All posts by admin5

21-1024 Kristo Abikkulibwa Mu Kigambo Kye

Obubaka: 65-0822m Kristo Abikkulibwa Mu Kigambo Kye

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Omugole akooledde abaagalwa,

Tetubangako basanyufu kisingako, oba abamativu ekisingako mu bulamu bwaffe. Tulina Okukoleera olw’Okubikkulirwa nga bwekitabangawo. Ensi ensasika. Abantu bagwiiridde ddala eddalu. Tulaba ebintu byetwawulirako mu bulamu bwaffe bwonna nga bibaawo ddala mumaaso gaffe.

Buli Bubaka bwetuwulira buli kubudde ekituukiridde ennyo era ddala kyetwagala okuwulira. Y’Emmere y’Omwoyo Mu Kiseera Kyayo. Tuli bamativu nti ssi birowoozo byamuntu, era ng’ate ssi bigambo byamuntu, By’Ebigambo bya Katonda nga Ayogerera mu Muntu, ng’Ayitayo Omugole We.

Tusobola okugamba okuva ku ntobo z’emitima gyaffe:

Obubaka buno buli Bwatyo Bw’Ayogera Mukama.
Ly’Ekkubo lya Katonda ly’Attaddewo olw’olunaku lwaleero.
Tebwetaaga kuvvuunula kwabwannannyini.
By’Ebigambo by’obwannantakola nsobi.

Okuwuliriza Obubaka obw’omuddiriŋŋanwa gyebuvuddeko kyekibadde ekitundu ky’obulamu bwange ekisinga okunyuma n’okujjukirwa. Njagala bwagazi kugabana kunokola ku kunokola na buli omu. “Wawulidde okunokola kuno…Mbadde ssikiwulirangako bwentyo…Mpulirizza olutambi olwo emirundi 4 mu nnaku entonotono eziyise era mbadde ssikifunanga nga bwenkifunye leero. Obubaka buno bwa buliwo nnyo okusinga nga bwebwabuulirwa emyaka 56 egiyise”.

Tewali kiringa essanyu erijjuvu ery’okumanya nti owuliriza Eddoboozi lya Katonda erikakasibbwa eddongoofu. Tekikwetaagisa kukwatiririra wagulu engabo yo. Tekyetaagisa kwewunya, kino kiri butereevu n’Ekigambo. Ebyo birowoozo bye oba kuvvuunula kwe? Nnina okukikebera n’Ekigambo.

Si ffe, tutuula butuuzi mabega, netukkakkana, netugamba AMIINA eri buli Kigambo, nga bwetumanyi nti buli kimu kyetuwulira kiri BWATYO BWAYOGERA MUKAMA.

Mungeri ennyangungu, tekirungiwa kusingako oba tekyanguwa kusingako kw’ekyo.

Mbadde nsaba era nga nnoonya Mukama era Ankulembera okweyongera mumaaso n’Obubaka buno obuyise nnabbi bweyayogera. Nkimanyi nti tuwulirizza Obubaka buno obuddako emyezi mitono egiyise, naye buli kiseera lwetubuwulira Aba yeeyongera okutubikkulira ebisingako era ebisingako.

Bwendowooza ku Mugole We, ng’akuŋŋaanidde wamu okuva wonna mu nsi, ng’alindiridde n’okusuubira okw’ekitalo okutandika Obubaka okuwulira Katonda ng’ayogera gyebali okuva mu mimwa gya nnabbi We, Ncamuka nnyo. Kiki ky’Agenda okutubikkulira leero?

Waliwo okuzuukusibwa okugenda mumaaso okwetoolola ensi. Omugole akaaba, ng’agamba: “Twagala kuwulira ntambi. Twagala kunyiga zannya. Twagala kugattibwa wamu n’Omugole ku Kigambo”.

Tulikwegattira wamu era nga tutuula mumaaso g’Omwana, nga twengera, nga twetegekera Okukwakkulibwa. Nandyagadde okukwaniriza okujja okwengerera wamu naffe Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira Katonda ng’Ayogera eri Omugole We era ng’aleeta Obubaka, Kristo Abikkulibwa Mu Kigambo Kye 65-0822M.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma ng’okuwulira Obubaka tekunnaba:

Okuva 4:10-12
Isaaya 53:1-5
Yeremiya 1:4-9
Malaki: 4:5
Omut. Lukka 17:30
Omut Yokaana 1:1 / 1:14 / 7:1-3 / 14:12 / 15:24 / 16:13
Abaggalatiya 1:8
2 Timoseewo 3:16-17
Abaebbulaniya 1:1-3 / 4:12 / 13:8
2 Peetero 1:20-21
Okubikkulirwa 1:1-3 / 10:1-7 / 22:18-19

21-1017 ra Nga Takimanyi

Obubaka: 65-0815 Era Nga Takimanyi

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Empungu eziri okukuŋŋaana abaagalwa,

O, nga kaseera, nga budde! Tewali kilekeddwaayo ekitannakolebwa. Empungu za Katonda ziri mukukuŋŋaanira ku nnyama ensu. Obunnabbi butuukirira. Tekisubwangako wadde n’omulundi n’ogumu, era tekirikikola, kubanga ffe, abaayawulibwa edda okukiraba, tukiraba.

Taata kaatwalira nnabbi eka, Omugole We teyeegattirangako ku Kigambo Kye nga bwekiri leero. Yalonda engeri Ekigambo Kye gyekyajjangamu, era nga eyo kwali kuyita mu bannabbi Be, abaamanyibwa edda era nebaawulibwa. Era tuli bamativu, era nga tumatidde, nti ono ye Yesu Kristo nga Yeemanyisa, nga Yeeraga mu bunnabbi.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Nga bwekyali nti yakulembera abaana ba Isiraeri okuyita mu ddungu, mu lugendo lwabwe, nga akaafananyi k’omugole ayitiddwaayo leero. Kiikino wano, okuyita mu kunoonyereza kwa ssaayansi, n’okweraga Yeeragirawo nga ne ssaayansi tannakikola. Era okuyita mu bikolwa Bye byennyini n’okuyita mu bunnabbi Bwe bwennyini, ebintu ebyamuweebwako obunnabbi byanaakola mu lunaku luno, okumufuula omu jjo, leero, n’emirembe gyonna, bikakasibbwa mu ngeri etuukiridde. Ekyo tekimala okuleetera emitima gyaffe okubeera nga gitutyemuka munda yaffe?

Nga abo abatume b’olunaku olwo, twayawulibwa eri Obulamu. Ekintu kyokka kyetulina okukola kwekutegeeza Eddoboozi Lye Limanyibwe. Era Eddoboozi eryo by’ebirowoozo bya Katonda byennyini nga bilagibbwa. Tukikkiriza kyonna. Tekitweetaagisa kukakasa kintu kyonna ne ssaayansi, oba okubuuza Omufalisaayo oba Omusaddukaayo yenna, oba omuntu yeena omulala kukyo. Yakyogera era tukikkiriza. Endiga Ze ziwulira Eddoboozi Lye, nga Lyogerera mu nnabbi We.

