Category Archives: Uncategorized

22-0227 Akabonero Akookutaano

Obubaka: 63-0322 Akabonero Ak’okutaano

BranhamTabernacle.org

Omubiri Gwa Kristo Ogumu Ogw’ekitalo Abaagalwa,
Kiki ekigenda mu maaso leero? Ekigambo kya Katonda kiri mu kutuukirizibwa. Ennaku Omugole z’Alindiridde okumala ebbanga gganvu kaakano ziri mu kwolesebwa mu maaso gaffe gennyini. Ennaku nnabbi wa Katonda ze yatulabulako nti zijja kaakano ziri wano.

Akabonero kabikkuddwa. Kiki ekyo? Ekyama kyanjuluzibbwa. Olaba? Era ekyama bwekyanjuluzibwa, olwo ekkondeere livuga. Lirangirira olutalo. Kawumpuli agwa era omulembe gw’ekkanisa guggulwawo.

  • Russia
  • Olutalo
  • Obwa nnakalyakani
  • Amafuta
  • Kawumpuli

Russia bw’ekkirira eyo okufuna amafuta ago, mwekalirize amaaso. Russia, enkola y’obwa nnakalyakani, tebulina kyebuwangula. Ekigambo kya Katonda tekiyinza kulemererwa. Enkola y’ekirooma y’egenda okuwangula ensi. Malayika w’okuzikiriza akyakwatiridde omukono gwa Russia ne zi bbomu nnamuzisa; OKUTUUSA NGA EKKANISA EZZE AWAMU, ERA OMUBIRI GWA KRISTO OGUMU OGW’EKITALO. “Siyinza kukola kintu kyonna, nga tonnatuuka omwo.” O ekyo bwekiba nga ssi kukakasibwa okw’omukisa!

Ekkanisa, Omugole We, ejja awamu. okuva wonna mu nsi nga Omubiri Gwa Kristo Ogumu Ogw’ekitalo, nga bawuliriza Katonda nga Ayogera era nga Avvuunula Ekigambo Kye. Tulaba Ekigambo nga kituukirizibwa munsi okutwetooloola, naye era tulaba Ekigambo nga kituukirizibwa n’okwolesebwa mu ffe.

Tuli mu kufuna kucamuka olw’okubikkulirwa nga bwekitabaangawo emabega nga obunnabbi buno butuukirira.

Ensi eri mu kukankana n’okutya. Balindiridde, nga batunula n’okwewuunya kiki ekigenda okuddako? olw’enkya lukwatiridde ki?

Bino byonna bitegeeza ki? Russia egenda kutwala amatwale? Ate eby’enfuna biri bitya?

Ebiro nga biri bityo, Omugole ali MIREMBE. TUWUMUDDE, nga tujjuzibbwa Omwoyo We Omutukuvu, nga tumuwulira nga Ayogera okuyita mu malayika We ow’ekitalo nga bw’Atugamba:
Temutya kintu kyonna ekisibo kyange ekitono, yemmwe ba swiitimutima bange abalonde. Yemmwe:

Abalonde nga emisingi gy’ensi tegginnabawo. Amiina! Era beesimbu eri Ekigambo. Amiina! Owaaye! Ekyo nkyagala. “Baayitibwa, baalondebwa nga emisingi gy’ensi tegginnabawo.” Era olwo, beesigwa eri Ekigambo, okuyita mu kusalawo kwabwe, bonna nga bacamusibbwa Omwenge omuggya n’Amafuta, nga bavugira kuli kwennyini, nga baserengeta okumusisinkana. Bamanyi nti Ebibwatuka bijja kutuyingirizaawo ekintu, mangu nnyo.

Akitegeera nti tuli beesimbu eri Ekigambo Kye. Tukikoze n’okusalawo kwaffe. Kati tuli mu kuvugira kuli kwennyini, nga tumanyi nti Ebibwatuka bijja kutuyingirizaawo ekintu mangu nnyo, era ajja kujja Atutwale mu maka Gaffe Amaggya.

N’okuba waliwo bingiko by’Ayagala tumanye. Ekintu ekimu kiri mu kubumbujjirira ddala mu mutima gwe ky’Ayagala okutugamba. Kumpi tayinza kulinda engeri gy’Amanyi nti kijja kutuwa Okucamuka. Olw’Ekisa kya Katonda, Yakkiriza nnabbi We okutulaba, abantu be, ku ludda luli nga tuli naye. Yagamba, “Bwennabalaba, mwenna mwali mu BYAMBALO EBYERU.”

Twali tukuŋŋaanyizibbwa wamu naye. Twamusitula netumuwanika waggulu nnyo eyo ku kintu ekigulumivu. Twamugamba, “ku nsi, wali mukulembeze waffe”.

Waaliyo bukadde na bukadde obwaffe nga tudduka gy’ali n’okum ugwa mu kifuba n’okumuyita, “ow’oluganda”. Mbagirawo Eddoboozi okuva waggulu lyayogera ne ligamba, “Abantu bano beebo bewakyusa b’okulembedde. Ojja kulamulwa ekyo ky’obagambye”.

Nnabbi yayogerera waggulu n’agamba, “Ekibiina kya Pawulo bwekiba nga kinaayingira, bwekityo n’ekyange kijja kuyingira, kubanga mbuulidde Ekigambo kyekimu kyennyini.” Era ffenna ne tuleekaanira waggulu FFENNA OMULUNDI GUMU N’EDDOBOOZI LIMU:

“Ekyo Kwetuwumulidde!”

Erinnya lya Mukama lyebazibwe, tuwummulidde ku buli Kigambo kyeYayogera okuyita mu nnabbi We. Tuliramulwa Kigambo ekyo. Ye ffe abaali abantu ba nnabbi. Yeeyali omukulembeze waffe eyatukulembera okutuleeta eri Kristo. Ffenna twali tutaddeko Ebyambalo Ebyeru. Twali tetuwummulidde ku ekyo omuntu omu kyeyagamba nti kyeyagamba, oba omuntu omu kyeyagamba nti kyekyategeeza, twali tuwummulidde ku buli Kigambo kyeyagamba.

Nga lunaku era kiseera eky’okubeeramu, Omugole. Bw’owulira amawulire leero, ojja kutegeera ekyabaddewo jjo. Nyiga Zannya, era ojja kuwulira ekinaabawo enkya, n’olunaku oluddako, n’olunaku oluddako, n’olunaku oluddako.

Jjangu okuŋŋaanire wamu n’Omubiri Gwa Kristo Ogumu Ogw’ekitalo ku ssaawa 6 ezoomuttuntu mu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 2 ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira: Akabonero Akookutaano 63-0322. Tewali kwewuunya, tewali kusuubira, naye OKUMANYA nga owulira BWATYO BW’AYOGERA MUKAMA omulongoofu okuva mu Ddoboozi lya Katonda ku lw’olunaku lwaffe.

Owol. Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwulira Obubaka tekunnatandika:

Danyeri 9:20-27
Ebikolwa by'Abatume 15:13-14
Abaruumi 11:25-26
Okubikkulirwa 6:9-11 / 11:7-8 / 22:8-9

22-0220 Akabonero Akookuna

Obubaka: 63-0321 Akabonero Ak’okuna

BranhamTabernacle.org

Omugole acamusiddwa abaagalwa,

Olunaku lw’Obubaka bwelwatuuka, ffenna twali wamu, mu kifo kimu, okuva wonna munsi, amangu ago lwe wajja okuwuuma okuva mu Ggulu ng’empewo ewuuma n’amaanyi. “Amakya amalungi, ab’emikwano. Leka tuyimirire kati akaseera katono olw’okusaba”. Omwoyo Omutukuvu yajjuza ennyumba zaffe zonna n’amakanisa mwetwali tutudde, okubeerawo Kwe.

Olwo amaanyi ag’okubikkulirwa kw’Ekigambo negatandika okutuwa okucamuka okw’essanyu, okucamuka okw’okumatizibwa; okucamuka nti Kyakakasibwa, Kyalagibwa nti Kituufu, nti yeffe Mugole wa Yesu Kristo swiitimutima omulonde.

Tulindiridde n’okusuubira okw’amaanyi Ebibwatuka Omusanvu ebyo okwatula amaloboozi gaaByo, kubanga tumanyi kati, awatali kisiikirize kya kubuusabuusa, nti ffe kibiina ekyo ekitutte EKigambo kya Katonda. Tujja kusalamu obutundu era tusale nga tukozesa Ekyo. Tusobola okuggala eggulu, tusobola okuziba kino, oba okukola ekyo, kyonna kyetwagala okukola. Omulabe ajja kusalibwa Ekigambo ekiva mu kamwa kaffe, kubanga kisala okusinga ekitala kyonna eky’obwogi obubiri. N’okuba twandiyise obuwumbi kikumi obwa kkiro lukumi z’ensowera singa tubadde tuzaagala. Kyonna KYETWOGERA, kigenda kutuukirira, kubanga ky’Ekigambo kya Katonda nga kiva mu kamwa ka Katonda.

