bikulwa jetuli bulijjo. Tetulaba bulabi ebyo byetuyiseko, nekyo ddala ekili mu maaso.

Tuli mu kugambibwa lunyiriri Ku lunyiriri, Kiki ekigenda okubawo. Atugambira ddala my butangaavu ki kye tuli, ani anabayo eyo, naki kyetunakola. Emitwalo Kimi Nena ajja Bayidaaya, ekanisa eyasonyibwa olwo kuyita mu kibonyobonyo, abakozi mu nimiro ze mizabibu abo abanaleta abitibwa byabwe n’okuyimusibwa kwabwe mu kibuga.

Naye ate olujila atugamba nti abo tabajja kubera mwe. Oh Nedda, emwe multi Mugole Wange, multi nange mu kibuga ekyo. Mwe temugenda kubeera wabweru nga mukola mi nimiro z’emizabibu,  Ye mwe  bagalwa bange abo Ku mutima. Ye mwe Nabakyala Wange nga nange ndi Kabaka wamwe. Ye mwe omu Ku – kikumi eky’ekimu Ku kyokutano kye nalonda nga n’emisinji gy’ ensi tejinaberewo. Kino ekiffo nakitekatekela mwe ddala. ERA MU NGERI GYE MUKYAGALA MU.

Okulowoozako obulowooza, effe tukunganye okwetoloola Emeza Ye nga bw’Ayoger  gyetuli wiki Ku wiki, lunaku Ku lunaku, sawa Ku sawa, nga Atubikulila Ekigambo Kye kyona ekyekitalo. Atugamba bulijjo bulijjo ki kyetuli, butya enyo bw’Atwagala; Kiki ekyali, Kiki ekiri, nakiki ekigenda okuberawo.

Teriyo bigambo bimala okwoleka ki kyekitegeza gyetuli. Bwe tunyiga zanya era nwtuwulila Edoboozi eryo, tuva mu nsi eno era mbagirawo nga tutude mubiffi eby’ omuguluawamu na Ye. Emeeme z’affe  zibudabudibwa. Tuwulila Omwoyo omutukuvu ng’ajjuza emiburi gy’effe n’Omwoyo We. Ly’esanyu eli tayinza kunyoyerwa. Katonda ng’ Ayogera jetuli. Buli Kigambo ekyogerwa Ku ntambi eso Ya kyogera jetuli. Ye amanyi Kiki ddala kye twalyetaaze okuwulila na ddi lwe twetaaga okukiwulila…era ebiseera bingi twetaaga okukiwulila olutata… era nga kubili mulundi kiba KIBUTIKIRA NEKIJJUZZA EMEEME YA FFE.

Tetukoowq Ku My wulula nga atugamba Ku kwolesebwa, ebirooto, Bwatyo bwayogera Mukama, okusika okwo kusatu, okutonda bu kamujje, Ekitala kya Katonda nga kitukide ddala mu mukono gwe, emere eterekedwa, okubera ng’otekedwa ku ntiko ye meeza, Ebibwatuka, bamalayika ab’ekitalo nga baka ne bamusitula wagulu, oyo malayika ow’enjawulo owo musanvu eya yina amakulu amangi enyo gyali, akabonero akawangade abanga edene ak’obusozi Omusanvu okwandikibwa erinya BRANHAM, nga kyogera kyoka ekiri ku ntambi, nina Ebigambo ebitalemerelwa, ayitidwa ku Ku yitibwa okwa wagulu enyo, mbagamba OKUBIKULIRWA KWANGE, Y’enze Edoboozi lya Katonda je muli, musigale ku njigiriza y’olutambi, Ngenda ku bayita MUGOLE, Ezo zi hain’t, zi tote, zi fetch, …ffe tuzagala nazo zona.

Kuno kwe kwolesebwa Kwange. Edoboozi lya Katonda ku ntambi kwe Kwagala Kwa Katonda Okutukiride, TEKYONGERWAKO ERA KIMALA. Okuzanya entambi kwe Kwagala Kwa Katonda Okutukiride, TEKYONGERWAKO ERA KIMALA. Osobola okuwulila ababurizi, abasomesa, abatume, ba nabbi, abasumba, NAYE entambi Ze zi singa, era nga ze zirina okuba , Edoboozi erisingayo  ely’omugaso lye musobola okuwulila, EKYO KIMALA ERA TEKY’ONGERWA KO. Edoboozi elyo kuntambi ly’ Edoboozi lyoka Katonda kenyini we Yayogerera nagamba, MU MUWULIRE MWE, NEKYO KIMALA ERA TEKY’ONGERWAKO.

Baganda bange ne banyinaze, teri n’omu gwe nwanyisa, Nze ndiwo kuwagila Doboozi eryo. Tuteekwa era nze nkikola eky’okwagala abo bona abagala era abakiriza obubaka buno. Era nebwoba ng’owulila nti nze nkoka kikyamu okugamba abantu okunyiga zanya, nze mbagala era nzikiriza nti namwe munjagala. Fena twagala okubera mu Kwagala Kwa Katonda Okutukiride. Bambi genda mu maaso ng’okola ekyo ekyakuyitilwa okukola; okubulila, okuyigiriza, bwoba nga oli musumba, gamba bugambi ekisibo kyo Edoboozi erisingayo ely’omugaso lye basobola okuwulila.

Edoboozi elyo kuntambi lyelyogera ekintu kyekimu buli mulundi. Bwobanga Okukiriza ekyo, awo tojja kukalubirizibwa nakamu okugamba ekisibo kyo nti okuwulizanga entambi ly’Edoboozi erisingayo ely’omugaso lye basobola okuwulila.