Obubaka buno Ly’Eddoboozi lya Katonda ku ntambi. Kwekubikkulirwa kwonna okwa Yesu Kristo, Endagaano Enkadde n’Empya nga biteekeddwa wamu. Ebyama byonna bibikuddwa. Tetugatta newankubadde okwongera kukyo. Tukola bukozi ddala nga Bweyatulagira okukola, SIGALA N’EKIGAMBO.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Kyekyo. Ye muntu oyo owomunda. Ekyo ekyomunda ekijja okuddamu Ekigambo, kyekwatire ku Kigambo, ssi nsonga oba ki.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Yawa obunnabbi era n’atugamba kiki ekinaatukawo. Ensi yonna egyakuba nga yegattira wamu mu bugu bw’eddalu, era ejja kweyongera okubijja, era ebijje, era ebijje, okutuusa bwebalibeera kabondo ka bazzoligo.

Yagamba essaawa eri kumpi nnyo wetugenda okulabira ekintu ekimu nga kibeerawo, waliwo ekintu ekijja okutuukawo. Era Obubaka buno bwonna bubadde butegeka embeera era nga buzimba omusingi kulw’Obubaka obwamangu, obumpi obujja okunyeenya amawanga gonna. Tukkiriza nti kaakano tuli mukulaba ebintu bino nga bibaawo kaakano.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Era mmanyi nti, nga mmaze okugenda okuva munsi eno, entambi ezo n’obutabo obwo bujjakuba bukyeyongerayo okuwaangaala, era bangi kummwe abaana abato mulizuula, munnaku ezirijja, nti kino ge Mazima gennyini ddala, kubanga nkyogera mu Linnya lya Mukama.

Leka tuwulire era tusseeyo omwoyo kumpi ddala ku byalambululwa byonna eby’ebirooto nnabbi byeyatubuulirako. Nga bwebaamulaba ng’ayimiridde ku lwazi olwatuuka okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, nga luli mu nkula ensongovu nga piraamiidi. Nga bweyali ku mbalaasi gyebaali tebalabanga kigifaanana mu bulamu bwabwe; embalaasi ey’ekitalo, n’ekiviiri kyayo ekyokumutwe ekyeru nga kireebeeta.

Engeri ekire ekyeru bwekyakka nekimufuna nekimusitulawo. Olwo oluvannyuma lw’akabanga nekimutuuza waggulu ku mmeeza era yali mweeru ng’omuzira. Yali ayimiridde awo era yayogera n’obuyinza obw’ekitalo. Tekyaliko kuteebereza. Buli muntu yategeera kyeyayogera mu ngeri etuukiridde ddala.

“Nja kuvuga omukululo guno omulundi gumu nate!”

Nzikiriza tuli mukulaba ekyo nga kituukawo leero. Obubaka buno buli mukuvuga omukululo ogwo omulundi gumu nate. Katonda ali mukukoowoola Empungu Ze awamu okuva wonna mu nsi. Bali mukwegattira ku Kigambo Kye, Eddoboozi Lye, Obubaka Buno.

Ensi eri bukunya, esaasirwa, nnaku, nzibe yaamaaso, era tekimanyi. Naye Omugole ayambaziddwa Ekigambo, wakitiibwa mu Mwoyo, musanyufu olw’Ekisakye, era tusobola okulaba era netumanya kiki kyetuli: OMUGOLE WE.

Yatugamba okusinziira ku kyeyali amanyi, teyalaba kintu kiziyiza, mu budde bunno, okujja kwa Mukama Yesu, okujjako obwetegefu bw’Ekkanisa Ye.

Empungu, katwetegeke. Mbaniriza okukuŋŋaanira wamu naffe ku nnyamu ensu Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), okuwulira Eddoboozi lya Katonda kulw’olunaku lwaffe nga litutegeka olw’okuwakkulibwa okubinabinda okujja nga bwetuwulira:  65-0815 Era Nga Takimanyi.

Owol. Joseph Branham
    
Okubikkulirwa 3:14-19
Abakkolosaayi 1:9-20

21-1010 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi

Obubaka: 65-0801e Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Embeerera ya Kristo entonotono, Ekigambo, Ekisibo, Omugole,
Ffe tuli Mugole Kigambo We, nga tulindirira Omugole Kigambo omusajja, n’akaseera kaffe ak’okuwujjaala oluvannyuma lw’embaga (oba hanemmuunu) ak’emyaka olukumi.

Tuwuliriza Eddoboozi limu lyokka.”Endiga zange zimanyi Eddoboozi lyange. Omugwiira tezijja kumugoberera.” Eddoboozi Lye kyekiki? Kaakati ngenda kunokola,

“Eddoboozi ly’omuntu yenna ky’ekigambo kye. Era Kyekino, Baibuli, ekigambo kimu teekigattibwa ku Yo newankubadde okuggibwa ku Yo. Sigala busigazi ddala n’Eddoboozi eryo. “Omulala tezirimugoberera, ” ekibiina ky’eddiini”.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Eddoboozi eryo ly’Eddoboozi Lye nga Lyogerera ku ntambi okuyita mu mutaputa w’omwoyo yekka ow’Ekigambo Kye, nnabbi We William Marrion Branham. Ye Yesu Kristo ng’ayogera okuyita mu mimwa gy’omuntu. Tetufaayo ku bigambo by’omuntu, ebirowoozo by’omuntu, oba okuvvuunula kw’omuntu. Kyetufaako kyokka ly’Eddoboozi eryakakasibwa ery’olunaku lwaffe. Liri “BWATYO BWAYOGERA MUKAMA.” Katonda yatambuzanga emikono gya nnabbi waffe, Katonda yatambuzanga amaaso ge mu kwolesebwa Kwe. Teyayogeranga kintu, okujjako ekyo kyeyali atunuulira. Mpaawo kyeyali ayinza okugamba, kubanga Katonda yali yeddizza ddala olulimi lwe, olugalo lwe, ebitundu bye eby’omubiri byali byewuubira bulambalamba bulungi ne Katonda. Tekyewunyisa, Baibuli egamba nti bannabbi be baali bakatonda. Baali kitundu ku Katonda.

Yali Kigambo Kya Katonda nga kituukirizibwa ku lw’olunaku lwaffe. Baibuli eno eranga, ng’eyita mu bunnabbi, olunaku n’ekiseera kyetulimu. Byakubaawo nabaki ebiribaawo? Ekirangirira okutuukira ddala ku kanukuta era tesubwangako yadde omulembe.

Abo abaayawulibwa edda okukiraba bajja kukiraba. Kigambo nga kiri kwegatta n’Ekigambo. Mu buli mulembe, abantu baaleka abantu okuteeka okuvvuunula kwabwe ku Kigambo, era kibareetera okubeera abazibe eri ekyokubaawo ekiri okuyita.