Tuliba n’obufuzi obusukkulumu obujjuvu, kunsi, kubanga tuli ka katonda akatono. Katonda ye Katonda w’ensi yonna ng’otwaliddemu obwengula bwonna n’emunyeenye, buli wamu, naye tujja kuba n’ensi wansi w’obufuzi bwaffe ffe. Tusobola okwogera, tusobola okutuuma amannya, tusobola okugamba, tusobola okuyimiriza obutode, tusobola okukola ekintu kyonna kyetwagala; busika bwaffe bwebuzziddwawo.

Setaani agamba, “Naye balina omusango!” Naye Aleekaanira waggulu n’agamba, “TEBALINA. Baatudde ebibi byabwe era bayimirira mu maaso GANGE nga baggyiddwako omusango mu bujjuvu. N’okuba ssisobola na kukijjukira. Bali mu bujjuvu obwa buli ngeri mutabani Wange.”

Ekyo si kirowoozo kyaffe, newankubadde okubeera ekigambo kyaffe, naye KIGAMBO KYE, KISUUBIZO KYE, kubanga Katonda lubeerera takyusa Kigambo Kye newankubadde engeri Ye ey’okukolamu ebintu. Bulijjo akozesa muntu, era Atugamba yeffe Mugole We azziddwawo mu bujjuvu era ayolesebbwa oyo asigadde n’EKigambo Kye.

Tetubadde na kintu kyonna okujjako Ekigambo Kye nnakabala. Tetwogeraganyizza byakikaba, oba kakibe okutunula ku kintu ekirala kyonna , naye tusigadde n’Eddoboozi lya Katonda, Ekigambo ekyambadde omubiri nga kifuuse omubiri, Empagi y’Omuliro ekakasiddwa, Omwana w’Omuntu, Bwatyo Bw’Ayogera Mukama. Yeffe Mugole Kigambo We embeerera.

Yogera ku kucamuka olw’okubikkulirwa. Nga mwannyinaffe ku Luzzi, tekyatwetaagisa kusigalawo kiro kyonna newankubadde okusigalawo okutuusa ekiro ekiddako, tuKifunye kati kati. Yeffe nsigo Ye. Ekitangaala ekyo kyatukubako era ekintu ekimu munda ne kibwatuka okudda mu bulamu obuggya. Kati tuli mu kkubo nga tugamba buli omu, “Tuwangudde. Okwewuunya kwonna kuweddewo, Katonda Mwene Ayogera gyetuli na buli Bubaka Bwetuwulira, nga Atugamba: ‘Yemmwe bembadde nnindiridde. Kaakati ngenda kubatwala mu anemuunu (oba akaseera k’okuwummulamu oluvannyuma lw’embaga ey’okufumbiriganwa). Nkukoledde Amaka agalabika obulungi mu ngeri ddala nga bw’oyagalamu buli kimu. Tugenda kumala obutaggwawo wamu.”

Eri ffe, Amazima ag’Ekigambo kya Katonda Ekisuubize gakakasibbwa ne gabikkulwa . Yokaana 14:12, Yoweri 2:28, Timoseewo ekyokubiri 3, Malaki 4, Okubikkulirwa 10. Kaakano tujuzibbwa Amafuta era tucamusibbwa.

Wandyagadde okuba n’okucamuka kuno kwekumu? Osobola, naye waliwo ekifo kimu kyokka ew’okuKufunira. Nga Yesu lwe yali ku mbaga omwenge negubaggwako. Baali banywera ddala omwenge era gwali gubawa okucamuka, naye OMWENGE OGUSINGA OBULUNGI gwajja butereevu okuva eri Yesu Mwennyini.

Jjangu onywe Omwenge Ogusinga Obulungi era ofune Okucamuka olw’okubikkulirwa Okusinga Obulungi wamu naffe Sande ku ssaawa 6 ezoomuttuntu mu budde bwe Jeffersonville (z’essaawa 2 ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira: Akabonero Akookuna 63-0321.

Wetegeke okutamiirira ku Mwenge Gw’Omwoyo Omutukuvu.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma mu kwetegekera okuwulira essomo “Akabonero Akookuna” 63-0321.
Omut.Matayo 4
Omut. Lukka 24:49
Omut. Yokaana 6:63
Ebikolwa by’Abatume 2:38
Okubikkulirwa 2:18-23, 6:7-8, 10:1-7, 12:13, 13:1-14, 16:12-16, 19:15-17
Olubereberye 1:1
Zabbuli 16:8-11
II Samwiri 6:14
Yeremiya 32
Yoweri 2:28
Amosi 3:7
Malaki 4

22-0213 Akabonero Akookusatu

Obubaka: 63-0320 Akabonero Ak’okusatu

BranhamTabernacle.org

Omugole embeerera abaagalwa,

Mbadde nsaba era nga nsaba Katonda kiki kyeYandinneetaaze okuwandiika n’okwogera ekyandibadde omukisa era okuzzibwamu amaanyi mu ngeri emu, gy’oli, Omugole We. Ssirina bigambo, era ssimanyi kyakwogera. Mpulira nga ssisaanidde na kuwandiika obugambo obutonotono bwempandiika, naye ky’ekitiibwa ekisinga obw’ekitalo mu bulamu bwange okubaako ne kye mmukolera.

Nzikiriza ekiseera okuwulira Obubonero buno Omusanvu wekujjidde kituukirivu ddala. Tusobola okulaba enteekateeka ya Katonda ey’ekitalo nga ebikkulibwa era nga yeeyanjula mu maaso gaffe. Bubaka ku Bubaka bufuuka Okubikkulirwa kusingako era Okubikkulirwa okusingako. TuMulaba nga Atwebikkulira nga atukulembera. Tumanyi nti tuli mu kukola kyennyini kye Yatugamba okukola, “okusigala n’Ekigambo.” Tewali ngeri esingako ey’okukolamu ekyo esinga ku KUNYIGA ZANNYA.

Mpulira nga okuyitibwa kw’Atadde ku mutima gwange kwe kukuuma Obubaka buno, Eddoboozi Lye, entambi zino mu maaso gammwe bulijjo; okubataangaliza nga mpita mu kuwandiika obulambulukufu obusingako omugaso gw’okuwuliriza entambi. Nkimanyi nti ssisobola kukiyisaawo kituuke gyemuli bulungi, naye MMANYI ndi mutuufu mu kubagamba “NNYIGA ZANNYA,” nga bwe bitali birowoozo byange, kufumiitiriza kwange, newankubadde ebigambo byange, naye Ebigambo bya Katonda Mwenne nga Ayogera okuyita mu mubaka malayika we owomusanvu, nga Atugamba:

Oluusi bwetusoma obusomi, era, kaakano, mubeere beegendereza ddala. Era bwemusoma, mufune entambi, muziwuliririze kumpi ddala. Kubanga, ojja kukifunira ku ntambi, kubanga babadde baloongosa entambi ezo , era nnungi nnambulukufu ddala. N’olwekyo, ojja kukifunira kw’ezo mu butangaavu obusingako.

Nga bweŋŋambyenga emirundi mingi emabega, ssiwakanya buweereza oba ekintu kyonna Katonda ky’Atadde mu Kkanisa Ye. Ekyo kyandibadde kikontana n’Ekigambo kya Katonda. Nzikiriza nti bufukiddwako amafuta era buyitiddwa Katonda. Naye nzikiriza nti okuwuliriza n’okuteeka eddoboozi lya Katonda lyennyini mu maaso g’abantu kirina okubeera ekintu ekisinga omugaso omusajja yenna eyayitibwa Katonda ky’Ayinza okukola.

Tekimala okugamba, “Ntegeeza ekibiina kyange okuzannya entambi.” Bw’oba nga okkiriza:

  • Tewali kufukibwako mafuta kusinga ku kuwulira Eddoboozi lya Katonda ku lutambi.
  • Okubikkulirwa kwonna kulina kuva mu Ddoboozi Eryo.
  • Okugonnomolerwako kw’okukkiriza okw’omuyiika kwetwetaaga kulijja kuva mu ekyo Eddoboozi eryo kyelyogera.

Omuweereza yenna ayinza atya obutaagala kuwuliriza Ddoboozi eryo, wamu n’ekkanisa ye, era agambe AMIINA ERI BULI KIGAMBO?