Nga njogera ebigambo bino mpulide okuva mu buwereza bungi obwenjawulo nga bagamba nti Nga njogera ebigambo bino mpulide okuva mu buwereza bungi obwenjawulo nga bagamba nti ngamba abantu obutawuliliza basumba babwe era nokuva mu makanisa gabwe, KINO SI KITUFU.Ekyo sili kyogera era sikiriza. Kitufu bangi bogera ebintu byesogerabganako ne byesikirizanganako. Ekyo tekiyinza kubambalirwako, okujako ekyo kyoka kyenjogede era kyenzikiriza. Njogerede ddala mu bwerufu era nejogera kaate n’enzisa me mu buwandike ekyo kyenzikiriza. Bo oba gwe mwekaliliza ekyo kyenjogera era kyenzikiriza.

Omugole yena aliba ayogera ekintu kyekimu. Si basajja babiri nga boogera ekintu kyekimu. Edoboozi limu. Nabbi omu. Omugole omu.

Sikiriza nti mulina okuwuliza mu sawa yenyini y’emu, nga abakiriza okwetoloola ensi bwebakola okubera Omugole We. Naye nzikiriza nti mulina okuwulila Edoboozi ly’omubaka malayika owo musanvu Ku Sandé ku makya…MUSOKENGA kutekako Doboozi eryo.

Mwanirizibwa okuwulila awamu naffe Akabonero Ak’omusanvu 63-0324E, Ku Sande Ku sawa mukaaga ezomutuntu nga bwe budde bwe Jeffersonville nga ye sawa emu eya kawungeezi e Uganda nga ekintu ky’Omugole kiwulira Edoboozi eryo mu budde bwebumu bwenyini.

Ow’oluganda JOSEPH BRANHAM.

Ebyawandikibwa ebyo kusoma nga okuwulila obubaka tekunatandika.

Ekyamateeka 29:16-19
Basekabaka ekisioka 12:25-30
Ezekeeli 48:1-7. 23-29
Matayo 24:31 -32
Okubikulirwa 7
Okubikulirwa  8:1
Okubikulirwa 10:1-7
Okubikulirwa 14

23-0903 Ebibuuzo N’okwanukula Ebikwata Ku Bubonero

Obubaka: 63-0324M Ebibuuzo N’okwanukula Ebikwata Ku Bubonero

BranhamTabernacle.org

Omwagalwa Ow’Oluganda Branham,

Nzikiriza n’omutima gwange gwona nti yegwe malayika omubaka wa Katonda owo Musanvu eya sindikibwa okuyitayo Omugole We. Ye gwe Edoboozi lya Katonda Elilina Bwatyo bwayogera Mukama eri ensi. Nzikiriza nti yegwe oyo Ye gwe yalonda okubikulila ebyama byona ebya Bayibuli.  Nzikiriza buli kigambo kyoyogera Ku ntambi.

Nina ekibuuzo ku mutima gwange kye nandiyagade okukubuza. Waliyo abantu banji, amaloboozi manji, agoogera ebintu binji ebyenjawulo okutujja kwekyo kyetulina okukola okusobola okubera Omugole wa Kristo. Njagala okubera mu Kwagala Kwe okutukiride. Njagala okubeera n’okukiriza okutukiride. Teri n’ omu gwe nwanyisa, naye njagala okuwulila ekyo kyoyogera.

Kiki ekinakunganya Omugole n ‘okutuwa okukwakulibwa mu kukiriza kwe twetaaga?

Nzikiriza nti, okuyita mu Bibwatuka ebyo Omusanvu, kijja kubikulwa mu naku ezisembayo okusobola okukunganya Omugole olwo kukiriza okw’ oKukwakulibwa.

Owoluganda Branham, Ebibwatuka Omusanvu eby ‘enkana n’ebyama Omusanvu bya bikulwa dda? Byabikulwa mu bubonero Omusanvu, naye nga tebinamanyisibwa gyetuli nga Ebibwatuka?

Nedda, byabikulwa mu bubonero Omusanvu; ekyo Ebibwatuka Omusanvu kye byaliko. Byali bilina okubikula…. Ebibwatuka Omusanvu ebyayogera amoloboozi ga byo era nga tewali n’omu eyali ayinza okukola kyebyali… Yokana ya manya kyebyali, naye ya ganibwa oku kiwandiika. Ya gamba, “Naye malayika owo musanvu, mu nakku ez’ okufuwa kwe, ebyama omusanvu eby’ Ebibwatuka Omusanvu bijja kubikulwa.” Era malayika ow’ Omusanvu ye mubaka ow’ Ekanisa ey’ Omulembe gw’ Omusanvu.

Ekitibwa kidde eri Katonda, kiky’ awo ekyokudibwamu kyange. Ekyama ky’ Ebibwatuka Omusanvu kibikudwa. Ly’ Edoboozi lya Katonda ku ntambi era kati nga li kunganya Omugole wamu era nga lituwa OKUKIRIZA OKW’ OKUKWAKULIBWA, kwe twetaaga.

Webale, Owoluganda Branham, olwo kudamu ekibuuzo kyange. Namanya nti kyokudamu eri ekibuuzo kyembadde nina ku mutima gwange kyandiba ku ntambi.

Ekyo kyekyoka kyenetaaga okumanya.  Nja kugenda mu maaso nga Nyiga Zanya buli lunaku era nfune n’ okufuna OKUKIRIZA OKUSINGAWO okw’ oKukwakulibwa.

Jangu ofune Okukiriza okw’ oKukwakulibwa naffe ku Sand’ eno ku sawa mukaaga ez’ omutuntu., nga zezinaaba esawa z’obudde bwe Jeffersonville, nga bwe tuwulila Ebibuuzo N’ Ebyokudamu Ku Bubonero 63-0324kumakya.

