Category Archives: Uncategorized

24-1110 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira

Obubaka: 60-1208 Omulembe Gw’Ekkania Ey’Omusuwatira

BranhamTabernacle.org

Omugole Ayakiddwako Ekitangaala Omwagalwa,

Engeri Mukama gy’Atubikkulira nti okuyita mu mirembe gyonna bulijjo wabaddengawo akabinja akatono ennyo akasigaddenga n’Ekigambo kye. Tebaagwa mu mutego gw’omulabe ogw’obulimba, wabula baasigala nga beesigwa eri Ekigambo eky’omulembe gwabwe.

Naye tewabangawo kiseera, newankubadde ekibinja ky’abantu, Mukama kye Yenyumirizzaamu, oba kye Yeesize ennyo okukirawo, ku ffe. Yeffe Mugole We Omulonde atajja, era n’ekisinga obukulu, ATASOBOLA, kulimbibwa; kubanga tuwulira Eddoboozi ly’Omusumba ne tumugoberera.

Ali mu kutulaga nti okuyita mu mirembe gyonna wabaddengawo ebibinja by’abantu bibiri, byombi nga birangirira okubikkulirwa kwabyo okuva eri Katonda n’enkolagana yaabyo ne Katonda. Wabula Yatugamba nti, Mukama amanyi ababe. Alondoola ebirowoozo byaffe. Amanyi ebiri mu mitima gyaffe. Alaba emirimu gyaffe nga tusigala ne nnabbi n’Ekigambo kye, nga bino kwe kwolesebwa okufuutifuuti okw’ebyo ebiri munda mu ffe . Ebigendererwa byaffe, ebiruubirirwa byaffe bimanyibwa gy’Ali nga bw’Atunuulira buli kikolwa kyaffe.

Atugamba nti ebisuubizo byonna byeyawa buli mulembe, BYAFFE. Atulaba ffe abasigala nga tukola emirimu gye n’obwesigwa okutuusa ku nkomerero. ATUWADDE obuyinza ku mawanga. Atugamba nti tuli bafuzi aba amaanyi, ab’obusobozi, abatawetebwa mitawaana abasobola okugumira embeera yonna n’amaanyi mangi . N’omulabe asinga obumalirivu amaanyi gajja kumuggwa bwe kiba kyetaagisa. Engeri gyetunaayolesaamu enfuga yaffe olw’amaanyi ge ejja kuba nga eyagala kutuukagana n’ey’Omwana We yennyini. EKITIIBWA!!

Tulabyeko ku buziba bwa Katonda mu bulamu bwaffe. Bwe bumanyirivu omuntu bw’afuna nga sekinnoomu obw’Omwoyo wa Katonda ng’Abeera mu ffe. Ebirowoozo byaffe byakibwako ekitangaala ekiva mu magezi n’okumanya kwa Katonda okuyita mu Kigambo kye.

Tugenda buli Omugole omusajja w’Abeera. Tetujja kulekebwa Ye. Tetujja kuva ku mabbali ge. Tujja kugabana naYe nnamulondo. Tujja kutikkirwa engule y’ekitiibwa kyE n’ettendo Lye.

Atubikkulidde engeri omulabe gy’abadde alimba mu buli mulembe n’engeri gye kiri ekikulu ennyo kityo okusigala N’EKIGAMBO KYE NNAKABALA. Tewali Kigambo na kimu kiyinza kukyusibwa. Buli mulembe gwayongerako era ne gutoolako, okuyita mu kuteeka okuvvuunula kwabwe ku Kigambo nnakabala; era ne baba nga babuze butadda okuyita mu kukola ekyo.

Mu Mulembe gw’Ekkanisa ya Suwaatira, omwoyo ogwo ogw’obulimba gwayogera nga guyita mu Paapa w’e Rooma ne gukyusa Ekigambo kye. N’akifuula okuba “omutabaganya omu wakati wa Katonda n’omuntu (so si n’abantu).” Kale kaakano ye mutabaganya wakati w’omutabaganya n’abantu. Na bw’etyo, enkola ya Katonda ey’emirimu yonna yakyusibwa; si na kukyusa ekigambo kimu, wabula na kukyusa ENNUKUTA EMU. Sitaani yali akyusizza “E” n’agifuula “A”.

Buli Kigambo kiriramulwa okusinziira ku Kigambo Kye nnakabala ekyogerwa ku ntambi. N’olwekyo, Omugole We ATEEKWA okusigala n’entambi. Ng’omulabe agezaako okumalamu abantu amaanyi ng’ayita mu kubawa enkola y’emirimu ey’enjawulo, ekirowoozo eky’enjawulo, ennukuta ey’enjawulo, Omugole ajja KUSIGALA N’EKIGAMBO NNAKABALA.

Mu buli mulembe Yesu Yeeragira wamu n’omubaka w’omulembe ogwo. Bafuna okuva gy’ali okubikkulirwa ku Kigambo eky’omulembe gyabwe. Okubikkulirwa kw’ekigambo kuno kuggya abalonde ba Katonda mu nsi ne kubaleeta mu bumu obujjuvu ne Yesu Kristo .

Ayise era n’Ayawula abasajja bangi okubeera omukisa eri ekkanisa, naye Alinayo mpozzi OMUBAKA OMU YEKKA gwe Yayita OKUKULEMBERA ekkanisa Ye ku buyinza bw’Omwoyo we Omutukuvu. Waliwo EDDOBOOZI LIMU eririna Bw’Ati Bw’Ayogera Mukama. Waliwo EDDOBOZI LIMU lye Yagamba nti ly’Alisinziirako okutusalira omusango. Waliwo EDDOBOZI LIMU Omugole we lye bataddeko ekifo kyabwe gyebanakomekkerera mu butaggwawo. EDDOBOZI ERYO LYE DDOBOZI LYA KATONDA KU NTAMBI.

Omugole, okwagala kwa Katonda ku lwaffe kwe Kutuukirizibwa, era mu maaso ge, TUTUUKIRIDDE. Era okutuukirizibwa okwo kwe kugumiikiriza, okulindirira Katonda… n’okulinda Katonda. Atugamba nti gwe mutendera oguyitibwamu ogw’okukuza empisa zaffe. Tuyinza okuba n’ebigezo bingi, okugezesebwa, n’ebibonyoobonyo, naye obwesigwa bwo eri Ekigambo Kye buleeta obugumiikiriza mu ffe tusobole okuba abatuukirivu era abajjuvu, nga tetulina bitatuuka.

Tetujja kwerabira OKUKKIRIZA kujja na kuwulira, okuwulira Ekigambo, n’Ekigambo kijja eri nnabbi.

Jjangu owulire essanyu erisinga obuyitirivu mu bulamu bw’otuula wamu naffe mu bifo eby’omu Ggulu nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lituleetera Ekigambo ku: Omulembe Gw’Ekkanisa ya Suwaatira 60-1208 , Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda).

Owol. Joseph Branham

24-1103 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo

Obubaka: 60-1207 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo

BranhamTabernacle.org

Omugole Omuwala Omulongoofu Omwagalwa,

Obadde onyumirwa Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu? Katonda ali mu kuwa Omugole We okudda obuggya nga bwe kitabangawo. Ali mu kutuwa Okubikkulirwa okusingawo, Okukkiriza okusingawo, n’okukakasibwa okusingawo nga tumanyi kye tuli, ne kyetuli mu kukola nga tusigala n’Ekigambo, Ekkubo Lye lye Yatuwa olwaleero.

Kaakati Atugamba nti: “Okutandika n’olukuŋŋaana lw’oku Ssande okweyongerayo mu maaso, mwambale endowooza yammwe ey’omwoyo. Leka Omwoyo Omutukuvu aKinnyikize munda era mumanye ekifo kya buli kimu mu mwoyo n’engeri ey’okukikozesaamu mu bye ŋŋenda okukola. Kye Kigambo kyange ekiweereddwa Omwoyo obulamu ekyayogerwa nnabbi wange owa Malaki 4”.

