Category Archives: Uncategorized

23-0226 Akasengejja K’omuntu Alowooza

Obubaka: 65-0822E Akasengejja K’omuntu Alowooza

BranhamTabernacle.org

Ekibiina ky’Ow’oluganda Branham Abaagalwa,

Nnandyagadde okwaniriza ensi okutwegattako ku mukutu Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda), nga ffe Empungu tukuŋŋaanira awamu mu emu ku kkanisa za nnabbi buli square mayiro ebikumi bibiri. Tujja kuwulira Katonda ng’Ayogera ng’Ayita mu mubaka malayika We ow’omusanvu era atubuulire nti:

Obubaka buno, n’Obubaka obulala bwonna bwe njogerako, busindikibwa eri ekibiina kyange. Si bwa kibiina kyo okuggyako nga baagala okubufuna. Naye busindikibwa eri abantu bano wano.

Ayogera naffe, EKITIIBWA, ekibiina kye. Si mmwe abagamba nti, “Ow’oluganda Branham ye nnabbi, naye si ye musumba wange. Omusumba waffe agamba nti okuzannya entambi mu kkanisa tekikwatagana na Kigambo kya leero.” “Omusumba waffe atugamba nti tulina kuwuliriza ye. Okusinziira ku Kigambo, atukulembera nga akozesa Omwoyo Omutukuvu kati.”

Nabbi yakugamba, ggwe n’omusumba wo.

Eri abaweereza bonna mu kifo kyonna, essaawa yonna, kino tekyogerwa obutassaamu kitiibwa njigiriza zammwe, kino n’okuba tekitunuuliziddwa eri ndiga zammwe.

Tetwagala kubateganya ab’oluganda ne bannyinaze. Tukitegeera, Tekitunuuliziddwa eri mmwe, wabula eri ffe, abakkiriza nti Omwoyo Omutukuvu ataddewo omubaka malayika we ow’omusanvu okubeera omusumba waffe n’okutukulembera, ffe ekkanisa Ye. Tukkiriza nti okuzannya entambi LY’EKKUBO LYOKKA ETTUUFU. Oli mutuufu mu kukola ekyo nnabbi wo yakugamba GGWE okukola:

Era bulijjo mbajuliza, bwe baba nga ba mmemba b’ekkanisa emu, nti “Laba omusumba wo.”

Olina okukola nga omusumba wo bw’agamba.

Olwo nnabbi n’agamba omusumba wo omulundi omulala, okukakasiza ddala nti akitegeera.

Kati, omusumba, njagala okimanye nti, nti, kino kiri eri kibiina kyange kyokka kye ŋŋamba ebintu bino. Era nnina eddembe okukola ekyo, kubanga nateekebwawo Omwoyo Omutukuvu okukuuma endiga zino.

Atumiddwa okutukuuma, endiga ze; abo Katonda b’Atadde mu BULABIRIZI BWE. Omwoyo Omutukuvu ye musumba waffe nga bw’Ayogera naffe era nga atukulembera buli lunaku n’Eddoboozi lye eryakakasibwa.

Kino Mukama ky’atukulembera okukola. Tetukuwakanya ggwe oba omusumba wo, oba engeri gy’owulira ng’okulembeddwamu Mukama okukola. Buli muntu alina okukola nga bw’awulira nti Mukama bw’Amukulembera okukola okusinziira ku Kigambo.

Tulina akasengejja kamu, OBUBAKA BUNO. Buli kye tuwulira kirina okuyita mu kasengejja ako. Eddoboozi lye tuwulira ku ntambi lye ddoboozi lyokka lye tulina obwesige kikumi ku kikumi okubeera Bwatyo Bw’Ayogera Mukama.

Okkiriza nti okufukibwako amafuta okwo okuli ku bantu abo kitegeeza nti kwe kufukibwako amafuta kw’Omwoyo Omutukuvu?” Yee, ssebo, Omwoyo Omutukuvu wa Katonda owa nnamaddala ku muntu, kyokka ate nga omuntu oyo wa bulimba.

Enkomekkerero yaffe ey’olubeerera esinziira ku bye YAYOGERA KU LUTAMBI, so si omusajja omulala yenna oba ekibinja ky’abasajja kye boogera. Bwe tutyo, tetusobola, era tetujja kuwulira mulala yenna. Omuntu yenna ayinza atya okukizannyiramu zzaala?

Mujje mwekuŋŋaanyize wamu naffe n’okusingawo ennyo nga bwe mulaba olunaku nga lusembera.

Abantu basobola okutuula ntende mu maka gaabwe oba mu…ne bakuŋŋaanira mu bifo byabwe, mu makanisa gaabwe, n’ebirala, ne bawulira ssaaviisi.

Ekyo, bannange, okusinziira ku nnabbi wa Katonda, si okusinziira ku kuvvuunula kwa muntu omu ku Baibuli by’eyogera, kwe kwekuŋŋaanyiza awamu ku Kigambo n’okusingawo ennyo nga bwe tulaba olunaku nga lusembera.

Essanduuko omutali Katonda eba egasa ki? Kiba kisanduuko busanduuko eky’embaawo, emmeeza bbiri ez’amayinja.

Jjangu okuŋŋaane naffe nga bwetuwuliriza akasengejja Katonda ke yatuwa, nga bw’Atuleetera Obubaka: Akasengejja K’Omuntu Alowooza 65-0822E.

Owol. Joseph Branham

Kebera ky’olwanirira. Kebera ekikubeezezza wano. Kebera ekikutwala mu kkanisa. Ekikufuula…Kirungi okugenda mu kkanisa, naye togenda bugenzi ku kkanisa kyokka; ekyo tekijja kukulokola.

23-0219 Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye.

Obubaka: 65-0822M Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye.

BranhamTabernacle.org

Ekisibo kyange Ekitono,

Mbalamusaako mmwe nammwe abali ku mukutu guno ogw’amasimu, omulungi ennyo ddala. Nneebaza nnyo Mukama nti musobola okutuula ntende mu maka gammwe, ne mukuŋŋaanira mu bifo byammwe, mu makanisa gammwe, ne muwulira ssaaviisi. Yonna eyo eddoboozi lyange gyeliri mu kubatuukako, akabinja ako akatono kaweebwe omukisa.