Owol. Joseph Branham

23-0820 Akabonero Ak’okutaano

Obubaka: 63-0322 Akabonero Ak’okutaano

BranhamTabernacle.org

Omugole W’Ekigambo Ekituukiridde Omwagalwa,

Katonda Atumye amaanyi ge agasembayo. Atumye empungu ye ey’ekitalo okukka wansi okutuzzaayo ku Kukkiriza okwasooka okwa ba Kitaffe. Guno gwe mulembe gw’empungu. Tewakyali bisolo kati. Tewakyali babaka kati. Tewakyali bibinja bya bantu. Ebyo biwedde bikomywe awo. Tuli ku nkomerero. Eddoboozi erya Okubikkulirwa 10:7 lizze era Likozesezza empungu Ye ey’ekitalo okuyitayo Omugole We.

Singa wabadde owuliriza omusumba waffe ku Sande, Empungu ya Katonda ey’ekitalo, wandibadde omuwulira nga akugamba nga bweyatugambye:

Yemmwe kibinja ekyo ekijja okutwala Ebibwatuka Ebyo Omusanvu; Ekigambo kya Katonda kyennyini era musale-sale-mu eggulu mulitememu obutundutundu n’okuliggalawo muliggalewo. Musobola okuggalawo kino, oba ne mukola kiri, kyonna kyemwagala okukola. Omulabe asaliddwa Ekigambo ekyo ekiva mu kamwa kammwe, kubanga kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri. Muyinza okuyita obuwumbi kikumi obwa kilo-lukumi z’ensowera oba nga mwagadde. Kyonna kyemwogera, kigenda kutuukirira, kubanga kye Kigambo kya Katonda nga kiva mu kamwa ka Katonda. Kye Kigambo Kye, naye bulijjo Akozesa muntu okuKikola”.

Nnyinza ntya okukkaatiriza ekimala obukulu bw’Okunyiga Zannya; okuwulira empungu Katonda gyeYatuma? Obubaka bukuku nnyo, butuukirivu nnyo…Butuukirivu nnyo, okutuusa nga Yali tasobola na kuBwesigisa Malayika yenna. Tewaaliwo muntu mulala yenna, tewaaliwo kibinja kya bassajja kirala kyonna, MPAAWO n’omu gweYali Asobola okuBwesigisa, okujjako NNABBI MPUNGU WE YEKKA.

Tusobola okuKyogerako, ne tuBuyigiriza, n’okubuBuulira ne tubuBuulira, naye waliwo EDDOBOOZI LIMU LYOKKA eririna “Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama,” era muteekwa okukkiriza buli Kigambo.  Waliwo Eddoboozi limu lyokka ly’osobola okwesigamyako enkomekkerero yo ey’omubutaggwawo. Waliwo EDDOBOOZI LIMU LYOKKA Katonda lyeYalonda okukulembera Omugole We, era MUGOLE WE YEKKA Y’AJJA OKUBA N’OKUBIKKULIRWA OKWO.

Waaliwo nnabbi mpungu omu yekka gweYalonda nga ensi tennatondebwa okumubikkulira EKIGAMBO KYE KYONNA….WILLIAM MARRION BRANHAM, era ye, era ye yekka, ye mubaka mpungu wa Katonda ow’omulembe guno. Ye, era ye yekka, ye yatumibwa okukulembera Omugole wa Katonda.

Okuyitibwa kwange, oba okuyitibwa kw’abaweereza bonna abalala, kuli ekintu kimu kino: OKUBAKULEMBERA NGA BABATWALA ERI YE, OYO EMPUNGU YA KATONDA EY’EKITALO. Oyo gweYalonda. Oyo gweYakakasa n’Empagi Ey’Omuliro. Oyo gweYalonda bwe Yabikkula Akatabo ako, n’Akayuzaako Obubobero obwo, n’AKasindika wansi ku nsi, okuKatubikkulira, ffe abantu Be.

Ebigambo byeyayogera ku lutambi si bigambo bye, bye Birowoozo bya Katonda byennyini nga byogeddwa ne bikwatibwa ku lutambi Omugole We asobole okubiwulira; era MMWE mwekka, Omugole WE mmwe mulina Okubikkulirwa okutuufu kw’ekyo.

Omugole, kirowoozeeko! Tutuuse. Kiwedde. Okunoonyereza kwa ssaayansi kuKikakasizza. Okukakasibwa kw’Ekigambo kuKikakasizza. Era tuutuno! Era Okubikkulirwa kuno kuva eri Katonda, era ge Mazima. Era kubanga muKitegeera, TULI batabani Be era Bawala Be abaziddwawo mu bujjuvu.

Tewakyali kwewuunya. Mpaawo bya kwebuuza bibuuzo. FFE MUGOLE KIGAMBO WE ATUUKIRIDDE. Tutegedde kiki kyetuli. Yeffe abo, olw’Ekisa kya Katonda, be Yaganya empungu Ye okulaba nga twambadde ebyambalo ebyeru.

Muddeemu amaanyi Omugole. Kumpi Tutuuse. Tusobole okuKiwulira. Kitubikkuliddwa n’okukirawo kati ku bwekyali kitubikkuliddwa. Omulabe atukyawa, NAYE KATONDA ATWAGALA. Tali bubeezi naffe kyokka, wabula ALI MUFFE. YEFFE KIGAMBO KYE NGA KIFUUFE OMUBIRI.

Ali mu kukakasa Sitaani nti, TETUYINZA, ERA TETUJJA KULEMERERWA. Eriyo KUKKIRIZA na kubuusabuusa. Ffe tulina KUKKIRIZA kwokka. Si okwekkiririzaamu, wabula OKUKKIRIRIZA MU KIGAMBO KYE, era EKYO teKiremererwa. FFE KIGAMBO. Katonda Bw’Atyo Bwe yagamba!!