Ka tusome era tukwate ebimu ku Bigambo bye era tukozese endowooza yaffe ey’omwoyo ku byo.

Katonda Yateekawo omukulembeze we ajjudde Omwoyo eri ekibinja kye ekijjudde Omwoyo; Malayika we; era n’Amuteekako akabonero k’erinnya, naye tasaanidde kulibikkula. Alina okulyekuumira ye kennyini, laba. “Tewali muntu amanyi wabula ye kennyini.”

Kale Katonda yawa Omugole We omukulembeze ajjudde Omwoyo olw’ekibinja kye ekijjudde Omwoyo. OMUKULEMBEZE, SSI ABAKULEMBEZE olw’ekibinja kye ekijjudde Omwoyo.

Agenda okujja mu nsi mangu, malayika ono omukulu ow’Ekitangaala agenda okujja gyetuli, oyo alitukulembera okutufulumya, Omwoyo Omutukuvu ow’ekitalo, nga Ajja mu maanyi, era alitukulembera Atutwale eri Mukama waffe Yesu Kristo.

Malayika omukulu ow’Ekitangaala. Malayika omukulu ow’Ekitangaala eri omulembe guno ogusembayo y’ani? William Marrion Branham. Tali mu kwogera ku Mwoyo Mutukuvu. Amazze okujja ate agamba nti alijja.

OYO ALITUKULEMBERA OKUTUFULUMYA. Mazima tumanyi era tukkiriza nti Omwoyo Omutukuvu y’Atukulembera, naye mu bulambulukufu ateeka malayika we mu kifo kye n’Omwoyo Omutukuvu wamu n’Agamba nti Ye (Omwoyo We Omutukuvu) ajja kuba atukulembera (okuyita mu / nga akozesa) malayika We omukulu ow’Ekitangaala.

Agenda mu maaso n’okubasibira wamu ng’Agamba nti:

Oboolyawo tajja kukimanya,

Tali mu kugamba nti Omwoyo Omutukuvu tajja kumanya ky’Ali, wabula ategeeza malayika We omubaka We ow’oku nsi gwe yalonda OKUTUKULEMBERA OKUTUFULUMYA.

Wabula ajja kuba atuuse wano ezimu ku nnaku zino. Alimanyi… Katonda alimumanyisa. Talyetaaga na kwemanyisa, Katonda ajja kumumanyisa. Katonda ajja kukakasa Owuwe .

Nate, tali mu kugamba nti Omwoyo Mutukuvu ajja kuba atuuse wano EZIMU KU NNAKU ZINO , wabula malayika we omukulu ow’Ekitangaala ow’okukulembera Omugole We. Talyetaaga na kwemanyisa , Katonda ajja kumanyisa omukulembeze we omukulu eri Omugole We Ye Mwene ng’Ayita mu OKUBIKKULIRWA.

Kati oli mu kuteegera ekifo kyakyo n’engeri ey’okukikozesaamu  mu mwoyo? Olaba malayika w’Ekitangaala y’ani Katonda gwe Yalonda okukulembera Omugole We? Kirina we kigamba wano nti akati mu mbiro zino kaweereddwa eri abakulembeze abalala?

Tolibeerako mu bulamu buli mu kifo kya waggulu-ko okusinga ku musumba wo. Ggwe jjukira bujjukizi ekyo, laba.

Wadde ng’abalala bayinza obutatutegeera ne beeyisa oba okwogera eby’obunyoomi gyetuli, nga tuli basanyufu era nga tweyanzeege mazima olw’Okubikkulirwa okutwogeza nti, WILLIAM MARRION BRANHAM YE MUSUMBA WAFFE.

Kati nga bwe kiri inti buli bumu ku bubaka buno butegeezebwa bugenda eri “malayika” oyo — (omubaka ali mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi) obuvunaanyizibwa obunene ennyo awamu n’enkizo ey’ekitalo [“privilege”—omwagaanya okukola abalala kyebatakkirizibwa oba kyebatasobola – Ed] gwe mugabo gwe.

Obubaka bwategeezebwa nga bugenda eri malayika We, olwo malayika we n’abutuusa eri Omugole; si eri obuweereza bwokka, wabula eri OMUGOLE WE YENNA era Buli ku lutambi bonna basobole okubuwulira. Tebusobola kwongerwako oba okutoolebwako, era tebwetaaga KUVVUUNULA KWONNA.

Ajja mangu, era bw’Alijja Ajja kusookera gy’oli ggwe, era olisalirwa omusango okusinziira ku Njiri gye wabuulira ggwe, naffe tuliba buvunaanyizibwa bwo.” Nnagamba nti, “Ky’otegeeza nze bano bonna mbavunaanyizibwako?” N’agamba nti, “Buli omu. Wazaalibwa oli mukulembeze.”

Olunaku olukulu olw’omusango bwe lulituuka, Ajja asookera wa malayika we ow’Ekitangaala era ajja kusooka ye okusalira musango okusinziira ku njiri gye yabuulira. Ffe tuli BUVUNAANYIZIBWA BWE. Avunaanyizibwa ku buli omu ku ffe nga bwe kiri nti ye yali OMUKULEMBEZE Katonda gwe Yalonda.

Teeka kw’ekyo ekifo n’enkozesa yo ey’omu mwoyo. Tulisalirwa omusango okusinziira ku ebyo malayika wa Katonda bye yayogera. Kale, oyagala okugezesa akakisa akatwaliramu obulamu bwo obutaggwaawo nga osinziira ku muntu omu by’agamba nti OLI BYE YAYOGERA so nga osobola okubiwulira butereevu okuva eri OLI?

Omuntu yenna ayinza atya okukkiriza nti eriyo OBUWEEREZA OBUSINGA KU EKYO EKIRI KU NTAMBI. Bw’oba okkiriza ekyo, oba ng’obadde omatiziddwa ekyo okuyita mu kubaganya ebiriwoozo, kirungi oddeyo ku KIGAMBO NNAKABALA; kubanga ogenda kusalirwa omusango okusinziira ku bigambo ebiri ku ntambi. Sigala n’Ekigambo nga bwe kyayogerwa.

Naye nnabbi ono alijja, era ng’omulangirizi w’okujja okusooka bwe yaleekaana nti, “Laba Omwana gw’endiga wa Katonda, aggyawo ekibi ky’ensi,” era bw’atyo awatali kubuusabuusa ajja kuleekaana nti, “Laba Omwana gw’endiga wa Katonda, ajja mu kitiibwa.” Kino ajja kukikola, kubanga era nga Yokaana bwe yali omubaka w’amazima eri abalonde, bw’atyo n’ono bw’ali omubaka asembayo eri omugole Azaaliddwa-Ekigambo era omulonde.

Ani agenda okutwanjula eri Mukama waffe Yesu? Malayika we omukulu ow’Ekitangaala, William Marrion Branham.

Jjangu obeere Omugole Omuwala Omulongoofu wamu naffe nga tuwulira omubaka malayika we omukulu nga atuleetera Okubikkulirwa okusingawo, Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira Obubaka 60-1207 – “Omulembe Gw’Ekkanisa Y’e Perugamo” .

Owol. Joseph Branham

24-1027 Omulembe Gw’Ekkanisa Ey’OMu Sumuna

Obubaka: 60-1206 Omulembe Gw’Ekkanisa Ey’OMu Sumuna

BranhamTabernacle.org

Omugole Ajjudde Omwoyo Omwagalwa,

Waliwo ekibinja ky’abantu kimu kyokka; ekibinja ky’abantu eky’enjawulo ennyo, abasobola okuwulira Omwoyo ky’Agamba mu mulembe guno ogusembayo. Kye kibiina eky’enjawulo ekifunye Okubikkulirwa kw’omulembe guno. Ekibinja ekyo kya Katonda. Ekibinja ekitasobola kuwulira, si kya Katonda.

