Paasika 2022

Omugole Omugatte Ayogera EKIGAMBO Omwagalwa,

Kino kye’ekiseera ekisinga obukulu eky’obulamu bwange mikwano! Tulaba Ekigambo nga kituukirizibwa butereevu mu maaso gaffe nga bwekitabangawo. Nga kicamula okutegeera Kiki ky’Ali, kiki omubaka gweYatuma ky’ali, olwo N’OKUMANYA KYETULI! Weebale Kitaffe. Tetwakirowoozaako nti ebintu bino binaabaawo bwebiti, naye kiikino kibaawo butereevu mu maaso gaffe, mu ngeri yennyini ddala nga nnabbi Wo bweyakyogera ku lutambi.

Ndi wansi wa okusuubira okw’amaanyi okulaba Omwoyo We Omutukuvu nga Atusembeza kumpi naYe nga bwekitabangawo emabega mu wiikendi ya Paasika eno. Nnandyagadde okwaniriza buli kinnoomu mu mmwe okussa ekimu naffe ku Bubaka buno, wamu n’Omugole We wonna mu nsi.

“Olwo, akantu akatono konna bwekayimukawo, lwaki weeyisa nga omuwere? Olina okubeera omusajja. Yogera eri abantu,” amiina, “olwo ogende mu maaso!” Amiina. Ky’ekyo. “Tokaaba. Yogera!” Amiina. O, ekyo nkyagala. Onkaabirira ku ki? Yogera bwogezi eri abantu era ogende mu maaso eri ekiruubirirwa kyo. Kyonna kyekiri, bwebuba bulwadde, oba kyonna kyekiri, okuzuukiza abafu, oba kyonna kyekiri, yogera! Nkikakasizza. Yogera eri abantu.”

Nga mukisa gwa maanyi gwetulina okucamula okukkiriza kwaffe, bwetutyo naffe tusobole okwogera EKIGAMBO. Jjangu oku??aane n’Omugole mu wiikendi ya Paasika eno, nga bwe twetegekera Okuva okusembayo. Obulamu bwaffe buteekwa kuba nga busaanira Enjiri, kubanga Omulembe guno gulina Omusango ogugulumirizibwako. Naye KAAKANO tewali nsonga ya Mugole We okukaaba, WABULA OKWOGERA! Genda mu maaso eri ekiruubirirwa kyo. Erinnya lya Mukama lyebazibwe!

Nga bwetukola bulijjo kulwa wiikendi ya Paasika, lekka tweggalire wala n’ensi nga bwetusobola nga tujjako amasimu gaffe okujjako okugakozesa mu kukuba ebifaananyi, okuwulira Okunokola kw’Olunaku, n’okuzannya entambi ku apu ya Layifulayini oba okuva ku mukutu oguwanurikika okuva ku mutimbagano. Leka tuweeyo wiikendi eno entukuvu mu bujjuvu eri Mukama, era tuleme kufuula Paasika eno nsonga ya kulabaganirako na bannaffe;, naye okwewaayo eri EKigambo, mu maka gaffe.Nnandyagadde ffena okwegattira awamu mu nnyanjulabudde eno, mu budde bwa Eastern Daylight Time (EDT) mpozzi nga tutegeezeddwa ekirala.

OLW’OKUNA

Lwali Lwakuna ekiro Mukama waffe Yesu lweyaliirako Ekyeggulo Ekisembayo n’abayigirizwa Be nga okujjukira n’okussaamu ekitiibwa Ekiro ky’Okuyitako nga okuva kw’abaana ba Isiraeli mu Misiri tekunnabaawo. Nga mukisa okussa ekimu ne Mukama waffe mu maka gaffe, nga wiikendi yaffe entukuvu tennatandika, era tumusabe okutuwa omukisa n’ab’amaka gaffe, n’okutuwa byonna byetwetaaga mu lugendo lwaffe.

Kitaffe ow’omuggulu, tweyanzeege olwa kino, akaseera akalala okuku??aana awamu, oludda luno olw’obutaggwaawo. Era tunoonya amakya galeero okuzzibwamu amaanyi okuva Gy’oli, okutuwa obuvumu kulw’olugendo olutuli mu maaso. Tuku??aanye nga abaana abaebbulaniya bwebaakolanga buli nkya, okufuna emmaanu eyali ebagabiriddwa mu kiro, okubabeezaawo mu lunaku olujja. Tuku??aanye olw’Emmaanu ey’omwoyo, amakya galeero,okutuwa amaanyi kulw’olugendo.