Buli muntu alina okubeera n’ekintu ekimu ky’awulira era ky’akkiriza nga ky’ekintu EKISINGA OMUGASO kyebayinza okukola okubeera Omugole wa Kristo. Ekintu ekimu kirina okubeera Okwagala kwa Katonda okutuukiridde OKUSINGA OMUGASO. Okwo bwe buweereza bw’omusumba wo? Okuwuliriza abasumba abalala? Siri kugamba nti ekyo kikyamu, ssi n’akatono, era ekyo kirungi ddala okusinziira ku Kigambo, naye okkiriza nti ekintu EKISINGA OMUGASO kwe kuwuliriza Eddoboozi lya Katonda erikakasibbwa ku lutambi?

Bwekiba nga ekyo ky’okkiriza nti ky’ekintu EKISINGA OMUGASO ky’oyinza okukola, olwo nsoga ki eyandileetedde obuweereza obutaagala kuzannya n’okuwuliriza BUBAKA OBUTUUKIRIDDE OBUSINGA OMUGASO obwo wamu n’ebibiina byabwe?

Weebuuze, oba buuza omusumba wo ekibuuzo kino: Okkiriza nti okunokola kuno kutuufu, oba eno nsobi era nga ow’oluganda Branham y’akitegedde obubi bubeezi, oba agezaako kwewaana?

Olaba, kyennyini ekyandibaddewo kati! Era, eri ekkanisa, Kyeki? Ekigambo Ekyambadde omubiri nga kifuuse omubiri wakati mu bantu be nate! Olaba? Era tebakikkiriza bukkiriza.

Bw’oba nga okkiriza okunokola kuno okubeera amazima, era nga gy’oli LY’EDDOBOOZI LYA KATONDA, Ekigambo ekyambadde omubiri nga kifuuse omubiri, kati omuntu yenna ayinza atya obutalaba nti TEWALI KISINGA MUGASO KU kuwulira Eddoboozi eryo.

Zuukuka embeerera eyeebase, wandifuna okukkiriza kuno, ekitali ekyo, oli nga bw’agambye: “Tokikkiriza bukkiriza.”

Nga nnabbi bweyatugamba, yeffe Kitabo ekiggya eky’Ebikolwa by’Abatume, Ettabi eryo eriggya, Abalonde Be. N’olwesonga eyo bangi bawulira muli nti Omwoyo Omutukuvu kaakano Atukulembera nga ba ssekinnoomu oba Atukulembera kuyita mu buweereza, ssi kuyita mu nnabbi We.

Mulimu amazima mangi mu kino, NAYE nnabbi ne kino yakitereeza, n’atubikkulira amazima.

Omuntu omu yabadde ayogera nange wano ebbanga ssi ddene emabega. Yagambye, “Naye ow’oluganda Branham…” [Ow’oluganda Branham atereeza eddoboozi lye throat—Ed.] Munsonyiwemu. Yagambye, “Ssi luvannyuma nga Omwoyo Omutukuvu amaze okujja, teri Bamalayika bakulembera kkanisa, oba bakulembera ba ssekinnoomu. Nedda, ssebo.” Yagambye, “Mwoyo Mutukuvu y’Atuluŋŋamya.”

Okwo kutegeera mu bukyamu wakati wa Malayika n’Omwoyo Omutukuvu. EYO NSOBI, Bamalayika baagenda mumaaso nga bakulembera ekkanisa, era bakyakulembera ekkanisa. Mu butuufu.

Malayika We ali mukukulembera n’okuluŋŋamya Ekkanisa Ye. Ffe ffenna tulina ekifo n’okuyitibwa kwaffe, naye malayaika yekka ye w’okukulembera Omugole.

Wuliriza nnabbi wa Katonda kyeyagamba ku buweereza obulala bwonna nga bugerageranyizibbwa ku ekyo Katonda kyeyali AMUYITIDDE OKUKOLA,

Era nga omuntu omu—addukanya amasimu, taba wa masannyalaze ddala. Ayinza okukikolako omulimu omutonotono. Era nga, omuntu bw’abeera makanika w’emikutu gy’amasannyalaze n’amasimu, kale, kikakafu nti… Omusajja musimi wa binnya bya bikondo, era nga takolangako mulimu gwonna ku zi waya (oba emikutu) egy’amasimu oba amasannyalaze, kyandimusingirako obulungi okwebalama zi waya; naye ayinza okukola omulimu gw’okuzikuba ebiraka oba ekintu ekimu.

Naye Ekintu ekyannamaddala bwekinaabikkulwa ku lunaku olusemba, eky’ekitundu ekisembayo eky’Ekkanisa, olwo Katonda lw’Agambye nti lw’Alitutumira, okusinziira ku Byawandiikibwa. Era tukinoonyererezzaamu emirundi n’emirundi, nti yakyogererawo nga tekinnabaawo nti Omwoyo wa Eriya ajja kuddira mu muntu omu.

Omuntu omu bw’agezaako okwerariikirira ebiteetaagisa nga akugamba, “kyetaagisa kingi ko okusinga ku kuwuliriza entambi. Ow’oluganda Branham takyogerangako nti muzannye entambi mu kkanisa. kijja kwetaagisa obuweereza okutuukiriza Omugole;” *oba kyonna omuntu yenna ky’ayinza okukugamba, okugezaako okukuleetera okubuusabuusa nti okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda erikakasibbwa ku ntambi mu kkanisa yammwe nti kikyamu…

Nga ccali omu yakatandika, nga agezaako okukwerariikiriza ebiteetaagisa; bw’oba nga omanyi wa ew’okuyimirira, tegeerawo ky’akkiriza.

Bwebaba bagamba nti bakkiriza, “Obubaka buno kye Kigambo. William Marrion Branham ye mubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu. Obubaka buno ky’ekyenkomeredde, nnantateekebwako bukkwakkulizo kamala byonna nnantakolansobi. Obubaka buno Ye Mwana w’Omuntu nga yeebikkula mu mubiri nga bweYasuubiza nti Bw’Alikola…”

Kiri nga bw’onootwala akamyu n’okasumulula keetaaye mu kisibo, era nga ozibye buli kituli. Yimirira buyimirizi ku luggi; kateekwa okukomawo. Eyo y’engeri yokka eriyo ku kyo. Okaggalidde. Olaba? Kajja kwetaaga okukomawo bufuutifuuti ddala ku luggi nate, ’kubanga eyo y’engeri yokka gyekasobola okufulumamu. Kajja kuyisaamu omutwe gwako wano, kumpi kamenye obulago bwako; era kagende ku luuyi eri, ku luuyi eri. Yimirira buyimirizi okekkaanye, era kajja kukomawo butereevu. Olaba? Ky’ekyo kyonna.

Sigala n’Enjigiriza y’Olutambi Eyo. Yogera bwogezi ekyo entambi zekyogera. Tokyusa Kigambo n’Ekimu. Togattako, newankubadde okutoolako Ekigambo kimu ku kyo. Ly’Eddoboozi lya Katonda gyo’li.. Ky’Ekigambo Ekyambadde omubiri nga kifuuse omubiri. By’Ebigambo eby’obwannantakolansobi. Ye ye musumba wo. Malayika we Akukulembera. Kiri Bwatyo Bw’Ayogera Mukama.

Gwe kasita oba nga oli mu Kigambo ekyo, oli mirembe.

Mujje mukoleeze ttabaaza zammwe era ogijjuze Amafuta Sande eno ku ssaawa 6 ezoomuttuntu mu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 2 ez’ekiro e Uganda), nga malayika wa Katonda omulonde bw’abwatuka n’amenya Akabonero Akookusatu 63-0320, n’Akabikkulira Omugole We.


Owol. Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’okusoma mu kwetegekera okuwulira essomo lya, “Akabonero Akookusatu.”
Ebyawandiikibwa:
Omut. Matayo 25:3-4
Omut. Yokaana 1:1, 1:14, 14:12, 17:17
Ebikolwa by’Abatume essuula 2
I Timoseewo 3:16
Abaebbulaniya 4:12, 13:8
I Yokaana 5:7
Ebyabaleevi 8:12
Yeremiya essuula 32
Yoweeri 2:28
Zekkaliya 4:12

22-0206 Akabonero Akookubiri

Obubaka: 63-0319 Akabonero Ak’Okubiri

PDF

BranhamTabernacle.org

Ettabi eriggya abaagalwa,

Kibaddewo, ekyo abatukuvu bonna abaatusooka kyebabadde balindirira. Omuti nnakabala kaakano guteeseeko ettabi eriggya. Tutuuse. Ye ffe ttabi eryo eriggya. Omwoyo Omutukuvu asse era Omwoyo wa Katonda ali ku ffe. Okukkiriza kwa Pentekoote okw’abatume nnakabala kuzziddwawo Malayika We ow’omusanvu. Kaakati, nnabbi We agenda nnyumba ku nnymba ng’amenya omugaati wamu naffe. Waliwo obubonero obw’ekitalo, ebyewuunyo, n’okubikkulirwa ku kubikkulirwa ebiri okufukibwa kuffe.