Si ggwe waMulonda, YE YE YAKULONDA. Sitaani ayinza atya okubaako ky’akukola, KATONDA YAKULONDA. Yakulonda kubanga YAKUMANYA nti toliremwa kukkiriza Kigambo Kye.  Sitaani akugamba nti, “naye olemererwa, n’olemererwa, n’olemererwa”…oli mutuufu, ddala nnemererwa mu mubiri gwange, NNAJIBWAKO OMUSANGO, era sijja kulemererwa kukkiriza BULI KIGAMBO.

Tutuuka ne tugezesebwa ne tuyita mu bigezo olwa KATONDA, Ye asobole OKUKAKASE OMULABE WE, ERA OMULABE WAFFE… nti TULI MUGOLE KIGAMBO WE ATUKIRIDDE.

Leka Omwoyo Omutukuvu ow’Ekitalo Ajjule amaka gammwe, amasinzizo gammwe, oba wonna gyemunaabeera Sande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira empungu ya Katonda ey’ekitalo nga ereeta Okubikkulirwa kwa Akabonero Ak’okutaano 63-0322.

Owol. Joseph Branham
    

Ebyawandiikibwa eby’okusoma nga nga tonnawulira Bubaka:

Danyeri 9:20-27
Ebikolwa By’Abatume 15:13-14
Abaruumi 11:25-26
Okubikkulirwa 6:9-11 / 11:7-8 / 22:8-9

23-0813 Akabonero Ak’okuna

Obubaka: 63-0321 Akabonero Ak’okuna

BranhamTabernacle.org

Obuwungu Obuto Abaagalwa,

Eddoboozi lya Katonda liri mu kututwala ku mitendera gyetutabangako, era nga Libikkula Ekigambo Kye.  Tulobye obumwa bwaffe mu Biwawaatiro Bye eby’ekitalo nga bw’Atuyimusa mu bwengula.  Tuli mu kuseeyeeyeza waggulu eyo wala nnyo okuva ebire by’omu bbanga webikoma. Tusobola okulengera wala nnyo eyo mu butaggwaawo. Kubikkulirwa okulambirira okuggya gyetuli. Gy’Akoma okututwala waggulu, gyekikoma okutubeerera ekitangaavu okulaba. Tusobola okuleekaana nti: NKIRABA…NKIRABA.

Kati Addidde Ebiwawaatiro Bye eby’ekitalo, n’Abiwuuba okuwuuba okunene n’Atugamba nti, “MUBUUKE OBUTO BWANGE, MUBUUKE.” Mu kusooka twali tutidde nnyo. Omulabe yali ajjuzza ebirowoozo byaffe n’okubuusabuusa okungi kutya.  Sisobola, siyinza na kusobola. Awo ne tuMuwulira nga Aleekaana era nga Abwatuka nga Atuddamu nti, “MUSOBOLA, OBUWUNGU BWANGE OBUTO, MUTANULE BUTANUZI KUKUBA BIWAWAATIRO BYAMMWE!!”

Awo, amangu ago obuwawaatiro bwaffe obutono ne butandika okupepeya bwebutyo nga eky’obutonde. Gyetukoma okuwuliriza Ekigambo Kye nga kiddiŋŋana okutugamba kyetuli, na kiki kyetulina okukola, ebiwawaatiro byaffe gyebikomye okubeera eby’amaanyi. Papa, papa, papa….Nyiga Zannya, Nyiga Zannya, Nyiga Zannya…olwo ogenda okwekanga nga, tuli mu kubuuka.  Tuli Mpungu.

Okutya okutonotono bwekugezaako okuyingira ebirowoozo byaffe, twatunula butunuzi wonna ne tutandika okuwuliriza Eddoboozi Lye. Wuuyo awo, nga Abuukira awo wennyini okumpi naffe Asobole okutubaka bwetutandika okugwa. Tukizuula nti tetulina kintu kyonna kya kutya, Taata Mpungu ali awo wennyini naffe.  Ali mu kwetegereza buli lutambula lwetukola. Tajja kubaako ky’Aganya kututuukako.

Emirembe nga egyo n’okukakasibwa byetutawulirangako. Agenda Atubuulira bulijjo, yemmwe Buwungu bwange obuto. Muli mu kugondera era nga mukola kye nnabagamba okukola nga musigala n’Eddoboozi lyange lye nnabalekera.

Akimanyi nti bw’Atugamba ekintu kyonna ku ntambi, tujja kugenda tukikole, kubanga tukimanyi nti kiba Kigambo Kye. Ajja kuyimirira ddala emabega wa kyo. Ne bwe kiba nga tekiwandiikiddwa mu Baibuli, era Ajja kuyimirira emabega wa kyo mu buli ngeri yonna.

Tumanyi, bwe kiba nga kiri wabweru wa Yo, Ajja kuKibikkulira nnabbi We.  Tukizuula nti ebyama bya Katonda byonna bitegeezebwa eri nnabbi We, era ye yekka, kale oba nga waliwo ekintu kyonna kyetwetaaga okumanya, kiri ku lutambi.

Yogera ku maanyi ag’Okubikkulirwa agaleeta okucamusibwa. Twagala okukileekaana nga amaloboozi gaffe tugamazeeyo. Twala ensi emanye, ndi mpungu ya lutambi!

Ebirowoozo bya Katonda byafuuka okutondebwawo bwe byayogerwa, mu ngeri y’Ekigambo. Awo w’Akileetera eri—eri ggwe nga ekirowoozo, ekirowoozo Kye, era ne Kikubikkulirwa. Awo, kisigala nga kirowoozo okutuusa nga okyogedde.

