Obubaka: 65-0822M Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye.
- 24-0908 Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye
- 23-0219 Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye.
- 21-1024 Kristo Abikkulibwa Mu Kigambo Kye
- 21-0530 Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye
- 19-1013 Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye
- 17-1112 Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye
Branham Tabanako Abaagalwa,
Nga galina omukisa amaaso gaffe; kubanga galaba. Nga galina omukisa amatu gaffe; kubanga gawulira. Bannabbi n’abantu abatuukirivu beegomba nnyo okulaba ssaako n’okuwulira ebintu bye tulabye n’ebyo bye tuwulidde, naye ne batayinza. Ffe TULABYE ERA TUWULIDDE EDDOBOOZI LYA KATONDA.
Katonda Mwene Yasalawo okuwandiika Baibuli ye ng’Ayita mu bannabbi be. Katonda Mwene era Yasalawo okubikkulira ebyama byE ffenna mu kiseera kino eky’enkomerero eri Omugole we ng’Ayita mu nnabbi wE. Bye bikula bye, Ekigambo kye ekitegeezeddwa, ekibireetera okuba nga byonna biri kitundu ku Ye.
Omulembe gwaffe bwe gwatuuka, Yaleetera nnabbi wE okutuuka mu kiseera kye kimu. Yamuluŋŋamyanga era Yamwogererangamu. Eyo ye yali ngeri gye Yategekerawo era gye Yateekawo ey’okukikolamu. Okufaananako Baibuli, Kigambo kya Katonda, so si kigambo kya muntu.
Tuteekwa okuba ne Abusoluuti, ekintu ekimu ekisukkulumu; Ekigambo ekisembayo. Abantu abamu bagamba nti Bayibuli ye Abusoluuti waabwe, so si ebyo ebyayogerwa ku ntambi; gy’oli zo zoogera ebyawukana ku Yo. Kyewunyisa nnyo engeri Katonda gy’Akwese Okubikkulirwa okw’amazima okw’Ekigambo kyE eri bangi nnyo, naye n’Akubikkula era n’Akulambulula butangaavu nnyo butyo eri Omugole we. Abalala mu ngeri ennyangungu tebayinza kukyebeera, bazibiddwa amaaso era tebalina Okubikkulirwa okujjuvu okw’Ekigambo kya Katonda ekibikkuliddwa.
Katonda Yayogera mu kigambo kyE (Baibuli) ng’Ayita mu nnabbi we n’Atugamba nti, “Katonda, oyo edda mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi Eyayogeranga eri bajjajjaffe mu bannabbi, ”. Bwe kityo, bannabbi ba Katonda be baawandiika Bayibuli. Teyali bo, wabula Katonda ng’Ayogera ng’Ayita mu bo.
Yagamba mu lunaku lwaffe nti Ajja kututumira Omwoyo we ow’amazima atuluŋŋamye mu mazima gonna. Oyo talyogera ng’asinziira ku bibye nga ye; wabula buli ky’anaawulira, ky’alyogera: era alitulaga ebigenda okujja.
Obubaka obuli ku ntambi ge mazima ga Katonda agabikkuliddwa. Tebwetaaga kuvvuunula kwonna. Ye Katonda nga Yevvuunulira Ye Mwene Ekigambo kyE ng’eno bw’Akyogera ku ntambi.
Tewali kugoberegana mu bigambo mu ebyo abasajja abalala bye boogera, okujjako ebyo byokka Katonda by’Ayogera. Ebyogerwa ku ntambi lye Ddoboozi lyokka ERITALIKUKYA. Abantu bakyuka, ebirowoozo bikyuka, enzivuunula zikyuka; Ekigambo kya Katonda tekikyuka. Ekyo ye Abusoluuti w’Omugole.
Nabbi atuwa ekyokulabirako ekya liifali (omusazi w’empaka) okuba abusoluuti mu muzannyo gw’omupiira. Ekigambo kye kiba kya nkomeredde. Tosobola kukiteekako kabuuza. Bw’ayogera, ky’aba ayogedde, ky’ekyo, ekyo nga kiwedde. Kaakati liifali ono aba n’ekitabo ky’amateeka ky’alina okugoberera. Kimubuulira kifo ki omupiira weguba oba wegusimulwa, ddi lw’oba nga toli mu bulabe na ddi lw’oba osazzizza layini y’awatali bulabe; amateeka g’omuzannyo gw’omupiira kyegagamba.
Asoma n’ayiga bwankaliriza ekitabo ekyo kisoboke okuba nti bw’ayogera, n’akola ensala ye, eryo lye liba etteeka, ekyo kye kigambo eky’enkomeredde. Oteekwa okwekuumira kw’ebyo by’ayogedde, awatali kibuuzo, awatali kukuba mpawa, kyonna ky’ayogera, eyo y’engeri gye kirina okuba era tekiyinza kukyusibwa. Ekitiibwa.