Leero, njagala okubawandiikira akabaluwa k’omukwano akatono okuva ku mutima gwange okubazzaamu amaanyi. Yemmwe Katonda be yalonda okubeera Omugole we nga ensi tennatandikibwawo; mmwe abali mu kuwuliriza entambi zino. Mbagambye emirundi mingi nnyo, entambi zino zammwe mwekka, mmwe kibiina kyange. Sivunaanyizibwa ku Katonda bye yawa abaweereza abalala okusumba; Nze nvunaanyizibwa ku Mmere kika ki gye mbaliisa, ekyo kyokka. Entambi zino zammwe, weema yange yokka, Katonda b’Ampadde okusumba. Ye Mmaanu eyakwekebwa, omulala tasobola KuGilya.

Kati, abantu abamu bwe baba baagala okutabika-tabika emmere n’ebintu ebweru eyo, okubikkulirwa bakufune kuva eri Katonda era bakole Katonda ky’abagamba okukola, balye ku mmere yonna gye baagala. Nja kukola ekintu kye kimu. Naye Obubaka buno bwammwe mwekka.

Nfuba nga bwe nsobola okusigala butuufu n’Ekigambo, ku lwammwe abateekeddwa mu mikono gyange okuva eri Katonda, ’kubanga endiga zaagala mmere ya ndiga. “Endiga zange ziwulira Eddoboozi lyange.” Era ekyo ky’ekitubeezawo, buli Kigambo ekifuluma. Si Kigambo kimu leero ne luli, wabula buli Kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda. Ekyo ky’ekibakuuma mmwe abatukuvu nga muli balamu.

Buli muntu alina okuba n’ekintu kyeyeenywerezaako. Ekintu ekimu kirina okuba nga ye nkondo, mu njogera endala, ekisukkulumu mu byonna. Era buli muntu alina okuba n’ekisukkulumu mu byonna oba abusoluuti. Eri nze, n’eri abo be nsuubira nti nkulembera eri Kristo, era ku bwa Kristo, Baibuli ky’ekisukkulumu kyaffe mu byonna.

Kati, tukizuula nti Katonda yatutumira bannabbi be. Eyo y’engeri gy’alina ey’okuleetamu Ekigambo kye eri abantu, ng’ayita mu mimwa gya nnabbi we. Kati mu nnaku zino ez’oluvannyuma, Asuubizza okweyolesa mu bujjuvu nate, obw’omubiri gwe, mu Mwoyo. Ye Katonda Mwene mu ngeri y’ennukuta, mu ngeri ya nnabbi, nga Ayoleseddwa mu mubiri.

Nteekwa okubeera ntakera mu Maaso g’Omuwandiisi nga ne bbayiro yange ngitegese ekiseera kyonna okukoloboza wansi kyonna ky’ayogera. Ebirowoozo byange biteze (ng’omuntu bw’atega leediyo), biteze birowoozo bye; si omuntu ky’alowooza, omulembe kye gulowooza, ekkanisa ky’elowooza, obwakabaka kye bulowooza. Birowoozo bya Katonda byokka! Kyenkola kyokka kwe kutegeeza ebirowoozo bya Katonda mu ngeri y’Ebigambo.

Katonda bw’Ambikkulira ebirowoozo Bye, mbibategeeza mu ngeri y’Ebigambo byempisa ku lutambi, nti “BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA!” Tekiri, “Bwenti bwe Njogera.” Kiri, “BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA!” Nsobola kuKivvuunula nga Omuwandiisi bw’Aba Aŋŋanyizza okuKibavvuunulira; kubanga Kye Kigambo kya Katonda eky’obwa nnantakola nsobi.

Waliwo n’abalala bangi abagezaako okwefuula nze, nga bakabona, n’abalala. Era bakola ki? Babivuya buvuyi, kye kyokka. Tewali ngeri gyebakisobolamu yadde. Katonda yantuma, nze nnabbi We, okukulembera Omugole We; si musajja mulala, oba si kibinja ky’abasajja.

Ebigambo bye njogera, n’engeri gye nneeyisaamu, bijja kuziba abalala amaaso, naye bizibule amaaso g’abalala. Yannyambaza ekyambalo kye nnali ow’okwambalanga, obutonde bwange, ekigendererwa kyange, buli kimu nga kiri nga ddala bwennina okuba. Yannonda butuukirivu ddala kulwammwe. Abalala baalinga baakuyimirira batunule bagambenga nti, “Kale, sisobola. Waliwo…nze—sisobola kulaba.” Baazibibwa amaaso.

Ajja kubikkulira oyo gw’anaakibikkulira. Yeewunda bw’ati, nti Asobola okwekweka mu Byawandiikibwa, okuva eri abaasomerera ebya Katonda abasinga obugezi betulina. Asobola okwekweka obwekwesi, n’atuula awo wennyini mu Kyawandiikibwa, era basobola okutunula olunaku lwonna ne batakiraba yadde; ne bakinoonyeza obulamu bwabwe bwonna, ne batakiraba yadde. Asobola okwekwekako ka bwekwesi, ng’Atudde awo.

Ensonga enkulu kati eri nti abo abafuna Obubaka mu mitima gyabwe, bateekwa okugalamira mu Maaso g’Omwana, okwengezebwa. Munyige Zannya olwo muleke Omwana Abamamirire omusana gubamalemu bu ka kiragala, abafuule Abakristaayo abengevu.

Bwe yajja omulundi ogwasooka, yali musajja. Bw’ajja omulundi ogw’okubiri; ng’alina omugabo ogw’emirundi ebiri, yali musajja. Bwe yajja mu ngeri ya Yokaana Omubatiza, yali musajja. Yasuubiza okujja mu lunaku luno Atambulirenga era Yeebikulirenga mu musajja omu omulundi omulala; Omwana w’omuntu oli nga abeera mu mubiri gw’omuntu ow’okunsi.

Kati tuli mu mulembe gw’Eriiso, ogw’obunnabbi, ogwa Malaki 4. Tewali kirala kikyasigaddeyo kyo okujja okuggyako Ye yennyini okukka n’Ayingira mu ekyo, ’kubanga ekyo kye kintu ekisembayo ekiriwo.

Muwulirize, obuliga bwange obuto, mmwe Katonda b’Ampadde okusumba. Essaawa ya kikeerezi. Ajja mangu ku lwammwe, Omugole we. Musigale n’entambi ezo, tekyetaaga kuvvuunula.

Mbaaniriza mmwe obuwungu obuto mujje munneegatteko nga twegatta n’ekintu kyokka ekigenda okugatta Omugole We Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda). Ojja kuwulira Bwatyo Bw’ayogera Mukama nga Katonda ayogera okuyita mu nze nga Abikkula: Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye 65-0822M.