Kitubikkuliddwa. Ekitiibwa. Kati twagala kuKyogera. Yeffe Mugole wa Yesu Kristo. Yammanya, n’Anjawulirawo nga n’ensi tennatondebwa. Yenze Kigambo Kye ekiramu nga kifuuse omubiri. Yaŋŋamba SABA onaawebwa. Konkona, onaggulirwawo. Buli kyetwetaaga, TUKYOGERA.

Guno gwe mulembe g’Empungu era ffe buwungu Bwe obuto. Tetubangako basanyufu kusingawo oba abamativu okusingawo mu bulamu bwaffe. Mpaawo kutya. Mpaawo bya kwelariikirira.

Mbaaniriza okujja okubuuka okutuuka mu bwengula obwa waggulu ko wamu naffe Sande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), nga empungu ya Katonda ey’ekitalo bw’ereekana gyetuli n’ebikkula Akabonero Ak’okuna 63-0321.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa eby’okusoma mu kwetegekera okuwulira Akabonero Ak’okuna 63-0321.

Omut. Matayo 4

Omut. Lukka 24:49

Omut. Yokaana 6:63

Ebikolwa By’Abatume 2:38

Okubikkulirwa  2:18-23, 6:7-8, 10:1-7, 12:13, 13:1-14, 16:12-16, 19:15-17

Olubereberye 1:1

Zabbuli 16:8-11

II Samwiri 6:14

Yeremiya 32

Yoweeri 2:28

Amosi 3:7

Malaki 4

23-0806 Akabonero Ak’okusatu

Obubaka: 63-0320 Akabonero Ak’okusatu

BranhamTabernacle.org

Omugole Acamusiddwa Abaagalwa,

Weetegeke, Sande eno ogenda kufuna okucamusibwa olw’Okubikkulirwa okusingako ku kwewali obadde nakwo mu bulamu bwo. Ojja kuba otamiirira butamirizi ku Kigambo. Kijja kuba kirungi nnyo, era ekyanjulukufu…n’obutaangavu nga kitangaavu okusinga ku bwekyali nga Akyogera.  Era waliwo engeri emu yokka ey’okuKifunamu, oteekeddwa Okunyiga Zannya!

Funa entambi, Ziwulirize ng’otekeddeyo ddala omwoyo. Kubanga, ojja kukifunira ku lutambi, kubanga babadde bazannya entambi ezo nga baziddiŋŋana, era nnungi ddala era nnambulukufu. Kale, ojja kukifuna nga kitangaavu okusingawo nga okijja ku ezo.

Omubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu yaakagamba ki? Oyo Katonda gweYalonda okubikkulira ebyama byonna ebya Bayibuli; oyo gweYalonda okuwa Okubikkulirwa kw’Obubonero Omusanvu buno, Ebibwatuka, n’Ekigambo Kye kyonna. Malayika gweYalonda okuyitayo Omugole We. Oyo gweYalonda okubeera Eddoboozi lye mu nnaku ez’oluvannyuma. 

Leka tusome busomi okunokola okwo omulundi gumu nate okukakasa nti tutegeera kyeyaakoogera ffe okukikola.

“Mujja kuKifuna nga muKijja ku,” EWA?

“Mujja kuKifuna nga kitangaavu okusingawo nga muKijja ku, ” EWA?

Yogera ku ngeri gyekiri ekikulu Okunyiga Zannya n’okuwulira Entambi. EKITIIBWA!!  Kino si kigambo kyange, kino kye KIGAMBO KYA KATONDA nga Agamba Omugole We, KIJJE KU EZO…KU NTAMBI.O Ababuulizi, mwekuumire wala n’amabega gange.

Omuntu yenna alanga nti akkiriza Obubaka buno ayinza atya okugamba nti okuzannya entambi si ky’ekintu EKISINGAYO OBUKULU Omugole ky’ayinza okukola?  Omusumba ayinza atya okuteeka obuweereza bwe waggulu w’obw’obwa nnabbi? Si okubunokola obunokozi kyokka…nange ekyo kyendi mu kukola kati, naye okuzannya Eddoboozi eryo eri ekisibo kye basobole “OKUKIFUNA NGA KITANGAAVU OKUSINGAWO NGA BAKIJJA KU EZO”.

Obuweereza obusingayo obukulu mu nsi yonna bwe Buweereza Bw’Olutambi. Teriiyo kisinga bukulu ku Kunyiga Zannya. Waliwo Eddoboozi limu lyokka eryayawulibwa Katonda okubeera Bw’Ati Bw’Ayogera Mukama eri Omugole We, Eddoboozi eriri ku Ntambi.

Leka mbeere mulambulukufu ku kino omulundi omulala nate. SIWAKANYA muweereza yenna yenna okubuulira, ka kubeere okukiwulira muli nti omuweereza takkirizibwa kubuulira oba okuyigiriza, nakyo sikiwulira muli. Naye kulwange ne kulw’obuweereza bwange, nnayitibwa kugamba nsi okuwuliriza Ekigambo Ekitalabika nga kyambaziddwa omubiri ne kirabika, ekyo ekikwatiddwa ku lutambi ne kiterekebwa ku lutambi olwa magineeti. Nzikiriza nti ly’Eddoboozi lya Katonda, and ERYO, era ERYO lyokka, lyanukula ebibuuzo byammwe byonna.  Lijja kubawa byonna byemwetaaga, omwo nga mwemuli n’Okukkiriza okw’Okukwakkulibwa, kubanga Liri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.

Omugole teyeetaaga kigambo kyange, nze ndi mu kunokola bunokozi Kigambo ekyo nga abaweereza abalala bonna bwebakola. Munokola era ne mwogera ku engeri gyekiri ekikulu ennyo okuwulira obuweereza bwammwe n’okuyitibwa kwammwe, mukama waffe Atenderezebwe.  Ndi mu kugamba abantu nti OBUWEEREZA OBUSINGAYO OBUKULU ly’Eddoboozi lya Katonda ku Lutambi. Mpaawo kiRisinga bukulu. Tebeetaaga kuba na kintu kirala kyonna.