Kintu kyekimu kyekyakola ku bafalisaayo n’abasaddukaayo. Baagamba abantu, “Tufukibbwako amafuta, Katonda yagatufuseeko. Mutwetaaga okubagamba Ekigambo kyekigamba. Mutwetaaga okukibavvuunulira. Nga bwekyali mu lunaku olwo, bwekityo bwekiri ne leero. Ekitundu ekileetera omuntu okukkiriza obulimba kiri nti bafukiddwako Omwoyo Omutukuvu. Ddala balina okuyitibwa okuva eri Katonda okuweereza Ekigambo, baakugamba abantu kiki nnabbi kyeyagamba naye bangi ku bo BATEEKA OKUVVUUNULA OKWABWE KUKYO okuyita mu kuyitiriza obuweereza bwabwe nebabusukkulumya okusinga ne ku DDOBOOZI LYA KATONDA lyennyini.

Weetegereze, engeri gyebaagala okugezaako okukuŋŋaanyiza abantu okwetooloola obuweereza bwabwe, okwetooloola okuvvuunula kwabwe okw’ekyo nnabbi wa Katonda kyeyagamba. Naye kyo tebayinza buyinza kukikola. Beekweka emabega, NEBATIISA abantu okulaga nti obutazannya ntambi mu makanisa gaabwe ssi kibi, nga bayita mu kugamba nti “Abantu abo basukkulumya nnyo omusajja era bali kumusinza era tebali kusinza Yesu Kristo. Kibiina kya ddiini okuwulira Obubaka ffenna mu kaseera keekamu okuva mu kifo kyekimu. Ow’oluganda Branham teyayogerako nti muzannye Entambi mu kkanisa. Okwo kwebalama nsonga yennyini tebaagala bwagazi kuzannya ntambi mu makanisa gaabwe, kyangu bwe kityo.”

Obuweereza bwabwe, enteegera yaabwe, okuyitibwa kwabwe kwamugaso okusinga okuwuliriza Entambi mu kkanisa. Tebalina buvumu buvaayo kugamba “nedda”, naye ebikolwa byabwe bibogerera. Omuweereza yenna owannamaddala owamazima, agamba nti akkiriza nti Buno bwebubaka obulamba obutuufu, Eddoboozi lya Katonda mu lunaku lwaffe, tasobola kufuna kasongasonga konna akamugaaana okuzannya entambi mu kkanisa ye.

Mukebere Olunyiriri olwo nga mukozesa Ekigambo, Omugole. Ssigambangako, “Buli omu alina okuwuliriza ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville ekitali ekyo toli Mugole.” SSIKIKOLANGA. Sisinzaangako muntu. Yesu Kristo y’afuna ekitiibwa kyonna. Nsinza Katonda mu musajja, NG’EKIGAMBO BWEKYATUGAMBA OKUKOLANGA.

Nga balimba era bazibwa nnyo nnyini ! Soma busomi byawandiikibwa muganda wange. Kiri awo wennyini. Setaani amanyi nti omuweereza yenna oba ekibiina ky’abaweereza TEBALISOBOLA kugatta mugole. N’okukwatagana tebakwatagana, era ddala ng’Abamesodisiti, Ababaputisiti, Abapuleesibeta, n’Abapentekoote. Omu kubo oba omugatte gwa bonna bayinza batya okugatta Omugole ? Tebayinza buyinza. EKINTU KYOKKA, ekiyinza okugatta Omugole, LY’EDDOBOOZI LYA KATONDA ku ntambi, era Liri kukikola.

Omulabe akikyawa, kale ali kugezaako okukizikiriza naye tekijja kuyinzika okukola ekyo. KITIIBWA !

Ow’oluganda Branham yagamba,
“Nga bwekibaddenga, bo bulijjo, ku nkomerero y’omulembe, bazze mu katogo akalinga ekiki olwa bannassiyologiya ne bakabona baabwe okutuusa nga bulikiseera kabeera kavuyo. Bulijjo okuvvuunula kwabwe kubeera kukyamu, tekiremangako yadde omulundi ogumu okubeera ekikyamu. Era Ekigambo Kya Katonda tekiremangako yadde omulundi ogumu okubeera ekituufu. Eyo y’enjawulo.”

Waliwo engeri emu ennyangungu okubeeramu omukakafu, Sigala n’Ekigambo, Eddoboozi lya Katonda ku Ntambi. Soma Baibuli yo, Ejja kukugamba byakubaawo ki eby’okubaawo mu lunaku luno. Ejja kukugamba ku malayika We owamaanyi ow’okujja mu lunaku luno. Ejja kukugamba okusigala n’Eddoboozi eryo, okusigala n’omubaka We omulonde.

Setaani bw’aba ng’akyawa Ekitabo kyonna Ekya Baibuli, ky’ekitabo ky’okubikkulirwa. Kyawandiikibwa Kristo Mwene. Olwo nno okusinziira ku Mwoyo oyo, Kristo Mwene ateekwa okuba ng’ataddemu kingi nnyo bwekiba nga kino kiri ku mubaka w’omusanvu. Era ow’oluganda Branham agamba, nnokola,

“Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye.”

Kristo Mwene agamba ensi yonna yamulisibwa ekitiibwa kye. Teyagamba nti ensi yonna yamulisibwa ekitiibwa kyange. Kati okusinziira ku kuteegera kwo oli mu kulumiriza Kristo Mwene olw’okusimba ennyo essira ku malayika We ow’omusanvu.

Malayika oyo owokunsi yali kumpi nnyo ne Kristo Mwene. Yokaana yagezaako okumusinza emirundi ebiri. Naye yagamba, “Nedda, sinza Katonda.” Ekyo kyennyini kyetukola, kusinza Katonda. Tetusukkulumya muntu, tugamba bugambi Kristo , Kigambo, kyeyayogera.

Ensi yamulisibwa ekitiibwa kye. Ekyo kituwa okukoleera olw’okubikkulirwa. Ow’oluganda Branham agamba,

“Katonda Akola okulonda kwe Ye kennyini, okuyita mu kwawula edda, yalonda bannabbi kulwa buli mulembe. Kyetegeereze. Akola enneeyisa y’oyo nnabbi okuja mu mulembe ogwo. Olaba, Akola sitayilo ye n’emujaamu, buli kimu ky’akola. Amuleetera okujaawo oba yasoma oba teyasoma. Akola ebirabo, engeri gy’anaabuulira, ebirabo by’alibeera nabyo, byonna nebimujaamu. Era Obubaka bw’Omulembe ogwo gwennyini, Katonda yayawula dda ekintu ekyo nti kijja kutuukawo era tewali kintu kirala ekiyinza okutwala ekifo ky’ekyo.”

Zannya olutambi, olutambi lwonna lw’osobodde, ku Sande, tewali kiyinza kutwala kifo kyalwo. Bw’oba ng’oyagala kwegatta ku Branham Tabanako nga bwetuwuliriza olutambi, oyanirizibwa, era oyitibwa okutwegattako Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira, “Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi” 65-0801E.

Owol Joseph Branham.