Jjukira, SIGALA N’OBUWEEREZA BW’OLUTAMBI. NYIGA ZANNYA BULI LUNAKU.

Ow’oluganda Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Okuva 4:10-12
Isaaya 53:1-5
Yeremiya 1:4-9
Malaki 4:5
Omut. Lukka 17:30
Omut. Yokaana 1:1 / 1:14 / 7:1-3 / 14:12 / 15:24 / 16:13
Abaggalatiya 1:8
2 Timoseewo 3:16-17
Abebbulaniya 1:1-3 / 4:12 / 13:8
2 Peetero 1:20-21
Okubikkulirwa 1:1-3 / 10:1-7 / 22:18-19

23-0212 So Tokimanyi

Obubaka: 65-0815 So Tokimanyi

BranhamTabernacle.org

Omugole Alindirira Omwagalwa,

Era nkimanyi nti, nga mmaze okugenda nga nvudde mu nsi eno, entambi ezo n’ebitabo ebyo bijja kuwangaala bisigalewo, era bangi kummwe abaana abato mulikizuula, mu nnaku ezirijja, nti gano ge Mazima gennyini, kubanga nkyogera mu Linnya lya Mukama.

Mujje mutwegatteko Empungu, Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira 65-0815 – So Tokimanyi.

Owol. Joseph Branham

23-0205 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi

Obubaka: 65-0801e Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi

BranhamTabernacle.org

Abantu b’Ekiseera kino Abaagalwa,

Kitaffe, tuKwagala nnyo. Tuyinza tutya okutandika okulaga ebyo bye tuwulira? Watulonda, Watwawula edda, n’ofuuka Omuntu omulamu okuwaayo Obulamu Bwo ku lwaffe.

Watuwandiikira ebirowoozo byo byennyini nga Oyita mu bannabbi bo, tusobole okuba n’Ekigambo Kyo. Olwo, nga bwewasuubiza, n’Ojja omulundi omulala, nga weebikkula mu mubiri gw’omuntu nga okozesa ebyatuukawo nga obunnabbi bwabilambulula, okuvvuunula n’okubikkula Ekigambo Kyo.

Olw’okulonda Kwo Ggwe, Walonda William Marrion Branham okubeera omusajja w’ekiseera kino. Ggwe wamulonda okutukwatako tusseeyo omwoyo ku by’agamba. Watambuzanga emikono gye. Watambuzanga amaaso ge mu kwolesebwa. Teyasobolanga kubaako ky’ayogera okuggyako ebyo bye Wali omulaze.
Teyasobolanga kwogeranga kintu kirala okuggyako ebyo bye Wateeka mu kamwa ke. Walina obuyinza obujjuvu ku lulimi lwe, engalo ze, na buli kitundu ky’omubiri gwe. Yali abulidde ddala mu ggwe.

Olwo, olw’okulonda Kwo ggwe era nate, Watulonda tubeere abantu ab’ekiseera kino. Akabinja ko akatono akakuŋŋaanyizibbwa olw’okuluŋŋamizibwa kw’Ekigambo Kyo, nga kaddamu okufulumya, Obulamu bwa Yesu Kristo. Ffe Kigambo Kyo nga twegatta ku Kigambo. Tetulina kirala kye tusobola kukola.

Kitaffe, twagala okubeera mu Kwagala Kwo ekutuukiridde; tewali kirala kikulu gye tuli. Tetwagala ndowooza yaffe, ebirowoozo byaffe, oba omusajja omulala yenna by’ayogera, okwagala Kwo kwokka.

Tugenze mu Kigambo Kyo okulaba byeWagamba nti tulina okukola okusobola okubeera Omugole Wo. Wagamba nti Ogenda kusalira ensi omusango olunaku lumu olw’Ekigambo Kyo. Watugamba nti Ekigambo Kyo kijja eri bannabbi bo BOKKA, abaamanyibwa edda era ne bayawulibwa Ggwe.

Watugamba Tekijja eri munnaddiini oba ekibinja ky’abasajja abamu, wabula okuyita mu nnabbi Wo. Y’ajja kuba Omuvvuunuzi Wo ow’Ekigambo ow’obwakatonda yekka. Si birowoozo bye, ebirowoozo bye, okuvvuunula kwe, wabula Ggwe nga Oyogera okuyita mu ye, ng’Ovvuunula Ekigambo Kyo.

Mu buli mulembe, abantu baleka abasajja okuteeka enzivuunula yaabwe ku Kigambo Kyo, era kibaleetera okuzibwa amaaso. Kikola ekintu kye kimu kye yakola ku Bafalisaayo n’Abasaddukaayo. Eyo y’ensonga lwaki abantu balemererwa okuKifuna leero. Bawuliriza omuntu omulala by’ayogera ku Kyo, mu kifo ky’okuwuliriza Ekigambo nga nnabbi Wo bwe yabagamba okukola.

Wagamba nti, nsooka kusindika Kigambo kyange, olwo abantu bwe batajja kukkiriza Kigambo kyange, olwo ne mbaweereza obuweereza. Era wagamba nti mu buli mulembe obuweereza bubula; si bonna, wabula abasinga obungi, ne bakulembera abantu nga babazza eri bo bennyini. Twagala kubeera mu Nteekateeka Yo nnakabala.

Kibuzaabuza nnyo, abaweereza tebasobola kukkiriziganya bokka na bokka. Ow’oluganda M tayinza kukkiriziganya na Waaluganda Y; Ow’oluganda Y takkiriziganya na Waaluganda Z. Tebasobola kukkiriziganya na bannaabwe. Balabika nga abakkiriziganyiza ku kintu kimu kyokka, tetulina kuzannya ntambi mu kkanisa.
Ye Babulooni omulundi omulala nate, nga kitabula nnyo. Tukkiriza nti waliwo Enkola y’omuddiriŋŋanwa egoberekeka emu yokka era tulina okwebajja tuje mu nkola y’omuddiriŋŋanwa egoberekeka eyo, so si kugezaako kubajja Nkola eyo okutujaamu.

Wabaddewo obuweereza bungi nnyo obusituse n’ebirowoozo byabwo, okuvvuunula kwabwo n’enjigiriza zaabwo. Bwonna bugudde butaka. Wabaddewo abaweereza abaayawulibwa abakulu abasitusenga nga bagamba mbu babuulira era mbu bajuliza Obubaka bw’ekiseera, era obuweereza bwabwe lye Kkubo Katonda lyeYateekawo leero, so si ntambi.