Lekka ffenna tutandike ku ssaawa 12 ez’akawungeezi. mu budde bw’ewammwe, era tuMuwulire nga Atugamba nti tuli mu kuva okuvannyuma, nga bwetuku??aana okwetooloola Nnamulondo Ye okuwulira Obubaka: Okuva Okw’okusatu 63-0630M.

Nga Obubaka buwedde, tujja kuku??aana n’ab’enju zaffe mu maka gaffe tube n’Ekyeggulo kya Mukama.

Mangu tujja kuba n’omukutu okuwanulayo olutambi n’oluku??aana lw’okussa ekimu byombiriri, oba, lujja kubaawo mu budde obwanjuddwa ku Voice Radio, ku apu ya Layifulayini.

OLW’OKUTAANO

Leka tugende mu kusaba n’ab’enju yaffe ku ssaawa 3 ez’okumakya, era nate ku ssaawa 6 ez’omuttuntu, nga twaniriza Mukama okuba naffe era wamu n’Omugole We wonna mu nsi ku wiikendi eno ey’enjawulo; n’okujjuza amaka gaffe n’Omwoyo We Omutukuvu nga bwetwewaayo Gy’ali okuMusinza.

Leka ebirowoozo byaffe biddeyo ku Lunaku olwo e Kaluvaariyo, emyaka gisukka mu 2000 emabega , era tulabe Omulokozi waffe nga Alengejjera ku musaalaba, olwo tweweeyo naffe bwetutyo okukolanga bulijjo ebyo ebisanyusa Kitaffe:

Kati wekkaanye. BweYajja mu nsi, nga waaliwo, obutakkiriza bungi ddala mu nsi mu biseera ebyo n’okusingawo nga bwebwali bubaddewo, n’okukendeeza tebwaMukendeeza bwangu. Yagenda bugenzi mu maaso nga Abuulira kyekimu, era nga Awonya kyekimu. TekyaMutawaanya na kumutawaanya. Waaliwo abeekennenyi b’ensobi. Omusajja oyo yakubwamu ebituli kuva nga akyali muwere okutuusa lweYafa ku musaalaba. Kyamuyimiriza? Nedda, ssebo. Ekiruubirirwa Kye kyali kiki? “Bulijjo okukola ekyo Kitaffe ky’Awandiise. Bulijjo okukola ekyo ekiMusanyusa Kitaffe. “?

Olwo ku ssaawa 6.30 ez’omuttuntu. leka tulowooreze ddala ku kubuuzo ekikulu ennyo mu bulamu bwaffe, nga bwetuku??aana okwetooloola Nnamulondo Ye okuwulira Obubaka: Obulamu Bwo Busaanira Enjiri? 63-0630E.

Olwo lekka nate twegattire wamu mu kusaba ku ssaawa 9 : 00 ez’akawungeezi mu kujjukira okukomererwa kwa Mukama waffe.

OLW’OMUKAAGA

Nate leka tukuŋŋaanire wamu mu kusaba ku ssaawa 3 ez’okumakya, n’essaawa 6 ez’omuttuntu, era tutegeke emitima gyaffe kulw’ebintu eby’ekitalo by’Anaatukolera mu masekkati gaffe,

“Oluvannyuma lw’okuleeta Omusango Ogulumiriza eri mi-mikwano gyange bannaddiini ebweru eyo, era nga ebintu bino ebikalubo nnina okubyogera, naye, Mukama, nkikoze na kulu??amizibwa Kwo. Mpulira nti Ggwe wa??ambye okukikola. Kati kinvudde ku bibegabega, Mukama. Ndi-ndi musanyufu nti ntowolokose. Leka bakikozese kyonna kyebaagala, Kitaffe. Nsaba nti banaakikkiriza. Nsaba nti on’Olokola buli omu, Mukama. Leka wabeewo okudda obuggya okw’abaggyibwako omusango, n’Amaanyi Ag’ekitalo gakke ku kkanisa nga tennagenda. Nze… Ssi kizibu okusaba ekyo, kubanga wakisuubiza. Era nga tunoonya, Mukama, okusika okwo okw’okusatu kwetumanyi nti kujja kutukolera ebintu eby’ekitalo mu masekkati gaffe.”