Tuli mu kukuuma ttabaaza zaffe nga zaaka era nga zijjudde amafuta. Tusigadde n’Ekigambo nnakabala nga bweYatugamba okukola. Abalala bayinza okwagala ekkanisa, naye TETUYINA KYETWAGALA OKULEKA EDDOBOOZI LYA KATONDA NNAKABALA.

Kaakati, lowooza bulowooza nti kati leka tugezeeko bugeza okunnyikiza munda ekyo kyetukkiriza nti Omwoyo Omutukuvu kyeyanditwetaaze okumanya.

Ow’oluganda Branham agamba
Kaakati jjukira, tewali kyakubikkulwa, Katonda taliiko ky’Alikola yadde okutuusa nga Asoose kukibikkulirwa baddu be bannabbi era nga tannakola kintu kyonna, Akibikkula.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso.
Tewali kiyinza kubikkulwa eri Omugole, kuyita mu nnabbi We kyokka, Bwewabaawo ebyama byonna eby’okubikkulwa, okubikkulirwa kwonna okupya, ekintu kyonna kyetwetaaga okubeera Omugole We n’okusobola okubeera mu kukwakkulibwa, kiteekwa kusooka kujja eri nnabbi, era olwo ye ajja kukitubikkulira, Omugole We.

Nga abikkula ki? Ekyama ky’ebibwatuka omusanvu. Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza ekintu kimu oba bibiri.
Ekisooka
Kiri bw’adda kulutambi era nga kijja kubikkulirwa nga ky’ekiseera kyo okubikkulirwa gyetuli?

Ow’olugnada Branham agamba,
Naye nkubamu akafaananyi ebyama ebyo bwebitandika okufuluma. Katonda Yagamba, Kikwatiriremu kati. Lindako akadakiika. Nja kukibikkula mu lunaku olwo. Tokiwandiika yadde, Yokaana, kubanga bajja kukyesittalako. Kireke bulesi kigende, olaba? Naye nja kukibikkula mu lunaku olwo nga kirina obwetaavu okukolebwa.

Oba (ekyokubiri), bw’Asindika nnabbi We okukomawo kunsi okutwanjula gy’Ali, olwo nnabbi We ajja kubikkula gyetuli ekyama ky’ebibwatuka omusanvu.

Ow’oluganda Branham yagamba.
Era olwo wajja kujjawo ebibwatuka musanvu eby’ekyama ebitawandiikiddwa yadde. Ekyo kituufu. Era nkikkiriza ekyo. Okuyita mu bibwatuka ebyo Omusanvu kijja kubikkulirwa mu nnaku ezisembayo okusobola okukuŋŋaanya Omugole awamu, olw’okukkiriza kw’okukwakkulibwa. Kubanga kyetulina kaakano tetwandisobodde kukiyinza. Waliwo ekintu ekimu, tulina okulinnya wala ko.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso.
Tekijja kubeera kibinja ky’abantu ekinaabikkula ekyama ekyo. Kijja kubeera Omubaka Malayika We w’omusanvu, William Marrion Branham. Ekyo tekiri kubanga nze ŋŋambye bwentyo. Ekyo kiri kuganga EKIGAMBO KIGAMBA BWEKITYO.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Twala ekitabo ky’obubonero n’Abumenya n’Alaga malayika ow’Omusanvu kubanga kino kyokka, Ebyama bya Katonda bwe buweereza bwa Malayika ow’omusanvu.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso.
kikyogera kyonna awo wennyini. Ebyama bya Katonda bwe buweereza b’atali mulala yenna okujjako malayika ow’omusanvu. Ebibwatuka omusanvu bijja kukuŋŋaanya Omugole wamu era bituwe okukkiriza kw’okukkwakkulibwa kwokuntikko.

Ebibwatuka bwebiba nga byebijja okukuŋŋaanya awamu Omugole, era nga ekyama ky’ebibwatuka kirina okuva mu malayika w’omusanvu, olwo nno tewali kisinga kuba kyamugaso eri Omugole okukola okusinga OKUNYIGA ZANNYA. Ekyo kyekijja okukuŋŋaanya Omugole kulw’okukwakkulibwa.

Musigale n’Ekigambo Nnakabala ku lutambi. MUNYIGE ZANNYA. Era entambi zijja kubikkula kinji kukyo nga bwemuyiga.
Ow’oluganda Branham agamba.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Erinnya lya Mukama lyebazibwe. Ekitiibwa kya Mukama. Twagala enneewulira eyo gyetufuna okuva mu kuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera gyetuli ku ntambi. Tuwulira buwulizi Omwoyo Omutukuvu nga Atunaaza fenna nga bwetutambala wonna nakyo. Tujja kugenda nakyo eka. Tukikwatira ku zi ppiro emitwetwe.

Mujje muwulirize wamu naffe, Ssande ku ssaawa 6 ezomuttuntu mu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 2 ez’ekiro e Uganda), Omwoyo Omutukuvu nga bw’Ajja, n’Akunta munju zaffe n’Atubikkulira byonna byetwetaaga nga bwetuwulira Akabonero Akookubiri 63-0319.

Ow’oluganda Joseph Branham.

Ebyawanidiikwa by’okusoma nga okuwulira Obubaka tekunnatandika biri;

Omut Matayo 4 : 8
Omut Matayo 11 : 25-26
Matayo 24 : 6
Omut Makko 16 : 16
Omut Yokaana 14 : 12
2 Abassesalonika 2 : 3
Abaebbulaniya 4 : 12
Okubikkulirwa 2 : 6
Okubikkulirwa 6 : 3 & 4
Okubikkulirwa 17
Okubikkulirwa 19 : 11 – 16
Yoweeri 2 : 25
Amosi 3 : 6 & 7

22-0130 Akabonero Akasooka

Nnaabakyala w’Eggulu abaagalwa,

Nze, Kabaka wo, ngenda kubwatuka gy’oli ku Sande era nkugambe GGWE, GGWE Mugole wange. Nnakwawula dda GGWE. Nkununudde GGWE. Nkujjeko omusango GGWE era ne nteeka amannya gammwe mu Kitabo kyange eky’omwana Gw’endiga nga ensi tennabaawo. Ye MMWE ba nnabakyala bange ba swiitimutima .

Nkulinze ne nkulinda GGWE bwentyo nsobole okuzzaawo byonna Adamu wange eyasooka byeyafiirwa. Obusika bwe bwonna bweyafiirwa. Okussa ekimu kwe kwonna n’eddembe lye okuba omulamu. Nnali mmuwadde obuyinza obusukkulumu, obujjuvu nsi. Yali Katonda ku nsi eno okubeera abantu nga nze bwendi Katonda wa buli nsi n’obwengula bwonna omuli emmunyeenye.

Yalina ensi ye wansi w’obufuzi bwe. Yali asobola okwogera, nga asobola okutuuma amannya, nga asobola okuyimiriza obutonde, yali asobola okukola ekintu kyonna ky’ayagala. Naye yaKifiirwa kyonna.

Kaakati, nga bwennakusuubiza GGWE mu Kigambo Kyange, Nzizizzaawo byonna byeyafiirwa era mbikuddizza GGWE. Binunuddwa. Obwannannyini bwonna obwomu mateeka ku byonna ebyabuzibwa Adamu kaakano BIBYO. Obwannannyini bonna obwomu mateeka ku kyapa ky’obulamu obutaggwawo ekiviira ddala ku mubereberye, ekitegeeza nti GGWE kaakano olina buli kimu Adamu ne Kaawa kyebaafiirwa.

Nnafuuka omununuzi wo owomu lulyo. Nnabanja ekyo ekyali EKYANGE. Nnatwala ekitabo ky’obununuzi okuva mu Mukono gwa Kitange, ne njuzaako obubonero okuva ku Kitabo ne nkisindikira Omubaka malayika wange owomusanvu okukikubikkulira GGWE. Alikukudizzaawo okukkiriza kwa Baibuli nnakabala era alikukubikkulira ebyama Byange BYONNA.

Ndaze ebintu bino okuba amazima era nembikakasa okuyita mu kulabisibwa gy’oli nga nkozesa Adamu wange asoose okuzzibwawo mu bulamba; Omubaka nnabbi malayika wange owomusanvu. Yasobolanga okwogera n’atonda bu kaamuje, n’addiza ekyennyanja ekimu obulamu bwakyo, n’afuga embeera n’azzaayo kibuyaga gy’ava. Yasobolanga okwogera n’azuukiza abafu. N’okuba naba n’ekifaananyi kyange nekikubibwa wamu naye okulaga ensi, ono ye Adamu Wange asoose okuzzibwawo, mumuwulire. Kaakano GGWE, Nnabakyala Wange, beera na byonna Adamu byeyafiirwa.