Balina abantu abeesimbu abagenda mu masinzizo gaabwe, ababawulirizza okumala emyaka. Balina abaweereza bangi ababakyalira, enkuŋŋaana, okudda obuggya, okubuulira, nga bagamba nti bye boogera lye Kkubo Lyo lye Watuteerawo, so si ntambi. Awo oluusi ne bagamba mbu, Obubaka si ge mazima.

Baali tebakebera by’ayogera n’entambi? Baali batwala butwazi kye yagamba nti kye Kigambo, lye Kkubo Katonda lye Yateekawo leero? Singa yali azannye buzannya ntambi, Eddoboozi Lyo eryakakasibwa olw’abantu, mu kifo ky’okwessaawo ng’eddoboozi erisinga obukulu, bandibadde bamanya nti kye baali bawulira kwali kuyigiriza kw’eyafukibwako amafuta ow’obulimba mu kiseera eky’enkomerero.

Ekyo tekitegeeza nti teweetaaga musumba. Tekitegeeza nti abasumba bonna baafukibwako amafuta ba bulimba. Tekitegeeza nti waliwo bangi ababuulira ekyo kyennyini Ow’oluganda Branham kye yayogera. Kitegeeza nti ekintu ekisinga obukulu ky’olina okuwulira bwe Bubaka obuli ku ntambi; Obwo bwe BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA BWOKKA.

Obwo Ye ndagiriro. Obwo Ye Abusoluuti. Kye Kigambo eky’enkomeredde. Kye Kigambo kyokka ekituukiridde. Okujjako nga omusumba wo, omukulembeze wo ow’omwoyo, nga awuliriza Ekigambo ekyo ekirongoofu n’abantu be, wajja kubangawo ekikyama.

Lwaki obuweereza tebujja kuzannya Eddoboozi Lyo eryakakasibbwa mu masinzizo gaabwe? Bayinza batya okugamba nti kikyamu ate nga bagamba nti bakkiriza Kye Kigambo? Lwaki bakola eby’okwekwasa ebya buli ngeri ne bagamba nti obuweereza bwabwe lye Kkubo Lyo ly’owadde leero, so si Eddoboozi lyo eryakakasibwa ku lutambi?

Lwaki batiisa abantu nga bagamba nti kubanga tugamba nti “NYIGA ZANNYA” okuwulira Eddoboozi Lyo, tusinza musajja so si Ggwe Ayogera ng’Oyita mu musajja oyo?

Tusinza GGWE WEKKA KITAFFE. Tukikebera n’Ekigambo Kyo emirundi n’emirundi. Otubuulira ng’Oyita mu nnabbi wo mu buli Bubaka bwe tuwulira ku ntambi nti: Ye Kkubo lyo lyokka lye Wateekawo olwaleero.

Walala wa Omugole Wo w’ayinza okugenda okuggyako butereevu eri Ekigambo Kyo. Ffe Mugole Kigambo Wo Embeerera. Tulina okusigala n’Empagi Yo ey’Omuliro. Kye kifo kyokka we tusobola okumatira n’okugamba amiina eri buli Kigambo kye tuwulira.

Kitaffe, tuKulaba wabweru w’ekkanisa Yo ng’Ogezaako okuyingira, era kitumenya omutima. Ekinyolo kiri munda era tukugguliddewo oluggi Oyingire. Tetulina kirala kye tumanyi. Tetwagala kintu kirala kyonna. Tetusobola kutwala kintu kirala kyonna. Tulina olubuto lw’Ekigambo Kyo.

Tweyanzizza Kitaffe olw’Okubikkulirwa kw’Ekigambo kyo. Tetuwakanya muntu yenna, tuli bubeezi ba Kigambo Kyo obunnabbi bweKyalambulula. Tujja kuyimirira mu maaso go olunaku lumu mu musango. N’emitima gyaffe gyonna twagala okugamba nti, “Kitaffe, tusigadde n’Ekigambo Kyo.”

Kubiriza omusumba wo, omukulembeze wo ow’omwoyo, Okunyiga Zanya ku Ssande eno owulire Eddoboozi lya Katonda. Ojja kusalirwa omusango olunaku lumu okusinziira ku ekyo Ekigambo kya Katonda kye kyogera ku ntambi. Oyinza otya okukozesa omukisa gwo ku kintu ekirala kyonna?

Oyanirizibwa okujja okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda), era owulire: Ebigenda Mu Maaso Nga Obunnabbi Bwabirambulula 65-0801e, nga Katonda ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omusajja gwe Yeelondera. Oyo gwe yawa eri ekibiina kye, ekirabo kye. Yamuwa obutonde bwe, sitayiro ye, ne kyonna kye kiri, engeri gy’ayogeramu, ne kyonna ky’akola. Yafuula William Marrion Branham omusajja w’ekiseera kino okufunayo abantu b’ekiseera kino, era ffe BANTU B’EKISEERA KINO.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa:
Olubereberye: 22:17-18
Zabbuli: 16:10 / Essuula 22 / 35:11 / 41:9
Zekkaliya 11:12 / 13:7
Isaaya: 9:6 / 40: 3-5 / 50:6 / 53:7-12
Malaki: 3:1 / Essuula ey’okuna yonna
Omut. Yokaana 15:26
Omut. Lukka 17:30 / 24:12-35
Abaruumi: 8:5-13
Abebbulaniya: 1:1 / 13:8
Okubikkulirwa: 1:1-3 / Essuula 10 yonna

23-0129 Katonda W’Omulembe Guno Omubi

Obubaka: 65-0801M Katonda W’Omulembe Guno Omubi

BranhamTabernacle.org

Embeerera za Kristo Entono, Ekigambo, Ekisibo Abaagalwa,

Tetusobola kuba kintu kirala kyonna. Tetusobola kuwulira kintu kirala kyonna. Tetulina kirala kye tumanyi. Tetwagala kintu kirala kyonna. Awali Ennyama ensu, NYIGA ZANNYA, ekyo nga kye Kigambo ky’entuuko zino, awo empungu wezinaakuŋŋaaniranga. Ekigambo nga kifuuka Obulamu muffe.

