23-0716 Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu

Obubaka: 63-0317E Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu

BranhamTabernacle.org

Amalanga G’oku Mazzi Amato Abaagalwa,

Twesindise okutuuka waggulu ku mazzi ag’ettosi ne twanjuluza ebiwaawaatiro byaffe. Ebimuli byaffe ebitonotono bifulumyeyo era kati birabibwamu Eddanga Ery’omu Kiwonvu eryo. Tuwaddeyo obulamu bwaffe mu bujjuvu eri Katonda n’Ekigambo kye.

Tuli mu kiseera eky’enkomerero era tuva Ebuvanjuba n’Ebugwanjuba, mu Bukiikakkono n’Obukiikaddyo, nga twetegekera Okukwakkulibwa okwo. Tukyenywerezza kuli obutasagaasagana okumala eddakiika entonotono okutuusa nga buli kaayi k’omubiri kajjudde Omwoyo Omutukuvu. Tuli mu kwetegekera KWAMBUKA.

Olunaku lutuuse. Ali mu kuyita abantu be okujja awamu gy’Ali mu bumu obwannamaddala ne Ye Mwene. Ye Yesu Kristo nga Awangaalira n’Omwoyo we mu mubiri gwaffe, ng’Akola ebintu bye bimu bye yakola nga bendera ewanikiddwa eri ensi.

Ekintu ekisinga obukulu mu Byawandiikibwa kigenda mu maaso mu kiseera kyaffe .

Ekikolwa, wadde Malayika, oba ekintu kyonna, ky’atasobola kukola, okujjako Omwana gw’Endiga yekka. Yajja n’Aggya Akatabo ku Mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali Atudde ku Nnamulondo, n’Akabikkula, n’Akayuzaako Envumbo ezo ezaakaliko, n’Akasindika wansi ku nsi, eri malayika we ow’omusanvu, okuKabikkulira Ffe, Omugole we.

Ebintu ebigenda mu maaso; Ekigambo ky’Atubikkulira buli lunaku, tekyogerekeka. Tuyimusa amaloboozi gaffe ne tuleekaana n’okukuba enduulu nti, Aleluuya! Okufukibwako amafuta, amaanyi, ekitiibwa, okwolesebwa, Okubikkulirwa kw’Ekigambo kye kusinga bwe kubadde kasookedde ensi etondebwawo.

Na buli kitonde ekiri mu Ggulu, ne ku nsi, ne wansi w’ensi, munda mu nnyanja, ne byonna ebiri mu byo tuleekaana nti: nti Eri oyo atudde ku ntebe, n’eri Omwana gw’endiga, omukisa gubenga n’ettendo n’ekitiibwa n’amaanyi emirembe n’emirembe, amiina! Amiina, era amiina!

Buli kitonde, buli muntu okuva ku ntandikwa y’ebiseera abadde alinze olunaku luno okutuuka. Ne Katonda yennyini alinze okutuusa nga malayika we omulonde atuuse ku nsi nga tannavaayo kutwala Katabo, okukaayuza n’Akabikkula n’okubikkula ebyama bye byonna eri Omugole we omulonde.

Kati tumanyi ekyo omuntu yenna ku nsi, okuva ku ntandikwa y’ebiseera, ky’abadde tamanyi. Buli kintu ekyabuzibwawo mu kugwa kw’omuntu. Buli kintu ekibadde kikwekeddwa mu Kigambo kye. Buli Omugole ky’ayagala kiwandiikiddwa era ne kiteekebwa mu ggwanika lya Katonda ery’emmere ettonotono.

Atutunuzza okusukka olutimbe lw’ebiseera era tweraba naye ku Ludda olulala. Omugole yeetegese ng’awulira Ekigambo.

Tubadde mu kutendekebwa. Twambadde ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda. Tewali kiyinza kutusigula. Tewali kiyinza kututiisa. Tewali kiyinza kutukola bulabe. Tewali kiyinza kutuleetera kwekkiriranya ku Kigambo kimu. FFE KIGAMBO.

Tumulinze nga tulina ekimuli kyaffe mu ngalo. Ekiseera kumpi kituuse. Akalimi k’essaawa enkadde eri katambula. Tuwulira omusinde gw’embalaasi ziri nga zidduka, omusenyu nga gwekulukuunyiza wansi wa nnamuziga z’ekigaali. Ekigaali ekivugibwa embaalasi kiri ekikadde kinaatera okuyimirira.

Bw’Anaatuuka tujja kubuuka okuva mu nsi eno enkadde tuggwe butereevu mu Mikono gye. Ajja kutukwata Agambe nti, “ Mbadde nnagenda okukutegekera ekifo, naye Byonna biwedde kati, mubisi gwanjuki wange”.

Okujja kwe kuli kumpi nnyo. Tuli wansi w’okusuubira nga bwe kitabangawo. Tusanyuse nnyo kubanga Ayagala tuwulire Envumbo Omusanvu omulundi omulala. Tumanyi nti tugenda kufuna Okubikkulirwa okusingawo, kubanga buli Bubaka bwe tuwulira bulinga bwetutawulirangako.

Okubeerawo leero n’owulira Obubaka buno n’okusinga kisingako ku bwekyali nga bukwatibwa ku lutambi. Atubikkulira bingi ko ku luli kati n’okusingawo kati. Kiki ekiyinza okubaawo?

Jjangu okuŋŋaane wamu naffe ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), era onyumirwe okuwuliriza: 63-0317E Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu .  Y’Emmere Eyaterekebwa Mukama gy’Ategekedde Omugole okulya.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga twetegekera okuwulira Obubaka:

Eby’Abaleevi 25:47-55
Yeremiya 32:1-15

Zakaliya 3:8-9 / 4:10

Abaruumi 8:22-23

Abaefeso 1:13-14 / 4:30

Okubikkulirwa 1:12-18 / Essuula ey’okutaano / 10:1-7 / 11:18