Jjukira, Omubaka malayika wange owomusanvu ajja kubeera ku nsi mu kaseera WeNnajjira. Ajja kubanjula MMWE GYENDI. Bwekatyo akagombe kange akasemba kalivuga n’abafiira mu Kristo balizuukira. Abo abalamu abalisigalawo balikwatibwa mu bbanga wamu nabo, okunsisinkana nze mu bbanga mu kaseera keekamu omubaka Wange owomusanvu kaali okuweeramu Obubaka Bwe. Akabonero akasembayo kabikkulwa. Akagombe akasembayo kalivuga; Ndijja okubanja ebyange, MMWE, era ndibatwala MMWE eri embaga YAFFE ey’obugole.

Nnaabakyala wange omwagalwa, jjangu ompuliriza nga njogera eri GGWE era nga nkubikkulira buli kimu kyeweetaaga. Nterese emmere eno KULULWO GGWE osobole okufuuka Nnaabakyala wange. Njakuba njogera NAAWE ku ssaawa 6 ezomuttuntu bu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 2 ez’ekiro e Uganda), wennaKuBwatukira Akabonero Akasooka 63-0318.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma mu kwetegekera okuwulira Obubaka:

Omut. Matayo 10:1 / 11:1-14 / 24:6 / 28:19
Omut. Yokaana 12:23-28
Ebikolwa By’Abatume 2:38
2 Abassesalonika 2:3-12
Abaebbulan iya 4:12
Okubikkulirwa 6:1-2 / 10:1-7 / 12: 7-9/ 13:16 / 19:11-16
Malaki essuula eyokusatu n’essuula eyokuna zonna
Danyeri 8:23-25 / 11:21 / 9:25-27

Okutuusa ekiseera ekinaddako, Katonda abawe omukisa, era okutuusa nga tusisinkanye nate ku Mmeeza ya Katonda gy’Ayanjuluzza n’Emmere etuukiridde, Emmere eyaterekebwa kulwaffe mu budde buno, enkya ku ssaawa 6 ezomuttuntu bu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 2 ez’ekiro e Uganda). Katonda abawe omukisa, era Shalom.

22-0123 Ebbanga Wakati W’Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa n’Obubonero Omusanvu

Obubaka: 63-0317E Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu

BranhamTabernacle.org

Omugole aleekaana era asanyuka abaagalwa,

Tuli mu Kigambo nga tubeera mu kaseera akasinga obw’ekitalo mu bulamu bwaffe. Okuyigiriza, okwewongayo mu kuweereza, n’okubikkulirwa. Tewali kisinga kuba kyamugaso ku kuwulira Eddoboozi lya Katonda ku lutambi.

Obubaka buno ye buli kimu gyetuli. Butuwa okumatira okujjuvu. Ekintu kyokka ekisobola okuwonya ennyonta y’emmeeme yaffe kwe kuwulira Katonda nga ayogera eri ffe okuyita mu nnabbi We.

Buli lunaku atuwa okubikkulirwa okusingako ku Ye ne ku ffe. Okukakasibwa nate okw’obuzibako nti, okuyita mu “kunyiga zannya,” tuli mu kuwulira Ekigambo Kye era tuli mu kukola ddala nga bweYatulagira okukola. Tuli ndiga Ze, era endiga tesobola kwekulembera; erina okuba n’omukulembeze. Era Omwoyo Omutukuvu Atukulembera eri Ye Mwene, Eddoboozi lye eryogerera Ebigambo eby’obwa nnantakolansobi ku lutambi.

Tetuli mu kuwuliriza ffenna wamu Obubaka buno nga ekituguddeko obugwi, Yatuloda okukikola. “Ebigere by’omutuukirivu bikulemberwa Mukama.” Waliwo ensonga. Tetusobola kukyebeera. Obubaka ku lutambi bwe byonna Omugole bye yeetaaga. Okuyita mu kuBuwulira, Buli mu kutuwa omukono ogw’amaanyi ogw’Okukkiriza okwenywereza n’okukkiriza buli Kigambo.

Lwaki tukkiriza nti kyamugaso nnyo bonna abeeyita “Omugole wa Katonda” okuwulira entambi?

Ekigambo kitugamba mu bwerufu nti Baibuli yennyini yawandiikibwa bannabbi. Tebyali birowoozo byabwe, newankubadde okuteekateeka kw’obwongo bwabwe, naye Omwoyo Omutukuvu yabawalirizanga okuwandiika Baibuli. Baibuli era Etugamba nti Mukama Katonda TALIIKO KY’ALIKOLA okutuusa nga Abikkudde Ekigambo kye eri nnabbi We. Abalala bayinza okuKyogera n’okuKirangirira, naye bakkirizibwa kwogera KYOKKA ekyo nnabbi wa Katonda ky’Amaze okwogera.

Bw’oba nga okkiriza nti William Marrion Branham ye mubaka malayika ow’omusanvu eyakakasibwa owa Katonda, olwo kyeyayogera KU LUTAMBI si bigambo bye, naye ebirowoozo bya Katonda Mwene byennyini nga byogeddwa. Owummulizza enkomekkerero yo ey’olubeerera ku buli Kigambo kye yayogera ku ntambi, nga bw’okkkiriza okubeera BWATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Ssikyakugattibwako newankubadde okutoolebwako, newankubadde kyo okwetaaga okuvvuunulwa; Ye Mwana w’Omuntu nga ayogerera okuyita mu muntu Gweyalonda okutuukiriza Ekigambo Kye.

Omugole Owannamaddala amanyi omugaso gw’okuwulira entambi. Eri ffe, Entambi ky’eky’omugaso ogwawaggulu (oba major) obuweereza obulala bwonna bwa mugaso gwa wansi ko (oba mayina). Buli omu alina okwebuuza oba nga enkomekkerero ye ey’olubeerera yesigamizibbwa ku buli Kigambo nnabbi wa Katonda kyeyayogera. Bwemba nga nzikiriza nti ly’Eddoboozi lya Katonda eriri mu kwogera nga liyita Omugole We, olwo tewali kintu kyamugaso kusinga ku KUNYIGA ZANNYA, nga bweŋŋeenda okulamulwa buli Kigambo NNABBI WA KATONDA KYEYAYOGERA…si ekyo omuntu omu kyeyayogera mbu nnabbi wa Katonda kyeyayogera.

Bw’oba nga okkiriza nti weetaaga ekisingako ku ntambi, olwo si kyamugaso nnyo kiri awo gy’oli okussa essira ku kuwuliriza entambi, naye obukulu obusingako nga buteekeddwa ku buweereza. Osobola okubeera n’eky’omugaso ogwawaggulu kimu kyokka.

Nga bwetuwuliriza oluitambi Sande eno, Katonda Mwene ajja kwogera gyetuli Atugambe nti tulina ekyapa ky’omumateeka eky’obulamu obutaggwawo. Tulina obwannannyini ku buli kimu Adamu ne Kaawa kyebaafiirwa. Kigenda kuleetebwa gyetuli mu kubikkulirwa, n’okuva mu mukono gwa Mukama okuyita mu kukakasibwa.

Olwo Ajja kutugamba ekyabaawo mu ggulu. engeri Yesu Mwene gyeYatwala Ekitabo, n’Ayuzaako envumbo, olwo n’Akisindikira nnabbi gweYalonda n’Amugamba okukiwa Omugole We….yogera ku kuleekaana!!!! Buli kimu kunsi ne mu ggulu kijja kutuwulira nga tuleekaana era nga tuleekaanira waggulu nga bwetulaba amannya gaffe nga gawandiikiddwa mu Kitabo ky’Omwana Gw’Endiga eky’Obulamu.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Era n’Atwala Ekitabo, (kitiibwa!) n’abikkula Ekitabo, n’Ayuzaako Obubonero; era n’Akisindika wansi ku nsi, eri Malayika We ow’omusanvu, okuKibikkula eri abantu Be! Kyekyo. O, owange! Kiki ekyabaawo? Okuleekaanira waggulu, okuleekaana, zi Aleeluuya, abafukeko amafuta, amaanyi, ekitiibwa, okwolesebwa!

Era Yokaana omukadde, eyali ayimiridde awo, muganda waffe, nga akaaba! “Lwaki,” yagamba, “buli kimu mu ggulu, buli kimu mu nsi, buli kimu mu nnyanja, kyampulira nga ndeekaana, ‘Amiina! Amiina! Emikisa, ekitiibwa, n’obuyinza, n’amaanyi, bibenga eri Ye omulamu emirembe n’emirembe.’”

Okubikkulirwa okw’ekitalo kuno oyinza kukuwulira wa? KU NTAMBI KWOKKA. Waliwo wo ekintu ekimu eky’ejawulo obubeezi eri Omugole bwebawulira Katonda Mwene nga Ayogera okuyita mu mimwa gy’omuntu nga abagamba, “YEMMWE MUGOLE WANGE SWIITIMUTIMA.”

