22-0213 Akabonero Akookusatu

Omugole embeerera abaagalwa,

Mbadde nsaba era nga nsaba Katonda kiki kyeYandinneetaaze okuwandiika n’okwogera ekyandibadde omukisa era okuzzibwamu amaanyi mu ngeri emu, gy’oli, Omugole We. Ssirina bigambo, era ssimanyi kyakwogera. Mpulira nga ssisaanidde na kuwandiika obugambo obutonotono bwempandiika, naye ky’ekitiibwa ekisinga obw’ekitalo mu bulamu bwange okubaako ne kye mmukolera.

Nzikiriza ekiseera okuwulira Obubonero buno Omusanvu wekujjidde kituukirivu ddala. Tusobola okulaba enteekateeka ya Katonda ey’ekitalo nga ebikkulibwa era nga yeeyanjula mu maaso gaffe. Bubaka ku Bubaka bufuuka Okubikkulirwa kusingako era Okubikkulirwa okusingako. TuMulaba nga Atwebikkulira nga atukulembera. Tumanyi nti tuli mu kukola kyennyini kye Yatugamba okukola, “okusigala n’Ekigambo.” Tewali ngeri esingako ey’okukolamu ekyo esinga ku KUNYIGA ZANNYA.

Mpulira nga okuyitibwa kw’Atadde ku mutima gwange kwe kukuuma Obubaka buno, Eddoboozi Lye, entambi zino mu maaso gammwe bulijjo; okubataangaliza nga mpita mu kuwandiika obulambulukufu obusingako omugaso gw’okuwuliriza entambi. Nkimanyi nti ssisobola kukiyisaawo kituuke gyemuli bulungi, naye MMANYI ndi mutuufu mu kubagamba “NNYIGA ZANNYA,” nga bwe bitali birowoozo byange, kufumiitiriza kwange, newankubadde ebigambo byange, naye Ebigambo bya Katonda Mwenne nga Ayogera okuyita mu mubaka malayika we owomusanvu, nga Atugamba:

Oluusi bwetusoma obusomi, era, kaakano, mubeere beegendereza ddala. Era bwemusoma, mufune entambi, muziwuliririze kumpi ddala. Kubanga, ojja kukifunira ku ntambi, kubanga babadde baloongosa entambi ezo , era nnungi nnambulukufu ddala. N’olwekyo, ojja kukifunira kw’ezo mu butangaavu obusingako.

Nga bweŋŋambyenga emirundi mingi emabega, ssiwakanya buweereza oba ekintu kyonna Katonda ky’Atadde mu Kkanisa Ye. Ekyo kyandibadde kikontana n’Ekigambo kya Katonda. Nzikiriza nti bufukiddwako amafuta era buyitiddwa Katonda. Naye nzikiriza nti okuwuliriza n’okuteeka eddoboozi lya Katonda lyennyini mu maaso g’abantu kirina okubeera ekintu ekisinga omugaso omusajja yenna eyayitibwa Katonda ky’Ayinza okukola.

Tekimala okugamba, “Ntegeeza ekibiina kyange okuzannya entambi.” Bw’oba nga okkiriza:

  • Tewali kufukibwako mafuta kusinga ku kuwulira Eddoboozi lya Katonda ku lutambi.
  • Okubikkulirwa kwonna kulina kuva mu Ddoboozi Eryo.
  • Okugonnomolerwako kw’okukkiriza okw’omuyiika kwetwetaaga kulijja kuva mu ekyo Eddoboozi eryo kyelyogera.

Omuweereza yenna ayinza atya obutaagala kuwuliriza Ddoboozi eryo, wamu n’ekkanisa ye, era agambe AMIINA ERI BULI KIGAMBO?