Ekibinja ekisobola, era ekiwulira Omwoyo ky’Agamba, kifuna Okubikkulirwa okw’amazima. Ye ffe tulina Omwoyo wa Katonda. Ye ffe abaazaalibwa Katonda ne babatizibwa n’Omwoyo Omutukuvu. Ye ffe Mugole we Ajjudde Omwoyo afunye Okubikkulirwa okw’omulembe gwaffe.

Kitegeeza ki gye tuli okunyiga Zannya? OKUBIKKULIRWA! Kwe kuwulira, okusembeza n’okusigala n’Ekkubo lya Katonda Ly’Ataddewo kulw’olwaleero. Eddoboozi lya Katonda lyenyini nga lyogera kamwa ku kutu eri Omugole we. Ye Mwoyo Omutukuvu nga Ayogera eri emitima gyaffe n’emmeeme zaffe.

Tukimanyi Katonda akozesa abasajja abaafukibwako amafuta n’Omwoyo we okwogera, wabula tewali kifo kirala w’osobola kuwulira Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama  okuggyako okuyita mu Kunyiga Zannya n’okuwulira EDDOBOOZI lya malayika we ow’omusanvu, William Marrion Branham. Lino lye ddoboozi lyokka eryakakasibwa Omwoyo Omutukuvu yennyini obutalekaawo kabuuza. Ye lye Ddoboozi lya Katonda, nnabbi wa Katonda, omusumba wa Katonda, gye tuli, era eri ensi.

Bw’ayogera, tugamba nti AMIINA eri buli Kigambo; kubanga ye Katonda yennyini nga Ayogera naffe. Ekigambo kye kye Kigambo kyokka ekiteetaaga kuvvuunulwa. Ye Katonda nga Akozesa eddoboozi lye okwogera n’Omugole We.

Ye Katonda yennyini nga Atugamba nti, “Abaana bange abato, si mmwe mwaNnonda,wabula Nze eyabalonda. Nga tewannabaawo yadde akatundu k’enfuufu y’emmunyeenye; nga sinnamanyibwa gyemuli nga Katonda wammwe, nnabamanya. Mwali mu Birowoozo byange, nga gyemuli balamu mu Birowoozo byange ebitaggwawo. Muli Mugole Wange ow’Ensigo y’Ekigambo Ekyogere akiragira ddala.

Newankubadde nga mwali mu Birowoozo byange ebitaggwawo, saabateeka mu kikula ekirabikako okutuusa mu ntuuko Yange eyateekateekebwa era eyalagirwa. Kubanga nnali mmanyi nti MMWE mujja kuba kibiina kyange eky’enjawulo ekigenda okusigala n’Ekigambo kyange. Ebirala byonna biremereddwa, naye nnali mmanyi nti temujja kulemererwa.

Nkimanyi nti muyigganyizibwa era musekererwa kubanga musigadde ne nnabbi Wange, naye mmwe Muzabbibu Gwange Ogw’amazima ogutavudde ku kigambo kyaNge, wabula ogusigadde nga gwa mazima era nga mwesigwa eri nnabbi Wange ayogera Ebigambo byange.

Waliwo abalala bangi abayigiriziddwa n’obwesigwa, wabula tebayiga bulijjo oba kyetaagisa kwenkana wa okwogera ebyo byokka bye Njogedde nga mpita mu mubaka WaNge.”

O, nga tulina kubeera beegendereza obwenkanidde awo okuwulira eddoboozi LIMU, kubanga Omwoyo alina eddoboozi limu lyokka eryo nga lye ddoboozi lya Katonda.

Oh, nga kikulu nnyo okuwulira eddoboozi lya Katonda eriyitira mu babaka be, n’oluvannyuma okwogera ebyo ebibaweereddwa okwogera eri ekkanisa.

“Ekigambo kyange bulijjo kizzenga eri nnabbi Wange, naye mu lunaku luno, Nnasiima Eddoboozi Lyange Likwatibwa ku lutambi bwewatyo WALEME KUBANGAWO NSOBI KU bye Nnayogera eri Omugole. Waliwo bbiriji emu yokka, omuggo omugolokofu gumu gwokka, era ogwo kye KIGAMBO kye Nnayogera nga mpita mu malayika waNge. Nga bwe kiri mu buli mulembe, Nabbi wange ye Kigambo eky’olunaku.”

Entambi, Eddoboozi Lye, ye bbaluwa ey’omukwano gye tuli. Nga omulabe atukuba wansi buli kiseera okuyita mu kugezesebwa kwaffe n’ebibonyoobonyo n’emitawaana gyaffe, Yatuma malayika we ow’amaanyi okutugamba nti ekyo si kirala wabula okwagala kwa Katonda okwatulonda gye tuli, ng’Atukakasa nti Yatulonda nga bwe tutajja kuseguka.

Ekigendererwa kye ekinene kiri nti nga tumaze okubonaabona okumala akaseera, Ajja kutufuula abatuukiridde, Atusimbe bunywevu era atugumye. Yatugamba nti ne Mukama waffe Yesu yatuukirizibwa lwa kubonaabona kwe. Nga mukisa nnyo gw’Atulekera. Kubanga nga Ayita mu kubonaabona kwaffe, naffe Ajja kutuyingiza mu butuukirivu.

Ali mu kuzimba empisa zaffe okuyita mu kugezesebwa n’ebibonyoobonyo byaffe. Kubanga empisa zaffe tezikolebwa awatali kubonaabona. Bwe kityo, okubonaabona kwaffe buwanguzi gye tuli, so si kirabo.

Tuyinza tutya okuMukakasa nti tuMwagala?

  • Nga tukkiriza by’Ayogera.
  • Nga tusigala n’Ekigambo kye.
  • Nga tweyisa bulijjo n’essanyu okuyita mu kugezesebwa n’ebibonyoobonyo byaffe, ebyo Ye, mu magezi ge amangi, by’aganya okubaawo.

Engeri gy’Asitula omwoyo gwaffe nga tuwulira Ekigambo kye. Eddoboozi lye libudaabuda emmeeme yaffe. BwetuNyiga Zannya ne tuMuwulira ng’Ayogera, emigugu gyaffe gyonna gitutikkulwa. Tetusobola na kutandika kulowooza ku bya bugagga ebituterekeddwa nga tuyise mu kubonaabona kwaffe kwonna.

Oh, Omugole wa Yesu Kristo, nga nsanyuse nnyo okubeera Omu Ku Bo na buli omu ku mmwe. Essanyu nga lijjuza omutima gwange okumanya nti atuwadde Okubikkulirwa kw’Ekigambo kye. Bw’Atugamba nti kijja kuba kisembereganye nnyo kyandirimbye n’abalonde bennyini oba nga kiyinzika, Atuwadde OKUBIKKULIRWA OKUTUUFU.

Mujje, muyingire mu Mwoyo wamu naffe Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira Ekigambo ekituukiridde :  60-1206 — Omulembe gw’Ekkanisa y’e Sumuna .
   

Owol. Joseph Branham

24-1020 Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso

Obubaka: 65-1205 Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso

BranhamTabernacle.org

Omugole Omutuufu Omwagalwa,

Nga ekiseera kya kitalo kye tulimu ng’Obulamu bwe bukulukutira era nga bukubira entunnuunsi munda mu ffe era okuyita mu ffe, nga butuwa obulamu. Awatali Ye, tewandibaddewo bulamu. Ekigambo kye gwe mukka gwaffe gwennyini.

Mu lunaku luno olubi oluteeka okunenyezebwa olw’ekizikiza, yeffe kibinja kye eky’omulembe ogusembayo ekiyimuseewo; Omugole we omutuufu ow’olunaku olw’oluvannyuma ajja okuwuliriza Omwoyo yekka, Eddoboozi lya Katonda eri olunaku lwaffe.

