22-0327 Okuyimirira Mu Kituli

Abeesigwa abaagalwa,

Sabbiiti zino eziyise by’ebiseera ebisinga okuba eby’ekitalo mu bulamu bwaffe bwonna. Kibadde kimu ku bituukaawo ebisinga obukulu mu bulamu bwaffe okugattibwa n’Omugole We wonna mu nsi, nga tuwulira Katonda nga Abikkula Obubonero Omusanvu.

Ffena nga tugattiddwa awamu twabadde tuwuliriza ki?

“Munda mwa piramiidi eyo, mwalimu ejjinja eryeru eryali teriwandiikiddwako.” Eyo y’ensonga nnalina okugenda ebugwanjuba, okuyunga ku Bubaka bwa Bamalayika bano, okukomawo wano okuKibikkulira ekkanisa.

Yayina okugenda ebugwanjuba okuyunga ne Bamalayika abo omusanvu, okukomawo okutubikkulira ebyali tebibwandiikiddwa n’okuba; naye kati, okuyita mu kubikkulirwa, nga bibikuddwa gyetuli nga biri mu kutuwa Kukkiriza kw’Okukwakkulibwa.

Tuwulidde Obubaka buno obulamu bwaffe bwonna, naye kaakano bubikkuddwa nga bwekitabangawo emabega; luno lwe lunaku, kino ky’ekiseera. Tuli mu kulaba n’okuwulira kyeyatugamba nti kiribaawo, mu nsi ne mu Bubaka wombiriri, era nga kaakano kiri mu kwolesebwa mu maaso gaffe gennyini.

Omubaka malayika waffe ow’omusanvu yali bubeezi nnabbi nga bannabbi ab’edda? Nedda, yayitibwa eri woofiisi eya waggulu ennyo okusingako ku bannabbi bonna abaamusooka. Kubanga yali Mwana w’Omuntu nga Yeebikulira mu mubiri gw’omuntu w’okunsi ddala nga bweyakola emyaka 2000 emabega. Nnabbi waffe yayitibwa OKUKULEMBERA OMUGOLE olugendo lwonna okutuuka mu Maka gaffe amaggya, olwo aggya kutwanjula eri Mukama.

Yatugamba nti Obuweereza bwe bwali bulabira ku bulamu bwa Musa mu ngeri etuukiridde ddala. Musa nga bw’ali mu lugendo lwe nga agoberera Empagi y’Omuliro, abasajja baayimirira ne bamuziyiza. Abantu bano baali bayitiddayo era nga baali mu lugendo lwabwe nga badda mu nsi ensuubize. Baasoomooza Musa nga bagamba nti yeesukkulumwya nnyo; ssi yeeyali omutukuvu yekka eyayitibwa, nabo baali batukuvu era nga nabo beetaaga okubaako kyebabuulira.

Yagamba baali basajja batukuvu, era nga mu butuufu baalina eky’okukola, naye Katonda Yali Ayise YE, MUSA, OMUSAJJA OMU, okukulembera abantu.

Baalina ekifo kyabwe. Baali bafukiddwako amafuta. Baali bakola kyebaali baayitibb wa era nebaawulibwa okukola nga bagamba abantu, “muwulirize Musa”, naye baayagala okwogera EKISINGAWO KKO, OBA OKUNNYONNYOLA EKYO MUSA KYEYALI AYOGERA. Tebaali bamativu okusonga obusonzi abantu okuwulira Musa. Baayagala okukulembera abantu. Baayagala okukola ekintu ekimu ekingiko, oba ekyenjawulo-ko, kw’ekyo kyebaali baatumibwa okukola.

Bw’obuusabuusangako mu magezi go ki nnabbi waffe ky’ali, oba ekyo kyeyayitibwa okukola, nkwaniriza okugenda ebugwanjuba okutunuulira obusozi obwekutte Katonda Yennyini bweYakola nga akabonero ak’olubeerera ku nsi, nga abuteekako erinnya lya nnabbi waffe, B-R-A-N-H-A-M, ku lusozi olwo.

Yemmwe Mugole Wa Kristo. Yabalonda n’abaawula edda. Ekigambo Kye Kibeera era Kituula mu mmwe. Yemmwe Kigambo ekiramu nga kifuuse omubiri. Yabawa Okubikkulirwa kw’Ekigambo Kye. Setaani tabalinaako maanyi. Okukkiriza okwo okw’okukwakkulibwa kubeera era kutuula mu mmwe.

Omwoyo Omutukuvu Ali mu kukulembera Omugole We nga Akozesa engeri Ye yokka gy’Agabiridde kulw’olwaleero, Ekigambo Kye Ekyayogerwa nnabi malayika we ow’omusanvu. Nnabbi oyo ye musumba waffe.

Omusumba waffe yatusuubiza nti obubaka obw’entambi bwonna obupya bwali bwakujjiranga okuva mu Ggwanika ly’emmere, okutuusa nga Mukama Akikyusizza. Kubanga awo entambi ezaakumibwa wezaali zijja okubeeranga.

Era yakubiriza n’omusumba we amuyambako Ow’oluganda Neville, era kaakano olw’Ekisa Kye, nga yenze nzennyini, kyetulina okukola ku kkanisa.

Nsaba nti Onooyamba omusumba waffe omwagalwa, Ow’oluganda Neville. Mufuule, Mukama, ajjudde ekisa era ajjudde amaanyi, era nga alina okutegeera, bw’atyo asobole okutwala Emmere eno Eterekeddwa aliise abaana obuliga bwa Katonda obuto.

Entambi zino z’abo nnabbi beyayitibwa okusumba. Bw’oba nga oyagala okuwulira BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA, jjangu owulirize wamu naffe Sande ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bwe jeffersonville (ze ssaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), owulire: Okuyimirira Mu Kituli 63-0623M, nga bwetuwulira Emmere Eyaterekebwa Egabiriddwa kulw’Omugole.

Tujja kutandikira Obubaka ku katundu nnamba 27.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa
Okubala 16: 3-4