22-0403 Ekimyanso Ekimyufu Eky’Akabonero Ak’okujja Kwe

Bonna abasaabadde,

Ekitiibwa kya Mukama, nga lunaku lwetulimu leero. Tuli mu kuwuliriza Obubaka obukakasibbwa, okuyita mu buli kikolwa, okubeera Yesu Kristo aba obumu jjo, leero n’emirembe gyonna. Kikoze ebintu byebimu ddala byeYakola bweYali wano kunsi; Kiwonyezza abalwadde, kitegeddenga ebirowoozo by’omutima, ne kiragirawo ebintu ebinaatukawo,kizukizza abafu, era buli kiseera, Kibadde kituukiridde.

Amazzi ganaazizzaako ettaka okuva ku ntikko y’olusozi. Tewaali kyali kisigadde okuleka olwazi. Waaliwo Obuwandiike obw’ekikula eky’ekyama oba ekitategeerekeka, kale Katonda Yatusindikira nnabbi We ow’ekitalo; okubikkulira Omugole We Obuwandiike obwo. Kaakano Baibuli evvuunuddwa mu bujjuvu.

Yatwala malayika We ow’amaanyi ku lusozi n’ateeka EKITALA KYA MUKAMA mu mukono gwe. Malayika We olwo n’asalako akasolya k’olusozi n’akamaamulako. Munda mu lwo mwalimu olwazi olweeru, ekintu ekiri mu ttuluba ly’ejjinja eriyitibwa gulanayiti eryali teriwandiikiddwa nako.

Yatugamba tutunuulire Kino ye nga bw’agenda ebugwanjuba. Olwo n’asitulibwa mu masekkati ga bamalayika musanvu n’akomawo n’atubikkulira BYONNA EBYALI TEBIWANDIIKIDDWA NA KUWANDIIKIBWA MU LWAZI.

¡°Ono ye Muweereza waNge. Mmuyise okubeera nnabbi eri omulembe, okukulembera abantu ddala nga Musa bweyakola. Era aweereddwa obuyinza, yali asobola okwogera ekintu nekibaawo nga tekibaddeewo.¡± Oba ekintu bwekityo, nga Musa bweyakola, nga okwogera ensowera ne zibaawo. Era tumanyi ku zi kaamuje, n’ebiringa ebyo, n’ebintu ebyatuukawo edda. Hattie Wright omutono emabega eyo, kansuubire nti mumanyi ekyatuukawo mu nnyumba ye.

W-I-L-L-I-A-M M-A-R-R-I-O-N B-R-A-N-H-A-M ye musajja wa Katonda gweYalonda okukulembera Omugole We kulw’olwaleero. Ye ye mubiri gweYalonda okwogera gyetuli nga bweYakola bweyajja mu mubiri emyaka 2000 egiyise. Buli kwawandiikibwa kikikakasa. Omwoyo Omutukuvu Akibikkudde. Kaakano waliwo okukakasibwa nnyo nate nti tulina OKUBIKKULIRWA OKWANNAMADDALA okw’ekyo kyeYALI, ekyo KY’ALI n’ekyo KYETULI: Omugole We Swiitimutima Omulonde.

Tumanyi nti tuli mu kwagala Kwe okutuukiridde nga tusigala n’Ekigambo Kye.Kireeta essanyu n’okusanyuka bitya. Tekisoboka okutegeeza mu bigambo obugambo kyekitegeeza gyetuli.

Bulijjo tubadde nga tukimanyi mu buziba bw’emitima gyaffe n’emmeeme nti waaliwo ekintu ekimu eky’enjawulo eyo. Twakimanya, ne bwetwali mu kibi, waaliyo ekintu eyo kyetutaasobolanga kunnyonnyola, naye nga kyaliyo bubeezi. Kaakano TUMANYI. Tetuwulirangako bwetuti emabega, tewakyali kubuusabuusa, mpaawo kwewuunya, mpaawo kubuuza bibuuzo, Kyooleddwa era kiwandiikiddwa mu mmeeme yaffe. EKITIIBWA KYA MUKAMA!!

Ye ffe mulembe ogutaliggwaawo okutuusa ebyo byonna lwe birikolebwa. Ye ffe mulembe oguli mu kulaba okusuulawo Enzikiriza nga kugenda mumaaso. Ekiseera kiri kumpi. Ekimyanso ekimyufu eky’Okujja Kwe kiri wano. Okulabula Kwe okusemba kugenda mumaaso.

Okufa n’okuzikirira bitwetoolodde wonna. Tutambulira mu Sodoma ne Ggomola. Empitambi, ekibi, omutima g’omusajja nga gulemwa olw’okutya, bbomu nnamuzisa, okunakuwala wakati mu mawanga, era nga ebbanga lyonna tugattiddwa awamu era nga tutudde mu bifo eby’omuggulu Katonda Mwene nga bw’Atugamba,TEMUTYA, YEMMWE BA SWIITIMUTIMA BANGE. Tewali kiyinza kuba tuukako. Muleke bulesi emitima gyammwe gibe nga gibatyemuka munda yammwe nga bweNjogera nammwe mu kkubo era nga Mbagamba, YEMMWE MUGOLE WANGE.

Jjangu weegatte naffe Sande ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bwe jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e uganda) , nga bwewali okuleekaana okugenda mumaaso. Omukono guli mu kugenda wansi. Ekimyanso ekimyufu kitandise okumyansa.Oba nga osuubira okuvaawo wamu naffe, wandisuula wansi akasawo k’ebinyeebwa ako, okomye okunyumya kwo, ositule ssanduuko zo, era weetegeke ekitali ekyo ojja kulekebwa emabega, ¡¯kubanga Waakuyimirirawo-kko ku ssiteegi okumala akabanga katono nnyo. Ye ajja okwogera: Ekimyanso Ekimyufu Eky’Akabonero Ak’okujja Kwe 63-0623E.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwulira Obubaka tekunnatandika:

Omut. Matayo 5:28 / 22:20 / Essuula 24 yonna

2 Timoseewo Essuula 4 yonna

Juda 1: 7

Olubereberye Essuula 6 yonna