Nga twagala nnyo okuMuwulira ng’Atugamba nti, “Eri nze, mugeraageranyizibwa ku zaabu omulongoofu akubiddwa. Obutuukirivu bwammwe bwe butuukirivu bwange. Ebikula byammwe bye bikula byange eby’ekitiibwa. Mmwe Mugole Wange Omutuufu omwagalwa.”

Entalo zaffe nga bwe zirabika okuba nga zeeyongera okukaluba buli wiiki, tunyiga bunyizi Zannya okuMuwulira ng’Ayogera naffe mu ngeri empoomu ennyo n’Atugamba nti, “Temweraliikirira, musaanira enjiri Yange. Muli kintu ekirungi era eky’essanyu. Nyumirwa okubalaba nga muwangula omulabe olw’ebigezo byammwe n’okugezesebwa okw’obulamu buno.”

Ndaba okutegana kwammwe okw’okwagala; kwe kuyita okwa waggulu okw’obulamu bwammwe okumpeereza. Namanya nga ensi tennatandikibwawo nti mujja kutegeera malayika Wange ow’amaanyi gwe nnaaba nsindikise okubeera Eddoboozi lyange gyemuli; engeri gye mutalirimbibwa ng’emisege emikambwe gizze ne gibeezingako nga gigezaako okwewozaako nti girina okubikkulirwa okwenkanankana. Mwali temuli ba kuva ku Kigambo kyange, wadde okumala akaseera akatono, WADDE EKIPIMO EKITONO NNYO EKIZIBU OKULABA. Mwali ba kusigala n’Ekigambo kyange, Eddoboozi lyange.

Mwali ba kutegeera nga bwe mbabikkulira Ekigambo kyange engeri Omuzabbibu Ogw’amazima n’omuzabbibu ogw’obulimba egyatandikira mu Lusuku Adeni bwe gyali gigenda okukulira awamu okuyita mu mirembe gyonna.

Buli ekyatandikira mu kkanisa eyasooka bwe kyali kigenda okweyongerayo okuyita mu buli mulembe gwonna. Engeri mu mulembe gw’ekkanisa ogwasooka, omuzabbibu gwa Sitaani ogw’obulimba gye gwali gujja okutandika okusenserra okuyingira mu, n’okuwangula ekibiina (abagoberezi) okukyeddiza nga gukozesa omwoyo gwagwo ogw’ekinikolayiti . Naye nga bwennyumirwa nti ggwe wekka , Omugole Wange omulonde, ggwe atajja kulimbibwa.

Wiiki eno, nja kunaazaawo buli kubuzaabuza kwonna okwetoolodde Ekigambo kyange mu mmwe nga mbikkula ekyama ekikulu eky’ensigo y’omusota. Ŋŋenda kubabikkulira mu buli bulambulukufu bwonna ekyaliwo mu lusuku Adeni; engeri Sitaani gye yatabula olulyo lwe mu lulyo lw’omuntu.

Kijja kuba kirowoozo ekibudaabuda omutima ennyo kityo bwe mukitegeera nti Nze, Omuti gw’Obulamu mu Lusuku Adeni, ogwali gutatuukikako okutuusa kati olw’okugwa kwa Adamu, kati gubaweereddwa mmwe, abawanguzi baNge.

Eno y’ejja okuba empeera yammwe. Nja kubawa omukisa ogw’olusuku lwa Katonda; okussanga ekimu nange buli kiseera. Temulyawukanyizibwa nange. Gye ηηenda, ggwe, Omugole Wange gy’onoogenda. EkyaNge, nja kukigabana naawe, omwagalwa waNge.

Engeri emitima gyaffe gye gitukubira okumu-kumu munda mu ffe nga tusoma ebigambo bino. Tukimanyi nti okutuukirira kw’ebisuubizo bye kusembera mangu, era kumpi tetusobola kulinda. Ka twanguye okugondera Ekigambo kye era bwe tutyo tulage nti tusaanidde okugabana ekitiibwa kyE.

Njagala okubawenyeza okujja okutwegattako nga tweyongerayo n’okuyiga kwaffe okukulu okw’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu, Katonda gy’Atubikkulira Ekigambo kye nga Akozesa Ekkubo lyE lye Yatuwa, omubaka we malayika ow’omusanvu.

Owol. Joseph Branham

Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda).
60-1205 Omulembe gw’Ekkanisa y’e Efeso

24-1013 Okwolesebwa okw’e Patumo

Obubaka: 60-1204E Okwolesebwa okw’e Patumo

BranhamTabernacle.org

Omugole w’Ekigambo Ekituukiridde Omwagalwa,

Kiki ekigenda mu maaso mu Mugole okwetoloola ensi yonna? Tuli mu kuyingira mu Mwoyo, nga tusituka ne tuleekaana nti, “Ekitiibwa! Aleruuya! Mukama Atenderezebwe !” Katonda ali mu kutusitulira mu ssanyu eppitirivu era nga Abikkula Ekigambo kye eri Omugole we.

Ebintu bye tusomye ne bye tuwulidde mu bulamu bwaffe bwonna kati biri mu kwolesebwa. Okuweebwa obulamu okw’ekitalo kaakano kugenda mu maaso. Tuli mu kwakibwako Ekitangaala ky’Ekigambo nga bwe kitabangawo.

Tukiwulira mu buziba bwennyini obw’emmeeme zaffe. Waliwo eky’enjawulo, waliwo ekigenda mu maaso. Tuwulira Omwoyo Omutukuvu ng’Atufukako amafuta, ng’Ajjuza emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe n’ekigambo kye.

Tusobola okuMuwulira ng’Ayogera naffe: Nkimanyi nti omulabe abalwanyisa nga bwe kitabangawo, naye temutya mmwe abato, MULI BANGE. Mbawa okwagala kwange, obuvumu bwange n’obusobozi bwange. Mwogere bwogezi Ekigambo, era nja kukikola. Ndi nammwe bulijjo.

Mu kuyiga kwaffe okw’ekitalo okw’Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, tuli wansi w’okusuubira okw’amaanyi buli wiiki ku by’Agenda okuddako okutubikkulira. Ekigambo kye kye kiddukiro kyaffe kyokka, emirembe gyaffe n’okubudaabudibwa kwaffe. Tuwuliriza muddiriŋŋanwa ng’abasuubira okubaako kyetufuna emirundi n’emirundi n’emirundi. Buli katundu ke tusoma, twagala okukuba enduulu tuleekaane ng’Ekigambo bwekyanjuluzibwa mu maaso gaffe. Okukkiriza okw’Okukwakkulibwa kuli mu kujja ku Mugole, nga kujjuza emmeeme gyaffe

Teebereza, tewali kifo kirala mu nsi gy’osobola kugenda, wabula awo ku ntoli z’engalo zo, okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera naawe era nga Libikkula Ekigambo kye.

Engeri Katonda gye Yaggyawo olutimbe, n’Alusika n’Aluzza emabega, n’Aganya Yokaana okutunula munda alabe kiki buli mulembe gw’ekkanisa kye gwali gugenda okukola, n’aKiwandiika mu Kitabo n’aKituweereza. Olwo, okutuukirira kw’ebiro bwe kwatuuka, Katonda Yatutumira malayika we ow’amaanyi ow’omusanvu okuKyogera, n’okubikkula byonna bye Kyali Kitegeeza.

Yokaana yawandiika bye yalaba, naye nga tamanyi makulu gaabyo. Yesu n’okukimanya teyakimanya bwe yali wano ku nsi. Tewali muntu yenna mu mirembe gyonna yali amanyi, okutuusa leero, mu kiseera kino, abantu bano, FFE, Omugole We.

