23-0806 Akabonero Ak’okusatu

Obubaka: 63-0320 Akabonero Ak’okusatu

BranhamTabernacle.org

Omugole Acamusiddwa Abaagalwa,

Weetegeke, Sande eno ogenda kufuna okucamusibwa olw’Okubikkulirwa okusingako ku kwewali obadde nakwo mu bulamu bwo. Ojja kuba otamiirira butamirizi ku Kigambo. Kijja kuba kirungi nnyo, era ekyanjulukufu…n’obutaangavu nga kitangaavu okusinga ku bwekyali nga Akyogera.  Era waliwo engeri emu yokka ey’okuKifunamu, oteekeddwa Okunyiga Zannya!

Funa entambi, Ziwulirize ng’otekeddeyo ddala omwoyo. Kubanga, ojja kukifunira ku lutambi, kubanga babadde bazannya entambi ezo nga baziddiŋŋana, era nnungi ddala era nnambulukufu. Kale, ojja kukifuna nga kitangaavu okusingawo nga okijja ku ezo.

Omubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu yaakagamba ki? Oyo Katonda gweYalonda okubikkulira ebyama byonna ebya Bayibuli; oyo gweYalonda okuwa Okubikkulirwa kw’Obubonero Omusanvu buno, Ebibwatuka, n’Ekigambo Kye kyonna. Malayika gweYalonda okuyitayo Omugole We. Oyo gweYalonda okubeera Eddoboozi lye mu nnaku ez’oluvannyuma. 

Leka tusome busomi okunokola okwo omulundi gumu nate okukakasa nti tutegeera kyeyaakoogera ffe okukikola.

“Mujja kuKifuna nga muKijja ku,” EWA?

“Mujja kuKifuna nga kitangaavu okusingawo nga muKijja ku, ” EWA?

Yogera ku ngeri gyekiri ekikulu Okunyiga Zannya n’okuwulira Entambi. EKITIIBWA!!  Kino si kigambo kyange, kino kye KIGAMBO KYA KATONDA nga Agamba Omugole We, KIJJE KU EZO…KU NTAMBI.O Ababuulizi, mwekuumire wala n’amabega gange.

Omuntu yenna alanga nti akkiriza Obubaka buno ayinza atya okugamba nti okuzannya entambi si ky’ekintu EKISINGAYO OBUKULU Omugole ky’ayinza okukola?  Omusumba ayinza atya okuteeka obuweereza bwe waggulu w’obw’obwa nnabbi? Si okubunokola obunokozi kyokka…nange ekyo kyendi mu kukola kati, naye okuzannya Eddoboozi eryo eri ekisibo kye basobole “OKUKIFUNA NGA KITANGAAVU OKUSINGAWO NGA BAKIJJA KU EZO”.

Obuweereza obusingayo obukulu mu nsi yonna bwe Buweereza Bw’Olutambi. Teriiyo kisinga bukulu ku Kunyiga Zannya. Waliwo Eddoboozi limu lyokka eryayawulibwa Katonda okubeera Bw’Ati Bw’Ayogera Mukama eri Omugole We, Eddoboozi eriri ku Ntambi.

Leka mbeere mulambulukufu ku kino omulundi omulala nate. SIWAKANYA muweereza yenna yenna okubuulira, ka kubeere okukiwulira muli nti omuweereza takkirizibwa kubuulira oba okuyigiriza, nakyo sikiwulira muli. Naye kulwange ne kulw’obuweereza bwange, nnayitibwa kugamba nsi okuwuliriza Ekigambo Ekitalabika nga kyambaziddwa omubiri ne kirabika, ekyo ekikwatiddwa ku lutambi ne kiterekebwa ku lutambi olwa magineeti. Nzikiriza nti ly’Eddoboozi lya Katonda, and ERYO, era ERYO lyokka, lyanukula ebibuuzo byammwe byonna.  Lijja kubawa byonna byemwetaaga, omwo nga mwemuli n’Okukkiriza okw’Okukwakkulibwa, kubanga Liri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.

Omugole teyeetaaga kigambo kyange, nze ndi mu kunokola bunokozi Kigambo ekyo nga abaweereza abalala bonna bwebakola. Munokola era ne mwogera ku engeri gyekiri ekikulu ennyo okuwulira obuweereza bwammwe n’okuyitibwa kwammwe, mukama waffe Atenderezebwe.  Ndi mu kugamba abantu nti OBUWEEREZA OBUSINGAYO OBUKULU ly’Eddoboozi lya Katonda ku Lutambi. Mpaawo kiRisinga bukulu. Tebeetaaga kuba na kintu kirala kyonna.