Olwo ku ssaawa 6.30 ez’omuttuntu, ffenna tujja kujja wamu okuwulira EKIGAMBO: Omusango Ogulumiriza 63-0707M. Luno nga lwa kuba Lunaku lwa Bbaluwa Myufu kulw’Omugole We mu nsi yonna.

Olwo lekka ffenna twegattire wamu nate mu kusaba ku ssaawa 9 : 00 ez’akawungeezi mu kujjukira okukomererwa kwa Mukama waffe.

SANDE

Nga lunaku lwa kitalo obutaddamu kukaaba, wabula OKWOGERA! Nga makya ga mazuukira! Lekka tuzuukuke nga bukyali nga Ow’oluganda Branham bweyakola ku makya ago mukwano gwe omutono, kaamukuukulu, bweyamuzuukusa ku ssaawa 11 ez’okumakya.. Leka twebaze bwebaza Mukama olw’okuzuukiza Yesu okuva mu bafu:

“Ku ssaawa 11:00 enkya yaleero, mukwano gwange omutono n’ekifuba kye ekimyufu yabuuse n’ajja ku ddirisa n’anzuukusa. Kyalabise nga otutima twe otutono twagala kwabika, tugambe, “Azuukidde.”

Ku ssaawa 3 ez’okumakya. nate leka twegattire wamu mu bwesimbu mu kusaba kwaffe okw’akajegere, nga tusabiragana era nga twetegekera okuwulira Eddoboozi lya Katonda.

Ku ssaawa 6.30 ez’omuttuntu, tujja kujja wamu okuwulira Obubaka bwaffe obwa Paasika: Lwaki Okaaba? Yogera! 63-0714M.

Oluku??aana luno nga luwedde, lekka nate twegattire wamu mu kusaba, nga tuMwebaza olwa WIIKENDI EY’ENJAWULO GY’ATUWADDE OKUBA NAYE N’OMUGOLE WE WONNA MU NSI.

Eri baganda bange ne bannyinange ebusukka gassemayanju, nnandyagadde okubaaniriza okwegattira wamu naffe olw’eby’okubaawo bino mu budde bwa Jeffersonville, olw’emirundi gyonna gyetujja okuba nga tusaba Katonda ku nnyanjulabudde eno n’olw’olutambi olunaaba luzannyibwa ku makya ga Sande. Nkitegeera, naye, nti okuzannya entambi ku lw’okuna, olw’okutaano, n’olw’omukaaga akawungeezimu budde bwe Jeffersonville kyandibadde kizubu nnyo kulw’abasinga obungi mu mmwe, kale nno muwulire eddembe okuzannya Obubaka obwo mu budde bwonna obw’olunaku obukwanguyira. Nnandyagadde, naye, twegattire wamu Sande ku ssaawa 6 : 30 ez’omu ttuntu mu budde bwe jeffersonville (y’essaawa emu n’eddakiika asatu ez’ekiro e uganda) ,okuwulira Obubaka bwaffe obwa Sande wamu.

Era nnandyagadde okubaaniriza n’abaana bammwe okubeera ekitundu ku mirimu gy’okuyigirizibwa okukuba ebifaananyi n’okuwandiika ebinyuma egiyitibwa Creations, n’obubbinkano bw’Entambi obwa Young Foundations (ekivvuunulwa nti Emisingi Emito), ab’amaka go bonna byebasobola okunyumirwa awamu. Tulowooza nti munaabyagala ngeri byonna gyebyesigamiziddwa ku KIGAMBO kyetunaaba tuwulira ku Wiikendi eno.

Okufuna ennyanjulabudde ya Wiikendi eno, okutegeezebwa ku ngeri y’okwetegekeramu oluku?aana l’okussa ekimu, ebintu ebineetagisibwa okukola emirumu gya Creations, Obubbinkano bwa Paasika, n’okutegeezebwa okulala, laba emikutu gino wammanga.

Mpulira ekitiibwa kingi nnyo okubaaaniriza n’ab’enju yammwe okujja awamu n’Omugole wonna mu nsi olwa wiikendi ejjudde OKUSINZA, OKUTENDEREZA N’OKUWONYEZEBWA. Nzikiriza nti mu butuufu egenda kuba wiikendi enaakyusa obulamu bwo lubeerera.

Ow’oluganda Joseph Branham