Engeri gye Yatubikkulira nti ettabaaza ezo omusanvu zaali zisaka obulamu n’ekitangaala okuva mu nsako z’ekibya ekikulu. Yatubuulira engeri buli emu ku zzo bwe yalina olutambi lwayo nga lunnyikiddwa munda omwo. Buli mubaka w’omulembe gw’ekkanisa yali ku muliro gw’Omwoyo Omutukuvu ng’olutambi lwe lunnyikiddwa ne lubbira mu Kristo, nga asaka obulamu bwa Kristo bwennyini  n’okumulisa Ekitangaala ekyo eri ekkanisa. Era kaakano, omubaka waffe ow’olunaku olw’oluvannyuma, asingayo mu babaka bonna, yalina obulamu bwe bumu n’Ekitangaala kye kimu nga byolesebwa obulamu obwali bukwekeddwa ne Kristo mu Katonda.

Awo malayika waffe ow’amaanyi n’atugamba nti awo buli mubaka teyakiikirirwa bukiikirirwa kyokka, WABULA BULI OMU KU FFE NAYE YAKIIKIRIRWA, abakkiriza ba Katonda ab’amazima . Buli omu ku ffe naye akiikiriddwa eyo mu ngeri ey’ekifaananyi. Buli omu ku ffe asaka okuva mu nsibuko y’emu nga ababaka. Ffenna tunnyikiddwa mu kibya kyekimu. Tufudde eri ffe fennyini era obulamu BWAFFE bukwekeddwa ne, ne mu, Kristo Yesu Mukama waffe.

Engeri gy’Atuzzaamu amaanyi ng’Agamba nti tewali muntu ayinza kutukuulayo mu Mukono gwa Katonda. Obulamu bwaffe tebusobola kwerijjirwako. Obulamu bwaffe obulabika bwaka era bumulisa, nga buwa ekitangaala n’okwolesebwa kw’Omwoyo Omutukuvu. Obulamu bwaffe obw’omunda, obutalabika bukwekeddwa mu Katonda era nga buliisibwa Ekigambo kya Mukama.

Entalo nkambwe. Omulabe ataamye nga bwe kitabangawo, ng’agezaako nga bw’asobola okutumalamu amaanyi, okutukuba okutussa wansi, naye tasobola kukikola. Katonda Mwene ayogera naffe ng’Ayita mu mimwa omuntu ow’oku nsi n’Atugamba nti, FFE MUGOLE WE, GWE YALONDA, era Kiwangula sitaani BULI KISEERA.

Mukama waffe Omutuukirivu, ng’Ayogera Ekigambo kye Ekituukirivu, ng’Awa Emirembe Egituukiridde, eri Omugole We Atuukiridde.

Nga bulijjo, tuyita ensi okujja okunnyika ettabaaza zaabwe mu KIBYA EKIKULU, Obubaka buno, obwaterekebwa mu ggwanika ly’Emmere era ne bukuumibwa mu mbeera yabwo y’emu ku lw’Omugole. Tujja kuba tukuba enduulu n’okuleekaana ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera n’okubikkula ebyabaawo mu: Okwolesebwa Okw’e Patumo 60-1204E.

Owol. Joseph Branham

24-1006 Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo

Obubaka: 60-1204M Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo

BranhamTabernacle.org

Eggye lya Katonda Eritawangulwa Abaagalwa,

Ye ffe Kitaffe b’Alonze era b’Awadde OKUBIKULIRWA OKW’AMAZIMA okwa Ye Mwene; EKKANISA ye emu era yokka EY’AMAZIMA. Abo b’Alonze okukola EMIRIMU GYE EGISINGA GIRI OBUNENE. Kubanga olw’Omwoyo Gwe, tusobola okutegeera n’okuziyiza omwoyo gwa Sitaani ogw’omulabe wa Kristo. TALINA MAANYI mu maaso ga FFE, kubanga ye ffe Eggye Lye Eritawangulwa .

Sitaani akyawa okubikkulirwa kwonna, NAYE TUKWAGALA; kubanga ye ffe abaagala Ekigambo kya Katonda ekyabikkulirwa. Nga tulina Okubikkulirwa kwe okwa nnamaddala mu bulamu bwaffe, emiryango gy’emagombe tegiyinza kutuwangula; tuwangula omulabe. Buli sitaani ali wansi wa bigere byaffe. Tuli Bumu naye era tusobola okwogera Ekigambo, kubanga tuli Kigambo kye.

Mukama Akitadde ku mutima gwange okusoma n’okuwulira Emirembe Gy’Ekkanisa Omusanvu. Zigenda kubeera Sabbiiti za makulu nnyo nanteerabirwa eri buli omu ku ffe. Ajja kuba Atubikkulira Ekigambo Kye nga bwe kitabangawo, olw’amaanyi ge Agafuga.

Kaakano kye kiseera. Zino z’entuuko. Ajja kuba Atuwa obulamu, nga Atuzzaamu amaanyi, nga Atuwa Okucamuka okuleetebwa Okubikkulirwa, era Kijja kuteeka emmeeme zaffe ku muliro!!

Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Kitabo kya bunnabbi ekiyinza okutegeerwa ekibiina ky’abantu ekimu kyokka abalina okutegeera okw’obuzibako okw’obunnabbi, FFE, Omugole We. Kyetaaga Okubikkulirwa OKW’AMAZIMA okumanya nti osoma era owulira Eddoboozi lya Katonda eriva mu mubaka We malayika omulonde, nga Lituwa okulagirirwa okusukkulumye ku maanyi g’obutonde.

Kwe Kubikkulirwa kwa Yesu Kristo okwaweebwa Yokaana olw’Abakristaayo ab’emirembe gyonna. Kye kitabo kyokka mu Baibuli yonna ekyawandiikibwa Yesu yennyini, ng’Ayita mu kulabikira omuwandiisi mu buntu.

Okubikkulirwa 1:1-2, “Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu: n’abuulirira mu malayika we ng’amutuma eri omuddu we Yokaana: Eyategeeza ekigambo kya Katonda n’okutegeeza kwa Yesu Kristo, byonna bye yalaba.

Ekitabo ky’Okubikkulirwa bye birowoozo bya Katonda byennyini nga biwandiikiddwa Katonda Mwene. Naye Yatuma n’Akitegeeza omuddu we Yokaana nga Akozesa malayika We. Yokaana teyamanya makulu gaaKyo; yawandiika buwandiisi byeyalaba n’ebyo bye yawulira.

Naye leero, Katonda yasindika malayika we ow’amaanyi ku nsi okubikkula Okubikkulirwa kuno okukulu eri Omugole we, tusobole okusoma n’okuwulira ebyabaawo mu mirembe gy’ekkanisa gyonna. Tusobola okulaba ekisibo kye ekitono abaasigala nga ba mazima era nga beesigwa eri Ekigambo mu buli mulembe.

Katonda Yayogera ng’Ayita mu malayika We n’Agamba nti mu nnaku zino ez’oluvannyuma, Eddoboozi ly’omubaka We ow’omulembe gw’ekkanisa ogw’omusanvu bwe Linaatandika okuvuga, Ajja kubikkula ebyama bya Katonda nga bwe byabikkulwa Pawulo. Abo abasembeza nnabbi oyo mu linnya lye bajja kufuna omugano oguva mu buweereza bwa nnabbi oyo.

Ekitiibwa, ye ffe Mugole wa Katonda Annyiga Zannya oyo asembezza nnabbi oyo mu linnya lye, era nga tuli mu kufuna omugano ogwo. Tukkiriza nti lye Ddoboozi lya Katonda nga Lyogera era nga Likulembera Omugole we.

Oh Ekkanisa, byetugenda okusoma n’okuwulira mu wiiki zino ezijja. Eri Ye, tuli abo b’Ageraageranya ku zaabu OMULONGOOFUI. Ky’Ali, kye tuli. Ye ffe Muzabbibu Gwe Omutuufu. Tuwangudde. Tutuukirizibbwa, tusimbye amakanda, tunywezeddwa. Twalondebwa Okwagala Kwe okw’Okulondebwawo. Mpaawo kya kutya. Ye ffe kibiina ekyawulira omubaka n’Obubaka bwe ne tubutwala era ne tubuwangaalirako.