Siri mu kwogera bintu bino kuleetera bantu kuba na mwoyo mukyamu oba okutandika okulaba obubi omuweereza yenna oba obuweereza bwonna, Kikafuuwe. Mbaagala. Baganda bange. Katonda atadde okuyitibwa ku bulamu bwabwe. Ngeza ntya ne njogera ekigambo ekirwanisa abasajja ba Katonda abaafukibwako amafuta, NAYE KINKAKASEEKO okwogera n’okugamba nti bangi ku bo batadde essira erisusse ku buweereza BWABWE ne batateeka Ddoboozi lya Katonda ku lutambi nga EDDOBOOZI ERISINGAYO OBUKULU Omugole ly’ayinza okuwulira.

ŊŊambye bugambi nti, “Muzze Ow’oluganda Branham ku bituuti byammwe,” era bangi ku baweereza beetanuliddeko ogw’okugamba abantu baabwe engeri Ow’oluganda Branham gy’ataakyogerako ekyo ku lutambi, era mbu BO be baayitibwa okutwala Ekigambo ne bakiwa abantu; nga bawa eby’okwekwasa OBUTAZANNYA NTAMBI MU MAKANISA GAABWE.

Bagamba nti KIKYAMU omusumba bw’azannya entambi mu kkanisa ye, nga balaga abantu nga bwekirimu ensobi nga bagamba nti, bwe baba nga bali mu kuwuliriza buwuliriza ntambi mu makanisa gaabwe, era nga tebawuliriza buweereza, abo si Mugole.

Mpulidde eby’okwekwasa bingi byebakozesa era byebagamba abantu. Mu ngeri ennyangungu, tebajja kugamba bantu baabwe nti, “ENTAMBI KYE KINTU EKISINGAYO OBUKULU KYEMUTEEKEDDWA OKUWULIRIZA.” Singa ekyo bakikola, olwo abantu bajja kubuuza…”olwo lwaki tuba tetuzannya ntambi mu kkanisa yaffe bwekiba nga ky’EKISINGAYO obukulu?”

Ono gwetugenda okuwuliriza ku Sande:

Katonda Yeeyolesa mu Musajja omu, n’Ayogera eyamuli emabega; n’ekyo Saala kyeyali akoze, okusekera mu lusiisira. Era Ebyawandiikibwa bino byonna, ebya Malaki, n’ebirala bwe bityo, byakyogerako mu bubonero nti kyandibaawo mu nnaku ez’oluvannyuma. Abaebbulaniya 4 waagamba nti, “Ekigambo ekyo” kikomawo nate. Malaki 4 yagamba nti Kiridda kirikomawo nga kiyita mu musajja omu.

Ekigambo ekyo kikomyewo nate nga kiyita mu musajja omu era tulina Eddoboozi Lye nga lyakwatibwa ku Lutambi era tugenda kuba tuLiwulira BULI SANDE.

Ndi musanyufu okukibaanjulira ekyo omulundi omulala nate, Sande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), tujja kuba tuwuliriza Ekigambo ekirabisiddwa mu mubiri ne kikwatibwa ku lutambi olwa magineeti. Kituwa Okubikkulirwa ku Akabonero Ak’okusatu 63-0320.

Nga kinnaba kiseera kikulu kyetunaaba nakyo, Omugole. Nga ssanyu lingi nnyo erinajjula emitima gyaffe. Nge mirembe nnyo eginaamaamira ku mmeeme zaffe, nga bwetuwulira ekyo Katonda Mwene kyeYagamba Sitaani nti: “Baleke bokka. Bw’obaako omu ku bo gw’obaka, Ekisibo Kyange ekitono ekijjuziddwa Amafuta Ge ne Envinyo w’Ekigambo ekirongoofu, togeza n’omukaka okugamba zi ‘Bikira Maaliya’ zo, oba ekimu ku bikwate byo. Amagalo go gakuumire wala okuva webali. Bamanyi wa gye bagenda, kubanga bafukiddwako Amafuta gange era balina omwenge ogw’essanyu, kubanga bamanyi Ekigambo Kyange eky’ekisuubizo. ‘Ŋŋenda kubazuukiza nate.’ Abo tobakosa! Togenda nga ogezaako okubaleetamu obuvuyo…weekuumire wala okuva webali, kyokka.”

Tetulina kya kutya. Tulina Ekigambo. FFE KIGAMBO. Tewali kituyimiriza. Ffe batabani era bawala ba Katonda. Sitaani, bituwe, ffe bannannyini ba BULI KIMU. Katonda Bw’Atyo BweYayogera. Kyawandiikibwa!

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa

Omut. Matayo 25:3-4

Omut. Yokaana 1:1, 1:14, 14:12, 17:17

Ebikolwa By’Abatume Essuula 2

1 Timoseewo 3:16

Abaebbulaniya 4:12, 13:8

1 Yokaana 5:7

Ebyabaleevi 8:12

Yeremiya Essuula 32

Yoweeri 2:28

Zekkaliya 4:12

23-0730 Akabonero Ak’Okubiri

Obubaka: 63-0319 Akabonero Ak’Okubiri

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole Omwagalwa, 

Omugole teyewuunyizza Bubaka buno oba omubaka Waabwo okuva mu 1933, Empagi y’Omuliro bwe yalabika wansi ku Mugga Ohio ku lunaku olwo Tubaddenga tukimanyi nti William Marrion Branham ye mubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu ow’amaanyi gwe Yatuma ku nsi okuyita Omugole weTubaddenga tukimanyi nti William Marrion Branham ye mubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu ow’amaanyi gwe Yatuma ku nsi okuyita Omugole we.