Jjangu otuule mu maaso g’Omwoyo Omutukuvu okuyita mu Kunyiga Zannya, Sande eno ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira Omubaka We owomusanvu nga aleeta : Ebbanga Wakati W’Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa n’Obubonero Omusanvu 63-0317E.

Tujja kuba tuleekaana nga tusanyuka nga tugamba Aleeluuya.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma mu kwetegekera okuwulira Obubaka:

Ebyabaleevi: 25:47-55
Yeremiya: 32:1-15
Zakaliya: 3:8-9 / 4:10
Abaruumi: 8:22-23
Abaefeso: 1:13-14 / 4:30
Okubikkulirwa: 1:12-18 / essuula 5 yonna / 10:1-7 / 11:18

22-0116 Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa era Nga Yeebikkulira Mu By Byennyini

Obubaka: 63-0317M Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu

BranhamTabernacle.org

Ekisibo ekitono ekya Eriya abaagalwa,

Tuli bantu ba nvuma, abatannyonnyoleka, era abatali baabulijjo eri ensi, era n’eri abakkiriza bangi. Naye newankubadde kiri tyo, tuli bwakabona obw’omwoyo, eggwanga eddangira, nga tuwayo ssaddaaka ez’omwoyo eri Katonda, n’ebibala by’emimwa gyaffe nga tuwa ettendo erinnya Lye.

Twagala okugamba ensi nti tuli basanyufu nnyo, tweyanzege nnyo, era tussiddwamu nnyo ekitiibwa okubeera omu ku bo. Tutunze amayinja gaffe gonna ag’omuwendo amalala, ye nga bw’Atuwadde ejjinja ery’omuwendo ogw’ekitalo ennyo, okubikkulirwa kwe Ye.

Tulaba Ekigambo kya Katonda kyennyini nga kirabisiddwa. Ekigambo kyennyini eky’ennaku ezisembayo. Ebyaka byennyini eby’akawungeezi ebyali eby’okwaka. Kibikkuriddwa mu buziba mu mitima gyaffe nti Eddoboozi lye tuwulira ku ntambi Ye Mwana w’Omuntu nga Yeebikkula. Eddoboozi eryo lyatugamba, “Sigala wano, tunuulira eno emmere eterekebbwa, gye mbayingirizza ku ntambi. Bwemuba n’ebibuuzo byonna, mukomeewo mujulize entambi zino. N’okuba kiyinza okuba nga tekyeruddwa kutegerekeka bulungi gyoli naye za olutambi emabega era owuliririze kumpi.” Bw’oba nga oli Mugole, Omwoyo Omutukuvu Ajja kukikubikkulira. Jjukira, Entambi tezeetaaga kuvvuunulwa kwonna. Yogera bwogezi ekyo ekiri ku ntambi. Ndi musumba wammwe. Era mmwe kisibo kyange ekitono. Musigale n’enjigiriza y’olutambi. Mmanyi nti bangi nnyo tebategeera kyetukola mu kuwulira Obubaka bwebumu ffenna mu kaseera keekamu. Naye ekyo tekirina buzibu, basigala baganda baffe era bannyinaffe. Tubaagala, era tetugezanga ne twogera ekibi gyebali.

Buli omu alina okukola nga bw’awulira nti bw’akulembeddwa Katonda okukola. Katonda akola era n’Atukulembera nga ba ssekinnoomu. Nnabbi yatugamba, Tuteekwa okukebera buli kimu n’Ekigambo, era ne tukikakasa n’Ekigambo, era ddala nga Ye bwe yakola. Ekigambo kya leero kiri, era bulijjo kibaddenga Baibuli. Baibuli etugamba, mu nnaku ezisembayo, ajja kubikkula mu bujjuvu ebyama byonna ebitategeerekeka n’ebyakisibwa mu Baibuli Ye, nga Akozesa nnabbi gwe Yali Agenda okusindika. Ye Yennyini yali wa kwogera nga Ayitira mu nnabbi ono, era Yeebikkule mu mubiri, era ddala nga bwe Yakola eri Ibulayimu. Ekigambo kye ssi kya kubeera bigambo bya bantu, naye ebigambo byennyini ebya Katonda Mwene. Kya kubeera Bwatyo bw’Ayogera Mukama, bw’etyo Baibuli n’Eddoboozi eryo bijja kubeera omu, era nga byebimu.

Waliwo obuziba obuli mu kukoowoola obuziba mu mitima gyaffe okuwulira Eddoboozi eryo eryakakasibwa. Twagala okuwulira Eddoboozi eryo erya Katonda butereevu okuva mu nnabbi We omulonde.

Waliwo okwagala nga kungi mu mitima gyaffe, okuwulira Eddoboozi eryo, era netuteeka buteesi, era nga tumanyi nti teturina kubuuza kintu kyonna kyetuwulira, tulina kukkiriza bukkiriza BULI KIGAMBO. Tewali kifo kyonna wetusobola okukolera ekyo. Ssi nti omuntu omu yanditugamba ekintu ekikyamu oba otukulembera okutuwabya, kubanga nabo balina Omwoyo Omutukuvu, naye tumanyi nti banditugamba ekintu ekikyamu bumutamanya, naye bwetuwulira Eddoboozi lya Katonda erikakasibbwa ku lutambi, ne bwetuba nga tetutegeera kiri kugambibwa, taata Katonda yagamba tulina bubeezi kugamba, “AMIINA”. Tukkiriza buli kigambo. Tetuyinza kukola ekyo ku ddoboozi eddala lyonna.

Twalagirwa eddoboozi eryo oku

“Temumpuliriza, naye MUWULIRIZE kyengambye. Kyengambye bwe Bubaka. Temussa Mwoyo Gwonna ku mubaka, mutunuulire Obubaka. Amaaso gammwe mugakuumire ssi ku mubaka naye ku Bubaka. Kye bwogera ekyo kye kintu ekyokutunuulira.”

Kyeyayogera bwe bubaka bw’Ekiseera. Tulina okukuumira amaaso gaffe ku Bubaka. Kye kintu kyokutunuulira. Ali mukubikkula bintu gyetuli nga bwekitabangawo. Buli bubaka bwetuwulira buwulikaka nga Obubaka obupya bwetutawulirangako, newankubadde nga tubuwulirizza bikumi na bikumi bya mirundi emabega. Tetusobola kukinnyonnyola. Kiringa abali okubuwuliriza omulundi ogusooka era nga Atuwa okubikkulirwa okusingako era okusingako.

Tetuyinza na kukiteebereza omuntu yenna obutayagala kuwuliriza Bubaka buno wamu naffe. Waliwo obumu n’okubeera awamu eby’engeri etya wakati w’Omugole n’Ekigambo Kye. Tuli bamativu mu bujjuvu nga bwekitabangawo bu budde obulala bwonna mu bulamu bwaffe.

Omulundi gumu nate, tuli wansi w’okusuubira okw’amaanyi. Kiringa obubonero obuli okubembulwa kati kati. Agenda kutulaga ebintu byetutalabangako emabega, era atangaaze ku bintu byetuwulidde emirundi mingi nnyo emabega. Naye kati, tujja bukiraba nga kyeruddwa bulungi.

Tumanyi nti buli kimu kyetwetaaga ku lw’okukwakkulibwa Kwe okunaatera okujja ly’Eddoboozi eryo ku ntambi. Katonda yatuma nnabbi We nga Ayita mu kwolesebwa eri ennyuma w’eddungu mu Arizona, eyo gyeyasitulibwa ba malayika musanvu era olwo n’atumibwa okukomawo e Jeffersonville okubikkula ebyama ebyakisibwa eby’obubonero omusanvu eri Omugole.

Jangu weeyunge ku mukutu wamu naffe, Katonda nga bw’Ayogera naffe mumwa ku kutu Sande eno ku ssaawa 4 ezookumakya mu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 11 ez’akawungeezi e Uganda) era tujja kuwulira Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa era Nga Yeebikkulira Mu By Byennyini, 63-0317M. Tujja kutandikira Obubaka ku katundu aka 90, oluvannyuma lw’olukunŋŋaana lw’okuwongayo.

Owol. Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’okusoma biri

1 Ebyomumirembe 17 : 1 – 8

Isaaya 35 : 8

Isaaya 40 : 1 – 5

Isaaya 53 : 1

Malaki 3 mu bulamba bwayo

Omut Matayo 11 : 10

Omut Matayo 11 : 25 ne 26

Omut Yokaana 14 : 1 – 6

Abakkolinso 13 mu bulamba bwayo

Okubikkukirwa 21 mu bulamba bwayo

22-0109 Kano K e Kabonero k’Enkomerero, Ssebo?