Buli muntu alina okubeera n’ekintu ekimu ky’awulira era ky’akkiriza nga ky’ekintu EKISINGA OMUGASO kyebayinza okukola okubeera Omugole wa Kristo. Ekintu ekimu kirina okubeera Okwagala kwa Katonda okutuukiridde OKUSINGA OMUGASO. Okwo bwe buweereza bw’omusumba wo? Okuwuliriza abasumba abalala? Siri kugamba nti ekyo kikyamu, ssi n’akatono, era ekyo kirungi ddala okusinziira ku Kigambo, naye okkiriza nti ekintu EKISINGA OMUGASO kwe kuwuliriza Eddoboozi lya Katonda erikakasibbwa ku lutambi?

Bwekiba nga ekyo ky’okkiriza nti ky’ekintu EKISINGA OMUGASO ky’oyinza okukola, olwo nsoga ki eyandileetedde obuweereza obutaagala kuzannya n’okuwuliriza BUBAKA OBUTUUKIRIDDE OBUSINGA OMUGASO obwo wamu n’ebibiina byabwe?

Weebuuze, oba buuza omusumba wo ekibuuzo kino: Okkiriza nti okunokola kuno kutuufu, oba eno nsobi era nga ow’oluganda Branham y’akitegedde obubi bubeezi, oba agezaako kwewaana?

Olaba, kyennyini ekyandibaddewo kati! Era, eri ekkanisa, Kyeki? Ekigambo Ekyambadde omubiri nga kifuuse omubiri wakati mu bantu be nate! Olaba? Era tebakikkiriza bukkiriza.

Bw’oba nga okkiriza okunokola kuno okubeera amazima, era nga gy’oli LY’EDDOBOOZI LYA KATONDA, Ekigambo ekyambadde omubiri nga kifuuse omubiri, kati omuntu yenna ayinza atya obutalaba nti TEWALI KISINGA MUGASO KU kuwulira Eddoboozi eryo.

Zuukuka embeerera eyeebase, wandifuna okukkiriza kuno, ekitali ekyo, oli nga bw’agambye: “Tokikkiriza bukkiriza.”

Nga nnabbi bweyatugamba, yeffe Kitabo ekiggya eky’Ebikolwa by’Abatume, Ettabi eryo eriggya, Abalonde Be. N’olwesonga eyo bangi bawulira muli nti Omwoyo Omutukuvu kaakano Atukulembera nga ba ssekinnoomu oba Atukulembera kuyita mu buweereza, ssi kuyita mu nnabbi We.

Mulimu amazima mangi mu kino, NAYE nnabbi ne kino yakitereeza, n’atubikkulira amazima.

Omuntu omu yabadde ayogera nange wano ebbanga ssi ddene emabega. Yagambye, “Naye ow’oluganda Branham…” [Ow’oluganda Branham atereeza eddoboozi lye throat—Ed.] Munsonyiwemu. Yagambye, “Ssi luvannyuma nga Omwoyo Omutukuvu amaze okujja, teri Bamalayika bakulembera kkanisa, oba bakulembera ba ssekinnoomu. Nedda, ssebo.” Yagambye, “Mwoyo Mutukuvu y’Atuluŋŋamya.”

Okwo kutegeera mu bukyamu wakati wa Malayika n’Omwoyo Omutukuvu. EYO NSOBI, Bamalayika baagenda mumaaso nga bakulembera ekkanisa, era bakyakulembera ekkanisa. Mu butuufu.

Malayika We ali mukukulembera n’okuluŋŋamya Ekkanisa Ye. Ffe ffenna tulina ekifo n’okuyitibwa kwaffe, naye malayaika yekka ye w’okukulembera Omugole.

Wuliriza nnabbi wa Katonda kyeyagamba ku buweereza obulala bwonna nga bugerageranyizibbwa ku ekyo Katonda kyeyali AMUYITIDDE OKUKOLA,

Era nga omuntu omu—addukanya amasimu, taba wa masannyalaze ddala. Ayinza okukikolako omulimu omutonotono. Era nga, omuntu bw’abeera makanika w’emikutu gy’amasannyalaze n’amasimu, kale, kikakafu nti… Omusajja musimi wa binnya bya bikondo, era nga takolangako mulimu gwonna ku zi waya (oba emikutu) egy’amasimu oba amasannyalaze, kyandimusingirako obulungi okwebalama zi waya; naye ayinza okukola omulimu gw’okuzikuba ebiraka oba ekintu ekimu.