Okuva ku lunaku olwo, Katonda abadde akuŋŋaanya Omugole we wamu olw’Okujja kwe.  Tuli wansi w’okusuubira okunene kutyo; kubanga tukimanyi nti lujja kubaawo olunaku lwonna kati.

Abadde azimba Okukkiriza kwaffe nga bwe kitabangawo, ng’atugamba, ng’atugumya nti, tuli Mugole we omwesigwa.  Tumanyi nga tusigala n’Emmere Ye Eterekeddwa, kyonna kye twetaaga kiri OKWO, KU NTAMBI.

Ekyo tukimanya tutya mu bukakafu?   Ekigambo kigamba nti Katonda TALIIKO KY’ALIKOLA okutuusa nga’Akibikkulidde abaddu be bannabbi. Ekigambo kigamba nti Katonda TALIIKO KY’ALIKOLA okutuusa nga’Akibikkulidde abaddu be bannabbi.

Ennaku z’okwebuuza ziwedde.  Omugole asimbye amakanda ku wa w’ayimiridde.  Tewali kikulu okusinga okuwulira Katonda ng’ayogera n’Omugole we ku Ntambi. Bye Bigambo byokka ebyakakasibwa Katonda Mwene okuba Bw’Ati Bw’Ayogera Mukama.

Essaawa ya kamalirizo era tusobola okuwulira obuzito bw’omukka omubi ogw’omulabe waffe ogutwetoolodde.  Entalo zitusimbidde olunyiriri era Sitaani alumbira ku njuyi zonna, naye Katonda atenderezebwe tulina Emmere ey’Omwoyo, era tutuula ku Meeza ya Mukama emisana n’ekiro, nga tulya ku Mmaanu eyo Eyakwekebwa.  Ayongera okutubikkulira ebisingawo era ebisingawo buli lunaku nga bw’Atugamba nti, “Byonna biteredde swiitimutima wange.  Ndi naawe.  Nakugamba nti sirikuleka sirikwabulira.  Genda mu maaso ng’ofuba. Basetaani abo bagobere ebweru. Nkuwa bbomu Yange nnamuzisa, Ekigambo kyange, Kikozese. NnaKirowooza. Awo ne Kiiwandiikibwa, era kati, mu kiseera kyo, Nkyogedde osobole okumpulira NZE nga nkugamba nti, Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Ggwe Mugole Wange.  Ggwe Kigambo ekirabisiddwa mu mubiri.”

Katonda ayogedde okuyita mu mimwa gy’omuntu w’okunsi n’Atuwa Ekigambo kye; tetulina kye tutya. Si Kigambo kyaffe, ebirowoozo byaffe, okulowooza kwaffe, kye Kigambo kya Katonda kye Yatuwa FFE.  OKUKKIRIZA kwaffe kuli mu Kigambo kye era Ekigambo kye TEKIYINZA KULEMWA!

Kati, nga bwe tuwulira Obubonero buno nga bubembulwa, Omwoyo Omutukuvu Ayogera naffe omulundi gumu nate era tusobola okulaba amannya gaffe nga gawandiikiddwa eyo mu Kitabo ky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga.  Kumpi tetusobola kwefuga… WEEWAWO, erinnya lyange ly’eriwandikiddwayo. Ayogera ku NZE.

Jjangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), era owulire Akabonero Ak’okubiri 63-0319 , nga Eddoboozi Lya Katonda bwe likugamba nti amannya gammwe gawandiikiddwa mu Kitabo ky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa eby’okusoma nga nga tonnawulira Bubaka:

Omut. Matayo 4:8 / 11:25-26 / 24:6

Omut. Yokaana 16:16

Omut. Yokaana 14:12

2 Abassesalonika 2:3

Abaebbulaniya 4:12

Okubikkulirwa 2:6 / 6:3-4 / Essula eya 17 / 19:11-16

Yoweeri 2:25

Amosi 3:6-7

23-0723 Akabonero Akasooka

Obubaka: 63-0318 Akabonero Akasooka

BranhamTabernacle.org

Abagaalwa…Ngenda kubayita Omugole,

Katonda, Omutonzi Ow’ekitalo, Alfa ne Omega, Eddanga ery’omu kiwonvu, Ekimuli kya Loosa ekya Saloni, Emmunyeenye eyaka ennyo ey’oku nkya, Kitaffe, Omwana, era Omwoyo Omutukuvu, Empagi y’Omuliro, Katonda Mwene, yajja ku nsi n’ayogera gye tuli ng’ayita mu mimwa gy’omuntu w’oku nsi, EKITIIBWA!, n’Abiteeka ku lutambi olwa magineeti, bw’otyo osobole okumuwulira YE ng’Akuyita… “GWE” OMUGOLE WE.

Ekyo mukikubyemu akafaananyi mikwano gyange. Mukama waffe Yesu Kristo, ng’Akutunuulidde mu mmunye n’akugamba nti: “Ggwe Mugole Wange. Nkwagala. Nkulindiridde ebbanga ddene nnyo. Mu ndaba yange, oli mutuukirivu. Oli nnyama ya nnyama yange, eggumba ly’eggumba lyange. Nakulonda nga sinnakola Nsi oba emmunyeenye. Nkwagala nyo bitya. Tujja kumala Obutaggwawo nga tuli wamu. Kati, Nzija okukucima.”

Ekyo kyokka kisaana okuba nga kimala okuwa buli omu ku ffe Okukwakkulibwa Mu Kukkiriza. Kiki sitaani ky’ayinza okukukasukira, okukugamba, okukuteekako ekiyinza okukutuusaako obulabe? TEWALI, GGWE MUGOLE WA KRISTO! Ggwe Kigambo kye ekifuuse omubiri, oli Mukyala Yesu Kristo.