Tetuli beebamu n’abantu abalala bonna! Muli bantu abaayawulibwa, abatukuvu eri Mukama, abeewaddeyo eri Ekigambo n’Omwoyo wa Katonda, okubala ebibala by’ekisuubizo kye olw’olunaku luno. Bulijjo tukula era nga twengera nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda.

Nabbi yatugamba tuddengayo tujulize entambi zino. Bw’oba olina ekyuma ekizannya entambi, kuŋŋaanyaayo ekibinja ky’abantu oluzannye, era muwulirize bulungi. Wuliriza Eddoboozi lye, by’Atugamba. Ekigambo kya Katonda tekyetaaga kuvvuunula; Akola okuvvuunula kwe Ye. “Nze Ddoboozi lya Katonda gyemuli.”

Era kye kino, Baibuli, si kigambo kimu okugattibwa ku Yo oba okuggyibwamu. Sigala busigazi butuufu n’Eddoboozi eryo. “Omulala tezirimugoberera,”

Omuntu yenna ayinza atya obutalaba Kkubo lya Katonda ly’Attaddewo ku lw’olwaleero? Naye ekitiibwa kibe eri Katonda, tusobola okuKiraba, kubanga twalondebwa okuKiraba. Tetujja, era tetusobola kulimbibwa, kubanga tuli Kigambo kye ekyolesebbwa.

Ab’oluganda ne bannyize, ekyo leka kitunnyikiremukko akadakiika kamu kokka, FFE EKIGAMBO EKYOLESEDDWA!! Katonda Mwene, ng’Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’okunsi, atugamba nti FFE KIGAMBO. Tetulina yadde n’akatono kye tutya. Buli kye twetaaga kyaffe.

Buli wiiki tubeera wansi w’okusuubira okw’amaanyi Mukama okutukyalira. Tetulina kifo wano kutuuza buli muntu, era buli muntu tasobola kujja mu Jeffersonville, kale tuba tulina kubaweereza buweereza Kigambo nga tuyita mu yintaneeti.

Tuli mu maka gaffe, mu masinzizo gaffe, mu mmotoka zaffe, nga tukuŋŋaanidde ku buzindaalo bwaffe obutono okuva mu nsi yonna, nga tulindirira Okujja kwa Mukama.

Bakuŋŋaanye wamu naffe mu Afrika, nga balindirira Okujja kwa Mukama. Bakuŋŋaanye wamu naffe mu Mexico, nga balindirira Okujja kwa Mukama. Mu Bulaaya, Scandinavia, Australia, mu buvanjuba obw’amasekkati, South America, okuva ku nsonda ennya ez’ensi, nga balindirira Okujja kwa Mukama.

Era tukuŋŋaanidde wano mu kkanisa y’awaka, ku tabanako, nga tulindirira Okujja kwa Mukama. Twawukana essaawa nnyingi mu budde, naye tuli wamu nga EKITOLE KIMU, abakkiriza, nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda, nga tulindirira Okujja kwa Masiya.

FFE bantu ba Katonda abaayitibwa era abaalondebwa okuva mu mulembe guno omubi olw’Erinnya lye. Tugezesebwa era ne tukakasibwa eri Sitaani nti ffe Kigambo. Tuli kitundu ku Muti ogwo ogwo Nnakabala ogw’Omugole. Tulaba obulamu bwaffe nga bwolesebwa Ekigambo ekyo.

Kyangu buli muntu okukkiriza nti Yesu ye yali eky’okuddamu obutereevu eri buli bunnabbi obwali bugenda okutuukirira mu ye, kubanga batunula emabega okubulaba nga butuukirira. Naye mu mulembe guno omubi ogw’akaseera kano, bakola ekintu kye kimu kye baakola mu kiseera ekyo, nga baKitaputa mu ngeri endala, era baleetedde abantu okugenda mu kukyamya okukola, bakkirize eby’obulimba. Singa basobola okutegeera nti Kye Kigambo kye kimu eky’omulembe guno ekiri mu kwolesebwa.

Waliwo ekintu kimu kyokka ekiyinza okugatta Omugole, Obubaka buno. Waliwo ekintu kimu kyokka ffenna kye tuyinza okukkiriziganyaako, Obubaka buno. Waliwo Eddoboozi limu lyokka erikakasiddwa okuba Bw’ati Bw’agamba Mukama, Eddoboozi lya Katonda ku lutambi.

Kati, amakanisa ag’ekibuguumirize obubuguumirize, ag’enneeyisa ey’ekikungu, agannyogoga n’ebirala, ag’eby’eddiini ebikoleddwa abantu, ekyo tekyandibadde; Abalonde ekyo tebayinza kukiteekako mwoyo n’akatono. Naye kiri eyo waggulu kumpi nga kiringa kiri ekituufu. Okulekayo Ekigambo kimu kyokka ky’olina okukola. Kyasuubizibwa ku mulembe guno; ekiseera kikulu nnyo! Abakristaayo, buli wamu, mufeeyo ku ssaawa gye tulimu! Baako w’owandiika oba w’olamba, era osome, era owuliririze kumpi.

Katonda w’omulembe guno omubi akola kyonna ky’asobola okulimba abantu okuyita mu kukugira Eddoboozi Lya Katonda eryakakasibwa okubatuukako. Agezaako okubaleetera obutakkiriza Kigambo kimu kyokka, nga bwe yakola Kaawa mu lubereberye.

Naye Omugole-Kigambo owa Kristo ajja eri Omutwe. Tuli mu kugattibwa nate n’Omwagalwa waffe eyo gye twatandikira. Ekiseera ky’okuva kisembedde. Katonda ajja okucima Omugole we asigadde n’Ekigambo Kye.

Omwoyo Omutukuvu Ali wano nga Ayita Omugole ku lwa Kristo. Akikola okuyita mu kukakasa Ekigambo kye eky’ekisuubizo gy’ali, olw’omulembe guno, ng’alaga nti Ye Kristo.

Tewali kisinga bukulu ku kubeera obumu n’Omugole okwetoloola ensi yonna, ng’owuliriza Eddoboozi lya Katonda nga lyogera butereevu naawe. Mpaawo bya kusuubira, kwewuunya oba wadde okusaba nti oba by’owulira mazima. Kubanga LYE DDOBOOZI BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA LYOKKA, ERYAKAKASIBWA.

Jjangu twegatteko owulirize:

Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye.

ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira: Katonda W’Omulembe Guno Omubi 65-0801M.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Omut. Matayo essuula 24 yonna / 27:15-23
Omut. Lukka 17:30
Omut. Yokaana 1:1 / 14:12
Ebikolwa 10:47-48
1 Abakkolinso 4:1-5 / 14 yonna
2 Abakkolinso 4:1-6
Abaggalatiya 1:1-4
Abeefeso 2:1-2 / 4:30
2 Abasessaloniika 2:2-4 / 2:11
Abebbulaniya essuula ey’omusanvu
1 Yokaana Essuula 1 / 3:10 / 4:4-5
Okubikkulirwa 3:14 / 13:4 / Essuula 6-8 ne 11-12 / 18:1-5
Engero 3:5
Isaaya 14:12-14

23-0115 Abafukeko Amafuta Mu Kiseera Eky’Enkomerero

Obubaka: 65-0725m Abafukeko Amafuta Mu Kiseera Eky’Enkomerero

PDF

BranhamTabernacle.org

Abakuŋŋaanira Mu Kiraalo Ky’Endiga Abaagalwa,

Mmatiziddwa ddala era nsiima nnyo Mukama okubeera nga nkuŋŋaanira wamu na buli omu ku mmwe mu kiraalo ky’endiga za Katonda buli wiiki, eyo gyetukwekebwa mu kifo kyaffe eky’ekyama, nga tulya era nga tubeerawo ku Mmere eyo Eyakwekebwa. Kwe Kubikkulirwa kwa Yesu Kristo, nga Yeekakasa era nga Yeebikkula gyetuli.

Yeekwese  abalala baKitunuleko ddala naye baleme kuKiraba, naye eri ffe,  Omugole WE Omulonde , tuKiraba bwanjulukufu ddala era tukkiriza buli Kigambo. Tusigadde n’Ekigambo Kye ne nnabbi We engeri gyebali Omu era beebamu. 

Era bw’oba omwana wa Katonda, ojja kusigala ne nnabbi wa Baibuli eno. Kye Kigambo.

Bannabbi bangi abafukeko amafuta leero bagamba “Omwoyo Omutukuvu gw’olina okusigala naye, si nnabbi.” Nga bannabbi ab’edda, bwetuba n’ekibuuzo, walina okubaawo eky’okuddamu ekituufu. Tuteekwa okugenda ERI EKIGAMBO okulaba kiki nnabbi eyaliwo nga tetunajja kyeyagamba.

Naye waliwo Omwoyo wa Kristo omu owa nnamaddala, era Kye Kigambo nga kifuuse omubiri nga bweYasuubiza okukikolamu.

Omwoyo wa Kristo OMU owa nnamadala gweYasuubiza, Malaki 4, Lukka 17, Omwana w’Omuntu nga Yeebikkulira mu mubiri gw’omuntu w’okunsi.

Yee, eriyo abasajja abaafukibwako amafuta. Yee, balina okuyitibwa (okuyitibwa kwa Katonda) Yee, balina Omwoyo Omutukuvu owannamaddala. Yee, balina ekiruubirirwa n’ekigendererwa ekituufu.

Kati olwo tunaamanya tutya ekituufu ky’ekiriwa n’ekikyamu ky’ekiriwa?

Weetegereze, bafaanagana mu ndabika. Bafukiddwako amafuta  mu ngeri y’emu. Wabula weetegereze, “Ku bibala byabwe…” 

Nkyawa okwogera ebintu bino naye essaawa ya kikeerezi era obudde buli mu kutuggwako. Kino ky’ekiri mu kwogerwa n’okubuulirwa leero emisege egyo emikambwe Pawulo gyeyalabula ekkanisa, n’abaafukibwako amafuta ab’obulimba Ow’oluganda Branham beyagamba nti balijja. Bali wano muffe, ddala nga bwebaagamba.

Kiikino ekitundu okuva mu bbaluwa eyawandiikibwa omuweereza. Ekibala kyabwe kugeezaako okuteekawo embeera ebuusabuusisa nnabbi wa Katonda. Balabula abantu baabwe nti tuli basinza ba muntu olw’okuba tugoberera nnabi n’okunyiga zannya.

Wuliriza obulimba obuli mu kino gyebukoma.

Kinneesittazza nti dayimooni eno esensedde nnyo n’eyambukira mu bavunaanyizibwa ku mirimu gyaffe mu bubaka okutuusa nga kati ebitabo ebisaasanyizibwa ebyakubibwa okuva mu masomo ga William Branham biyitibwa EDDOBOOZI LYA KATONDA. William Branham si yeeyali eddoboozi lya Katonda , wabula eddoboozi ly’omuntu Katonda gweYakozesa. Baibuli tegabambako nti yali ddoboozi lya Katonda, wabula ate Baibuli emulaga nga eddoboozi lya malayika ow’omusanvu.  (Okub 3:14; 10:7).

Leka tugende eri Ekigambo era tuleke nnabbi wa Katonda ayasanguze enjigiriza eno ey’obulimba.

Bwemba nga mbeesittazza mu kwogera ekyo, munsonyiwe, naye, mpulidde nga ekyo kyandibakaayira, naye, NDI DDOBOOZI LYA KATONDA GYEMULI.
    

Kati ani gw’ogenda okukkiriza, nnabbi ono ow’omulimba eyafukibwako amafuta, oba OMUBAKA MALAYIKA WA KATONDA EYAKAKASIBWA? Oyinza otya okuba nga otudde wansi w’omuweereza yenna ayinza okukkiriza oba okuyigiriza ebintu bwebityo? Mwandiddako  mu Kigambo nga ebiseera bikyaliwo.

Ensobi ey’amaanyi ekoleddwa ab’omu bubaka ne bafuula William Branham Katonda okuyita mu kumufuula abusoluuti.  William Branham teyabeerako abusoluuti! Ekigambo Kya Katonda ye abusoluuti.

Amiina, Ekigambo kya Katonda ye Abusoluuti waffe. Ekigambo kyajja eri ani, eri ggwe oba eri YE? Omuvvuunuzi w’obwakatonda ow’EKIGAMBO KYA KATONDA y’ani, ggwe or YE? Empagi ey’Omuliro yakakasa ani okubeera Bw’Ati Bw’Ayogera Mukama,  ggwe oba YE?

Kubanga  bw’ofuna abantu babiri, oba ofunye endowooza bbiri. 

Tetwetaaga bantu babiri kazibeere endowooza zabwe, twetaaga bwetaazi nnabbi wa Katonda kyeyayogera ku lutambi.

