23-1001 Okuva Okw’Okusatu

Obubaka: 63-0630M Okuva Okw’Okusatu

BranhamTabernacle.org

Omugole W’Okuva Omwagalwa,

Ebintu bino bye tulaba nga bigenda mu maaso leero byali tebisobola kubaawo emyaka amakumi abiri egiyise, oba emyaka amakumi ana egiyise;

leero lwokka lwe kigenda mu maaso. Eno y’essaawa! Kino kye kiseera! Kaakano kye kiseera ky’ekyo okutuukirira. Katonda yakisuubiza, ERA KIIKINO WANO.

Tulina okutegeera okw’omwoyo; obutali butuukirivu bw’eggwanga lino bujjudde. Essaawa etuuse.

Kye kiseera okugenda mu Nsi eyo ensuubize. Si ensi obusi endala ey’okugendamu, wabula Amaka gaffe Ag’Omumaaso ge tubadde tulindirira.

Kirowoozeeko bulowooza, nti ekiri mu kutukulembera kisingako ku nnabbi. Ye Katonda enga Ayoleseddwa mu mubiri mu ffe, n’Ekigambo kye okukikakasa.

Nabbi eyakola emirundi lukumi okusinga nnabbi omulala yenna. Y’Empagi y’Omuliro nga etutwala mu Nsi eyo ensuubize, Emyaka Olukumi.

Yalonda nnabbi waffe n’Amuwa akabonero ak’amaanyi agatannyonnyoleka butonde ak’Empagi y’Omuliro, aleme kusobya. Nabbi bye yayogera bye bigambo bya Katonda byennyini.

Yatwala nnabbi waffe, n’Amutendeka, oluvannyuma n’Amututumira nate nga alina Empagi y’Omuliro, Ye asobole okwekakasa gye tuli, era Atuwe Okubikkulirwa okujjuvu okw’Ekigambo kye kyonna.

Bwe tuba twagala okugenda mu Nsi eyo ensuubize, tetulina kwerabira, Katonda tayinza, era tajja kukyusa nteekateeka ye. Ye Katonda, era tasobola kukikola.

Yatugamba nti Talikolaganako na kibinja. Takikolangako. Akolagana naffe nga ba ssekinnoomu. Yatusuubiza mu kigambo kye nti ajja kutusindika Malaki 4 atukulembere okuyingira Nsi eno, era Akikoze.

Naye, olaba, Akabu yalina enkola gye yalowooza nti ya Mukama. Yagamba nti, “Nninawo ebikumi bina eby’abo, abaasomesebwa era abaatendekebwa.” Era beeyita bannabbi Abebbulaniya, ng’ebibinja by’abaweereza bwe bikola leero.

Bangi tebaagala kukikkiriza, naye nga Eriya ow’edda, omubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu, omusumba waffe, ye musumba w’ensi yonna okukulembera Omugole we.

Ye Malaki 4:5, ne Okubikkulirwa 10:7. Ye kutuukirizibwa kw’Ebyawandiikibwa byonna Baibuli bye yamulagulako. Buno bwe Bubaka, Eddoboozi lino, lye ddoboozi lya Katonda eriyita Omugole we. Y’endagiriro ya Katonda ey’olwaleero.

Y’empagi y’emu ey’Omuliro, ng’ereeteddwa enkola y’emu eyafukibwako amafuta. Katonda y’omu ng’Akola ebintu bye bimu.

Kati Ekigambo kifuuse omubiri era Kibeera mu masekkati gaffe mu mubiri gwaffe, ffe Omugole Ekigambo We.

Leka tumukaabirire era tuMwebaze, tuMutende, tuMusinze, olw’ebyo byonna by’Akoze: Okutuwonya, okutegekererawo, okuggyako omusango.

By’Atukolera mu kiseera kino; nga Akutuwa Okubikkulirwa n’Okubikkulirwa, ng’Atubuulira kye tuli.

Era byonna by’agenda okutukolera… Okujja okutwetwalira nga Omugole we era Atutwale mu maka gaffe ag’omu maaso ge Yatukolera, okubeera naYe emirembe gyonna.

Kyonna kye twetaaga, mukaabirire. Ekyo ky’Ayagala abaana be bakole. Mukaabire okutuusa lwe tunaamatira ne tufuna bye twetaaga.

Jjangu mwegatte n’ekitundu ku Mugole We ku Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), owulire omusumba wa Katonda eri ensi, William Marrion Branham, ng’atubuulira byonna ebikwata ku: Okuva Okw’Okusatu 63-0630M.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga Obubaka tebunnatandika:
Okuva 3:1-12
Olubereberye Essuula 37
Olubereberye Essuula 43