Omuntu yenna, mu lulimi lwonna, ayinza atya okuwandiika n’alaga ekyo kye kitegeeza gye tuli? Tosobola busobozi.

Tewali kifo mu nsi kyosobola kufuna kitiibwa ekyo n’enkizo okuwulira Ebigambo bino okuggyako ng’olina Okubikkulirwa okutuufu n’ONYIGA ZANNYA.

Ebintu ebisinga obukulu ensi by’ebadde erindirira okuva ku ntandikwa y’ebiseera, bigenda mu maaso mu kiseera kino, era tuli kitundu ku Kyo. Alindiridde olunaku luno, essaawa eno, abantu bano; MMWE, okutuukiriza n’okuyisaawo Enteekateeka Ye Ennene.

Okubikkulirwa kw’ekyama ky’Obubonero Omusanvu, Ebibwatuka okubikkulwa, okutuukirizibwa kwaffe, Adamu we azziddwawo mu bujjuvu, Okujja kwe, ebintu bino byonna biri mu kwolesebwa era bituukirira KATI, mu GGWE, OMUGOLE WE!

Si mu kiseera kya Musa. Si mu kiseera kya Nuuwa. Si mu kiseera kya Yesu, si na mu kiseera kya Yokaana oba ekya Pawulo; Kigenda mu maaso kati, KATI KATI, NAAWE.

Tetwagala kuKisubwa. Twagala tubeere beetegefu olw’okujja kwe. Okusobola okukola ekyo, tulagiddwa okugenda mu KIGAMBO okufuna eby’okuddamu byaffe. Si endowooza yange, oba endowooza oba ebirowoozo by’omuntu omu, wabula ekyo Ekigambo kya Katonda ekikakasiddwa kye kyogera.

Tukimanyi nti Omugole alina okugamba “amiina” eri buli Kigambo era yeegatte wamu okubeera Omu. Kale tulina okutunula mu Kigambo kya Katonda tulabe ekigenda okugatta Omugole awamu.

Era awo wagenda kuvaayo Ebibwatuka musanvu eby’ekyama ebitaawandiikibwa na kuwandiikibwa. Ekyo kituufu. Era nzikiriza nti, okuyita mu Bibwatuka bino Omusanvu, bijja kubikkulwa mu nnaku ez’oluvannyuma okusobola okugatta Omugole awamu olw’okukkiriza okw’okukwakkulibwa.

Awo wennyini weKiri mu Kigambo. Ebibwatuka Omusanvu bijja kubikkulwa mu lunaku lwaffe okusobola okugatta Omugole awamu olw’okukkiriza okw’okukwakkulibwa.

Olwo ekibuuzo ekiddako kye twetaaga okumanya kiri nti: Ebibwatuka Omusanvu kye ki?

Luli, kiri ki “byabwatuka.” Jjukira, eddoboozi eddene erivuga nga okukuba kw’engalo ery’Okubwatuka kw’eggulu liba ddoboozi lya Katonda. Ekyo Baibuli ky’eyogera, laba, “okukuba mu ngalo okw’Okubwatuka kw’eggulu.” Baalowooza nti kwali kubwatuka kwa ggulu, kyokka Yali Katonda. Ye Yakitegeera, kubanga kyamubikkulirwa. Okiraba? Kwali kubwatuka kwa ggulu.

Kale Ebibwatuka lye Ddoboozi lya Katonda erigenda okukuŋŋaanya

 Omugole awamu n’okubawa (OKUTUWA) okukkiriza okw’okukwakkulibwa. Kiikyo awo eky’okuddamu kyaffe.

Eddoboozi lya Katonda eri Omugole y’ani? William Marrion Branham.

Kati, ndi bubeezi muganda wo, olw’ekisa kya Katonda, naye Malayika wa Mukama bw’akka wansi, kifuuka, olwo, Eddoboozi lya Katonda gy’oli…Siyinza kwogera kintu kyonna mu nze, wabula ekyo ky’Andaga, nze kye njogera ekyo. Ggwe kkiriza ekyo era wekkaanye ekinaatukawo.

Mukkirize Ekyo mulabe ekinaatukawo n’ekinaagenda mu maaso ku Ssande eno, nga bwe tukuŋŋaana awamu, nga tufuna okukkiriza kwaffe okw’okukwakkulibwa, nga tumuwulira nga Abwatuka eri Omugole We.

Oyogera ku “kutuula kati mu bifo eby’omu Ggulu”? Kiriba kitya! Bwe tuba nga tusobola okuwulira bwe tuti, nga tutudde wansi wano ku nsi, nga Okukwakkulibwa tekunnajja, mu mbeera eno gye tulimu kati; era nga tusobola okunyumirwa, ne tuyimirira okwetooloola ebisenge, ne tuyimirira mu nkuba, okusobola okuwulira obuwulizi Kino; kiriba kitya nga tumulabye ng’Atudde awo! Oh, owange! Oh, kiriba kiseera kya kitiibwa.

Tosubwa okubaayo mu kiseera kino eky’ekitiibwa. Oyanirizibwa okukuŋŋaana naffe nga bwe tuwulira: Akabonero Akasooka 63-0318, ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda).

Owol. Joseph Branham

Matayo Omutukuvu 10:1 / 11:1-14 / 24:6 / 28:19

Yokaana Omutukuvu 12:23-28

Ebikolwa 2:38

2 Abasessaloniika 2:3-12

Abebbulaniya 4:12

Okubikkulirwa 6:1-2 / 10:1-7 / 12:7-9 / 13:16 / 19:11-16

Malaki Essuula ey’okusatu n’ey’okuna

Danyeri 8:23-25 / 11:21 / 9:25-27