Naye Ekintu ekyannamaddala bwekinaabikkulwa ku lunaku olusemba, eky’ekitundu ekisembayo eky’Ekkanisa, olwo Katonda lw’Agambye nti lw’Alitutumira, okusinziira ku Byawandiikibwa. Era tukinoonyererezzaamu emirundi n’emirundi, nti yakyogererawo nga tekinnabaawo nti Omwoyo wa Eriya ajja kuddira mu muntu omu.

Omuntu omu bw’agezaako okwerariikirira ebiteetaagisa nga akugamba, “kyetaagisa kingi ko okusinga ku kuwuliriza entambi. Ow’oluganda Branham takyogerangako nti muzannye entambi mu kkanisa. kijja kwetaagisa obuweereza okutuukiriza Omugole;” *oba kyonna omuntu yenna ky’ayinza okukugamba, okugezaako okukuleetera okubuusabuusa nti okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda erikakasibbwa ku ntambi mu kkanisa yammwe nti kikyamu…

Nga ccali omu yakatandika, nga agezaako okukwerariikiriza ebiteetaagisa; bw’oba nga omanyi wa ew’okuyimirira, tegeerawo ky’akkiriza.

Bwebaba bagamba nti bakkiriza, “Obubaka buno kye Kigambo. William Marrion Branham ye mubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu. Obubaka buno ky’ekyenkomeredde, nnantateekebwako bukkwakkulizo kamala byonna nnantakolansobi. Obubaka buno Ye Mwana w’Omuntu nga yeebikkula mu mubiri nga bweYasuubiza nti Bw’Alikola…”

Kiri nga bw’onootwala akamyu n’okasumulula keetaaye mu kisibo, era nga ozibye buli kituli. Yimirira buyimirizi ku luggi; kateekwa okukomawo. Eyo y’engeri yokka eriyo ku kyo. Okaggalidde. Olaba? Kajja kwetaaga okukomawo bufuutifuuti ddala ku luggi nate, ’kubanga eyo y’engeri yokka gyekasobola okufulumamu. Kajja kuyisaamu omutwe gwako wano, kumpi kamenye obulago bwako; era kagende ku luuyi eri, ku luuyi eri. Yimirira buyimirizi okekkaanye, era kajja kukomawo butereevu. Olaba? Ky’ekyo kyonna.

Sigala n’Enjigiriza y’Olutambi Eyo. Yogera bwogezi ekyo entambi zekyogera. Tokyusa Kigambo n’Ekimu. Togattako, newankubadde okutoolako Ekigambo kimu ku kyo. Ly’Eddoboozi lya Katonda gyo’li.. Ky’Ekigambo Ekyambadde omubiri nga kifuuse omubiri. By’Ebigambo eby’obwannantakolansobi. Ye ye musumba wo. Malayika we Akukulembera. Kiri Bwatyo Bw’Ayogera Mukama.

Gwe kasita oba nga oli mu Kigambo ekyo, oli mirembe.

Mujje mukoleeze ttabaaza zammwe era ogijjuze Amafuta Sande eno ku ssaawa 6 ezoomuttuntu mu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 2 ez’ekiro e Uganda), nga malayika wa Katonda omulonde bw’abwatuka n’amenya Akabonero Akookusatu 63-0320, n’Akabikkulira Omugole We.


Owol. Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’okusoma mu kwetegekera okuwulira essomo lya, “Akabonero Akookusatu.”
Ebyawandiikibwa:
Omut. Matayo 25:3-4
Omut. Yokaana 1:1, 1:14, 14:12, 17:17
Ebikolwa by’Abatume essuula 2
I Timoseewo 3:16
Abaebbulaniya 4:12, 13:8
I Yokaana 5:7
Ebyabaleevi 8:12
Yeremiya essuula 32
Yoweeri 2:28
Zekkaliya 4:12