Kati, ebyawandiikibwa byokusoma ku lw’olukuŋŋaana lwa Sande biri,

Olubereberye 22 : 17 – 18
Zabbuli 16 : 10
Zabbuli 22 yonna
Zabbuli 35 : 11
Zabbuli 41 : 9
Zakaliya 11 : 12
Zakaliya 13 : 7
Isaaya 9 : 6
Isaaya 40 : 3 – 5
Isaaya 50 : 6
Isaaya 53 : 7 – 12
Malaki 3 : 1
Malaki 4 yonna
Yokaana 15 : 26
Lukka 17 : 30
Lukka 24 : 12 – 35
Abaruumi 8 : 5 – 13
Abaebbulaniya 1 : 1
Abaebbulaniya 13 : 8
Okubikkulirwa 1 : 1 – 3
Okubikkulirwa 10 yonna

21-1003 Katonda W’omulembe Guno Omubi

Obubaka: 65-0801m

PDF

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Omugole akoleezebbwa okubikkulirwa abaagalwa,

Kiki ekibadde kigenda mu maaso wonna mu nsi wiikendi eno eyise? Kiki ekibaddewo ? Enduulu ezo ezawaggulu zibadde zaaki? Omugole okuva wonna mu nsi yabadde yeegasse wamu, ng’akola ensozi okuva mu pulaasita, ebbumba, omusenyu n’obuti, ng’akuŋŋaanira ku byoto by’omuliro, ng’ayimba ennyimba z’okusinza n’okutendereza Mukama.

Abakulu n’abato nga bafaanagana, bambadde amasaati agawaandikiddwako nti “Okukoleera olw’okubikkulirwa”. Baavudde e Michigan okutuuka e Florida, e Maine n’e California, okuva mu Amerika y’omumambuka okutuuka mu Amerika yomumaserengeta, Bulaaya, Afirika, Asiya, Awusutulariya, buli kasonda konna ak’ensi. Babadde bawuliriza nga bakozesa emikutu gyebateze eyo mu maka gaabwe, nga bawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera butereevu eri bo.

Ekisikiriza kyabadde kiki? Ensigo ya Katonda eyayawulibwa edda etasobola kukola kintu kyonna ekirala okujjako okugoberera Obubaka Bwekiseera, ekkiriza buli Kigambo ekyayogerwa akamwa ka Katonda, yabadde ekuŋŋaanye wamu mukutendereza, n’okusinza, n’okujaguza kw’ekintu eky’ekitalo ekyabaawo mu lunaku lwaffe lu lusozi Sunset.

Yabadde Katonda ng’akakasa Ekigambo Kye. Ekyo Oluyoogaano lwonna kwelwabadde luva. Weetegereze, Ye Katonda ng’atuukiriza Ekigambo Kye Ekisuubize nate, ekya Kubikkulirwa 10 : 1 – 7, “… naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba ng’agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira…” Yabadde Katonda nga akola ebyafaayo, yabadde Katonda nga atuukiriza obunnabbi. Ky’ekyabadde eky’okuddamu ky’obunnabbi bwa nnabbi, era twayadde okubeerayo era tufune era tuwulire ekintu kyonna kyeyali akoledde okuyita mu nnabbi We.

Twagaanye okulabawo okulamula kw’okwekenneenya ensobi ebiva mu batakkiriza n’abeefuula abakkiriza. Tetulina nkaayana yonna nabo. Tulina ekintu kimu koykka eky’okukola, ekyo kwekukkiriza n’okufuna buli katundu kukyo ketusobola okufuna.Tukuŋŋaanira wamu buli sabbiiti ng’ekibiina ekiri awamu okuwulira eddoboozi lya Katonda, nga bwetulindirira okujja kwa Masiya. Nga ssaawa yakitalo gye tulimu, okulaba Ebyawandiikibwa nga bituukirizibwa mu bulamu bwaffe bwennyini.

Naye yatulabula mu Kigambo Kye nti okufukibwako amafuta okw’obulimba kujja kubeera kumpi nnyo, kujja kukyamy a abalonde ba Katonda bennyini oba nga kiyinzika. Naye ettendo liddire Mukama tekijja kusoboka kukyamya Mugole We, kubanga bajja kusigala n’Eddoobozi lya Katonda eryo erikakasibbwa, erirabisibbwa, eryoresebbwa, nnakabala, era tekijja kukyusa yadde ennukuta emu newakudde oba akatonnyeze akamu. Tebajja kwongerako kuvvuunula kwabwe kukyo naye mungeri ennyangungu bajja kukkiriza bukkiriza BULI KIGAMBO. Nga tulina kubeera beegendereza nnyo bwekiba nga kiteekwa kuba nga KISEMBEREGANYE NNYO BWEKITYO. Twewunya, kinaabeera makanisa g’amadiini? Balabika nga abali ewala ennyo era nga tebali nakumpi wadde nakatono. Kinaabeera ani? Ow’oluganda Branham yagamba,

“Kaakati, amakanisa ag’ekibuguumirize, ag’enneeyisa y’ekikungu, amannyogovu obunnyogovu, n’ebiringa ebyo, aga siyologiya w’abantu, ago tegandibadde; Omugole tali gassaako mwoyo wadde n’akatono. Naye gali eyo waggulu ddala nga kiri ekyannamaddala. Kulekayo bulesi Kigambo kimu kyokka ekyo kyokka ky’olina okukola. Yagamba, “Kaawa teyafuluma bufulumi mubwangungu n’ayogera ng’akitegeeza nti takkiriza Katonda. Yakkiriza ensobi, ky’ekyo kyeyakola. Setaani yakkiriza nti kyali Kigambo kya Katonda. Naye obuzibu bwali nti yateeka okuvvuunula kwe nga ye kukyo, era n’amuleetera okukkiriza obulimba, era n’agwa buzibu kulw’ekyo.”

Ekibikkako kijjiddwako. Piramiidi ebikuddwa. Ebyawandiikibwa bijibbwako ekibikkako. Okubikkulirwa kuweereddwa eri Omugole. Ye Yesu Kristo, aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Ekyo kireetera Setaani okubeera omunyiivu ennyo gyetuli. Akimanyi nti alina okutuuka ku nkomerero ye. Ayagala ffe okuba nga tulina akabuuza ku kiki kyetuli. Tuyita mubigezo, n’okugezesebwa, ebikalubo okusinga kubyetwali tuyiseemu. Oluusi twewuunya, Lwaki bino byonna biri mukututuukako? Ow’oluganda Branham agamba,

“Ensonga eri nti, Kumugezesa, Omugole We. Kumu… Bw’ayolesebwa, ng’agezesebbwa, n’akakasibwa, okukakasibwa eri Setaani.”

Kitiibwa! Ebigezo byaffe n’okugezesebwa ye Ye nga akakasa eri Setaani nti tuli Mugole We Ayolesebbwa.

Ow’oluganda Branham agamba, “Tukizuula kati, omulembe guno omubi gwakukakasa, eri Setaani, Omukyala tali nga Kaawa, nti ssi mukazi wa kika ng’ekyo. Era ajja kugezesebwa Ekigambo Kye, Omugole, ng’omugole wa Adamu bweyagezesebwa Ekigambo. Era omugole wa Adamu yakkiriza buli katundu konna ak’Ekigambo, kyonna, naye n’abuzabuuzibwa ku kisuubizo kimu.”

