23-1008 Obulamu Bwo Busaanidde Enjiri?

Obubaka: 63-0630E Obulamu Bwo Busaanidde Enjiri?

BranhamTabernacle.org

Ekisibo Kya Nabbi Wa Katonda Omwagalwa,

Leka tusabe.

Kitaffe ow’omu ggulu, nga tusiima nnyo olw’ekiseera ekirala okukuŋŋaanyizibwa wamu okuva mu nsi yonna ku ludda luno olw’Obutaggwawo. Okubeera mu ndowooza emu n’omwoyo gumu naawe; okuwulira Eddoboozi Lwo nga Lyogera gyetuli. Tulindiridde omulundi omulala nate okufuna okuzzibwa obuggya amaanyi gaffe okuva gy’oli, okutuwa obuvumu n’amaanyi olw’olugendo olutuli mu maaso.

Tukuŋŋaana awamu okufuna Emmaanu eyo eyatuweebwa. Emmaanu ey’omwoyo gye Watereka okutuwa amaanyi ag’okukozesa mu lugendo. Kye kintu KYOKKA ekiyinza okutuyimirizaawo okuyita mu nnaku ezijja.

Watugamba nti, nga Tonnazza Kkanisa Yo mu ntegeka ennuŋŋamu, Ojja kwetaaga okusooka okutukuŋŋaanya, mu kifo kimu, era mu mwoyo gumu. Olwo n’osindika Omwoyo wo Omutukuvu gye tuli okukulembera; si olukiiko olumu olugatta amasinizizo ag’ensi yonna, si ekibinja ky’abantu ekimu, wabula Omwoyo Wo Omutukuvu okwogera naffe kamwa ku kutu.

Wayogera ng’oyita mu malayika Wo n’otugamba nti:

“Njagala musigale n’omusumba wammwe era musigale n’Enjigiriza eyigiriziddwa wano. Musigale n’Ekigambo kino, temuKivaako! Musigale butuukirivu n’Ekigambo ne bwe kiba ki ekijja oba ekigenda, musigale n’Ekigambo ekyo!”

Kitaffe tuli mu kugondera Ekigambo Kyo era tuli mu kusigala n’omusumba waffe. Lye Ddoboozi lya Katonda ery’olwaleero eryogera Ekigambo Kyo ekirongoofu kyokka, ekyo ekikakasiddwa era ekyoleseddwa olw’olunaku lwaffe.

Watugamba nga bwe kyali mu nnaku za Sodomu, bwe kityo bwe kiriba ku kujja kw’Omwana w’omuntu; nti tuliba n’ebintu bibiri ebitukulembera, n’ekitundu ky’ensi ekisigalidde kijja kuba n’ebintu bibiri. Ebintu byabwe ebibiri baali babuulizi babiri.

Naye ku lw’Ekkanisa Yo ey’omwoyo, Omukyala ddala Omugole wo eyategekebwa, eyalondebwa, ebintu byaffe ebibiri byali bya kuba Ggwe, nga Oyoleseddwa mu mubiri ogw’omuntu ow’oku nsi, ng’Otukulembera nga okozesa Empagi y’Omuliro.

Leka kikuŋŋunta akuŋŋunte. Embuyaga zikankane. Tutebenkedde, luberera. Tuwummulidde awo wennyini ku Kigambo Kyo. Ekiseera kituuse. Okuva okw’omwoyo kutuuse. Tutambula era nga twogera naaWe buli lunaku, nga tuwulira Eddoboozi Lyo. Tuli mu kussa ekimu naawe buli kiseera.

Twagala kubeera Emikono Gyo, Amaaso Go, Olulimi Lwo. Ggwe muzabbibu, ffe matabi go. Tuwe amaanyi Kitaffe, tusobole okubala ebibala Byo. Okwagala kwaffe kwokka kwe kuba n’obulamu obusaanira Enjiri Yo.

Weerage kyo’li ng’oyita mu ffe, Kitaffe, okutwala mu maaso omulimu Gwo n’okutuukiriza Ekigambo kyo ekyasuubizibwa. Ekiruubirirwa kyaffe kwe kubeera ababaka bo ab’olwaleero, okutuukiriza obutuukirivu bwonna.

Twagala okuKuwulira ng’otugamba nti:

Essaala yange eri, eri abo abali ku leediyo oba mu…mu nsi y’Olutambi, n’abo abaliwo mu buliwo. Leka Katonda ow’ekisa kyonna, ow’omu Ggulu, ayase Omwoyo we Omutukuvu ow’omukisa ku ffe ffenna, ffe, okuva ekiro kino, okutuuka mu maaso yonna, tusobole okutambulira mu bulamu Katonda bw’Asobola okugamba nti, “Mbusanyukidde nnyo. Yingira mu masanyu agataggwawo agaakutegekebwa okuva ku kutondebwa kw’ensi.” Leka Katonda ow’eggulu asindike emikisa gye ku bantu mmwe mwenna.

EKITIIBWA…abo ye ffe Kitaffe, Omugole wo ali mu nsi y’Olutambi. Mazima, Oli mu kutusindikira emikisa gyo era Otubikkulira Ekigambo kyo, ng’Otugamba buli Bubaka bwe tuwulira nti, Otusanyukira nnyo, FFE MUGOLE WO.

Bw’oba nga wandyagadde okuwulira omusumba waffe, omusumba wa Katonda eri ensi gwe Yatuma okuyitayo n’okukulembera Omugole we, jangu otwegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), okumuwulira ng’ayogera Ebigambo by’Obulamu obutaggwaawo, nga bw’atuleetera Obubaka okuva eri Katonda: Obulamu Bwo Busaanidde Enjiri? 63-0630E.

Owol. Joseph Branham

Okulangirira okw’enjawulo: Mukama nga Ayagadde, tujja kuba n’Olukuŋŋaana lw’Okussa Ekimu / Okunaaza Ebigere Ssande ejja ekiro, Omwezi Gw’ekkumi Ennaku Z’Omwezi 15.