22-0220 Akabonero Akookuna

Omugole acamusiddwa abaagalwa,

Olunaku lw’Obubaka bwelwatuuka, ffenna twali wamu, mu kifo kimu, okuva wonna munsi, amangu ago lwe wajja okuwuuma okuva mu Ggulu ng’empewo ewuuma n’amaanyi. “Amakya amalungi, ab’emikwano. Leka tuyimirire kati akaseera katono olw’okusaba”. Omwoyo Omutukuvu yajjuza ennyumba zaffe zonna n’amakanisa mwetwali tutudde, okubeerawo Kwe.

Olwo amaanyi ag’okubikkulirwa kw’Ekigambo negatandika okutuwa okucamuka okw’essanyu, okucamuka okw’okumatizibwa; okucamuka nti Kyakakasibwa, Kyalagibwa nti Kituufu, nti yeffe Mugole wa Yesu Kristo swiitimutima omulonde.

Tulindiridde n’okusuubira okw’amaanyi Ebibwatuka Omusanvu ebyo okwatula amaloboozi gaaByo, kubanga tumanyi kati, awatali kisiikirize kya kubuusabuusa, nti ffe kibiina ekyo ekitutte EKigambo kya Katonda. Tujja kusalamu obutundu era tusale nga tukozesa Ekyo. Tusobola okuggala eggulu, tusobola okuziba kino, oba okukola ekyo, kyonna kyetwagala okukola. Omulabe ajja kusalibwa Ekigambo ekiva mu kamwa kaffe, kubanga kisala okusinga ekitala kyonna eky’obwogi obubiri. N’okuba twandiyise obuwumbi kikumi obwa kkiro lukumi z’ensowera singa tubadde tuzaagala. Kyonna KYETWOGERA, kigenda kutuukirira, kubanga ky’Ekigambo kya Katonda nga kiva mu kamwa ka Katonda.

Tuliba n’obufuzi obusukkulumu obujjuvu, kunsi, kubanga tuli ka katonda akatono. Katonda ye Katonda w’ensi yonna ng’otwaliddemu obwengula bwonna n’emunyeenye, buli wamu, naye tujja kuba n’ensi wansi w’obufuzi bwaffe ffe. Tusobola okwogera, tusobola okutuuma amannya, tusobola okugamba, tusobola okuyimiriza obutode, tusobola okukola ekintu kyonna kyetwagala; busika bwaffe bwebuzziddwawo.

Setaani agamba, “Naye balina omusango!” Naye Aleekaanira waggulu n’agamba, “TEBALINA. Baatudde ebibi byabwe era bayimirira mu maaso GANGE nga baggyiddwako omusango mu bujjuvu. N’okuba ssisobola na kukijjukira. Bali mu bujjuvu obwa buli ngeri mutabani Wange.”

Ekyo si kirowoozo kyaffe, newankubadde okubeera ekigambo kyaffe, naye KIGAMBO KYE, KISUUBIZO KYE, kubanga Katonda lubeerera takyusa Kigambo Kye newankubadde engeri Ye ey’okukolamu ebintu. Bulijjo akozesa muntu, era Atugamba yeffe Mugole We azziddwawo mu bujjuvu era ayolesebbwa oyo asigadde n’EKigambo Kye.

Tetubadde na kintu kyonna okujjako Ekigambo Kye nnakabala. Tetwogeraganyizza byakikaba, oba kakibe okutunula ku kintu ekirala kyonna , naye tusigadde n’Eddoboozi lya Katonda, Ekigambo ekyambadde omubiri nga kifuuse omubiri, Empagi y’Omuliro ekakasiddwa, Omwana w’Omuntu, Bwatyo Bw’Ayogera Mukama. Yeffe Mugole Kigambo We embeerera.

Yogera ku kucamuka olw’okubikkulirwa. Nga mwannyinaffe ku Luzzi, tekyatwetaagisa kusigalawo kiro kyonna newankubadde okusigalawo okutuusa ekiro ekiddako, tuKifunye kati kati. Yeffe nsigo Ye. Ekitangaala ekyo kyatukubako era ekintu ekimu munda ne kibwatuka okudda mu bulamu obuggya. Kati tuli mu kkubo nga tugamba buli omu, “Tuwangudde. Okwewuunya kwonna kuweddewo, Katonda Mwene Ayogera gyetuli na buli Bubaka Bwetuwulira, nga Atugamba: ‘Yemmwe bembadde nnindiridde. Kaakati ngenda kubatwala mu anemuunu (oba akaseera k’okuwummulamu oluvannyuma lw’embaga ey’okufumbiriganwa). Nkukoledde Amaka agalabika obulungi mu ngeri ddala nga bw’oyagalamu buli kimu. Tugenda kumala obutaggwawo wamu.”

Eri ffe, Amazima ag’Ekigambo kya Katonda Ekisuubize gakakasibbwa ne gabikkulwa . Yokaana 14:12, Yoweri 2:28, Timoseewo ekyokubiri 3, Malaki 4, Okubikkulirwa 10. Kaakano tujuzibbwa Amafuta era tucamusibbwa.

Wandyagadde okuba n’okucamuka kuno kwekumu? Osobola, naye waliwo ekifo kimu kyokka ew’okuKufunira. Nga Yesu lwe yali ku mbaga omwenge negubaggwako. Baali banywera ddala omwenge era gwali gubawa okucamuka, naye OMWENGE OGUSINGA OBULUNGI gwajja butereevu okuva eri Yesu Mwennyini.

Jjangu onywe Omwenge Ogusinga Obulungi era ofune Okucamuka olw’okubikkulirwa Okusinga Obulungi wamu naffe Sande ku ssaawa 6 ezoomuttuntu mu budde bwe Jeffersonville (z’essaawa 2 ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira: Akabonero Akookuna 63-0321.

Wetegeke okutamiirira ku Mwenge Gw’Omwoyo Omutukuvu.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma mu kwetegekera okuwulira essomo “Akabonero Akookuna” 63-0321.
Omut.Matayo 4
Omut. Lukka 24:49
Omut. Yokaana 6:63
Ebikolwa by’Abatume 2:38
Okubikkulirwa 2:18-23, 6:7-8, 10:1-7, 12:13, 13:1-14, 16:12-16, 19:15-17
Olubereberye 1:1
Zabbuli 16:8-11
II Samwiri 6:14
Yeremiya 32
Yoweri 2:28
Amosi 3:7
Malaki 4