Ow’oluganda Yusufu agenda mumaaso,
Naye tetujja kubuzabuuzibwa ku Kigambo yadde ekimu, newankubadde okugoberera obulombolombo bwabwe, enzivuunula zaabwe ez’Ekigambo. Tujja kusigala N’EKIGAMBO NNAKABALA.

Bwetuba n’ekyuma ekizannya entambi, tujja kukuŋŋaanya ekibiina ky’abantu era tuluzannye, era tuwuliririze kumpi, nga ddala bweyatugamba okukola.

Ow’oluganda Branham agamba
“Ddala ng’obulamu bwo n’ebikula byo ggwe ng’omuntu bwe byongezebwayo okuyita mu kitaawo okuzaala ng’obutonde bwebuli, bwegutyo bweguli Omwoyo Gwa Katonda, ogwayawulibwa edda ng’ensi tennatondebwa.”

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Nga tweyanzege nnyo, nti Omwoyo Gwa Katonda, ezzadde lyaffe, lyayawulibwa ng’ensi tennatondebwa okubeera n’okubikkulirwa okwannamaddala okw’obubaka buno.

Oyanirizibwa okujja ofune OKUKOLEERA OLW’OKUBIKKULIRWA okwo kwekumu wamu naffe Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira 65-0801M “Katonda W’omulembe Guno Omubi.”

Ow’oluganda Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’okusoma,

Omut Matayo 24 yonna
Omut Matayo 27 : 15 – 23
Omut Lukka 17: 30
Omut Yokaana 1 : 1
Omut Yokaana 14 : 12
Ebikolwa by’Abatume 10 : 49
1 Abakkolinso 4 : 1 – 5
1 Abakkolinso 14 yonna
2 Abakkolinso 4 : 1 – 6
Abaggalatiya 1 : 1 – 4
Abaefeso 2 : 1 ne 2
Abaefeso 4 : 30
2 Abassesalonika 2 : 2 – 4
2 Abassesalonika 2 : 11
Abaebbulaniya 7 yonna
1 Yokaana 1, 3 : 10
1 Yokaana 4 : 4 – 5
Okubikkulirwa 3 : 14
Okubikkulirwa 13 : 4
Okubikkulirwa essuula 6 – 8, 11 – 12, 18 : 1 – 5
Engero 3 : 5
Isaaya 14 : 12 – 14

21-0912 Emmere Ey’Omwoyo Mu Ntuuko Zaayo

Obubaka: 65-0718e Emmere Ey’Omwoyo Mu Ntuuko Zaayo

PDF

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Endiga z’Ekisibo kya Katonda abaagalwa,

Mu nnaku Mukama waffe Yesu zeyalimu wano ku nsi mu mubiri, abalina omuze gw’okubuusabuusa n’abatakkiriza baamugamba:

Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulirire ddala.

Omulundi gumu nate, Agenda kwogera gyetuli kaate era agambe bombiriri Abeekennenyi b’ensobi n’Omugole We, “Ndi muntu ava eri Katonda, eyatumibwa okuva eri Katonda, eyayawulibwa Katonda, ne BWATYO BWAYOGERA MUKAMA ey’amazima. Mbadde mu maaso Ge okumala ebbanga ggwanvu nnyo, nja kwogera gyemuli nga Katonda Mwene. 

Njagala wano waleme kubaawo kubuusabuusa, era mmwe okukkiriza, ndi mubaka wa Katonda eri mmwe. Obubaka bw’enjogera, n’omubaka, bali ekintu kyekimu ddala. Tuli omu era tuli beebamu. Yantuma gyemuli okuciikirira BWATYO BWAYOGERA MUKAMA , Kigambo ku Kigambo.

Mujjukire, Ekigambo kya Katonda kigamba Taliiko ky’Alikola okutuusa ng’Asoose kukimbikkulira. Abantu baagala okuteeka okuvvuunula okwabwe ku kyenjogera, naye Ebigambo byenjogera gyemuli tebyetaaga kuvvuunula. Gwe yogera KYOKKA ekyo kyenjogera.

Era njagala omanye nti Ekigambo kyekimu Kyenjogera gyoli, era kibeera mu ffe. Olina obuyinza bwa Katonda omulamu mu ggwe. Ggwe Omugole w’Ekkanisa ennamu.

Oluvannyuma lw’okuvaawo kwange, naye nga ekyeya tekinnatandika, Katonda abagabiridde ekifo eky’ekyama ew’okwekweka nga omusango tegunnakuba nsi. Ojja kubeera eyo nga olindirira, ng’olya Emmere eno entereke gy’ajja okuba ng’Akulekera. Ojja kuba nga obeerawo ku bulungi n’ekisa eby’okubikkulirwa kwa Yesu Kristo nga bwe yeekakasa gyoli buli lunaku.

Eri ggwe, Ejja kuba Mmere ey’Omwoyo mu ntuuko zaayo. Ejja kulwaza abalala mu mbuto zaabwe. Nja kubeera waabirungo nnyo nti tebajja kugisobola. Naye eri mmwe, Endiga ze, Ejja kubeera Omugaati gw’Obulamu, Yesu Kristo aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna.

Teweerabira, njakukuliisiza “AWO”; ssi mu kifo ekimu ekirala wabula, “AWO”. Abantu bajja kukusekerera era bagambe nti oli mutabufu wa mutwe, naye kyebayita ekitabufu ky’omutwe era ekiralu, Katonda ajja kukiyita Kyakitalo.”

Yatugamba nti obuweereza obw’amaanyi Katonda bweyamuwa bwali kika ekituukiridde eky’ekiseera ky’Eriya. Ekyeya nga kinaatera okuggwaako, Yamuyitayo era n’amutwala emmanga mu NNYUMBA ya nnamwandu okutuusa ng’ekyeya kiweddeko. 

Yagamba nnamwandu yali teyeetabisetabisenga n’abatakkiriza newankubadde okutwala akabonero k’ensolo mu kiseera ky’ekyeya, n’olwekyo yayita Eriya okumuwanvuyiza ku nnaku. Yali mwetegefu okufa engeri gyeyali asigazza obusigaza akagaati kamu akatono , otuntu tutono kweyali akyanyweredde.

Eriya yamukoowoola ng’agamba , “Ako sooka okawe nze, kubanga BWATYO BWAYOGERA MUKAMA, nti Eppipa ey’obutta terikendeera so n’akasumbi k’amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw’alitonnyesa enkuba ku nsi.”

Omukyala yalina okusoosa Katonda. Yalina okukkiriza era anywerere ku buli kigambo omubaka kyeyagamba. Yamanya nti omubaka n’Obubaka bwe beebamu. Ebigambo bye yamugamba byalina okutuukirira, kubanga kyali BWATYO BWAYOGERA MUKAMA.

Bwekityo bwekiri ne leero, nti Omugaati gw’Obulamu abaana kwebalya , bagoberera Obubaka bwa Katonda, okubabeezawo mu kaseera k’ekyeya.

