23-0709 Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu

Obubaka: 63-0317M Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu

BranhamTabernacle.org

Abantu ab’envuma, Abatali Ba Bulijjo, Abeewuunyisa, Bakabona Bakabaka, Ekika Ekitukuvu Abaagalwa,

Nga kiseera kya kitiibwa nnyo ky’abadde awa Omugole we, ng’Abikkula Ekigambo kye nga bwe kitabangawo. Buli Bubaka bwe tuwulira buwulikika nga bwetutawulirangako. Emitima gyaffe n’emyoyo gyaffe gijjudde essanyu nga bwe tulya ku Mmaanu Ensu ekka okuva mu Ggulu. Kiwulikika nga abali mu kulaba ku bimu kw’ebyo ebinaabaawo mu kyeggulo kyaffe eky’embaga ey’Obugole ebindabinda nga bw’Atuliisa Okubikkulirwa ku Okubikkulirwa.

Tuli mu kuwaayo ssaddaaka ez’omwoyo eri Katonda, okuyita mu bibala by’emimwa gyaffe, nga tutendereza Erinnya lye. Tukkalidde mu kifo kyaffe ng’emmunyeenye ez’omu bwengula.

Atugasse awamu mu bifo eby’omu ggulu, ng’Atufukako Omwoyo We Omutukuvu, ng’Atuteekateeka olw’okujja kwe okunaatera okubaawo. Kye kyokka kye tusobola okulowoozaako. Kye ekijjudde mu birowoozo byaffe byonna. Kye twagala okukola kwe KUWULIRA EKIGAMBO. Atugamba emirundi n’emirundi nti tuli Mugole we. Kuno kwe Kwagala kwe okutuukiridde okuyita mu kusigala n’Ekkubo lye lye Yateekawo.

Tuli bajaasi mu Kabondo ke Ak’Obuweereza Bw’Entambi , era tukyenyumirizaamu nnyo. Kabonero akatimbibwa ku lugoye ak’ekitiibwa. Twagala okukileekaana n’okutegeeza ensi nti, WEEWAAWO, TULI OMU KUBO.

Atugabiridde Emmere eyaterekebwa ffe okugirya. Emmaanu yennyini eya Katonda yennyini ng’Ayogera n’Omugole we, ng’atumanyisa nti tuli mu ggye Lye.

Tukuŋŋaanidde wansi w’ekiddukiro ekinene eky’eggulu mu bumu obungi ennyo, okutuusa nga Omwoyo Omutukuvu Atadde buli omu ali mu Mubiri ogwo mu kifo kye okutuusa okuwonyezebwa okutali na kwetegekere okw’omwoyo n’omubiri byombiriri lwe kutanudde okubaawo.

Tutwala Ekigambo kya Katonda ne tuwangula sitaani n’amaanyi ge. Tumutema-temamu obufi-fifi n’Ekigambo ekyo. Ssaabaduumizi waffe yatugamba nti: “Mmwe Kigambo. Temutya. Tambula kijaasi oyolekere Sitaani eri ogambe nti, ‘KYAWANDIIKIBWA.’”

Atulonze okubeerea abaserikale be. Tubadde mu kutendekebwa, nga twetooloddwa buggwe nga ky’Ekigambo kye. Kati twambadde era twetegese okulwana. Genero waffe ow’amayinja 5 atulagidde eky’okukola: Sigalira ddala n’okusomesa kwange okw’olutambi.

Era kakasa, yogera kyokka olutambi kye lwogera. Tobaako na kirala kyonna ky’oyogera. Okiraba? Kubanga, Ekyo Mba sikyogera kubwange nze. Ye Y’Aba Akyogera , laba. Era emirundi mingi nnyo, okutabulwatabulwa, abantu basituka ne bagamba nti, “Kale, gundi-ne-gundi yagamba kyali kitegeeza kino-na-kino.” Kireke — Kireke bulesi nga bweKiri.

Tekiri William Branham ky’atugamba ku ntambi, Kiri KATONDA ky’Ayogera eri Omugole we ku ntambi. Bino bye BIRAGIRO Bye. Waliwo engeri emu yokka gy’oyinza okugonderamu ebiragiro bino okuva ewa Genero wo ow’amayinja 5 era n’oKireka nga bweKiri, NYIGA ZANNYA.

Tuli mu ggye lya Katonda, nabwegutyo tulina okugondera ebiragiro byaffe Kigambo ku Kigambo. Tugenda mu maaso. Tuli basajja bazira, abasajja ab’okukkiriza, abasajja ab’amaanyi, abasajja ab’okutegeera, abasajja ab’Okubikkulirwa.

Tuyingira mu kussa ekimu okutuukiridde ne Kitaffe nate, nga tuyimiridde ku ludda luli olulala olw’oluwonko ssaabawonko, nga tewakyali kijjukizo kya kibi na kimu kiyimusibwa okutuwakanya. Adamu we azzibbwawo.

Ye Katonda mu binyomebwa omulundi omulala nate. Si kya buli muntu, wabula Omugole We yekka, era tukiraba bulungi era mu bulambulukufu.

Ndi wansi w’okusuubira okunene okuwulira Obubonero Omusanvu omulundi gumu nate. Ajja kuba Atubikkulira Ekigambo kye nga bwe kitabangawo. Tujja kuba tufuna Okubikkulirwa okusingawo okw’Ekigambo kye.

Abadde Alinze okutuusa leero okutubikkulira ebisingawo. Byonna bye twetaaga bikwatiddwa ku lutambi era nga bitulinze okubiwulira nga tukozesa olunwe lw’engalo zaffe okukoonako obukoonyi.

Obubaka buno by’Ebibwatuka Omusanvu ebyo ebijja okutuukiriza Omugole; kubanga EBYAMA BYA KATONDA BYONNNA BIJJA KUTUUKIRIZIBWA OMUBAKA MALAYIKA WAFFE OMUSANVU  ATUMIBWA ERI MUGOLE.

Kino kye kiseera ekisinga okuba eky’ekitiibwa mu byafaayo by’ensi. Tuli ku lusebenju lw’obudde bw’okujja kwe okucima Omugole we. Ensi esuubira ebintu bino byonna ebyayogerwa mu Byawandiikibwa; ng’enjuba okugwa mu ttuntu n’ebintu ebya buli ngeri okubaawo. Naye kyatuukawo dda, era tebaakimanya.

Mujjukire, Kwasibibwa envumbo nga kusibiddwa Ebibwatuka Omusanvu Ebyo Eby’ekyama. Mulaba?

Ebintu ebikulu bigenda kubaawo nga tuddamu okukuŋŋaana omulundi gumu nate okuwulira Katonda nga Abwatuka n’Abikkula ebisingawo eri Omugole we ku Bubonero Omusanvu obwo.

Nkwaniriza okutwegattako ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), nga bwetutandika ku lukalala olukulu luno olw’amasomo nga tulutandika n’Obubaka: 63-0317M Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu.

Nga Ow’oluganda Branham bw’addamu okuwongayo Branham Tabanako, n’abantu eri Katonda, ka tuddemu okwewongayo, amaka gaffe, amakanisa gaffe, oba yonna gye tukuŋŋaanidde, gy’Ali.

Owol. Joseph Branham

1 Ebyomumirembe 17:1-8
Isaaya 35:8 / 40:1-5 / 53:1
Malaki Essuula ey’okusatu
Matayo 11:10, 11:25-26
Omut. Yokaana14:1-6
1 Abakkolinso Essuula ey’ekkumi n’ettaano
Okubikkulirwa 21st Essuula