23-0723 Akabonero Akasooka

Obubaka: 63-0318 Akabonero Akasooka

BranhamTabernacle.org

Abagaalwa…Ngenda kubayita Omugole,

Katonda, Omutonzi Ow’ekitalo, Alfa ne Omega, Eddanga ery’omu kiwonvu, Ekimuli kya Loosa ekya Saloni, Emmunyeenye eyaka ennyo ey’oku nkya, Kitaffe, Omwana, era Omwoyo Omutukuvu, Empagi y’Omuliro, Katonda Mwene, yajja ku nsi n’ayogera gye tuli ng’ayita mu mimwa gy’omuntu w’oku nsi, EKITIIBWA!, n’Abiteeka ku lutambi olwa magineeti, bw’otyo osobole okumuwulira YE ng’Akuyita… “GWE” OMUGOLE WE.

Ekyo mukikubyemu akafaananyi mikwano gyange. Mukama waffe Yesu Kristo, ng’Akutunuulidde mu mmunye n’akugamba nti: “Ggwe Mugole Wange. Nkwagala. Nkulindiridde ebbanga ddene nnyo. Mu ndaba yange, oli mutuukirivu. Oli nnyama ya nnyama yange, eggumba ly’eggumba lyange. Nakulonda nga sinnakola Nsi oba emmunyeenye. Nkwagala nyo bitya. Tujja kumala Obutaggwawo nga tuli wamu. Kati, Nzija okukucima.”

Ekyo kyokka kisaana okuba nga kimala okuwa buli omu ku ffe Okukwakkulibwa Mu Kukkiriza. Kiki sitaani ky’ayinza okukukasukira, okukugamba, okukuteekako ekiyinza okukutuusaako obulabe? TEWALI, GGWE MUGOLE WA KRISTO! Ggwe Kigambo kye ekifuuse omubiri, oli Mukyala Yesu Kristo.

Omuntu yenna, mu lulimi lwonna, ayinza atya okuwandiika n’alaga ekyo kye kitegeeza gye tuli? Tosobola busobozi.

Tewali kifo mu nsi kyosobola kufuna kitiibwa ekyo n’enkizo okuwulira Ebigambo bino okuggyako ng’olina Okubikkulirwa okutuufu n’ONYIGA ZANNYA.

Ebintu ebisinga obukulu ensi by’ebadde erindirira okuva ku ntandikwa y’ebiseera, bigenda mu maaso mu kiseera kino, era tuli kitundu ku Kyo. Alindiridde olunaku luno, essaawa eno, abantu bano; MMWE, okutuukiriza n’okuyisaawo Enteekateeka Ye Ennene.

Okubikkulirwa kw’ekyama ky’Obubonero Omusanvu, Ebibwatuka okubikkulwa, okutuukirizibwa kwaffe, Adamu we azziddwawo mu bujjuvu, Okujja kwe, ebintu bino byonna biri mu kwolesebwa era bituukirira KATI, mu GGWE, OMUGOLE WE!

Si mu kiseera kya Musa. Si mu kiseera kya Nuuwa. Si mu kiseera kya Yesu, si na mu kiseera kya Yokaana oba ekya Pawulo; Kigenda mu maaso kati, KATI KATI, NAAWE.

Tetwagala kuKisubwa. Twagala tubeere beetegefu olw’okujja kwe. Okusobola okukola ekyo, tulagiddwa okugenda mu KIGAMBO okufuna eby’okuddamu byaffe. Si endowooza yange, oba endowooza oba ebirowoozo by’omuntu omu, wabula ekyo Ekigambo kya Katonda ekikakasiddwa kye kyogera.

Tukimanyi nti Omugole alina okugamba “amiina” eri buli Kigambo era yeegatte wamu okubeera Omu. Kale tulina okutunula mu Kigambo kya Katonda tulabe ekigenda okugatta Omugole awamu.

Era awo wagenda kuvaayo Ebibwatuka musanvu eby’ekyama ebitaawandiikibwa na kuwandiikibwa. Ekyo kituufu. Era nzikiriza nti, okuyita mu Bibwatuka bino Omusanvu, bijja kubikkulwa mu nnaku ez’oluvannyuma okusobola okugatta Omugole awamu olw’okukkiriza okw’okukwakkulibwa.

Awo wennyini weKiri mu Kigambo. Ebibwatuka Omusanvu bijja kubikkulwa mu lunaku lwaffe okusobola okugatta Omugole awamu olw’okukkiriza okw’okukwakkulibwa.

Olwo ekibuuzo ekiddako kye twetaaga okumanya kiri nti: Ebibwatuka Omusanvu kye ki?

Luli, kiri ki “byabwatuka.” Jjukira, eddoboozi eddene erivuga nga okukuba kw’engalo ery’Okubwatuka kw’eggulu liba ddoboozi lya Katonda. Ekyo Baibuli ky’eyogera, laba, “okukuba mu ngalo okw’Okubwatuka kw’eggulu.” Baalowooza nti kwali kubwatuka kwa ggulu, kyokka Yali Katonda. Ye Yakitegeera, kubanga kyamubikkulirwa. Okiraba? Kwali kubwatuka kwa ggulu.

Kale Ebibwatuka lye Ddoboozi lya Katonda erigenda okukuŋŋaanya

 Omugole awamu n’okubawa (OKUTUWA) okukkiriza okw’okukwakkulibwa. Kiikyo awo eky’okuddamu kyaffe.

Eddoboozi lya Katonda eri Omugole y’ani? William Marrion Branham.

Kati, ndi bubeezi muganda wo, olw’ekisa kya Katonda, naye Malayika wa Mukama bw’akka wansi, kifuuka, olwo, Eddoboozi lya Katonda gy’oli…Siyinza kwogera kintu kyonna mu nze, wabula ekyo ky’Andaga, nze kye njogera ekyo. Ggwe kkiriza ekyo era wekkaanye ekinaatukawo.

Mukkirize Ekyo mulabe ekinaatukawo n’ekinaagenda mu maaso ku Ssande eno, nga bwe tukuŋŋaana awamu, nga tufuna okukkiriza kwaffe okw’okukwakkulibwa, nga tumuwulira nga Abwatuka eri Omugole We.

Oyogera ku “kutuula kati mu bifo eby’omu Ggulu”? Kiriba kitya! Bwe tuba nga tusobola okuwulira bwe tuti, nga tutudde wansi wano ku nsi, nga Okukwakkulibwa tekunnajja, mu mbeera eno gye tulimu kati; era nga tusobola okunyumirwa, ne tuyimirira okwetooloola ebisenge, ne tuyimirira mu nkuba, okusobola okuwulira obuwulizi Kino; kiriba kitya nga tumulabye ng’Atudde awo! Oh, owange! Oh, kiriba kiseera kya kitiibwa.

Tosubwa okubaayo mu kiseera kino eky’ekitiibwa. Oyanirizibwa okukuŋŋaana naffe nga bwe tuwulira: Akabonero Akasooka 63-0318, ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda).

Owol. Joseph Branham

Matayo Omutukuvu 10:1 / 11:1-14 / 24:6 / 28:19

Yokaana Omutukuvu 12:23-28

Ebikolwa 2:38

2 Abasessaloniika 2:3-12

Abebbulaniya 4:12

Okubikkulirwa 6:1-2 / 10:1-7 / 12:7-9 / 13:16 / 19:11-16

Malaki Essuula ey’okusatu n’ey’okuna

Danyeri 8:23-25 / 11:21 / 9:25-27