Obubaka: 62-1230E Kano Ke Kabonero K’enkomerero Ssebo

BranhamTabernacle.org

Yeekaalu ya Katonda abaagalwa,

Obubaka buno tebuliiko kkomo mu maanyi. Butuukiridde mu bwo bwennyini. Ky’ekigambo ekisembayo ku bintu byonna. Tewali kintu kirala kyonna eri Omugole okujjako Eddoboozi eryo eryakwatibwa ku ntambi. Bwe Bubaka bwa Katonda obukakasibbwa obw’ekiseera. Ye kamala byonna waffe.

Tuli mu lugendo lwaffe tugenda Munsi Ensuubize, nga tukulembeddwa Omwoyo Omutukuvu, Empagi y’Omuliro. Emmere yaffe ey’Omwoyo eterekebbwa okutubeezaawo mu lugendo lwaffe. Buli kyetwetaaga kigabiriddwa.

Dawudi yategeka mu bungi ddala nga okufa kwe tekunnabaawo ebintu byonna ebyali byetaagisibwa okuzimba ennyumba ya Katonda. Yalagira nti erina okubeera ngulumivu eyeekitiibwa byansusso, nga yaalinnya, era yaakitiibwa, okuyita mu mawanga gonna.

Olwo n’ayogera eri Sulemaani, n’amuwa byonna byeyali ategese olw’okuzimba kwa Yeekaalu kulwa Mukama. Yamuwa enkola enaddiŋŋanwa mu kukola akabalaza, era n’ey’amayumba gaakwo, ey’amawanika, ebisenge bya waggulu, ebisenge ewawummulirwa, n’ekifo ky’entebe y’ekisa. 

Yamuwa enkola enaddiŋŋanwa eyabuli kimu kyeyalina mu mwoyo, ekikwatagana ku mpya z’ennyumba ya Mukama. Ebisenge byonna okwetooloola wonna, amawanika g’ennyumba ya Katonda, n’ey’amawanika ag’ebintu ebyawongebwayo.

Kuby’obwannannyini bya bakabona n’abaleevi, na ku buli mulimu gwonna ogw’obuweereza bw’ennyumba ya Mukama. Era yamuwa ebibya byonna eby’obuweereza mu nnyumba ya Katonda. Zaabu ne ffeeza kulwa buli kikozesebwa mu kuweereza kwonna kwonna. Obuzito bwa zzaabu ne ffeeza owa buli kikondo-kya-tabaaza . Zaabu ne ffeeza ku lwa buli mmeeza okwabanga emigaati egy’okulaga, amalobo g’ennyama, amasowaani, ebikompe n’amabaafu.  

Ku lw’ekyoto ky’obubaane, zaabu ennongoofu eyapimibwa; era zaabu kulw’enkola eyaddiŋŋanwa ey’eggaali y’abakerubi, abanjuluza ebiwawaatiro byabwe, ne babikka ku ssanduuko ey’endagaano ya MUKAMA.

Ebyo byonna ebyali biterekeddwa kulw’ekizimbe. Tewali kyali kyabulako yadde. Ateekwa okugoberera endagiriro nnakabala butuukirivu ddala okuzimba Yeekaalu ya Mukama.

Naye mu lunaku lwaffe, Katonda ali mukuzimba yeekaalu endala, Omugole We. Yeekaalu eno terizikirizibwa, naye eribaawo lwa butaggwaawo naYe. Ategese n’Atereka mu ngeri y’omuyiika ku lwa buli kimu ekyetaagibwa okuzimba Yeekaalu Ye empya.

Obulamba bwa Katonda, Ensigo y’Omusota, Sabbiiti Ensanvu eza Danyeri, Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa, Obubonero Omusanvu, Okutegeera Olunaku Lwo, Okufumbiriganwa n’Okugoba, Okwolesa mu lwatu okubereberye okwa Katonda, Akabonero, Kamala Byonna, Abaafukibwako Amafuta, Emmere y’Omwoyo, Kristo kye Kyama, n’ebikumi n’ebikumi by’obulala bwonna, obuteekwa okugobererwa mu butuufu ddala.

Aterese buli kimu kyetwetaaga, naye tulina okugoberera endagiriro nnakabala mu butuufu ddala, nga tetukyusa nnukuta n’emu newakudde akatonnyeze akamu. 

Kaakati, kyekino kyeŋŋamba amakya gaaleero, kwe kutereka Emmere.Okutereka Emmere, bwotyo osobole okuba ne ky’on’olya, bw’otyo osobole okuba ne ky’onoliirako embaga. Kifune ku ntambi zo. Tuula mu busendekerevu bw’ekisenge. Oba oli awo, nga ndi wala nnyo ebunaayira, ojja kusigala nga ojjukira nti ebintu bino bituufu. Tuula mu kisenga kyo owulirize. Olaba?Era eno Mmere, nga eterekebwa, mu ggwanika.

Yagamba nti Tabanako ewulikika nga awaka gy’ali okusinga ekifo ekirala kyonna ewalala. Ky’ekifo Emmere weyali eterekebwa.

Wabweru mu nkuŋŋaana gyeŋŋenda, temumpulirako nga mbuulira Obubaka buno. Nedda, nnabasuubiza, okujja mu tabanako eno. Wano wennyini wembuulirira Obubaka bwange. Nninayo busatu oba buna wano, Mukama bw’Ampadde, Nnina Ebyawandiikibwa kubwo, ekyo ssisobola kweeteeka ku lugwanyu okububuulira awalala wonna okujjako wano wennyini. Wano Ekigambo kya Katonda wekyatandikira okufuluma. Era, okutuusa nga Katonda akikyusizza, ŋŋenda kusigala wano wennyini era nga nkifulumiza wano wennyini. Ekyo kituufu.

Nnabbi wa Katonda yayogera n’agamba nti waaliwo ekibiina ky’abantu abamukkiriza, era nga bayala era nga banyweredde ku buli kigambo kye yayogera. Yemmwe kibiina ky’abantu ekyo. Yemmwe kibiina kye. Yemmwe kisibo kye ekitono.

Mbadde mu kusaba era mpulira Katonda atukulembera okugoberera Obubaka bweyaleeterea nnabbi we okutereka mu bungi mu ggwanika lye okuzimba Omugole We.

Tujja kugenda mumaaso nga tugoberera nnabbi We nga bwetuwuliriza: Kano K e Kabonero k’Enkomerero, Ssebo? 62-1230E. Nnandyagadded okukwaniriza okutwegattako Sande ku ssaawa 4 ezookumakya, mu budde bwe Jeffersonville, (ze ssaawa 11 ez’akawungeezi e Uganda),

, okuwulira Emmere eno eyategekebwa n’eterekebwa mu ngeri ey’enjawulo enaakuzimba okufuuka Yeekaalu Ya Katonda.

“Obudde tewakyali.” Bwekiba, leka tweteeketeeke, ab’emikwano, okusisinkana Katonda waffe. Wabaddewo Emmere nnyingi eyingiziddwa kati. Katugikozese. Katugikozese kati.

Owol. Joseph Branham

22-0102 Abusoluuti

Omugole w’Obubaka bw’Omuntu Omu abaagalwa,

Nga ngubadde mwaka gwa njawulo nnyo eri Omugole. Atugasse awamu okuva mu nsi yonna nga Akozesa ekintu kyokka ekisobola okuleeta Omugole We awamu, Obubaka Bw’Ekiseera, Eddoboozi lya Katonda Lyennyini nga liyitayo Omugole We.

Era kaakano nzikiriza nti Anaatera okutuuka ku ntumbiiri eyo waggulu, okuleeta Okukkiriza okujja okukwakkula Ekkanisa okugitwala mu Kitiibwa. Era Omugole ayingiza Obubaka kul’Ebiseera ebijja mumaaso.

Okubikkulirwa kw’Obubaka buno kati kusulidde ddala ennanga buziba mu mitima gyaffe. Ebikolwa byaffe biri buteerevu n’Ekigambo. Tukimanyi nti Okuyigiriza kwaffe kuli busimbalaala n’Ekigambo, nga mpawo kyetugattako oba okutoolako ekintu kyonna ku Kyo. Eri ffe, ssi kirala okujjako Ekigambo ku Ntambi.

Abadde Atutegekera Entumbiiri y’Akamalirizo nga Atuwa okukkiriza kwetwetaaga olw’Okukakkulibwa. Okukkiriza okwo, okuli mu ffe KAAKANO. Obulamu bwa Kristo buli mu kubbulukukira muffe mungeri eyannamaddala ennyo, okuyita muffe, nga bwebwali mu Kristo.