Era kiba kirina okuwunzikira ku abusoluuti omu ow’enkomeredde, era abusoluuti wange kye Kigambo, Baibuli.

Kiikyo awo, ddala nga bwewagambye, Baibuli ye Abusoluuti we era ye waffe, naye ate agamba:

Mmanyi nti mmwe, baganda baffe, mulina engeri gyemuntunuulira okubeera abusoluuti wammwe. 

Kale lindamu akadakiika, ekyo kiwulikika nga ekikontana n’ekyo KYEWAYOGEDDE. Yagambye nti ddala tumutunuulira okubeera abusoluuti waffe.

Kasita mba nga ngoberera Katonda, nga Pawulo bweyagamba mu byawandiikibwa, “Mungoberere, nga bwengoberera Kristo.”

Ekyo si kifukeko amafuta? Yabadde amanyi kyeyabadde ayogerako?

Kiki nnabbi wa Katonda kyeyaakatugamba wiiki ewedde?

Tulaba nti omusajja bw’ajja, nga atumiddwa okuva eri Katonda, nga yayawulibwa Katonda, nga alina BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA yennyini, obubaka n’omubaka byombi biba ekintu kimu.

Yagamba tosobola kubyawula, biri ekintu kye kimu, naye ogamba nti tusaana tubyawule?

William Branham si wanjawulo ku muntu omulala yenna mu mubiri ogufa, kubanga yali muntu akwatibwa byonna nga ffe, era nga n’Eriya bweyali.  

Amiina, yali muntu buntu kikakafu ddala, naye yeeyali OMUNTU OYO Katonda gweYalonda okumubikkulira Ekigambo Kye kyonna, n’okutukulembera  okugenda mu Nsi Ensuubize. Yeeyali oyo Katonda gweYagamba nti, leetera abantu okukukkiriza GGWE.

Ekintu kye kimu, baafukibwako amafuta, babuulira Enjiri ya pentekooti, naye nga beegaana ekisuubizo eky’olunaku olwaleero eky’Ekigambo ekiri mu kukakasibwa, “Yesu Kristo aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna.”

Tuli baakumanya tutya enjawulo oba nga ddala baafukibwako amafuta n’Omwoyo Omutukuvu?? Atuwa eby’okulabirako tusobole okwawula bannabbi ab’obulimba okuva ku nnabbi omutuufu.

Balaam ne Musa. Mikaaya ne Zeddekiya. Yeremiya ne  

Kananiya. Mu buli kimu ku by’okulabirako bombi baabeeranga bannabbi abafukeko amafuta Katonda, naye yatugamba kukola ki, KUSIGALA NA NNABBI WA KATONDA EYAKAKASIBWA . Eyo y’engeri YOKKA ey’okubeera omukakafu nti ogoberera Ekkubo lya Katonda  lyeYateekawo, era nti oli mu Kwagala Kwe okutuukiridde.

Nze ndi bubeezi oyo abeera okumpi nga Ye (Katonda) Akikola. Nnali buubeezi ddoboozi Ye lyeYakozesa, okuKyogera. Ekyo nange si kyennali mmanyi; Ekyo ky’ekyo kyenneewaayo obuwi gyeKiri,  Ye n’Asoboola okwogera nga Ayita omwo.

Ekyo Baibuli ky’Eyagala era kyeYeetaaga. Eddoboozi limu. Nnabbi omu. Obubaka bumu. Omubaka omubaka.

Ai Kitaffe, nga tweyanzizza nnyo olw’ekisa Kyo n’okusaasira kwo gyetuli. Watugamba nti tewali kitayinzika eri Ggwe. Tewali  kitayinzika eri ffe. Kubanga ebintu byonna biyinzika eri abo abakkiriza, era TUKKIRIZA.

Jjangu okutweyungeko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville (z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda), nga bwetubeera n’Eddoboozi lya Katonda nga Litubuulira byonna ebikwata ku  Abaafukibwako Amafuta Mu Kiseera Eky’enkomerero 65-0725M.

Owol. Joseph Branham

23-0108 Emmere Ey’Omwoyo Mu Ntuuko Zaayo

Obubaka: 65-0718e Emmere Ey’Omwoyo Mu Ntuuko Zaayo

PDF

BranhamTabernacle.org

Abanoonya Eby’obugagga Eby’omuttaka Ebikusike Abaagalwa,

Waliwo oluzzi olw’ensulo olw’Okubikkulirwa oluvululira munda muffe nga bwekitabangawo. Tuwulidde Obubaka buno obulamu bwaffe bwonna, era bulijjo tukkirizzanga buli Kigambo, naye KATI kyoleseddwa mu ffe nga bwekitabangawo.

Kaakano ky’ekiseera, kaakano z’entuuko mwetulya ku bintu bya Katonda eby’ekyama ebikwekeddwa okuva eri ensi.  Ekintu abantu kyebasekerera ky’ekintu kyetusabirira. Ekintu abantu kyebayita “eky’obuzoole,” tukiyita “ekikulu ennyo!” Katonda Atubikkulidde nti waliwo ekkubo limu lyeYateekawo okubeera Omugole We, NYIGA ZANNYA.

Naye Katonda Yeebazibwe, tulina Emmere Eyakwekebwa, Emmere ey’omwoyo, nti tubeera mu bulungi n’ekisa eky’okubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu nnaku zino ez’oluvannyuma, nga Yeekakasa mu masekkati g’abantu Be.

Na buli Bubaka bwetuwulira, Atukakasa nti Kwe Kwagala kwe okutuukiridde. Si KYETULOWOOZA nti ky’Agamba, oba KYETULOWOOZA nti kyeKitegeeza, WABULA KYENNYINI ky’Ayogera era abalala tebasobola busobozi kuKiraba; bazibe b’amaaso.  Katonda AKikwese. BaKitunuulira, naye nebataKiraba. Eri ffe, KYETULABA KYOKKA.

Nga bwetukuŋŋaana buli sabbiiti, kumpi tetusobola kulinda kuwulira ky’Agenda okutugamba n’okutubikkulira. Ssande eno, Tagenda kutubajjulirako bubajjo ku ky’obugagga ekyomuttaka ekyo, Agenda kukitusimirayo kyonna AKYABIZE mu maaso gaffe nga bw’Addamu okukakasa nti tuKifuna.

  Bannabbi b’omu Ndagaano Enkadde, oba ebiseera ebirala byonna, baabeeranga mu Kubeerawo kwa Katonda okutuusa lwe baafuukanga Ekigambo, n’Obubaka bwabwe nga Kigambo kyennyini. Era, jjukira, yagamba nti, “BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA.”