Buli wiiki tujja kuba tugamba nti, “Omutima gwaffe tegututyemuka munda yaffe nga bw’Ayogera n’okutubikkulira Ekigambo Kye mu kkubo”.

Bw’oba oyagala okuwulira okufukibwako amafuta kw’Omwoyo we Omutukuvu, ofune Okubikkulirwa kw’Ekigambo kya Katonda okusingawo, era nga oyagala okutuula mu maaso g’Omwana oyengere, era ofune Okuyimusibwa okw’amaanyi ennyo mu Kukkiriza, jangu otwegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda) , nga tutandika okusoma kwaffe okukulu:  Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo 60-1204M .

Owol. Joseph Branham

Njagala okubakubiriza okuwulira, oba okusoma, buli wiiki okuva mu Kitabo ky’Emirembe gy’Ekkanisa , essuula gye tuba tuwulidde buli Ssande.

24-0929 Ekisumuluzo Ky’Oluggi

Obubaka: 62-1007 Ekisumuluzo Ky’Oluggi

PDF

BranhamTabernacle.org

Abakutte Ebisumuluzo by’Okukkiriza Abaagalwa,

 “Nze Omulyango oguyingira mu kisibo ky’endiga. Nze Ekkubo, Ekkubo lyokka, Amazima, n’Obulamu, era tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze. Nze Omulyango oguyingira eri ebintu byonna, n’okukkiriza kye kisumuluzo ekisumulula Omulyango ogwo ggwe osobole okuyingira.”

Waliwo omukono gumu gwokka ogusobola okukwata ekisumuluzo kino, era ogwo gwe mukono gw’OKUKKIRIZA. OKUKKIRIZA kye kisumuluzo kyokka ekisumulula ebisuubizo bya Katonda byonna. OKUKKIRIZA mu mulimu gwE oguwedde kusumulula buli mulyango eri buli kya bugagga ekiri munda mu Bwakabaka bwa Katonda. OKUKKIRIZA kye Kisumuluzo kya Katonda kiri ki Muggula-buli-kinyolo ekisumulula BULI LUJJI LW’OMUGOLE WE era Tukutte Ekisumuluzo ekyo mu MUKONO gwaffe OGW’OKUKKIRIZA.

Ekisumuluzo ekyo eky’okukkiriza kiri mu mitima gyaffe, era tugamba nti, “Kye Kigambo kya Katonda; By’ebisuubizo bya Katonda gye tuli, era ffe tukutte ekisumuluzo”. Era awo, na buli katundu k’okukkiriza ke tulina, nga tetubuusabuusa yadde akatundu akamu, tusumulula buli mulyango oguyimiridde wakati waffe n’emikisa Katonda gy’Atutegekedde. Kuzikiza effujjo ly’omuliro. Kusumulula okuwonya eri abalwadde. Kusumulula obulokozi bwaffe. Tutuuse ku Mulyango era kyonna kye tukola mu kigambo oba mu bikolwa, byonna tubikola mu Linnya Lye, nga tumanyi nti tulina ekisumuluzo ky’okukkiriza; era nga kisumuluzo ekikoleddwa mu Byawandiikibwa.

Tetufaayo ku muntu yenna ky’alowooza, waliwo ekintu kimu ekikakafu: Katonda Yatuyita FFE, Yatutegekerawo FFE, Yatubikkulira Ekigambo kye FFE, N’Atubuulira kye tuli, era tuli bamalirivu okugoberera Ekigambo kye, kubanga Atuyise okubeera Omugole We.

Kitaffe yakwata emmunyeenye ze omusanvu, ababaka be omusanvu, abatumibwa eri emirembe omusanvu mu mukono Gwe. Abakutte mu mukono Gwe, bwe batyo bakwatagana n’amaanyi ge. Ekyo omukono kye gutegeeza. Kitegeeza amaanyi ga Katonda! N’obuyinza bwa Katonda.

Tukutte Ekigambo kye mu mukono gwaffe ogw’Okukkiriza, ekitegeeza nti amaanyi n’obuyinza bwa Katonda buli mu MIKONO GYAFFE era Atuwadde EKISUMULUZO okusumulula buli mulyango ku buli kimu kye twetaaga. Kye Kisumuluzo Mukama wa buli lujji ekigenda okusumulula BULI LUJJI.

Kaakano mmanyi lwaki Katonda Yatuwa engalo 5 mu buli mukono; si 4, si 6, wabula 5, kibe nti buli lwe tunatunuulira emikono gyaffe tujja kujjukira, tulina OKUKKIRIZA okusumulula buli luggi.

Kabonero ak’olubeerera eri olulyo lw’omuntu bwetutyo tulemenga okwerabira; bulijjo tujjukirenga era tufunenga obuvumu, nti OKUKKIRIZA okwo tukukutte mu mikono gyaffe. Era Ajja kukuza okukkiriza kwaffe okw’akasigo ka kalidaali era Atuwe OKUKKIRIZA KWE OKW’EKITALO MU KIGAMBO KYE EKITALEMERERWA, EKISIGALAWO LUBEERERA EKITALIREMERERWA!!!

Tusobola okuwanika emikono gyaffe nga gitunudde eri Eggulu, ne twanjuluza engalo zaffe 5 ku buli mukono ne tuMugamba nti, “Kitaffe, tukkiriza era tulina OKUKKIRIZA mu buli Kigambo kyeWayogera. Kye Kisuubizo Kyo, Ekigambo Kyo, era Ojja kutuwa OKUKKIRIZA KWE TWETAAGA singa tunakkiriza bukkiriza….era TUKKIRIZA.”

Nga bwetutajja kuba na Lukuŋŋaana lwaffe Olw’Okussa Ekimu okutuusa ku Ssande akawungeezi, njagala okubakubiriza okulondawo Obubaka bwemugenda okuwulira n’Ekkanisa yammwe, ab’omu maka gammwe, oba ssekinnoomu, ku Ssande ku makya, mu kiseera ekikusaanira. Mazima ddala tewali ngeri ndala esinga ey’okwekenneenyaamu Okukkiriza kwaffe esinga ku kuwulira Ekigambo; kubanga OKUKKIRIZA kujja na kuwulira, okuwulira Ekigambo, n’Ekigambo kyajja eri nnabbi.

Olwo ffenna twegatte wamu ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi. (mu budde obw’omu kitundu ky’olimu) okuwuliriza Obubaka, 62-1007 Ekisumuluzo Ky’Olujji. Nga bwe kyalangiddwa, nnandyagadde okufuula luno Olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’Okussa Ekimu, olugenda okuzannyibwa ku Voyisi Leediyo ku ssaawa 5:00 11:00 (kkumi n’emu)  ez’omu kawungeezi (mu budde bwe Jeffersonville, z’essaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttumbi e Uganda). Osobola okuwanula n’okuzannya olukuŋŋaana luno mu Lungereza oba ennimi endala ng’onyiga wano: MUKUTU GUNO.

Okufaananako n’enkuŋŋaana endala ez’Okussa Ekimu Okw’Awaka eziyise, ku nkomerero y’olutambi Ow’oluganda Branham ajja kusabira omugaati ne wayini. Wajja kubaawo ennyimba ezikubibwa ennanga okumala eddakiika eziwerako okubasobozesa mwenna okumaliriza ekitundu ky’Olukuŋŋaana eky’Okussa Ekimu. Olwo, Ow’oluganda Branham ajja kusoma Ebyawandiikibwa ebikwata ku kunaaza ebigere, era Ennyimba z’Enjiri zijja kugoberera okusoma kwe okumala eddakiika eziwerako, okubasobozesa mwenna okumaliriza ekitundu ky’Olukuŋŋaana eky’okunaaza ebigere.

Nga mukisa nnyo gwe tulina okuyita Mukama waffe Yesu okulya na buli omu ku ffe mu maka gaffe, mu makanisa gaffe, oba wonna w’oli. Munsabire bwe muba mwogerako naye, nga nange ddala bwe njija okuba nga mbasabira.