Tusobola okulaba Obulamu bwe. “Emirimu Gyenkola nnamwe muligikola, oyo akkiriza.” Ssi oyo eyeefula nti akkiriza, oyo alowooza nti akkiriza, naye, “Oyo akkiriza.” “Oyo akkiriza nze, Emirimu Gyenkola naye aligikola.” Lwaki? Aba asudde ennanga mu lwazi lwelumu. Lwali lwazi ki? Ekigambo, bulijjo. Osimbye awo ennanga. Y’emmunyeenye yo ey’omubukiika obwa kkono bw’oba nga obuze ku nnyanja.

Tusudde ennanga buziba nnyo mu lwazi olwo. Tulwekakasa. Tulwagala. Tetutwala Kigambo kya muntu omu omulala, tusigala ne Bwatyo Bwayogera Mukama. Tuzze eri Abusoluuti waffe.

Tuli bamativu mubujjuvu era tetuliimu kabuuza. Tewakyali kubungeetabungeeta nga bwekyali mu nnaku z’abalamuzi, era ne bangi leero, buli omu bweyakolera ekyali ekituufu mu maaso ge, buli omu nga alina abusooluuuti owuwe era nga akola bukozi ekyo ky’ayagala okukola. Katonda takyusa nkola Ye, Tasobola kukikola n’Asigala nga Ye Katonda. Katonda bwabaako ky’Ayogera oba ky’Akola, Ateekwa okukola kyekimu bulijjo.

Katonda bulijjo Atuma nnabbi okukulembera abantu be. Yatusindikira nnabbi we Malayika ow’omusanvu; Omwana w’Omuntu nga Yeebikkula mu mubiri gw’Omuntu w’okunsi, okuyitayo n’okukulembera Omugole We. Entambi ly’Eddoboozi lya Katonda eri Omugole We. OYO YE ABUSOOLUTI WAFFE.

Omukyala yayambuka eyo. yakimanya. Era ekyo nkyagala, engeri gyeyajjamu. Yatuuka eri Abusooluuti We, enkondo ye.

Katonda ayita Omugole We awamu. Tajja kukyusa nkola Ye. Tajja kusindika kibiina ky’abantu okukuŋŋaanya Omugole We. Omugole We ajja kukuŋŋaanira ku Kigambo Ekitatabikiddwamu kantu kyokka, ekyo nga ly’Eddoboozi lya Katonda ku Ntambi. Bwe buweereza bwa Katonda obw’amazima kulw’olunaku lwaleero.

Tewali ngeri ndala esingako ey’okutandikamu omwaka omuggya esinga okujja awamu okuwulira enkondo, Abusoluuti waffe, nga Ayogera gyetuli. Nnandyagadde okwaniriza buli omu okujja okuwuliriza wamu naffe ku ssaawa 4 ezokumakya mu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 11 ez’akawungeezi e Uganda), okuwulira Obubaka: Abusoluuti 62-1230M.

Bw’oba nga tosobola kutwegattako, nkukubiriza okulonda obubaka b’okuzannya mu maka gammwe, oba kubiriza Omusumba wo okulonda Obubaka bwemutyo nammwe musobole okutuula awamu, wansi w’okufukibwako amafuta okuliyo, era owulire Abusoluuti w’Omugole eyakakasibwa.

Owol. Joseph Branham

21-1226 Lwaki Beeserekemu Omutono

Ekibiina abaagalwa,

Nnandyagadde okubabuulira n’okubayigiriza leero nga nkozesa engeri y’ebbaluwa yange. Ka tusooke tuddiŋŋane byetwayiga Sande ewedde.
Ofuna otya ensigo ya Katonda eyayawulibwa edda? NYIGA ZANNYA.
Kiki Yoswa kyeyagamba abaweereza be okukola? Mugende mu Yeriko, muweereze abantu nga MUNYIGA ZANYA, era ebyammwe n’ab’ennyumba yo bajja kulokolebwa.

Abaweereza be baakomawo, nebagamba nti,“Ngondedde ebiragiro byo. Era waabaddeyo omukazi gwetwasanze, bwetwazannye entambi.

Tetukwatibbwa nsonnyi. Tetufaayo ani aKiraba. Twayagala buli omu aKirabe era aKiwulire. Tukitadde mu maka gaffe, mu makanisa gaffe, buli wamu wetugenda, kibe nti buli omu ayitawo anaategeera nti tweragira wamu n’Akabonero kaffe; Yesu Kristo, Ekigambo Kye, Omwoyo Omutukuvu, Obubaka Bw’ekiseera, Entambi, Eddoboozi lya Katonda.

Tusobola okukiraba nti obusungu kumpi bwetegese okuyita munsi, era buli ekitali wansi wa Kabonero ako, kijja kuzikirira. Naye Bw’Alaba Akabonero ako, Ajja kutuyitako. Ky’ekyetaago kya Katonda eky’essaawa. Obubaka Bw’Ekiseera ky’akawungeezi, kwe kuteekako akabonero.

Yatugamba kijjakubeera kisembedde kumpi kwenkana wa, kibiina?
• Okugamba obugambi nti nkikkiriza … tekimala.
• Okwekoloobeza wekiri… tekimala, kikufuula mubi n’okusingawo.
• Ssibba.
• Ngenda ku Branham Tabanako.
• NZIKIRIZA OBUBAKA.
• NZIKIRIZA BULI KIGAMBO KYEWAGAMBA OW’OLUGANDA BRANHAM…OWANGE!!!

Ekyo kirungi, ekyo kitegeeza butegeeza nti osobola okusoma.

Totuuka butuusi kwenkana wano, gamba, “Nzikiriza Obubaka.” Ogondera omubaka. Yingira Kristo! 
Twala Obubaka, Butwale mu mutima gwo, nti oteekwa obubeera n’Akabonero ako, Obulamu bwennyini obwali mu Kristo bubeere mu ggwe. “Bwendaba ekyo, nja kukuyitako.”

Katonda kiki ky’Abadde agamba Omugole We Bubaka ku Bubaka? ENTAMBI, ENTAMBI, ENTAMBI. Kirungi okubuulira Obubaka n’okuyigiriza Obubaka naye oteekwa OKUZANNYA OBUBAKA.

Omuntu yenna ayinza atya okugamba nti bali mu Mukwano n’Obubaka ate naataagala kuzannya Bubaka mumaaso g’Abantu ? Tebalina nkolagana y’emu ey’omukwano n’Obubaka nga nze gyennina n’Obubaka, kubanga njagala buli omu okujja awamu bawulire Eddoboozi eryo erikakasibbwa Empagi y’Omuliro.
Tulina OKUKKIRIZA nnantasagaasagana mu Kigambo Kye. Tetuli Kaawa. Tetuli babuusabuusa oba abekkiriranya ne Seataani. Twenywereza ku buli Kigambo Kya Katonda mu Baibuli, na buli Kigambo ku Lutambi. Kubanga Entambi bye birowoozo bya Katonda byennyini, nga byogeddwa nebivvuunulwa eri Omugole We, era tekyetaaga kuvvuunula kwonna. Kye kifo kyokka kyetumanyi wetusobola okwogerera AMIINA eri buli Kigambo.

Obubaka buno mugaati musu ogugwa okuva mu ggulu, kulw’olugendo lwaffe. Gwe mugaati gw’obulamu, era buli lunaku tufuna okufuulibwa abaggya, okuva mu ggulu, Omwoyo Omutukuvu, ng’Ajja era ng’Ajjula emmeeme zaffe.

Tutudde wamu n’ekiruubirirwa kimu, Ekigambo Kya Katonda, era tulya ku Kigambo ekyo. Tuli mu Beeserekemu y’omwoyo eya Katonda, nga tulya emmere ya Katonda ey’omwoyo, era emmeeme zaffe ziteeka essira ku buli Kigambo kye Yayogera, ne “Amiina!” Tuwoomerwa Emmere ya bamalayika eyo eyaterekebwa ku lwaffe okugilya nga ekijjulo ky’embaga.

Jjangu otwegatteko ku Mmeeza Ye era olye ku Mmere Ya Bamalayika eyo ey’Eggulu wamu naffe Sande eno ku sawa 4 ez’okumakya mu budde bwe Jeffersonville (z’essaawa 11 ez’akawungeezi e Uganda)

Bwemuba nga mmwe abantu b’Entambi wano, abali okuwuliriza entambi, njagala mmwe okuwulira obwo: Lwaki Yesu yalina okujja e Beeserekemu. Lwaki yali ateekwa okukikola?

Taata Ayogedde naffe okuyita mu nnabbi We omulundi gumu nate era n’ayita mwena Abantu b’Entambi okujja okuwulira Obubaka: Lwaki Beeserekemu Omutono 63-1214.

Okubuulira kwange n’okuyigiriza bikomye awo, kaakti leka TUNYIGE ZANYA.

Owol. Joseph Branham