22-0130 Akabonero Akasooka

Nnaabakyala w’Eggulu abaagalwa,

Nze, Kabaka wo, ngenda kubwatuka gy’oli ku Sande era nkugambe GGWE, GGWE Mugole wange. Nnakwawula dda GGWE. Nkununudde GGWE. Nkujjeko omusango GGWE era ne nteeka amannya gammwe mu Kitabo kyange eky’omwana Gw’endiga nga ensi tennabaawo. Ye MMWE ba nnabakyala bange ba swiitimutima .

Nkulinze ne nkulinda GGWE bwentyo nsobole okuzzaawo byonna Adamu wange eyasooka byeyafiirwa. Obusika bwe bwonna bweyafiirwa. Okussa ekimu kwe kwonna n’eddembe lye okuba omulamu. Nnali mmuwadde obuyinza obusukkulumu, obujjuvu nsi. Yali Katonda ku nsi eno okubeera abantu nga nze bwendi Katonda wa buli nsi n’obwengula bwonna omuli emmunyeenye.

Yalina ensi ye wansi w’obufuzi bwe. Yali asobola okwogera, nga asobola okutuuma amannya, nga asobola okuyimiriza obutonde, yali asobola okukola ekintu kyonna ky’ayagala. Naye yaKifiirwa kyonna.

Kaakati, nga bwennakusuubiza GGWE mu Kigambo Kyange, Nzizizzaawo byonna byeyafiirwa era mbikuddizza GGWE. Binunuddwa. Obwannannyini bwonna obwomu mateeka ku byonna ebyabuzibwa Adamu kaakano BIBYO. Obwannannyini bonna obwomu mateeka ku kyapa ky’obulamu obutaggwawo ekiviira ddala ku mubereberye, ekitegeeza nti GGWE kaakano olina buli kimu Adamu ne Kaawa kyebaafiirwa.

Nnafuuka omununuzi wo owomu lulyo. Nnabanja ekyo ekyali EKYANGE. Nnatwala ekitabo ky’obununuzi okuva mu Mukono gwa Kitange, ne njuzaako obubonero okuva ku Kitabo ne nkisindikira Omubaka malayika wange owomusanvu okukikubikkulira GGWE. Alikukudizzaawo okukkiriza kwa Baibuli nnakabala era alikukubikkulira ebyama Byange BYONNA.

Ndaze ebintu bino okuba amazima era nembikakasa okuyita mu kulabisibwa gy’oli nga nkozesa Adamu wange asoose okuzzibwawo mu bulamba; Omubaka nnabbi malayika wange owomusanvu. Yasobolanga okwogera n’atonda bu kaamuje, n’addiza ekyennyanja ekimu obulamu bwakyo, n’afuga embeera n’azzaayo kibuyaga gy’ava. Yasobolanga okwogera n’azuukiza abafu. N’okuba naba n’ekifaananyi kyange nekikubibwa wamu naye okulaga ensi, ono ye Adamu Wange asoose okuzzibwawo, mumuwulire. Kaakano GGWE, Nnabakyala Wange, beera na byonna Adamu byeyafiirwa.

Jjukira, Omubaka malayika wange owomusanvu ajja kubeera ku nsi mu kaseera WeNnajjira. Ajja kubanjula MMWE GYENDI. Bwekatyo akagombe kange akasemba kalivuga n’abafiira mu Kristo balizuukira. Abo abalamu abalisigalawo balikwatibwa mu bbanga wamu nabo, okunsisinkana nze mu bbanga mu kaseera keekamu omubaka Wange owomusanvu kaali okuweeramu Obubaka Bwe. Akabonero akasembayo kabikkulwa. Akagombe akasembayo kalivuga; Ndijja okubanja ebyange, MMWE, era ndibatwala MMWE eri embaga YAFFE ey’obugole.

Nnaabakyala wange omwagalwa, jjangu ompuliriza nga njogera eri GGWE era nga nkubikkulira buli kimu kyeweetaaga. Nterese emmere eno KULULWO GGWE osobole okufuuka Nnaabakyala wange. Njakuba njogera NAAWE ku ssaawa 6 ezomuttuntu bu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 2 ez’ekiro e Uganda), wennaKuBwatukira Akabonero Akasooka 63-0318.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma mu kwetegekera okuwulira Obubaka:

Omut. Matayo 10:1 / 11:1-14 / 24:6 / 28:19
Omut. Yokaana 12:23-28
Ebikolwa By’Abatume 2:38
2 Abassesalonika 2:3-12
Abaebbulan iya 4:12
Okubikkulirwa 6:1-2 / 10:1-7 / 12: 7-9/ 13:16 / 19:11-16
Malaki essuula eyokusatu n’essuula eyokuna zonna
Danyeri 8:23-25 / 11:21 / 9:25-27

Okutuusa ekiseera ekinaddako, Katonda abawe omukisa, era okutuusa nga tusisinkanye nate ku Mmeeza ya Katonda gy’Ayanjuluzza n’Emmere etuukiridde, Emmere eyaterekebwa kulwaffe mu budde buno, enkya ku ssaawa 6 ezomuttuntu bu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 2 ez’ekiro e Uganda). Katonda abawe omukisa, era Shalom.