Katonda abawe omukisa,

Ow’oluganda Joseph Branham

Okussa Ekimu n’Okunaaza Ebigere

Ab’oluganda ne bannyinaffe, .

Njagala tubeere n’olukuŋŋaana olulala olw’Okussa Ekimu n’Okunaaza Ebigere Ssande eno Omwezi Ogw’Omwenda Ennaku Z’Omwezi 29, Mukama nga Ayagadde. Nga bwetukozenga emabega, mbakubiriza okutandika ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi mu budde obw’omu kitundu kye mulimu. Newankubadde nga Ow’oluganda Branham yagamba nti abatume buli lwe baakuŋŋaananga awamu baalyanga Okussa Ekimu, yasinganga kwagala kukukolanga mu budde obw’akawungeezi, era yakuyitanga Ekyeggulo kya Mukama waffe.

Obubaka n’olukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu bijja kubaayo ku Voyisi leediyo, era wagenda kubaawo n’omukutu oguwanulwako olutambi ku lw’abo abatasobola kuba na muggukiro ku  Voyisi leediyo ku Ssande akawungeezi.

Ku lw’abakkiriza mu kitundu kya Jeffersonville, tujja kuddamu okuba ne wayini w’ Okussa Ekimu gw’oyinza okucima. Ekirango kigenda kufuluma mu bbanga ttono nga kiraga ekifo, olunaku n’essaawa.

Mazima ndi wansi w’okusuubira okulaba nga tutuukiriza ekiragiro kino ery’omuwendo Mukama waffe kye Yatulekera. Nga mukisa nnyo gye tuli okuteekateeka amaka gaffe n’okuggulawo emitima gyaffe Kabaka wa Bakabaka okuyingira n’okulya naffe ku Meeza ye.

Katonda abawe omukisa,

Ow’oluganda Yusufu

https://branhamtabernacle.org/en/bt/a9/109403/1f35

Ebiragiro by’okufumba omugaati / okukola wayini

https://branhamtabernacle.org/en/articles/view/1212021_InstructionsForBakingBreadMakingWine

Ebiragiro by’okufuna Wayini w’Okussa Ekimu / Obutaasa obw’Okunaaza Ebigere

https://branhamtabernacle.org/en/articles/view/1212021_InstructionsToObtainCommunionWineFeetWashingBins

24-0922 Olusuku Adeni Olwa Ssitaani

Obubaka: 65-0829 Olusuku Adeni Olwa Ssitaani

PDF

BranhamTabernacle.org

Ekikula Kya Katonda Ekyagalwa,

Tuli kikula kyennyini ekya Kitaffe ow’omu Ggulu; kubanga twali mu Ye ku lubereberye. Tetukijjukira kati, naye twaliyo eyo naYe, era Yatumanya. Yatwagala nnyo okukamala bw’Atyo n’Atufuula omubiri, Asobole okuwuliziganyanga naffe, okwogera naffe, n’okutusikako mu ngalo Atusikeko.

Naye Sitaani yajja agoberera n’akyusakyusa Ekigambo kya Katonda ekyasooka, Obwakabaka bwe, n’enteekateeka Ye ku lwaffe. Yakyusakyusa abasajja n’abakazi n’aba n’obuwanguzi mu kukyamya n’okweddiza ensi eno gye tulimu. Afudde ensi obwakabaka bwe, olusuku Adeni lwe.

Kye kiseera ekisinga okuba ekiwuddiisa obusimu bw’omubiri ate ekitateeberezeka mu ngeri ey’obulabe ekyali kibaddewo. Sitaani ateze buli katego ak’obulimba obw’ekikugu k’asobola; kubanga ye ye mulimba oli omukulu. Omukristaayo alina okwongera okubeera bulindaala leero okusinga bwe yali abadde mu mulembe omulala gwonna.

Naye mu kiseera kye kimu, kye kisinga ekitiibwa mu mirembe gyonna, kubanga twolekaganye obwenyi n’Emyaka Olukumi egy’ekitalo. Olusuku Adeni lwaffe olwa lunaatera okujja, gye tujja okuba n’okwagala okutuukiridde n’okutegeera okutuukiridde okw’okwagala kwa Katonda. Tujja kuba balamu era nga tutebenkedde naye mu Adeni yaffe obutaggwawo bwonna.

Yesu Yatugamba mu Matayo 24 engeri gye tulina okwegendereza mu lunaku luno. Yatulabula nti lujja kuba lunaku olusinga okuwuddiisa obusimu bw’omubiri olwali lubaddewo, “nga bisembereganye nnyo okutuusa okulimba Abalonde ba Katonda bennyini oba nga kiyinzika”; kubanga obulimba bwa sitaani obw’ekikugu bujja kuleetera abantu okukkiriza nti Bakristaayo, kyokka nga tebali.

Naye omulembe guno era gwa kuvaamu Omugole Ekigambo We omulongoofu ataayinzike, era atandibaddeko na w’osobola kulimbibwa; kubanga ba kusigala n’Ekigambo kye ekyasooka.

Okufaananako Yoswa ne Kalebu, Ensi yaffe Ensuubize etandise okujja wetugikubirako emmunye nga eyabwe bweyali. Nabbi waffe yagamba nti Yoswa kitegeeza, “Yakuwa-Omulokozi”. Yakiikirira omukulembeze ow’ekiseera eky’enkomerero  eyali agenda okujja eri kkanisa, era nga Pawulo bwe yajja ng’omukulembeze eyasooka.

Kalebu yali akiikirira abo abaasigala nga ba mazima ne Yoswa. Okufaananako n’abaana ba Isirayiri, Katonda yabasimbula nga embeerera n’Ekigambo kye; naye baayagalayo ekintu eky’enjawulo. Nabbi waffe yagamba nti, “bw’etyo bw’ekola, n’ekkanisa eno ey’olunaku olw’enkomerero.” Kale, Katonda teYaganya Isiraeri kugenda mu nsi ensuubize okutuusa lwe kyatuuka ekiseera kye ye kennyini kye Yateekateeka edda.

Abantu bassa akazito ku Yoswa, omukulembeze waabwe Katonda gwe Yabawa, ne bagamba nti, “Ensi yaffe, tugende tugitwale. Yoswa, oyiseeko, oteekwa okuba nga oggiddwako okutumibwa kwo. Tokyalina maanyi ge wabanga nago. Wawuliranga okuva eri Katonda n’omanya okwagala kwa Katonda, n’okolerawo bunnambiro. Waliwo ekikyamu ekikuliko.”

Yoswa yali nnabbi Katonda gwe Yeetumira, era yali amanyi ebisuubizo bya Katonda. Nabbi waffe yatugamba nti:

“ Katonda yateeka obukulembeze obujjuvu mu mikono gya Yoswa kubanga yali asigadde n’Ekigambo. Katonda yali asobola okwesiga Yoswa, naye n’Ateesiga bali abalala. Kale kijja kuddiŋŋana mu lunaku luno olw’enkomerero. Ekizibu kye kimu, okussibwako akazito akatali kamu kwe kumu”.

Ddala nga Katonda bwe Yakola ne Yoswa, yateeka OBUKULEMBEZE OBUJJUVU mu mikono gya malayika we nnabbi, William Marrion Branham; kubanga yali akimanyi nti asobola okumwesiga, naye n’Ateesiga bali abalala. Waali wateekwa okubaawo Eddoboozi Limu, Omukulembeze Omu, Ekigambo Eky’enkomeredde Kimu, luli, era ne KATI.

Njagala nnyo engeri nnabbi gye yatugamba nti wajja kubaawo enkumi emirundi enkumi ezigenda okuwulira entambi. Yagamba nti entambi BUWEEREZA obuli awo. Wajja kubaawo abamu ku ffe abajja okuyiringitira mu maka agatali gamu ne mu masinzizo nga tulina olutambi (obuweereza bwe) okulobayo Ensigo Ya Katonda eyategekerwawo.