  Tulaba nti omusajja bw’ajja, nga atumiddwa okuva eri Katonda, nga yayawulibwa Katonda, nga alina BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA yennyini, obubaka n’omubaka byombi biba ekintu kimu.

  Mu ngeri y’emu omuntu bw’ajja ne BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA, ye n’Obubaka baba bali kimu.

  Obwengula bukirangirira, Bayibuli ekirangirira, Obubaka bukirangirira, byonna ekintu kye kimu.

  Nnabbi, Ekigambo, Obubaka; omubaka, Obubaka, n’Obubaka, byali ekintu kye kimu.

  Omuntu yenna n’obubaka bwe baba bali omu.

Yogera ku kirombe kya Zaabu.

Bw’oba nga olina Obukikkulirwa waakiri okutonotono, ndowooza ekyo akilambika butangaavu ddala; Obubaka n’omubaka biri ekintu kye kimu. Owulira kyeyagamba…BYE BIMU!! Olwo nno tosobola kwawula mubaka ku Bubaka, abaweereza.

Olina okuteeka OMUBAKA mu kkanisa yo wamu n’OBUBAKA bweyaleeta ekitali ekyo oba tosembezza BUBAKA BWONNA. TOBA MUGOLE.

Ha! Nate, kifuula Obubaka n’omubaka okuba ekintu kimu. Emmere ey’Omwoyo ewedde okutegeka, era zino ze ntuuko Zaayo kati.

Kulwaffe, abakkiriza essaawa ya Katonda gyetulimu, Omubaka gweYatuma, buli Kigambo kyeyayogera; ebintu bino Mmere eyakwekebwa.

Nga twagala nnyo Obubaka, era ng’okyalowooza nti, “wayinza watya okubaayo ekisinga kino?” Akitikkira ejjinja ery’okuntikko nga Atugamba kyetuli kati.

Temulaba buyinza bwa Katonda omulamu mu Kkanisa ennamu, Omugole? Abalwadde bawonyezebwa, abafu bazuukizibwa, abalema batambula, bamuzibe balaba, Enjiri efulumira mu maanyi gaayo, kubanga Obubaka n’omubaka biri kye kimu. Ekigambo kiri mu Kkanisa, mu muntu.

Ekigambo Ekyo MU FFE. Ffe Bubaka. Tulina obuyinza. Obubaka naffe tuli kye kimu!! Yogera ku kuvulula nga bwetuddamu nga bwetuddamu nga bwetuddamu.

Omugole omukazi kitundu ku Bba, Ekkanisa eri kimu ne Kristo. “Emirimu gye nkola nammwe gye mulikola.”

Tuli kitundu ku Balo!!

FFE BAMU NE KRISTO!!

Mulowooza kiwulikika bulungi kati, era kiwa omutima gwo omukisa nga tusoma okunokola kuno, lindirira bulindirizi okutuusa ga owulidde Eddoboozi Lya Katonda nga libikugamba kamwa ku kutu Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda). nga tuwulira: 65-0718E Emmere Ey’Omwoyo Mu Ntuuko Zaaayo.

Oyanirizibwa okujja okutweyungako. Bw’oba tosobola, NYIGA ZANNYA ekiseera kyonna kyonna, Obubaka bwonna, ekifo kyonna, era owulire Omubaka wa Katonda nga Akuleetera Obubaka bwa Katonda.

Owol. Joseph Branham.

Bwe kityo bwe kiri ne leero, ab’emikwano. Bwe kityo bwe kiri ne leero, nti Omugaati gw’Obulamu abaana gwe balyako, gwe gugoberera Obubaka bwa Katonda, okusobola okubabeezaawo mu kiseera eky’ekyeya.

Ebyawandiikibwa eby’okusoma

1 Bassekabaka 17:1-7 Amosi 3:7 Yoweeri 2:28 Malaki 4:4 Lukka 17:30 Omut. Yokaana 14:12

22-1231 Okumeggana

Obubaka: 62-1231 Okumeggana

BranhamTabernacle.org

Ekisibo Eky’okukyalo Abaagalwa,

Njagala tube n’Okusembera nate mu maka gaffe mu Kiro Ekikeesa Olusooka, Ddeesemba nga 31. Ebiragiro ku ngeri ey’okufunamu Omwenge, n’engeri ey’okufumbamu omugaati gw’okusembera osobola okubisanga mu mikutu gino wammanga. Omukutu gw’olutambi lw’eddoboozi olw’olukuŋŋaaana oluwanulibwa ku mutimbagano gujja kubateerwayo ku kibanja kyaffe. Oba, oyinza okuzannya olutambi lw’eddoboozi mu apu ya Lifeline.

Ku lw’ab’okukyalo e Jeffersonville, muyinza okukima Omwenge gw’Okusembera ku Lw’okutaano, Ddeesemba nga 30, okuva ku ssaawa 7:00 (musanvu) ez’omuttuntu – 10:00 (kkumi) ez’akawungeezi, wansi w’olusiisira lwa VGR.

Tujja kuwuliriza 62-1231 Okumeggana, okuva ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’akawungeezi EST ku Lw’omukaaga (z’essaawa 7 (musanvu) ogw’ekiro e Uganda), Ddeesemba nga 31. Ow’oluganda Branham nga amaze okuleeta Obubaka bw’Ekiro Ekikeesa Olusooka, tujja kuyimirizaamu ku lutambi tube n’eddakiika nga 10 ez’ennyimba ez’okusinza nga bwetwetegekera Ekyeggulo kya Mukama waffe. Tujja kugenda mu maaso n’olutambi awo ow’oluganda Branham w’atandikira olukuŋŋaana lw’Okusembera. Ku lutambi luno, alekayo ekitundu eky’okunaaza ebigere, kyetujja okukola nakyo.

Nga bwetuyingira mu mwaka omuggya mu kuMuweereza, leka tuddemu tuweeyo obulamu bwaffe bupya gy’Ali okuyita mu kusooka okuwulira Ekigambo, olwo ne tulyoka tulya ku Kyeggulo Kye. Nga mukisa gwa muwendo gwetulina nate okufuula amaka gaffe Awatukuvu okwaniriza Kabaka wa Bakabaka okuyingirawo Atweyungeko.

Katonda Abawe omukisa,

Ow’oluganda Joseph