Ekigambo ekyo kyekimu kizze gyetuli era kiri muffe era tuli mu kulya ku Bintu bya Katonda eby’ekyama ebikwekeddwa okuva eri ensi. Atubikkulidde nti Obubaka n’omubaka bali omu. Emmere ey’Omwoyo eyidde, era eri mu ntuuko zaayo kati.

Oyanirizibwa eri nate OLUNAKU OLULALA OLW’EBBALUWA EMMYUFU . Tujja kubaka mangu akasumbi kaffe ak’Amafuta , era kajja kuba kayiwa. Olwo tujja kusena eppipa y’Obutta, era ejja kujjula ebooge. Tujja kutuulira wamu mu bifo Byomuggulu okuva wonna mu nsi, nga tukwekeddwa eyo mu kifo kyaffe eky’ekyama, ngatuwoomerwa Emmaanu enkweeke nga Katonda bwe yeekakasa gyetuli.

Jjangu okuŋŋaane naffe mu kisibo ky’endiga Ssande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira omubaka wa Katonda ng’atuleetera Obubaka bwa Katonda: Emmere y’Omwoyo Mu Ntuuko zaayo 65-0718E.

Ffe ne doola emu n’ennusu za sente kinaana okuzimba tabanako,  bangi ku bantu b’ekkanikiro ly’emmotoka (oba galagi) bamaze okusalawo nti egenda kubeera galagi yabwe. Naye lisigala ddundiro ly’Endiga za Katonda.

Bro. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa byokusoma

1 Bassekabaka 17:1-7
Amosi 3:7
Yoweri 2:28
Malaki 4:4
Lukka 17:30
Omut. Yokaana 14:12

21-0829 Okukwatibwa Ensonyi

Obubaka: 65-0711 OKUKWATIBWA ENSONYI

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Branham Tabanako abaagalwa,

Tweyanzeege nnyo nti yatwawula edda okulonda ekkanisa entuufu ey’okuteekamu ab’amaka gaffe.

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Singa mbadde nneeroboza ekkanisa, Nnandilonze ekkanisa ya Baibuli, ey’Enjiri Enzijuvu, ekwata ebiragiro ebyasooka, eyannamaddala, singa mbadde nnonda eyo ey’okuteekamu ab’amaka gange.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Tweyanzeege nnyo nti tugamba ensi omusumba waffe y’ani, era nti tweyisiza ddala nga ye.

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Singa on’onekkaanya enneeyisa y’ekkanisa eyo, wekkaanye bwekkaanya nneeyisa ya musumba okumala akabanga, era nga bulijjo ojja kuzuula nti ekkanisa yeeyisa nga musumba.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Tweyanzeege nnyo nti ssi nsonga wa wetuli mu nsi, Asisinkana naffe.

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Yasuubiza okusisinkana wonna wonna babiri oba basatu webakuŋŋaanira awamu. Kya mazima. Awo omukkiriza owa nnamaddala w’awummuliza essuubi lye, kiri ku Kigambo kya Katonda ekyo ekiri okulabisibwa.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Tweyanzeege nnyo nti tukkiriza nnabbi We, na buli Kigambo ekyayogerwa.

(Ow’oluganda Branham yagamba)
B’oba ng’onzikiriza okubeera nnabbi wa Katonda, gwe wuliriza ekyo kye nkugambye.

    
(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Nnabbi we yali wa kubuulira ki?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Obubaka obutuukiridde, okudda eri Ekigambo.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Yatumibwa lwa nsonga ki?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
“Okufuna Omugole oyo!”Ogwo mulimu. Ekyo y’ensonga embeesezza wano. Ekyo kye ngezaako okukola, kwe kuyitayo Omugole.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Watya nga tukyamizzaamu ekigere kimu mu nkumba yaffe?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Era ekyo kyennali nnina okukola, okukuumira Omugole oyo ng’akumba buteerevu.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Kaakati Kitaffe kiki kyaterese mu ggwanika kulw’Omugole we?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Nzirayo eka, okuzza obujja ebirayiro byange, era ntandike buggya.
Kale ekyo kye tuteekateeka okukola, eyo y’ensonga embeesezza wano.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Mukama atenderezebwe, tutandika ddi enkuŋŋaana zaffe ez’okuzza obujja?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Era olwo, Mukama ng’Ayagadde, amakya ga Sande eggya tujja kutandika olukuŋŋaana. Era mwenna munnyambe, era tujja kusaba, kubanga kyabadde mu mutima gwange okugezaako…Baagambye, “Kale, tuyinza okugenda e Louisville oba tuyinza okuserengeta e New Albany.” Naye olukuŋŋaana lwabadde lulina kuba lwa Jeffersonville. Nja kugenda e Louisville n’e New Albany, mu biseera eby’enjawulo, naye kino kirina kubeera wano e Jeffersonville.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Tuli beetegefu Kitaffe. Empugu zo zijja kuba zikuŋŋaana era nga ziwuliriza. Kiki ekigenda okubaawo mu kaseera kano?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
“…Nneetaga okukkiriza okusingako.” Ekyo y’ensonga lwaki ndi waka kati kwe kufuna e—ekibwatukira ekiggya eky’okukkiriza.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Mukama atenderezebwe, naffe ekyo kyetwagala Kitaffe, ekibwatukira ekiggya eky’OKUKKIRIZA.
Tumanyi okukkiriza kujja na kuwulira, kuwulira Kigambo Kyo, era Ekigambo Kyo kijja eri nnabbi.

Obubaka buno, amaanyi ga Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, gabunye wonna mu nsi, naye kati ekiseera ky’okwawukana kigenda mu maaso. Katonda ayita Omugole, ne Setaani ayita ekkanisa. Tuli kitundu ku Bubaka Buno, Ekigambo Kye, Omugole We!

Tulina obukakafu bwebumu era tumanyi kyetwogerako. Tetukwatibwa nsonyi nti tukkiriza Obubaka Buno n’Omubaka We, kubanga bebamu. Tetukwatibwa nsonyi okugamba: “tukkiriza buli Kigambo”. Tetukwatibwa nsonyi kugamba: “Tuzannya entambi mu kkanisa yaffe”. Tetukwatibwa nsonyi okugamba: “Tuli bantu ba ntambi.”
Kituzibuwalira okutegeera nti omukkiriza yenna, oba omuweereza w’obuweereza bw’emirundi etaano, agamba nti akkiriza Obuweereza buno, era n’agamba nti ow’oluganda Branham nnabbi era mubaka wa Katonda, olwo n’akkiriza era n’agamba abantu kikyamu era tekisinziira ku Kigambo okuzannya Eddoboozi lya Katonda erilabisiddwa ddala mu Kkanisa yabwe.

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Leka tukubiririzenga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; tunenyenga, era tunenye, era…n’okugumiikiriza kwonna n’enjigiriza.
Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; ng’okwegomba kwabwe bo bwe kuli…balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, amatu nga gabasiiwa;
era balikyama okuva ku mazima okugobereranga enfumo obufumo.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Bwek ituuka ku Kigambo kya Katonda ekitatabikiddwamu kintu, ekyannamaddala, ekikakasibbwa Katonda, Ekigambo kya Katonda ekirabisiddwa, Kirabika nga n’okuswaza ekiswaza ekibiina kiri ekirala. Kibaswaza era bakkiriza nti kiwakanya Ekigambo okubeera Ekkanisa y’Entambi.

