23-0813 Akabonero Ak’okuna

Obubaka: 63-0321 Akabonero Ak’okuna

BranhamTabernacle.org

Obuwungu Obuto Abaagalwa,

Eddoboozi lya Katonda liri mu kututwala ku mitendera gyetutabangako, era nga Libikkula Ekigambo Kye.  Tulobye obumwa bwaffe mu Biwawaatiro Bye eby’ekitalo nga bw’Atuyimusa mu bwengula.  Tuli mu kuseeyeeyeza waggulu eyo wala nnyo okuva ebire by’omu bbanga webikoma. Tusobola okulengera wala nnyo eyo mu butaggwaawo. Kubikkulirwa okulambirira okuggya gyetuli. Gy’Akoma okututwala waggulu, gyekikoma okutubeerera ekitangaavu okulaba. Tusobola okuleekaana nti: NKIRABA…NKIRABA.

Kati Addidde Ebiwawaatiro Bye eby’ekitalo, n’Abiwuuba okuwuuba okunene n’Atugamba nti, “MUBUUKE OBUTO BWANGE, MUBUUKE.” Mu kusooka twali tutidde nnyo. Omulabe yali ajjuzza ebirowoozo byaffe n’okubuusabuusa okungi kutya.  Sisobola, siyinza na kusobola. Awo ne tuMuwulira nga Aleekaana era nga Abwatuka nga Atuddamu nti, “MUSOBOLA, OBUWUNGU BWANGE OBUTO, MUTANULE BUTANUZI KUKUBA BIWAWAATIRO BYAMMWE!!”

Awo, amangu ago obuwawaatiro bwaffe obutono ne butandika okupepeya bwebutyo nga eky’obutonde. Gyetukoma okuwuliriza Ekigambo Kye nga kiddiŋŋana okutugamba kyetuli, na kiki kyetulina okukola, ebiwawaatiro byaffe gyebikomye okubeera eby’amaanyi. Papa, papa, papa….Nyiga Zannya, Nyiga Zannya, Nyiga Zannya…olwo ogenda okwekanga nga, tuli mu kubuuka.  Tuli Mpungu.

Okutya okutonotono bwekugezaako okuyingira ebirowoozo byaffe, twatunula butunuzi wonna ne tutandika okuwuliriza Eddoboozi Lye. Wuuyo awo, nga Abuukira awo wennyini okumpi naffe Asobole okutubaka bwetutandika okugwa. Tukizuula nti tetulina kintu kyonna kya kutya, Taata Mpungu ali awo wennyini naffe.  Ali mu kwetegereza buli lutambula lwetukola. Tajja kubaako ky’Aganya kututuukako.

Emirembe nga egyo n’okukakasibwa byetutawulirangako. Agenda Atubuulira bulijjo, yemmwe Buwungu bwange obuto. Muli mu kugondera era nga mukola kye nnabagamba okukola nga musigala n’Eddoboozi lyange lye nnabalekera.

Akimanyi nti bw’Atugamba ekintu kyonna ku ntambi, tujja kugenda tukikole, kubanga tukimanyi nti kiba Kigambo Kye. Ajja kuyimirira ddala emabega wa kyo. Ne bwe kiba nga tekiwandiikiddwa mu Baibuli, era Ajja kuyimirira emabega wa kyo mu buli ngeri yonna.

Tumanyi, bwe kiba nga kiri wabweru wa Yo, Ajja kuKibikkulira nnabbi We.  Tukizuula nti ebyama bya Katonda byonna bitegeezebwa eri nnabbi We, era ye yekka, kale oba nga waliwo ekintu kyonna kyetwetaaga okumanya, kiri ku lutambi.

Yogera ku maanyi ag’Okubikkulirwa agaleeta okucamusibwa. Twagala okukileekaana nga amaloboozi gaffe tugamazeeyo. Twala ensi emanye, ndi mpungu ya lutambi!

Ebirowoozo bya Katonda byafuuka okutondebwawo bwe byayogerwa, mu ngeri y’Ekigambo. Awo w’Akileetera eri—eri ggwe nga ekirowoozo, ekirowoozo Kye, era ne Kikubikkulirwa. Awo, kisigala nga kirowoozo okutuusa nga okyogedde.

Kitubikkuliddwa. Ekitiibwa. Kati twagala kuKyogera. Yeffe Mugole wa Yesu Kristo. Yammanya, n’Anjawulirawo nga n’ensi tennatondebwa. Yenze Kigambo Kye ekiramu nga kifuuse omubiri. Yaŋŋamba SABA onaawebwa. Konkona, onaggulirwawo. Buli kyetwetaaga, TUKYOGERA.

Guno gwe mulembe g’Empungu era ffe buwungu Bwe obuto. Tetubangako basanyufu kusingawo oba abamativu okusingawo mu bulamu bwaffe. Mpaawo kutya. Mpaawo bya kwelariikirira.

Mbaaniriza okujja okubuuka okutuuka mu bwengula obwa waggulu ko wamu naffe Sande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), nga empungu ya Katonda ey’ekitalo bw’ereekana gyetuli n’ebikkula Akabonero Ak’okuna 63-0321.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa eby’okusoma mu kwetegekera okuwulira Akabonero Ak’okuna 63-0321.

Omut. Matayo 4

Omut. Lukka 24:49

Omut. Yokaana 6:63

Ebikolwa By’Abatume 2:38

Okubikkulirwa  2:18-23, 6:7-8, 10:1-7, 12:13, 13:1-14, 16:12-16, 19:15-17

Olubereberye 1:1

Zabbuli 16:8-11

II Samwiri 6:14

Yeremiya 32

Yoweeri 2:28

Amosi 3:7

Malaki 4