Siri mu kwogera bintu bino kuleetera bantu kuba na mwoyo mukyamu oba okutandika okulaba obubi omuweereza yenna oba obuweereza bwonna, Kikafuuwe. Mbaagala. Baganda bange. Katonda atadde okuyitibwa ku bulamu bwabwe. Ngeza ntya ne njogera ekigambo ekirwanisa abasajja ba Katonda abaafukibwako amafuta, NAYE KINKAKASEEKO okwogera n’okugamba nti bangi ku bo batadde essira erisusse ku buweereza BWABWE ne batateeka Ddoboozi lya Katonda ku lutambi nga EDDOBOOZI ERISINGAYO OBUKULU Omugole ly’ayinza okuwulira.

ŊŊambye bugambi nti, “Muzze Ow’oluganda Branham ku bituuti byammwe,” era bangi ku baweereza beetanuliddeko ogw’okugamba abantu baabwe engeri Ow’oluganda Branham gy’ataakyogerako ekyo ku lutambi, era mbu BO be baayitibwa okutwala Ekigambo ne bakiwa abantu; nga bawa eby’okwekwasa OBUTAZANNYA NTAMBI MU MAKANISA GAABWE.

Bagamba nti KIKYAMU omusumba bw’azannya entambi mu kkanisa ye, nga balaga abantu nga bwekirimu ensobi nga bagamba nti, bwe baba nga bali mu kuwuliriza buwuliriza ntambi mu makanisa gaabwe, era nga tebawuliriza buweereza, abo si Mugole.

Mpulidde eby’okwekwasa bingi byebakozesa era byebagamba abantu. Mu ngeri ennyangungu, tebajja kugamba bantu baabwe nti, “ENTAMBI KYE KINTU EKISINGAYO OBUKULU KYEMUTEEKEDDWA OKUWULIRIZA.” Singa ekyo bakikola, olwo abantu bajja kubuuza…”olwo lwaki tuba tetuzannya ntambi mu kkanisa yaffe bwekiba nga ky’EKISINGAYO obukulu?”

Ono gwetugenda okuwuliriza ku Sande:

Katonda Yeeyolesa mu Musajja omu, n’Ayogera eyamuli emabega; n’ekyo Saala kyeyali akoze, okusekera mu lusiisira. Era Ebyawandiikibwa bino byonna, ebya Malaki, n’ebirala bwe bityo, byakyogerako mu bubonero nti kyandibaawo mu nnaku ez’oluvannyuma. Abaebbulaniya 4 waagamba nti, “Ekigambo ekyo” kikomawo nate. Malaki 4 yagamba nti Kiridda kirikomawo nga kiyita mu musajja omu.

Ekigambo ekyo kikomyewo nate nga kiyita mu musajja omu era tulina Eddoboozi Lye nga lyakwatibwa ku Lutambi era tugenda kuba tuLiwulira BULI SANDE.

Ndi musanyufu okukibaanjulira ekyo omulundi omulala nate, Sande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), tujja kuba tuwuliriza Ekigambo ekirabisiddwa mu mubiri ne kikwatibwa ku lutambi olwa magineeti. Kituwa Okubikkulirwa ku Akabonero Ak’okusatu 63-0320.

Nga kinnaba kiseera kikulu kyetunaaba nakyo, Omugole. Nga ssanyu lingi nnyo erinajjula emitima gyaffe. Nge mirembe nnyo eginaamaamira ku mmeeme zaffe, nga bwetuwulira ekyo Katonda Mwene kyeYagamba Sitaani nti: “Baleke bokka. Bw’obaako omu ku bo gw’obaka, Ekisibo Kyange ekitono ekijjuziddwa Amafuta Ge ne Envinyo w’Ekigambo ekirongoofu, togeza n’omukaka okugamba zi ‘Bikira Maaliya’ zo, oba ekimu ku bikwate byo. Amagalo go gakuumire wala okuva webali. Bamanyi wa gye bagenda, kubanga bafukiddwako Amafuta gange era balina omwenge ogw’essanyu, kubanga bamanyi Ekigambo Kyange eky’ekisuubizo. ‘Ŋŋenda kubazuukiza nate.’ Abo tobakosa! Togenda nga ogezaako okubaleetamu obuvuyo…weekuumire wala okuva webali, kyokka.”

Tetulina kya kutya. Tulina Ekigambo. FFE KIGAMBO. Tewali kituyimiriza. Ffe batabani era bawala ba Katonda. Sitaani, bituwe, ffe bannannyini ba BULI KIMU. Katonda Bw’Atyo BweYayogera. Kyawandiikibwa!

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa

Omut. Matayo 25:3-4

Omut. Yokaana 1:1, 1:14, 14:12, 17:17

Ebikolwa By’Abatume Essuula 2

1 Timoseewo 3:16

Abaebbulaniya 4:12, 13:8

1 Yokaana 5:7

Ebyabaleevi 8:12

Yeremiya Essuula 32

Yoweeri 2:28

Zekkaliya 4:12