22-0410 Omuluŋŋamya

PDF

Endiga Eziruŋŋamizibwa Abaagalwa,

Olutalo olw’enkomerero lutuuse. Tugenda awo wetutalabangako. Tuyita mu ddungu, era tuli mu lugendo lwaffe nga tuliko gyetugenda, era nga tetusobola kumalako awatali muluŋŋamya. Temweraliikirira ekisibo ekitono, Katonda alina omuluŋŋamya gweyatuteerawo okutukulembera.

Omuluŋŋamya ono ajja kutubikkulira ebintu, era ajja kwogera ebintu by’awulidde; Asobola okuddamu ebigambo byaffe bulungi n’agamba kyetwogedde. Tuteekwa okugoberera Omuluŋŋamya ono, kubanga Ye yekka amanyi ekkubo.

Yesu weyali kunsi, Yagamba abayigirizwa Be nti Yalina ebintu bingi ebinsingawo eby’okwogera n’okutubikkulira, n’olwekyo Yali waakututumira Omwoyo w’Amazima, era oyo yali waakutuluŋŋamya mu mazima gano gonna. Yagamba Omugole We waakuMutegeera kubanga Yali waakwebikkula era Yeekakase ddala nga bweYakola bweYajja mu mubiri omulundi ogwasooka.

Alimanya buli kirowoozo ekiri mu mutima gwaffe. Alimanya kyetuli ne kyetukoze. Alimanya byonna ebitukwatako. Ye Muluŋŋamya wa Katonda, Omwoyo Omutukuvu nga Abeera era nga Yeebikkulira mu mubiri gw’omuntu w’okunsi.

Ddala nga Yesu Mwene bweYagamba, Sinze akola emirimu; Kitange Atuula munze y’Agikola. Mazima mbagamba nti, Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw’atalabira ku Kitaawe ng’akola: kubanga ye by’akola byonna, n’Omwana by’akola bw’atyo. Kitange Akola, nange nkola okutuusa kaakano.

Bw’atyo ne Malayika We taayogerenga ku bubwe yekka, naye byonna by’anaawuliranga by’anaayogeranga. Alifuna ebintu byonna nga Abijja wa Kitaffe, era olwo ajja kubitulaga. Alibikkula ebyama byonna ebyali bikwekeddwa mu Kigambo.

Kitaffe Yatugamba nti Alibaako n’OMUNTU OMU aliMuciikirira wano kunsi, Omuluŋŋamya, era nti Omugole We aliMutegeera mu butaangavu ddala era Amugoberere.

Aligulumiza Katonda yekka. Aligambanga mu bulambulukufu nti, ssi Ye, malayika ow’omusanvu, Kw’okwolesebwa kw’Omwana w’Omuntu. Ky’ekyama kya Katonda nga kyanjuluzibbwa. Ssi muntu, Katonda. Ssi ye Mwana w’omuntu; ye mubaka okuva eri Omwana w’Omuntu. Omwana w’OMuntu ye Kristo, Oyo gwetuli mu kulyako kati.

Bangi bajja kugamba nti bo beebakufiddwako amafuta okukulembera Omugole, naye Katonda tayagala ggwe kwesigama ku kuteegera kwo ggwe oba ebirowoozo byo, oba ebirowoozo byonna ebyakolebwa abantu. Katonda Atuma Omuluŋŋamya, era Katonda Akwetaaga ggwe okujjukira nti oyo ye Muluŋŋamya We Omulonde.

Omuluŋŋamya waffe tagenda kuzza omu ku luuyi lw’eno, n’omu ku luuyi lw’eyo agambe: oteekwa kuwulira mubuulizi ono, ate oteekwa kuwulira mubuulizi oyo; n’okukkiriziganya tebakkiriziganyiza wamu. Ekyo kiyinza kitya okukutuukiriza?

Waliwo EKIGAMBO EKITUUKIRIDDE KIMU kyokka ekigenda okutuleeta n’okutukuumira awamu, EKIGAMBO KYE EKY’EDDOBOOZI EKIKAKASIBBWA EKITUUKIRIDDE KU LUTAMBI.

Bagamba leero Omwoyo Omutukuvu Atukulembera buli omu nga ba ssekinnoomu, ekituufu. Olwo lwaki oba n’omubuulizi oba nga Omwoyo Omutukuvu Akukulembera? Weewulirize: Nnandibaako n’omubuulizi nga ankulembera n’okunjiriza okusinga okusinga okubeera ne nnabbi wa Katonda akakasibbwa? Nnandibaako n’okuvvuunulwa kuno okw’Ekigambo okusinga okukuwulira butereevu okuva mu Ddoboozi lya Katonda Yennyini nga bwekiri nti ye asobola okukinnyonnyola mu ngeri esingirawo ddala?

Ssiri kugezaako kunenya buweereza, oba okugamba nti baabulimba, oba nti tolina kuwuliriza buweereza. Bambi nsonyiwa bwemba nga ssiri mu kukyogera mu ngeri entuufu. Ngezaako bugeza kugamba nti tebasobola kubeera kyankomeredde kyo, ekigambo ekisembayo, Omuluŋŋamya wo. Abantu tebalisobola kukkiriziganya. Buli muntu alina endowooza yanjawulo, okukulemberwa okwenjawulo. Ekyo kiyinza kitya okutuukiriza Omugole? bw’obawuliriza bonna, n’omanya nti bonna tebasobola kukkiriziganya nti kyeboogera kye Kigambo kya Katonda ekituukiridde, Ekyo kiyinza kitya okutuukiriza Omugole? Ekyo kiyinza kitya okubeera Omuluŋŋamya wo?

Singa tunaaleka bulesi Omwoyo Omutukuvu okutukuumira awamu ng’Akozesa Ekigambo kye, tujja kubeera mutima gumu, kutegeera kumu, mu bumu, na Mwoyo Omu; Omwoyo Omutukuvu , Omuluŋŋamya wa Katonda Anaatuluŋŋamya mu Mazima gonna. Naye olina okugoberera Omuluŋŋamya wo.

Togezanga n’oba n’obutakkaanya n’Ekigambo ky’Omuluŋŋamya wo. Mugoberere. Bw’ot’okikole, ojja kwesanga nga obuze. Era. jjukira, bw’oMuleka, oli ku bubwo, kale twagala kwekuumira kumpi n’Omuluŋŋamya.

Omwoyo Omutukuvu Atukulembera okugoberera Omuluŋŋamya We, nga ye Mwoyo Mutukuvu nga Ayogera okuyita mu mubaka malayika We ow’omusanvu. Ssi Kigambo kya muntu, Ddoboozi lya Katonda eri Omugole We era KY’EKINTU KYOKKA EKISOBOLA OKUTUUKIRIZA OMUGOLE.

Jjangu otwegatteko Sande ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bwe jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e uganda) , nga bwetutandika sabbiiti yaffe eya Paasika nga tuwulira Omuluŋŋamya waffe. Agenda kutuluŋŋamya wetutatuukangako.

62-1014E Omuluŋŋamya

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwulira obubaka tekunnatandika:

Omut. Makko 16:15-18
Omut. Yokaana 1:1 / 16:7-15
Ebikolwa by’Abatume 2:38
Abaefeso 4:11-13 / 4: 30
Abaebbulaniya 4:12
2 Peetero 1:21
Okuva 13:21