Naye eri ffe, Kyannamaddala. Tekukwatibwa nsonyi. Bwetwasembeza nnabbi oyo, waliwo Ekintu ekimu ekyatuula munda muffe, era kati tewali kiyinza kutwala kifo kyakyo.Tukyenyumirizaamu okuyitibwa omu ku bo, Ekkanisa y’Entambi, Ekibiina ky’Entambi, abantu b’Entambi.

Tukwaniriza okujja owulirize Obuweereza bwa Katonda obw’Etambi wamu ne Branham Tabanako , Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetukkuŋŋaana n’okusuubira okw’ekitalo; nga tuzza bujja ebirayiro byaffe, era tuddeyo bupya, okuyita mu kuwuliriza: Okukwatibwa Ensonyi 65-0711.

Owol. Joseph Branham

Kaakati Ebyawandiikibwa by’enkya,

Makko essuula 8:
“34N’ayita ebibiina n’abayigirizwa be, n’abagamba nti Omuntu bw’ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.

35Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n’olw’enjiri alibulokola.

36Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n’okufiirwa obulamu bwe?

37Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe?

38Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n’ebigambo byange mu mirembe gino egy’obwenzi era emibi, n’Omwana w’omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw’alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.

21-0822 Okweroboza Omugole

Obubaka: 65-0429E Okweroboza Omugole

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Omugole wa Katonda Omulonde omwagalwa,

Kitaffe yalonda Omugole we nga n’emisingi gy’ensi teginnabawo. Yayagala Omugole anaalabirwamu enneeyisaye yennyini. Yayagala Omugole anaamusikiriza ng’akuuma Ekigambo Kye.

Omugole anaaberanga yeeweereddeyo ddala gyali n’eri Ekigambo Kye ekisuubize, okutuusa nga endowooza yennyini eyali mu Ye eri mu bo. Baali ba kuba Mubiri gwe gwegumu, magumba gegamu, Mwoyo y’omu, buli kimu kyekimu, nga bakoleddwa mu ngeri entereevu obulungi okutuusa nti ababiri abo bakufuuka Omu.

Yayagala okubabumbamu empisa ye yennyini, kubanga Omukyala yali wa kubeera ddala nga Ye Omwami . Alinze okuva lweyateeka Adamu ne Kaawa be abaasooka ku nsi okuzzaawo Omugole We atuukiridde. Abadde amumamirako, ng’amukomyawo eri okwolesebwa kw’Omugole okujjuvu; kubanga bajja kubeera Omugole we ow’Ekigambo Ekyogere.

Bweyamulaba, Yali musanyufu nnyo, Kunkomerero yalina Omugole atalyekkiriranya n’Ekigambo yadde ekimu. Omugole ataakikole yadde n’okuba ng’abuusabuusamu ekimu ku Kyo, naye anaakitwala nga ddala bwekiri. Bajja kugamba ensi tekyetagisa kuvvuunulwa kwonna, kubanga ly’eddoboozi lya Katonda eddoongofu.

Nga bwatunuulira Omugole we swiitimutima omutono omutukirivu, Yamwenyumirizaamu nnyo, Yalina bubeezi kumulabisa wonna. Kale n’ayita malayika we owomusanvu ow’ekitalo, amwerabireko nga bwalifaanana. Yayagala malayika ono alabe Omugole, era amulabise, malayika asobole okugamba Omugole butya bw’ali omubalagavu.Bwatyo asobole okumuzzaamu amaanyi era amutegeeze nti Ye Katonda amanyi ddala kiki Omugole ky’Ali.

Kale yatwala malayika we n’amuteeka ku kifo ekyawaggulu asobole okumulengerako. Nga bw’amulengera, Omwoyo wa Katonda yayogera gyali ng’agamba, “Omugole Wuuyo.” Yatunula, n’akulaba GWE awo. Omutima gwe gwasanyuka.

Buli omu ku MMWE yali ayambaziddwa engoye z’amawanga gammwe gyemuva: Switzerland, Bugirimaani, wonna mu nsi, buli ggwanga. Enviri empanvu ennungi ddala nga zeewuubira ku mugongo, emikono gy’amasaati, ne ssikaati wansi bulungi. Era MMWE mwenna mwali mu mudigido ogukumba, “Mu maaso, abajaasi akakristaayo, tukumba twolekera ng’abagenda mu lutabaalo.” Nga bw’atunula, Twatandika okukumba nga twolekera mu bwengula; Twali Kigambo.

Weebale Kitaffe. Ekyo nga kizzaamu emitima gyaffe amaanyi leero. Tukwagala n’Ekigambo Kyo na buli kimu ekiri muffe. Tukkiriza buli Kigambo. Obubaka buno butujaamu nga gilavuzi ku mukono.

Twagala okubeera Omugole Wo ow’Ekigambo Ekituukiridde. Tetumanyi ngeri ndala yonna ey’okukikolamu okujjako okusigala n’Ekigambo kyo, Emmaanu eno eyaterekebwa gyewalekawo kulw’Omugole Wo asobole okwetegeka.

Tulaba nti ekiseera kiri kumpi. Ensi enyenyegana wansi waayo ne zi Musisi. Bamalayika bo abanoonyereza bali wonna. Ensi esulikidddwa kifuula nnenge. Entalo, okulwana, okutta, obuwuka obutamanyiddwa obuvaako endwadde n’endwadde buli wamu. Omulabe alumba ntakera mu busungu obungi, ng’agezaako okutulugunya Omugole Wo, naye Mukyala wo omulonde swiitimutima munywevu yeekutte ku Kigambo Kyo.

Tuyambe Kitaffe tuleme okukyamyamu ekigere kimu. Leka amaaso gaffe tugakuumire kuggwe era twekwate ku Mukono gwo Ogutakyukakyuka. Yongeza OKUKKIRIZA kwaffe, Otuwe byetwetaaga. Jjangu obeere n’Omugole wo Ssande eno, ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetukuŋŋaanira ku Ddoboozi Lyo ery’olunaku okukuwulira ng’oyogera: Okweroboza Omugole 65-0429E.

Kuno kwe kusaba kwaffe Kitaffe:

Ai Katonda w’Eggulu, saasira ensi ey’eyibi n’abantu ab’ekibi, Mukama, nga bwetuli akawungeezi kaleero. Katonda, ngezaako okuyimirira mu bbanga wakati era nga nsaba ekisa kya Katonda Katonda wa Isiraeri, nti onooyogera eri Ekibiina kino akawungezi kaleero era oyite Omugole Wo okussaayo omwoyo, Mukama, obutatambula nga bagoberera akabonero k’ekikwate kyonna, naye bagoberere eddoboozi ly’Enjiri ya Mukama Yesu Kristo. Leka kibe, Ai Katonda. Ka kimanyibwe, ekiro kyaleero, nti Gwe oli Katonda, era Ekigambo Kyo Mazima. Nga, mu mutima gumu, mu maaso g’abantu bano bonna, tubakoowoola eri okussaayo omwoyo okw’Ekigambo Kyo.