Bwe twakomawo ne tugamba nti, Mukama, tugondedde ebiragiro byo, era waliwo abantu be twasanze bwe twazannye entambi abakkirizza. Kaakati ekyo tukibuulidde, okwetoloola ensi yonna, Onookissaamu ekitiibwa?

Ajja kugamba nti: “Ekyo kye nnabatuma okukola.”

Katonda ajja kukissaamu ekitiibwa. Ennyumba yo terinyeenyezebwa kugwa wansi. Katonda bw’Anatowa wooda okusaanyaawo ekintu kyonna, ab’omu maka go bonna, eby’obwa nnannyini byo byonna, bijja kuba bitebenkedde ntende mu nnyumba yo. Osobola okuyimirira awo. Tekikwetaagiza kutunula mu ddirisa, Nyiga bunyizi Zannya ng’olutalo lunyinyiitira.

Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n’ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n’okusanyuka kw’omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda ow’eggye.

Mbayita okujja okutwegattako nga tulya obuweereza bwa Katonda obukulu, obulamu obuliwo kati, obw’ekiseera eky’enkomerero, Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira byonna ebikwata ku: Olusuku Adeni olwa Sitaani 65-0829 .

Leka tubeerewo okutuusa Okujja kwa Mukama, bwe kiba kisoboka. Leka tukole buli kimu kyonna kye tusobola, mu kwagala n’okulumirirwa, nga tumanyi nti Katonda anoonya mu nsi yonna, mu nnaku zino, nga anoonya buli ndiga eyabula. Era leka twogere gye bali n’essaala erungiddwamu okwagala n’Ekigambo kya Katonda, tusobole okuzuula oyo asembayo, tusobole okudda Eka, tulyoke tuve mu lusuku luno Adeni olukadde olwa Ssitaani wano, Mukama.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

2 Timoseewo 3:1-9
Okubikkulirwa 3:14
2 Abasessaloniika 2:1-4
Isaaya 14:12-14
Matayo 24:24

24-0915 Akasengejja K’omuntu Alowooza

Obubaka: 65-0822E Akasengejja K’omuntu Alowooza

BranhamTabernacle.org

Mukyala Yesu Kristo Omwagalwa,

Omwoyo wa Katonda omulamu, ssa omukka ogw’obulamu gutuyitemu. Leka tutwale Akasengejja Ko era tuwangaalire wansi waaKo, Mukama. Ssa empewo ensu ey’Omwoyo Omutukuvu eyite mu mawuggwe gaffe ne mu mmeeme zaffe buli lunaku. Kigambo Kyo kyokka kye kisobola okutubeezawo; buli Kigambo ekiva mu kamwa Ko olw’omulembe guno gwe tulimu.

Tulozezzaako ku bintu Byo eby’omu Ggulu era tulina Ekigambo kyo mu mitima gyaffe. Tulabye Ekigambo Kyo nga kyolesebwa mu maaso gaffe, era emmeeme yaffe yonna ezingiddwa mu Kyo. Ensi eno, n’ebintu byonna eby’Ensi bifu gye tuli.

Yeffe Ekigambo empeke ey’obulamu ekyali mu Ggwe okuva ku lubereberye, nga tuyimiridde wano, nga tusaka Obulamu Bwo obw’ensigo. Ensigo yo eri mu mitima gyaffe olw’okumanyirawo kwo. Watutegekerawo okuba nga tusaka okuva mu mpawo kirala kyonna, wabula Ekigambo Kyo, Eddoboozi Lyo, ku ntambi.

Omulembe ogw’eriiso gutuuse; tewali kisigadde okuggyako Okujja Kwo ku lw’Omugole Wo. Akasengejja kaffe kye Kigambo Kyo, Malaki 4, Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama.

Leka tusimbe Ekigambo Kyo mu mitima gyaffe, era tumalirire nti tetujja kukyuka kudda ku mukono ogwa ddyo oba ku mukono ogwa kkono, wabula tubeere ba mazima eri Kyo ennaku zonna ez’obulamu bwaffe. Kitange, tusindikire Omwoyo Omutukuvu oyo ow’Obulamu, era Ekigambo kyo okifuule ekiramu gye tuli, tulyoke tusobole okukwolesa Ggwe.

Okuyaayaana kw’emitima gyaffe kwe kubeera batabani ne bawala bo ab’amazima gy’oli. Tutudde mu maaso g’Eddoboozi Lyo, nga twengera, nga twetegekera Ekyeggulo eky’Embaga yaffe Ey’Obugole naaWe ebindabinda.

Amawanga gasasika. Ensi eri mu kusensebuka emmizi. Musisi ow’omuddiriŋŋanwa nga ali mu kukankanya California nga bwe Watugamba nti bwe kiriba. Tumanyi mangu nnyo ekitundu-ttundu ku yo ekiwera mayiro lukumi mu bitaano; obugazi bwa mayiro ebikumi bisatu oba bina, kigenda kubbira, oba oli awo mayiro amakumi ana okukka wansi mu lwatika olwo olunene oluli ku ludda lw’eyo. Amayengo g’ekinankano ekyo gajja kuyuuguumya okuyitamu wonna ttegereza ppaka mu ssaza ly’e Kentucky, era bwe ganaakikola, gajja kukankanya nnyo ensi okutuusa buli kimu ekiri waggulu waayo we kirinyeenyezebwa ne kigwa wansi.

Okulabula kwo okusembayo kuli mu kufuluma nga kuyitamu. Ensi eri mu kavuyo keereere, naye ebbanga lino lyonna Omugole Wo awummulidde mu Ggwe n’Ekigambo Kyo, nga batudde wamu mu bifo eby’omu ggulu nga bw’Oyogera naffe, n’Okutubudaabuda nga bwe tutambula mu kkubo.

Nga tweyanzeege nnyo, Kitaffe, nti tusobola okumala ga “Nyiga Zannya” ne tuwulira Eddoboozi lyo nga Liitugamba, ne Lituzzaamu amaanyi n’okutugamba nti:

Temutya mmwe Ekisibo ekitono. Byonna bye ndi, nammwe muli basika baabyo. Amaanyi gange gonna gammwe. Obuyinza bwange obuyinza byonna bwammwe nga bwe nnyimiridde mu masekkati gammwe. Sizze kuleeta kutya na kulemererwa, wabula okwagala n’obuvumu n’obusobozi. Amaanyi gonna gaMpeereddwa era gammwe okugakozesa. Mwogere Ekigambo nange nja kukikola . Eyo ye ndagaano yange era teyinza kulemererwa.”

Oh Kitaffe, tetulina KINTU KYONNA kyetutya. Otuwadde okwagala Kwo, obuvumu n’obusobozi Bwo. Ekigambo kyo kiri mu ffe okuKikozesa we tukyetaagira. TuKyogera, era Ggwe ojja kuKikola. Ye ndagaano Yo, era TOSOBOLA KULEMEREMWA.

Ebigambo ebiva mu mubiri ogufa tebisobola kutegeeza ngeri gye tuwuliramu, Kitange, naye tukimanyi nti Olaba okuyitamu okutuuka mu mitima gyaffe ne mu mmeeme zaffe; kubanga tuli kitundu ku Ggwe.

Nga tweyanzeege nnyo nti Otaddewo ekkubo ensi okusobola okuwulira Eddoboozi lyo mu kiseera kino eky’enkomerero. Buli wiiki, Oyita ensi okujja okukyegattamu okuwulira malayika wo omubaka nga Bw’Otuliisa Emmere y’Endiga ebadde eterekeddwa okutubeezaawo okutuusa lw’Onookomawo okutucima.

Tukwagala Kitaffe.

Owol. Joseph Branham

Obubaka: 65-0822E Akasengejja K’Omuntu Alowooza


Obudde: Ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda)

Ebyawandiikibwa: Okubala 19:9 / Abeefeso 5:22-26