Ow’oluganda Branham teyagambako nti tolina kubuulira, oba okuyigiriza; okwawukana ku ekyo, yagamba nti okubuulira, n’okuwuliriza abasumba bammwe, naye Eddoboozi lya Katonda ku ntambi lirina okuba nga ye Abusoluuti yammwe.
Wateekwa okubaawo enkondo ey’okwesibirako; mu ngeri endala, ekintu eky’enkomeredde. Buli muntu alina okuba n’eky’enkomeredde ekyo. Kye kigambo ekisembayo. Katonda Ataddewo ekifo kimu kyokka aw’okufunira ekyo, Eddoboozi lya Katonda ku ntambi. Kwe kuvvuunula okw’obwakatonda okw’Ekigambo kya Katonda. Kye KIGAMBO EKISEMBAYO, AMIINA, OYO BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.
Yesu Mwene Yagamba nti tubayita “bakatonda,” abo abaayogeranga Ekigambo kyE; era baali bakatonda. Yagamba nti bannabbi bwe baafukibwangako omwoyo gwa Katonda, baaleetanga Ekigambo kya Katonda kyennyini-nnyini. Kyali Kigambo kya Katonda nga kyogerera mu bo.
Kyova olaba nnabbi waffe yali muvumu nnyo. Yakwatibwako Omwoyo Omutukuvu okwogera Ekigambo kya Katonda eky’obwa nnantakola-nsobi. Katonda yali Amulonze olw’omulembe gwaffe. Yalonda Obubaka bwe yali agenda okwogera, wadde obutonde bwa nnabbi waffe n’ebyo ebyali bigenda okuyitawo mu mulembe gwaffe.
Ebigambo bye yayogera, engeri gye yeeyisaamu, biziba abalala amaaso, naye bituzibula amaaso. N’okuba yatuuka n’okumwambaza mu kika ky’olugoye lwe yayambalanga. Obutonde bwe, ebiruubirirwa bye, buli kimu mu ngeri ddala nga bwe yalina okuba. Yalondebwa butuukirivu ddala ku lwaffe, Omugole wa Katonda.
Eyo y’ensonga lwaki, bwe TUJJA AWAMU, eryo lye Eddoboozi lye twagala OKUSOOKA okuwulira. Tukkiriza nti tuba tuwulira Ekigambo Ekirongoofu ekyayogerwa okuva mu mubaka wa Katonda omweroboze era omulonde.
Tukimanyi abalala ekyo tebasobola kukiraba wadde okukitegeera, naye yagamba nti yali ayogera na kibiina kye kyokka. Teyalina buvunaanyizibwa ku abo Katonda be Yawa abalala okusumba; yali avunaanyizibwa ku kika kya Mmere ki gy’atuliisa kyokka.
Y’ensonga lwaki tugamba nti tuli Branham Tabanako, kubanga yagamba nti Obubaka bwali eri abantu be bokka mu Tabanako, ekisibo ekitono ekyayagala okufuna n’okuwuliriza entambi. Yali ayogera eri abo Katonda be yali amuwadde okukulembera.
Yagamba nti, “abantu bwe baba baagala okutabika emmere n’ebintu ebweru eyo, mufune okubikkulirwa okuva eri Katonda mukole Katonda by’Abagamba okukola. Nange nja kukola ekintu kye kimu. Naye Obubaka buno, ku ntambi, bugendereddwa kkanisa eno yokka.”
Nga ddala akifudde kyangu nnyo eri Omugole we okulaba n’okuwulira Eddoboozi lya Katonda n’okugoberera ebiragiro bye.
Bwoba oyagala okutwegattako okuwulira Eddoboozi eryo, tujja kuba tuwuliriza byonna mu kiseera kye kimu Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), ku: 65-0822M – “Kristo Abikkulibwa Mu Kigambo Kye Ye Mwene”.
Bw’oba tosobola kutwegattako, nkukubiriza okuwuliriza Obubaka buno buli lw’osobola.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Okuva 4:10-12
Isaaya 53:1-5
Yeremiya 1:4-9
Malaki 4:5
Omut. Lukka 17:30
Omut. Yokaana 1:1 / 1:14 / 7:1-3 / 14:12 / 15 :24 / 16:13
Abaggalatiya 1:8
2 Timoseewo 3:16-17
Abebbulaniya 1:1-3 / 4:12 / 13:8
2 Peetero 1:20-21
Okubikkulirwa 1:1-3 / 10:1-7 / 22:18-19