23-0730 Akabonero Ak’Okubiri

Obubaka: 63-0319 Akabonero Ak’Okubiri

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole Omwagalwa, 

Omugole teyewuunyizza Bubaka buno oba omubaka Waabwo okuva mu 1933, Empagi y’Omuliro bwe yalabika wansi ku Mugga Ohio ku lunaku olwo Tubaddenga tukimanyi nti William Marrion Branham ye mubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu ow’amaanyi gwe Yatuma ku nsi okuyita Omugole weTubaddenga tukimanyi nti William Marrion Branham ye mubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu ow’amaanyi gwe Yatuma ku nsi okuyita Omugole we.

Okuva ku lunaku olwo, Katonda abadde akuŋŋaanya Omugole we wamu olw’Okujja kwe.  Tuli wansi w’okusuubira okunene kutyo; kubanga tukimanyi nti lujja kubaawo olunaku lwonna kati.

Abadde azimba Okukkiriza kwaffe nga bwe kitabangawo, ng’atugamba, ng’atugumya nti, tuli Mugole we omwesigwa.  Tumanyi nga tusigala n’Emmere Ye Eterekeddwa, kyonna kye twetaaga kiri OKWO, KU NTAMBI.

Ekyo tukimanya tutya mu bukakafu?   Ekigambo kigamba nti Katonda TALIIKO KY’ALIKOLA okutuusa nga’Akibikkulidde abaddu be bannabbi. Ekigambo kigamba nti Katonda TALIIKO KY’ALIKOLA okutuusa nga’Akibikkulidde abaddu be bannabbi.

Ennaku z’okwebuuza ziwedde.  Omugole asimbye amakanda ku wa w’ayimiridde.  Tewali kikulu okusinga okuwulira Katonda ng’ayogera n’Omugole we ku Ntambi. Bye Bigambo byokka ebyakakasibwa Katonda Mwene okuba Bw’Ati Bw’Ayogera Mukama.

Essaawa ya kamalirizo era tusobola okuwulira obuzito bw’omukka omubi ogw’omulabe waffe ogutwetoolodde.  Entalo zitusimbidde olunyiriri era Sitaani alumbira ku njuyi zonna, naye Katonda atenderezebwe tulina Emmere ey’Omwoyo, era tutuula ku Meeza ya Mukama emisana n’ekiro, nga tulya ku Mmaanu eyo Eyakwekebwa.  Ayongera okutubikkulira ebisingawo era ebisingawo buli lunaku nga bw’Atugamba nti, “Byonna biteredde swiitimutima wange.  Ndi naawe.  Nakugamba nti sirikuleka sirikwabulira.  Genda mu maaso ng’ofuba. Basetaani abo bagobere ebweru. Nkuwa bbomu Yange nnamuzisa, Ekigambo kyange, Kikozese. NnaKirowooza. Awo ne Kiiwandiikibwa, era kati, mu kiseera kyo, Nkyogedde osobole okumpulira NZE nga nkugamba nti, Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Ggwe Mugole Wange.  Ggwe Kigambo ekirabisiddwa mu mubiri.”

Katonda ayogedde okuyita mu mimwa gy’omuntu w’okunsi n’Atuwa Ekigambo kye; tetulina kye tutya. Si Kigambo kyaffe, ebirowoozo byaffe, okulowooza kwaffe, kye Kigambo kya Katonda kye Yatuwa FFE.  OKUKKIRIZA kwaffe kuli mu Kigambo kye era Ekigambo kye TEKIYINZA KULEMWA!

Kati, nga bwe tuwulira Obubonero buno nga bubembulwa, Omwoyo Omutukuvu Ayogera naffe omulundi gumu nate era tusobola okulaba amannya gaffe nga gawandiikiddwa eyo mu Kitabo ky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga.  Kumpi tetusobola kwefuga… WEEWAWO, erinnya lyange ly’eriwandikiddwayo. Ayogera ku NZE.

Jjangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), era owulire Akabonero Ak’okubiri 63-0319 , nga Eddoboozi Lya Katonda bwe likugamba nti amannya gammwe gawandiikiddwa mu Kitabo ky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa eby’okusoma nga nga tonnawulira Bubaka:

Omut. Matayo 4:8 / 11:25-26 / 24:6

Omut. Yokaana 16:16

Omut. Yokaana 14:12

2 Abassesalonika 2:3

Abaebbulaniya 4:12

Okubikkulirwa 2:6 / 6:3-4 / Essula eya 17 / 19:11-16

Yoweeri 2:25

Amosi 3:6-7