Owol. Joseph Branham

ebyawandiikibwa by’okusoma biri …

Oluberyeberye 24:12-14
12N’ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu.
13Laba, nnyimiridde ku nsulo z’amazzi; n’abaana abawala b’ab’omu kibuga bafuluma okusena amazzi:
14kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti Sena ensuwa yo, nkwegayiridde, nnywe; naye anaagamba nti Nnywa, nange nnaanywesa n’eŋŋamira zo: oyo abeere oyo gwe walagirira omuddu wo Isaaka; era bwe ntyo bwe nnaategeera ng’olaze ekisa mukama wange.

Okubikkulirwa 21: 9
9Ne wajja omu ow’oku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, abajjula ebibonyoobonyo omusanvu eby’enkomerero; n’ayogera nange, ng’agamba nti Jjangu, nnaakulaga omugole, mukazi w’Omwana gw’endiga.

21-0815 Ensigo Terisika Wamu E’ekisusunku

Obubaka: 65-0429b Ensigo Terisika Wamu E’ekisusunku

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Omubiri gw’omubiri gwe abaagalwa,

Ndi musanyufu nnyo nti Katonda takyusa ndowooza Ye ku Kigambo Kye. Y’omu jjo, leero n’emirembe gyonna. Engeri gyeyakolamu ebintu okuva ku luberyeberye, Abikola mu ngeri y’emu leero. Katonda, Mwene, ng’ayoleseddwa mu mubiri gw’omuntu, olw’Omusaayi gwa Yesu Kristo, okutukuza obulamu asobole okulabirwa mu bwo.

Omubaka waffe leero okulagibwa kwe mu byawandiikibwa ku kiki ky’Ali kuli mu kugenda mu maaso. Y’Omwoyo Omuktukuvu, Mwene, ng’Akola okuvvuunula kwe kennyini. Tekyetaagisa kuva kwono kugenda kwoli okuzuula amazima oba okuvvuunula; Omwoyo Omutukuvu awadde ekkanisa Abaefeso 4, yonna mu muntu omu, nnabbi We alabisiddwa.

Omutume: Omutume kitegeeza “atumiddwa,” oba, “omuntu atumiddwa okukola omulimu. (omumiisani)” Ndi mumiisani.
    
Nnabbi: Onzikiriza okubeera nnabbi wa Katonda?

Omubuulizi w’Enjiri: “Kolanga omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo. Ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu.”

Omusumba: Mumpise, “omusumba wammwe”; era mwogera bulungi, kubanga ekyo kyendi.

Omuyigiriza: Njagala okwogera ku Kigambo, oba okusomesa essomo lino elya Sande sukuulu, ku Kigambo ky’Akabonero.

Kyenkanankana ne = Mbamanyi, baganda bange, muba nga abantunuulira okubeera abusoluuti wammwe (abusoluuti kigambo eky’amakulu ametooloovu ekitegeeza kamala byonna, nantateekebwako bukwakkulizo, ekirongoofu, ekituukiridde, ekijjuvu, ekiteetaagisa kakwate na birala, ekyenkomeredde, ekyemalirira, ekitafugibwa tteeka, ekitatyobolwa) okutuusa wa…kasita mba nga ngoberera Katonda, nga Pawulo bwe yagamba mu Kyawandiikibwa, “Mungoberere, nga bwengoberera Kristo.”

Obubaka buno ye abusoluuti waffe, bwetutyo tumugoberera nga bwagoberera Kristo.

Ssikizalawa nti waliyo abasajja b’Abaefeso 4 abaayitibwa Katonda bangi abaawule era abayitibwa Katonda okutuukiriza emirimu gino; olw’EKISA KYE, ndi omu ku bo. Naye tuli ba mayina (tu li lanka (jjinja) lya wansi ko, omugaso gwa wansi ko), nnabbi wa Katonda Malayika ow’omusanvu ye MEJA (ye wa lanka (ow’ejjinja) elya waggulu).
Ku lw’abo wonna mu nsi abayita “Branham Tabernacle” mbu“y’ekkanisa yabwe erabirwako”: omusumba waffe, obuweereza bwaffe obw’obuliwo, abusoluuti waffe, Abaefeso 4 waffe byonna biri ku lutambi. Tukkiriza bwe buweereza nnakabala Ye bwe yalina ng’aliwano ku nsi.

    
Nga mirembe, nga kiwummulo, tekitwetaaza kweralikirira oba okukuumira engabo yaffe okumpi oba akasengejja nga tuwulira Ekigambo. Ky’Ekigambo kya Katonda ekikakasiddwa, ekirabisiddwa, emmaanu ensu buli bwetukiwulira era kyekitwetagisa okukola kyokka kwekutuula ntende tunyumirwe emitima gyaffe nga bwegibuguumirira munda muffe nga bw’ayogera naffe mu kkubo.

Era bonna Kitange b’Ampadde, balijja. Endiga zange, amayiba gange, ziwulira eddoboozi lyange. Omugwira tezijja kumugoberera.” Era eddoboozi lya Katonda kyeki? Kye Kigambo kya Katonda. Eddoboozi ly’omuntu yenna kyekiki bwe kitaba kigambo kye? Kye Kigambo kya Katonda; bajja kuwulira Ekigambo kya Katonda.

Wakyaliyo EBISINGAKO kulw’Ekkanisa ye. Tetutegeera butegeezi lunaku luno n’omubaka walwo, Ekigambo kyaleero, byokka, naye essanyu erisinga eryali liwereddwa omuntu kyaddaaki limaze ne lituukirira. Tuli kitundu ku Mwoyo gwe, ekitundu ku Mubiri gwe; nnyama ya nnyama Ye, ggumba lya ggumba Lye; Kigambo kya Kigambo Kye, Bulamu bwa Bulamu Bwe, FFE Mugole wa Kristo!

Kitiibwa!! Erinnya lya Mukama Lyebazibwe!! Aleluuya!! Omugole we yeetegedde era alikwetegeka ng’akozesa Ekigambo Kye.

Ekyo Ekkanisa ky’eri okukola leero, kubanga Yesu kye Kigambo era ye Mugole omusajja, era omugole aba kitundu ku mugole omusajja. N’olwekyo Ekigambo ekyokutuukirizibwa mu lunaku luno kye kitundu kyekimu eky’Ekigambo ekyatuukirizibwa mu lunaku Lwe, era kye Kigambo kyekimu, obumanyirivu bwe bumu, obulamu bwe bumu.

Jjangu obeereko mu mbeera y’Ekigambo kyekimu, obumanyirivu bwebumu, Obulamu bwebumu Ssande eno ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), era owulire: Ensigo Terisika Wamu E’ekisusunku. 65-0429B.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma:
Matayo 1:18-20 / 24:24
Lukka 17:30
Omut. Yokaana 5:24
Abaggalatiya 4:27-31
Oluberyeberye 2:15
Isaaya 9:6
Malaki 4