23-0820 Akabonero Ak’okutaano

Obubaka: 63-0322 Akabonero Ak’okutaano

BranhamTabernacle.org

Omugole W’Ekigambo Ekituukiridde Omwagalwa,

Katonda Atumye amaanyi ge agasembayo. Atumye empungu ye ey’ekitalo okukka wansi okutuzzaayo ku Kukkiriza okwasooka okwa ba Kitaffe. Guno gwe mulembe gw’empungu. Tewakyali bisolo kati. Tewakyali babaka kati. Tewakyali bibinja bya bantu. Ebyo biwedde bikomywe awo. Tuli ku nkomerero. Eddoboozi erya Okubikkulirwa 10:7 lizze era Likozesezza empungu Ye ey’ekitalo okuyitayo Omugole We.

Singa wabadde owuliriza omusumba waffe ku Sande, Empungu ya Katonda ey’ekitalo, wandibadde omuwulira nga akugamba nga bweyatugambye:

Yemmwe kibinja ekyo ekijja okutwala Ebibwatuka Ebyo Omusanvu; Ekigambo kya Katonda kyennyini era musale-sale-mu eggulu mulitememu obutundutundu n’okuliggalawo muliggalewo. Musobola okuggalawo kino, oba ne mukola kiri, kyonna kyemwagala okukola. Omulabe asaliddwa Ekigambo ekyo ekiva mu kamwa kammwe, kubanga kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri. Muyinza okuyita obuwumbi kikumi obwa kilo-lukumi z’ensowera oba nga mwagadde. Kyonna kyemwogera, kigenda kutuukirira, kubanga kye Kigambo kya Katonda nga kiva mu kamwa ka Katonda. Kye Kigambo Kye, naye bulijjo Akozesa muntu okuKikola”.

Nnyinza ntya okukkaatiriza ekimala obukulu bw’Okunyiga Zannya; okuwulira empungu Katonda gyeYatuma? Obubaka bukuku nnyo, butuukirivu nnyo…Butuukirivu nnyo, okutuusa nga Yali tasobola na kuBwesigisa Malayika yenna. Tewaaliwo muntu mulala yenna, tewaaliwo kibinja kya bassajja kirala kyonna, MPAAWO n’omu gweYali Asobola okuBwesigisa, okujjako NNABBI MPUNGU WE YEKKA.

Tusobola okuKyogerako, ne tuBuyigiriza, n’okubuBuulira ne tubuBuulira, naye waliwo EDDOBOOZI LIMU LYOKKA eririna “Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama,” era muteekwa okukkiriza buli Kigambo.  Waliwo Eddoboozi limu lyokka ly’osobola okwesigamyako enkomekkerero yo ey’omubutaggwawo. Waliwo EDDOBOOZI LIMU LYOKKA Katonda lyeYalonda okukulembera Omugole We, era MUGOLE WE YEKKA Y’AJJA OKUBA N’OKUBIKKULIRWA OKWO.

Waaliwo nnabbi mpungu omu yekka gweYalonda nga ensi tennatondebwa okumubikkulira EKIGAMBO KYE KYONNA….WILLIAM MARRION BRANHAM, era ye, era ye yekka, ye mubaka mpungu wa Katonda ow’omulembe guno. Ye, era ye yekka, ye yatumibwa okukulembera Omugole wa Katonda.

Okuyitibwa kwange, oba okuyitibwa kw’abaweereza bonna abalala, kuli ekintu kimu kino: OKUBAKULEMBERA NGA BABATWALA ERI YE, OYO EMPUNGU YA KATONDA EY’EKITALO. Oyo gweYalonda. Oyo gweYakakasa n’Empagi Ey’Omuliro. Oyo gweYalonda bwe Yabikkula Akatabo ako, n’Akayuzaako Obubobero obwo, n’AKasindika wansi ku nsi, okuKatubikkulira, ffe abantu Be.

Ebigambo byeyayogera ku lutambi si bigambo bye, bye Birowoozo bya Katonda byennyini nga byogeddwa ne bikwatibwa ku lutambi Omugole We asobole okubiwulira; era MMWE mwekka, Omugole WE mmwe mulina Okubikkulirwa okutuufu kw’ekyo.

Omugole, kirowoozeeko! Tutuuse. Kiwedde. Okunoonyereza kwa ssaayansi kuKikakasizza. Okukakasibwa kw’Ekigambo kuKikakasizza. Era tuutuno! Era Okubikkulirwa kuno kuva eri Katonda, era ge Mazima. Era kubanga muKitegeera, TULI batabani Be era Bawala Be abaziddwawo mu bujjuvu.

Tewakyali kwewuunya. Mpaawo bya kwebuuza bibuuzo. FFE MUGOLE KIGAMBO WE ATUUKIRIDDE. Tutegedde kiki kyetuli. Yeffe abo, olw’Ekisa kya Katonda, be Yaganya empungu Ye okulaba nga twambadde ebyambalo ebyeru.

Muddeemu amaanyi Omugole. Kumpi Tutuuse. Tusobole okuKiwulira. Kitubikkuliddwa n’okukirawo kati ku bwekyali kitubikkuliddwa. Omulabe atukyawa, NAYE KATONDA ATWAGALA. Tali bubeezi naffe kyokka, wabula ALI MUFFE. YEFFE KIGAMBO KYE NGA KIFUUFE OMUBIRI.

Ali mu kukakasa Sitaani nti, TETUYINZA, ERA TETUJJA KULEMERERWA. Eriyo KUKKIRIZA na kubuusabuusa. Ffe tulina KUKKIRIZA kwokka. Si okwekkiririzaamu, wabula OKUKKIRIRIZA MU KIGAMBO KYE, era EKYO teKiremererwa. FFE KIGAMBO. Katonda Bw’Atyo Bwe yagamba!!

Si ggwe waMulonda, YE YE YAKULONDA. Sitaani ayinza atya okubaako ky’akukola, KATONDA YAKULONDA. Yakulonda kubanga YAKUMANYA nti toliremwa kukkiriza Kigambo Kye.  Sitaani akugamba nti, “naye olemererwa, n’olemererwa, n’olemererwa”…oli mutuufu, ddala nnemererwa mu mubiri gwange, NNAJIBWAKO OMUSANGO, era sijja kulemererwa kukkiriza BULI KIGAMBO.

Tutuuka ne tugezesebwa ne tuyita mu bigezo olwa KATONDA, Ye asobole OKUKAKASE OMULABE WE, ERA OMULABE WAFFE… nti TULI MUGOLE KIGAMBO WE ATUKIRIDDE.

Leka Omwoyo Omutukuvu ow’Ekitalo Ajjule amaka gammwe, amasinzizo gammwe, oba wonna gyemunaabeera Sande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira empungu ya Katonda ey’ekitalo nga ereeta Okubikkulirwa kwa Akabonero Ak’okutaano 63-0322.

Owol. Joseph Branham
    

Ebyawandiikibwa eby’okusoma nga nga tonnawulira Bubaka:

Danyeri 9:20-27
Ebikolwa By’Abatume 15:13-14
Abaruumi 11:25-26
Okubikkulirwa 6:9-11 / 11:7-8 / 22:8-9